TOP
  • Home
  • Emboozi
  • 'Omwana wange yafa lwa miggo gy'oku ssomero'

'Omwana wange yafa lwa miggo gy'oku ssomero'

Added 5th September 2013

Omusomi wa Bukedde Online okimanyi nti okukuba omwana ku ssomero kiyinza okukusibya emyaka egisoba mu 10?Bya FAHAMI WASSWA NE LAWRENCE KITATTA
MUHUSINI Bifemengo yafa mu 2011, olumbe olwamutta lwava ku ssomero gye yali asomera mu S.1 e Bugembe!

Omusomesa we yamukuba mu 2009 ng’alemeddwa okuyita ebigezo n’ava ku ssomero ng’omugongo gumuluma nnyo, era bwe yagwa wansi ku ndiri teyavaako okumala emyaka ebiri okutuusa lwe yafa!

“Mwannyinaze yafa bubi, ng’omugongo gumuluma nnyo, nga tasobola kutambula, abasawo baakizuula nti baamwonoona enkizi.

Nga bw’omanyi amalwaliro gaffe eri abasawo abalagajjavu ate nga n’eddagala teririiyo, yalina kufa.

Singa omusomesa teyamukuba miggo mingi bwe gityo buli wamu osanga singa akyali mulamu,” Hikima Bifemengo ow’e Wakaliga- Nateete bw’ayogera ku mwannyina.

Omusomi wa Bukedde Online okimanyi nti okukuba omwana ku ssomero kiyinza okukusibya emyaka egisoba mu 10?

Okubonereza omwana tekugaanibwa, wabula olina kumuwa bibonerezo eby’obuntu ate nga tebisukkiridde.

Wabula ebibonerezo ebikakali okuli, okukuba abaana kibooko , ensambaggere oba okubalumya mu ngeri yonna byaweerebwa mu masomero.

Ate nga waliwo ensonga entuufu okubiwera. Adam Musira yamala ebbanga ddene e Mulago, omusomesa we ow’okubala bwe yamukuba emiggo ku mutwe n’afuna kookolo!

Joweria Kantono, maama wa Musira agamba nti, “Omwana wange yali asoma mu Mutumbula Primary School e Mayuge, omusomesa n’amukuba nnyo ng’agudde okubala.

Yakomawo atonnya musaayi, omutwe ne gutandika okuzimba era singa tegaali mawulire osanga kyandibadde kibi,” bw’agamba.

Dr. Dan M. Kanyike ow’e Mulago yategeeza gye buvuddeko nti Musira yalina kookolo mu mutwe, naye emiggo emingi omusomesa we Opio gye yamukuba gyamuttusa n’asajjuka.

Musira yafudde n’aziikibwa lwa musomesa kumukuba.

ASP Ketty Nandi akola ku nsonga z'abaana n'amaka ku poliisi ya CPS mu Kampala agamba nti okukuba abaana kugenze kukendeera mu masomero.

“Mu myaka ebiri twakafuna omusango gumu ogw'omusomesa okukuba omwana obubi.
Okukuba kibooko tekukirizibwa mu mateeka k’ebeere kibooko emu.

Tewali nsonga lwaki omusomesa yaalikubye omwana ate nga waliwo engeri endala gye bayinza okubalung’amyamu okugeza okubalabula, okubawa emirimu emirala egitaliimu kukuba,” bw’agamba.
Nandi agamba nti omusomesa omulungi teyandibonereza kulumya wabula kugunjula.

MU June w’omwaka guno, Yowana Yakubu, 9, omuyizi wa P3 mu Naigombwa Muslim Primary School e Iganga ye olwamukuba teyadda ngulu, yagwa eri n’atondoka.

“Yakubu yali ayogerera mu kibiina ng’omusomesa w’Olungereza Grace Kiwanuka naye mwali agolola bitabo.

Omusomesa bwe yamulaba ne mukwano gwe omulala n’abalagira buli omu akube munne kibooko ssatu, yakubu olwamuggyako kibooko n’afa,” omu ku bayizi bwe yang’ambye.

Mbega wa poliisi e Iganga Christopher Ocamju yategeezezza nti omusomesa yadduse na buli kati tannakwatibwa, kyokka omuyizi yaziikiddwa ku kyalo Namalimba ekiri mu ggombolola y’e Namalemba.

Minisitule y’ebyenjigiriza mu 2006 yayisa etteeka eriwera okukuba abayizi mu masomero. Y’ensonga lwaki tekikyaliwo nnyo, naye mu bitundu ebimu nga e Mbale, abayizi bakyabakuba.

Olivia Nadunga, akola ku nsonga z’amaka ku Kira poliisi agamba nti mu biseera bino emisango gy’okukuba abaana mu masomero gikendedde nnyo. “Okuva omwaka guno bwe gwatandika tufunyeyo omusango ogw’ebibonerezo ebiva mu masomero ebikakali gumu gwokka.

