TOP
  • Home
  • Emboozi
  • 'Ku mitwalo 50 oyinza okwegulira omwana mu ddwaaliro lyonna'

'Ku mitwalo 50 oyinza okwegulira omwana mu ddwaaliro lyonna'

Added 22nd August 2013

KUBAMU akafaananyi nga bakugambye nti omwana oyo gw’obadde weesunga emyezi mwenda, n’omugulira obugoye n’okumutegekera, kyokka ku ssaawa esembayo ne bakakutema nti afudde! Obadde okimanyi nti oluusi aba tafudde!Bya DICKSON KULUMBA
KUBAMU akafaananyi nga bakugambye nti omwana oyo gw’obadde weesunga emyezi mwenda, n’omugulira obugoye n’okumutegekera, kyokka ku ssaawa esembayo ne bakakutema nti afudde!
Obadde okimanyi nti oluusi aba tafudde!

Ng’abasawo beekobaanye ne bannansi ne bamukubbako ne bamutunda, oluusi ne bakuwaamu omulambo gw’omwana omulala atali wuwo?

Ekibbabaana kati kyeyubudde, okubba abatambula bakukendeezezzaako okubabba, kati babba ba mu lubuto, bakupangira emyezi ng’esatu oba ena, oluba okumusuula wansi nga bamubba.

Mu nsi yonna abaana abasoba mu mitwalo 30 babbibwa abasawo, bannansi, oluusi ne bannaddiini ne babaguza abagagga ne babatwala okubeekuliza ng’abaana baabwe oba okubakozesa obwamalaaya ng’ekiseera kituuse!

Mu Uganda okusinziira ku lipoota ya poliisi ey’omwaka oguwedde, omwaka bafuna abazadde abasoba mu 80 abeemulugunya nti abaana baabwe bababbye, babawaddemu abatali baabwe oba oluusi ne bakuwa omulambo ogutali gugwo ng’omwana wo bamubbye.

Okumanya emberenge etuuse okugaga, wiiki ewedde poliisi y’e Ntebe yakutte abantu babiri nga bakukusa omwana ow’emyezi esatu bamutwale bamutunde!

Abaakwatiddwa kuliko Martin Benna owa Czech Republic ne Munnayuganda Charity Amusiimire.
Obwavu bwe bweyongedde, abantu ne bayiiya engeri y’okuzifunamu omuli n’okutunda abaana.

Wiiki ewedde akakiiko akafuga abasawo mu ggwanga kaayimirizza Dr. Asinja Kapuru olw’okubuzaawo omwana wa Saudah Nabakiibi gwe yazaalisa nga July 12 2006.

Nabakiibi agamba nti Dr. Kapuru yamuzaalisa omwana mulenzi kyokka ate oluvannyuma ne bamutegeeza nti yazaala muwala ate ng’afudde!

Weebuuze nti waliwo bizinensi y’okutunda abaana mu malwaliro gaffe? Abaana babatunda wa? B’ani abali mu kkobaane lino?

Nabakiibi baamubbako omwana.

Nansi omu mu ddwaaliro lya Gavumenti mu Kampala yagambye nti bizinensi y’okutunda abaana egenda mu maaso nga bugolo.

“Omwana omu oyinza okumulyako obukadde nga mukaaga, naye nga nnina be mmanyi ng’oli baamuwa emitwalo 55 okubafunira omwana era n’amubawa.

Waliwo enkola ey’okutwala abaana mu nnassale nga bamaze okuzaalibwa, awo we babakyusiza. Bw’aba yafuna ssente okumuwa omwana omulenzi, akukyusizaamu n’akuwa omuwala, okukola empapula ekyo kyangu nnyo.

Oluusi omwana ayinza okuba nga tafudde, naye ne bamutunda olwo omulambo gw’omwana afudde ne bagukuwa n’oguziika naye nga ddala omwana wo gy’ali mulamu. Oli nnannyini mulambo bamugamba nti omwana we baamuziika mu limbo”, bwe yagambye.

‘Nantongo baamubba mmututte kumugema’
ENGERI gye babbamu abaana zanjawulo. Oluusi bakulinda ng’olumwa nnyo olwo bwe bakuzaalisa toyinza kumanya kibaddewo.

Abalala bajja nga bayambi . Oluusi omwana bayinza okumutwala mu nnassale akule naye nga teyandigenzeeyo, nga bayiiya kumubba.

Akakodyo akalala, abaana babbibwa okuyita mu buwandiike, omwana azaaliddwa bw’abeera muwala, lipoota y’omusawo eyinza okulaga nti mulenzi, omwana n’akyukira awo.

