TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ssisinkana Kabaka awasa embeerera buli mwaka!

Ssisinkana Kabaka awasa embeerera buli mwaka!

Added 19th September 2013

SISINKANA KABAKA Mswati III, awasa embeerera buli mwaka! Kabaka ono abadde n’abakazi 14, kyokka wiiki ewedde yalonze omukazi nnamba 15 gw’ateekateeka okuwasa amuyingize mu ffaamu ye etekoma!


Bya MUWANDIISI WAFFE

SISINKANA KABAKA Mswati III, awasa embeerera buli mwaka! Kabaka ono abadde n’abakazi 14, kyokka wiiki ewedde yalonze omukazi nnamba 15 gw’ateekateeka okuwasa amuyingize mu ffaamu ye etekoma!

Kyokka okumukakasa nti afuuse mukazi we omujjuvu alina kusooka kufuna lubuto!

Mswati ye Kabaka wa Swaziland eririraanye South Afrika. Buli mwaka ategeka omukolo kwe bakung’aanyiza abawala embeerera ne bayisa ebivvulu mu Lubiri lwe nga bazina bambadde obukete, amabeere gali wabweru.

Mwasi III ng'azina n’embeerera .

Kabaka n’abakungu be omukolo guno tebagubulako, mwattu n’abawala bagwesunga era ng’ebula emyezi nga mukaaga, bannyaabwe batandika okubazigula, ne babafumbirira ne bavaayo nga banyirira ng’ebinya!

Kale omwaka guno mwanamuwala Sindiswa Dlamini 18, ye yanywedde mu banne akendo n’alangirirwa okubeera muka Kabaka Mswati III owa 15.

Wabula newankubadde ono awezezza omuwendo guno, Mswati azze afuna obutakkaanya n’abamu ku bakyala be olw’ennyonta y’omukwano gy’abayisaamu, anti tasobola kubamatiza bonna!

Omu, LaGija yeewaggula mu 2012 n’addukira e South Afrika gye yagula ennyumba ate omulala LaDube gwe yawasa mu 2005 nga wa myaka 16 yamukwata lubona ne minisita w’e ow’obuntubulamu nga beegadanga. baayawukana omukazi ono n’awasiza ddala minisita oyo era yamuzaalamu n’abaana.

Kyokka abaagala Obwakabaka bagamba nti Abazungu bampuliddekamenya, be bapokera abamu ku bawala bano ssente banobe, era ab’omwoyo omutono ne bagendera ddala.

Abamu ku baka Mswati ab’enjawulo.

Omwogezi w’Olubiri lwa Mswati, Ludzidzini Timothy Mtetwa ye yafulumizza amawulire gano n’ategeeza nti omuwala ono yalondeddwa ku mukolo gwe bayita ‘Umhlanga’ (‘Reed dance’) ogukolebwa mu September buli mwaka. Mtetwa yagambye nti omuwala ono eyaakamaliriza emisomo mu St. Francis High School waakulagibwa mu lujjudde nga September 28.

Omukolo kwe balondera gutegekebwa buli mwaka ne bakung’aanya abawala embeerera era gwetabibwako abato mu myaka n’abakuze naye nga tebannaba kufumbirwa.

Bakung’aanira mu Lubiri lwa Namasole. Nga wabula ennaku bbiri okulondako Kabaka gw’anaawasa bagenda ku nsiko ne batema emmuli nga bakozesa ekiso ekiwanvu kye bajja nakyo.

Ekiro bazizigula ne bazisiba mu miganda era zikozesebwa okubugiriza Olubiri lwa Namasole.

Embooseera z’abawala ku mukolo guno.

Olunaku lw’okugenda mu Lubiri nga lutuuse bambala obukete bwe bawunda mu butiiti bwe basiba mu kiwato okubikka ku nsonyi ne bambala n’omukuufu gw’obutiiti omunene nga gukoona ku mabeere.

Bayimba n’okuzina amazina nga bayisa ebivvulu mu Lubiri olwo Kabaka n’alondako gw’asiimye.

Kino kikolebwa okusikiriza abaana abawala okwekuuma nga mbeerera era gw’asiimye talina kugaana wadde okunoba.

Abambejja n’abaana abalala abawala abava mu lulyo Olulangira bakkirizibwa okwetaba ku mukolo guno wabula babatikkira omuge oguliko ebyoya ebimyufu okubasobozesa okubaawula ku balala.

Kabaka Mswati alina abaana 23 wabula bakyala be babiri b’asooka okuwasa balondebwa lukiiko lw’Abataka.

Mu Bwakabaka bungi mu Afrika, omukolo guno ogw’abawala embeerera okuzinira mu Lubiri baagukolanga wadde amawanga agamu gaagudibya. Ne mu Buganda, omukolo guno gwakolerwanga mu Lubiri lwa Kabaka, nga guyitibwa ‘Okuzina Ekifule’, wabula gwawerwa awo nga ku mulembe gwa Ssekabaka Ssuuna II.

Omuwala ng'azina.

Ebifa ku Mswati III owa Swaziland
1.Kabaka wa Swaziland era ye mukulembeze ow’oku ntikko. Swaziland ly’eggwanga eryasigaza Obwakaba obwetongodde.
2. Yazaalibwa 1968, kati aweza emya 45.
3.Yasomera mu Sherborne School n’atuuzibwa ku Bwakabaka mu 1986 ng’adda mu bigere bya kitaawe Sobhuza III.
4. Avumiriddwa Abazungu emirundi mingi nga bagamba nti obuwangwa bw’eggwanga lye buvvoola eddembe ly’abakyala b’akaka omukwano.
5.Mugagga ffugge wabula okunoonyereza kw’ekibiina ky’amawanga amagatte kulaga nti bannansi 70 ku 100 ku bantu akakadde kamu n’emitwalo 20 abali mu ggwanga baavu lunkupe.
6. Okunoonyereza kw’ekibiina era kulaga nti Swazilandi lyeggwanga erisingamu okusasaanya akawuka akaleeta mukenenya mu Afrika era lye lisinza abantu abangi abalina akawuka ka siriimu.
 

Kabaka awasa embeerera buli mwaka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....