Nga tuyita mu kukwanaganya poliisi n’omuntu wabulijjo tufubye okugenda mu masomero ne tubuulira abasomesa eby’okukola mu kifo ky’okubakangavvula nga bakozesa eryanyi eriyitilidde erireetera abaana abamu obukosefu mu bulamu bwabwe,” Nadunga bw’agamba.

Kyokka wadde abaana abaloopa abasomesa okubakuba si bangi, okunoonyereza okwakolebwa mu 2011 kwazuula nti mu masomero 81 ku buli 100 bakyakuba abayizi!


“Eggombolola emu mu disitulikiti y’e Mukono yayisa n’etteeka eriwagira okukuba abayizi kasita embooko tezisukka bbiri,” lipoota ya ANPPCAN eya 2011 bw’eraga.


Farook Kasujja, akola ku nsonga z'amaka ku poliisi y'e Kireka agamba nti okusinziira ku mulimu ogukoleddwa poliisi okusomesa abasomesa kiraga nti abasomesa tebakyatulugunya bayizi n'agabonerezo agakambwe. Wabula yategezezza nti kino kireetedde abaana bangi okwonooneka kuba kati bafuuse bakiwagi.

Yvonne Laruni, omukungu w'ekibiina ekirwanirira eddembe ly'abaana ekya Raising Voices agamba, okukuba abaana gukyali muze muzibu nnyo okulwanyisa mu basomesa.


“Okunonyereza kwe twakoze mu masomero kulaga nti abaana 90 ku buli 100 babonerezebwa mu ngeri y'okulumizibwa ennyo.

Omwaka guno waliwo essomero lya siniya lye baatuloopera nti litulugunya nnyo abaana era abaana bana be baaleeta okwemulugunya kwabwe,” bwe yagambye.

OBULABE OBULI MU KUKUBA ABAANA
Laruni agamba nti okutulugunya abaana kulina obulabe bwa mirundi mingi, omwana bw’atafuna bulemu ayinza okuvaamu eriiso, okulwala omugongo oba okukutuka enkizi.

Omusomesa ng’akuba omuyizi mu ngalo.

“Omwana buli kiseera aba yeeraliikirira, yeeboola kale olwo ayiga atya?,” bw’abuuza

Agamba nti bakubiriza abasomesa okufuba okuyiga abaana be basomesa bye baagala bakole mpolampola nga balaga bwe bikolebwa.

EBIBONEREZO EBIKKIRIZIBWA
Minisitule y’ebyenjigiriza mu 2008 yafulumya olukalala lw’ebibonerezo ebikkirizibwa mu masomero omuli bino wammanga:

1. Omwana mulagire okuwandiika emboozi ng’akunnyonnyola lwaki akoze ekyo ky’akoze.

2. Oyinza okumubonereza ng’omuggyako ekitiibwa kye, katugambe ng’omugaana okukozesa ebintu ebimu ng'okusambi omupiira, okuzannya ne banne.

3. Mulagire akole emirimu emitonotono naye gisaana okuba nga gigya mu musango gw’akoze.

4. Musigaze mu kibiina ng’obudde obudda eka oba obuwummula butuuse.

5. Omwana muyinza okumusasuza by'abeera ayonoonye.

6. Yita abazadde mwogere ku mwana wo n’ekibonerezo kye muba mumuwa. Bw’olaba omwana alemye muzze ewaabwe awummuleko akaseera.
Mathias Luyombya, omutuuze w’oku Kaleerwe agamba nti okukuba abaana mu masomero kusaanye kukome. “Omusomesa amaze ebbanga tasasulwa, omusaala bwe banaagumuwa mutono nnyo, kati oyo tayinza okukuba omwana n’amufiirako?,” bw’abuuza.


Wabula Tony Musoke ow’e Bweyogerere agamba nti abaana beeyongedde ku nguudo, abalala, bafuuse babbi kubanga tebakyagambwako.


‘Omusomesa yankuba mu kyenyi n’akyasa’
NZE Shafick Nakibinge nali nsomera mu P5 mu 2010 (essomero lirekeddwa), omusomesa yankuba n’anjasa mu kyenyibwe yatusanga nga tulwanira kaddole ne mukwano gwange.

Maama bwe yandaba nga nayatise omutwe yagenda ku poliisi n’ewaliriza omusomesa okunzijanjaba wabula bwe nawonane nzirayo ku ssomero omusomesa yali takyayagala kukwata ku kitabo kyange era maama n’ankyusiza essomero.

‘Omwana wange yafa lwa miggo gy’oku ssomero’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...

Nyombi ng'alaga olubuto mw'afulumira.

Afulumira mu kapiira alaajanye

OMUVUBUKA ow'emyaka 32 alaajana oluvannyuma ly'okumulongoosa ekyenda n'atawona nga kati yeetaaga obukadde butaano...