Reginah Nakabanda agamba nti yabbibwako omwana we bwe yali agenze okumugemesa mu ddwaaliro e Mulago mu waadi 5B.

“Bwe baamala okumugema omwana namulekera muto we, Sumayiya Nalule kyokka mu kiseera ekyo wajjawo omukyala Annet Babirye eyasanga ng'omwana akaaba, n’amumuggyako.

Regina Nakabanda yabbibwako kawala ke Hope Nantongo mu ddwaaliro e Mulago naye yamuzuula.

Babirye yali alimbye bba nti yalwala ebizimba era olwagenda mu ddwaaliro okumujjanjaba, n’amutegeza ng'ebyabadde ebizimba, bwe yabadde omwana,” bw’ Nakabanda bw’agamba.

Omwana ono Hope Nantongo yabbibwa mu March wa 2010 kyokka n’alabika nga 25/5/2010 oluvannyuma lw'okulemerera Babirye n’asalawo okumuzza nga yasinziira Mulago ku kitanda nategeza aboobuyinza ensonga nga bwe zaali.

Kyokka waliwo abakyala abeesabira emirambo gy’abaana abawere! Mu 2010 waliwo omukyala eyatuukirira omusawo Shadia Nakanwagi eyalina kirinika wabweru w'eddwaaliro ly’e Mulago n’amusaba amufunire omulambo gw'omwana.

Omukyala ono yali yalimba bba nti ali lubuto era n'eddagala ‘yalinyweranga’ mu ddwaaliro International Hospital- Kampala.

Wabula Omwami w'omukyala ono nga mu biseera ebyo yali mugagga, waliwo abaamubagulizaako nti mukyala we muyaaye, talina lubuto.

Nakanwagi bwe yafuna omulambo n’aguwa omukyala ono n’agutwala eka. Bba yabiyingizaamu poliisi oluvannyuma lw’okutuuka e Mulago nga teri kiraga nti omwana wuwe!

Abaana babatunda Sudan, Congo ne mu nsi za Bulaaya
KIGAMBIBWA nti abaana basinga kutundibwa mu nsi okuli Misiri, United Arab Emirates, Canada ne Saudi Arabia n'amawanga amalala.

Akatale akalala kali mu bakyala abanoonya okunyweza obufumbo bwabwe nga bano be basala amagezi gonna okufuna abaana be basiba ba bbabwe oluvannyuma 'lw'okuzaala'.

Akulira akakiiko k'eggwanga akakola ku gw'okulwanyisa ekibba n'ekikukuusa bantu, Moses Binoga agamba nti abaana ababbibwa mu malwaliro bangi naye bakyanoonyereza okumanya ensibuko yaakyo;

“Abaana abasinga okubibbwa bakuumirwa mu ggwanga munda. Abamu babakuuma bwe bakula ne babakozesa ogw'okubaggyamu ebitundu by'omunda.

Abamu ku baana bano tuteebereza nti basaddakibwa. Mu June w’omwaka guno emirambo gy'abaana ebiri gyasangibwa e Mbarara ate ogumu ne gusangibwa e Butaleja era tetufunanga bannyini gyo.

Amagezi ge mpa abantu kwe kulabirira abaana baabwe obutiribiri kubanga obukuumi bulina kutandika ku muntu yenyinni,” Binoga bw’agamba.

Omukyala agenda mu ddwaaliro kisaanye agende n'omuntu anaamulabirira oluvannyuma lw'okuzaala, bw’abeera yeebase ng'ono alabirira omwana n'ebintu ebirala.

Tukoowoola basawo kukola mirimu nga bwe bayigirizibwa, baleme kuteeka bituli mu mulimu guno nga bakkiriza bannakigwanyizi okubakozesa.

OWANGE BAAMUBBIRA MULAGO
Goretti Kajumba, 33, baamulongoosaamu omwana we nga December 3, 2012 mu ddwaaliro ekkulu ery’e Mulago.

Agamba nti bwe yadda engulu n’e yeetambuza okugenda mu nnassale bamulage ku mwana we
“Ku mulyango gwa nnassale omusawo yang’aana okuyingira, yang’amba ng’ende ndeete obukakafu obulaga nti nva kuzaala okuva ew’omusawo.

Mba ntambuddeko katono n’annyimiriza n’ambuuza erinnya lyange, bwe nnalimubuulira n’angamba nti omwana wange afudde!

Bwe nnasaba omulambo yang’amba nti teguli mu nnassale. Bansiibula oluvannyuma lw’ennaku nnya naye ebyali ku ffoomu ezinsiibula byalaga nti omwana mulamu.

Naddayo e Mulago, bwe nnasaba omwana bantwala mu ggwanika, abaayo ne bang’amba nti omwana baamuziika!,”Kajumba bw’agamba. Naye yeebuuza nti bwe baba omwana baamuziika, ebiwandiiko biruwa?

Dr. Banterana Byarugaba, akulira eddwaaliro ly’e Mulago agamba nti omwana wa Kajumba yali tassa bulungi nti singa yalina omujjanjabi yandibayambyeko okukakasa omulambo gw’omwana ne batamuziika mu limbo!

Micheal Mubangizi ne mukyala we Jennifer Musimenta baazaala balongo ne babawaako omwana omu.

Twazaala balongo baatuwaako omu’
MIKE Mubangizi ne Jennifer Musimenta baakamala omwaka gumu n'ekitundu nga banoonya omulongo waabwe eyabulira mu ddwaaliro e Mulago.

Musimenta yazaala abalongo nga March 14, 2012 kyokka oluvannyuma nnansi eyali amukolako n’amutegeeza ng’omu ku balongo bwe yali afudde!

Musimenta agamba: Omusawo ono namuwa akagoye ak’okuzingamu omwana kyokka olunaku olwaddirira kyategezebwa nti omusawo yali agenze Mukono kumaliriza bizibu bye era twamala ennaku ssatu nga tumukubira amasimu.

Ku lunaku olwaddirira yajja n’atulaga omulambo kyokka nga musu nga toyinza kugamba nti gwakamala ennaku ssatu.

Ensonga zaagenda wala ne tusalawo twekebeze omusaayi, oluvannyuma lw'emyezi ebiri nga July 11,2012 twakizuula nti baali batuwadde mulambo gwa muntu mulala!

Omuwolereza wa gavumenti bweyatunula mu nsonga yatugamba nti tugende e Mulago tuteese n'abayo kubanga ensonga yalaba nga nzibu ddala.

Kyokka ffe tetwasa mukono nga tetuyinza kutegeragana n'abantu bano ng'omwana waffe talabikanga. Twaweebwa amagezi okugenda mu kkooti era ab'ekibiina ky'eddembe ly'obuntu ekya Centre for Health, Human Rights and Development ( CEHURD) ne tuwabira ofiisi y'akulira eddwaliro ly'e Mulago ne Ssabawolereza wa gavumenti nga tubavunana olw'okutyoboola kw'eddembe lyaffe n'okulemererwa okukuuma omwana waffe n'okuleeta nnansi oyo eyakola ku nsonga zaffe.

Okuva July 18,2013 ne baweebwa ennaku 15, kati zaggwako naye ensonga bakyazizimudde!

Okubba abaana bakukoppye Kenya ne Tanzania
NAYE okubba abaana tekutandikidde mu Uganda. E Kenya mu 2004, omukyala n’omwami Eddah ne Michael Odera baabakwata n’abaana 10 be babbye.

Kyokka kkooti baagitegeeza nti abo abaana ba byewuunyo, birabo mukama bye yabawa era baava waggulu ne bagwa ku nsi!

Omwaka ogwo baakwata abaana 21 ababbiddwa mu malwaliro oba mu mpya z’abantu nga bakyali mabujje!

E Nigeria, abaana bwe batyo bababba (kuyite kuwamba) ne babasabirako ssente. Ababbi ab’emmundu bajja mu ddwaaliro ne bawamba omwana wo gwe waakazaala ne bakusaba ssente eziri mu doola. Olw’okuba omulindiridde emyezi mwenda oziwaayo teweesiikidde yadde akawande.

Mu 2011, abemmundu baawamba abaana abaakazaalibwa 15 okuva mu ddwaaliro mu kitundu ky’e Niger Delta ne basaba obukadde bwa doola 12!

E Tanzania, abaana abasoba mu 150 babbibwa mu malwaliro nga baakazaalibwa buli mwaka, naye bano babakolamu eddagala ne baliwanga mu bizimbe, mu maka g’abantu era bakkiriza nti olwo amaka tegasasika, bakola ssente empya n’enkadde n’okufuna obugagga obutamanyi alina.


 

‘Ku mitwalo 50 oyinza okwegulira omwana mu ddwaaliro lyonna’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...

Nyombi ng'alaga olubuto mw'afulumira.

Afulumira mu kapiira alaajanye

OMUVUBUKA ow'emyaka 32 alaajana oluvannyuma ly'okumulongoosa ekyenda n'atawona nga kati yeetaaga obukadde butaano...