TOP
  • Home
  • Emboozi
  • 'Taata yankaka omukwano n'anfunyisa olubuto'

'Taata yankaka omukwano n'anfunyisa olubuto'

Added 10th October 2013

"MAAMA yali agenzeko mu kyalo kuziika ng'awaka nsigaddewo ne taata ne bato bange abalala basatu. Taata yalagira bato bange okugenda ku ssomero nze n’angamba nsigale mbafumbire.



Bya VIVIEN NAKITENDE
"MAAMA yali agenzeko mu kyalo kuziika ng'awaka nsigaddewo ne taata ne bato bange abalala basatu. Taata yalagira bato bange okugenda ku ssomero nze n’angamba nsigale mbafumbire.

Wabula olwagenda n'akwata ekiso n'omusipi n'ankaka omukwano ng'atiisa nti bwe ng’aana waakunzita. Bwe yamala n’ang’amba nti bwe ndibaako gwe nkigambako waakunsalaasala ebiso anzite oba okuntuga n'omusipi!"

Omusomi wange sisinkana Jovia (amalala ngalese) ow’emyaka 14, ng’attottola engeri kitaawe gye yamukaka omukwano n'amufunyisa n'olubuto!

Ttima kika ki erizze mu Bannayuganda okutuuka okukola ekintu nga kino! Anyumya bwati ebyamutuukako: Yali ku nkomerero ya 2012 nga Ssekukkulu eneetera okutuuka. Maama baamubikira muganda we mu kyalo n'agenda okuziika n’atuleka awaka ne taata ne baganda bange abanzirako basatu.

Enkeera twalina okugenda ku ssomero wabula nze taata n’ang'aana nti nsigale nfumbire bato bange. Nga bamaze okugenda ku ssomero taata yampita mu nnyumba n’asibawo oluggi n’ang’amba nzigyemu engoye.

Kasiriivu eyafunyisa muwala we olubuto.

Yajja akutte ekiso n'omusipi gw'empale ye n'andagira neebake ku buliri. Nasooka kugaana wabula n’anteeka ekiso ku bulago n’ang'amba nti agenda kunzita.

Yansika n’ansuula ku buliri, n’anzigyamu empale n’ankwata. Olwamala yaddamu n’andaga ekiso n'omusipi n’ang'amba nti singa njogera ebibaddewo wa kuntemaatema ng'embuzi nfe oba si ekyo ajja ku ntuga n'omusipi.

Okuva olwo taata buli bw'alaba nga maama taliiwo ng'addamu ng'ankozesa era abadde yakifuula kya buli kiseera. Maama mufumbi wa mmere e Katwe era akeera nnyo okugenda wabula buli lw'agenda nga taata agoba bato bange banguwe bagende ku ssomero ng'ankozesa.

Bino bwe byabaawo, taata yatandika okunkambuwaliranga, nga buli kimu ayogera aboggoka ekitaaliwo emabega.

Nga bw'alaba njogera ne maama ng'aliko by'antuma oba by'angamba olwo ng'ampitayo mu bukambwe, buli kiseera abeera anvuma era kino kye kyantiisa okwogera okugambako maama.

Nga wayise ebbanga, nawulira ng’embeera zange zikyuse wabula ssaamanya nti nnali nfunye olubuto kuba nnali sibimanyi era mbadde sinnagendako mu nsonga za bakyala nga buli kimu ekindiko ndaba kipya.

Nassaazi maama w’omwana.

Nange nalabidde awo nga maama ampita ng'ambuuza nti mmubuulire nnannyini lubuto, n’ambuuza bulijjo gwe nneegatta naye. Nasirise okutuusa bw eyantutte ku poliisi bankube emiggo njogere kwe kumubuulira amazima.”

Jovia abadde asoma P6 mu Kabowa CU erisangibwa e Kabowa. Kitaawe Jimmy Kasiriivu gw'abadde yafuula mukyala we era yamufunyisa n’olubuto, kati lwa myezi 7! Weebuuze nti omwana Kasiriivu anaamuyita taata oba jjajja!

Kasiriivu mutuuze mu Kironde zooni e Kabowa. Akola gwa kwokya wolodingi e Katwe. Maama w'omwana, Sylvia Nassaazi 38, mufumbi wa mmere e Katwe. Agamba nti naye yasooka kugaanira bba ng’alowooza nti musajja mulala ye yamufunyisa olubuto.

Agamba: Omwana abadde akyali muto, nga simusuubiriza bikolwa bino. Naye nkyankubye wala okulaba nti kitaawe ate y’akikoze!

Sibadde na buzibu bwonna na baze, tubadde tukolagana bulungi naye ebiguddewo bikyannemye okutegeera.

Bulijjo nkeera ne ng’enda okukola, ne ndeka baana awaka ne kitaabwe kuba ye abadde takeera nnyo naye nga sirinaamu kwekengeera kwonna kuba ye kitaabwe.

Ebbanga liweze nga mwaka nga baze yatandika okukambuwalira Jovia, nga buli kantu k’akola amukambuwalira ensonga nebweba ntono nnyo.

Nze kino ssaakifaako nnyo nga ndowooza nti amugunjula sso yali abubira ‘mukyala we’!

Nswadde ne nkomayo, ku miriraano ne gye nkolera bantunuulira bubi. Nange nneewuunya gye yaggya ekirowoozo ekyegatta n'omwana waffe!

Balirwana be bantemyako nti Jovia ali lubuto. Ebiseera ebisinga engeri gye sibeera waka, nnali sinnalulaba naye namutwala ew'omusawo n'akantema nti ali lubuto lwa myezi musanvu.

Nabuuza omwana n’agaana okwongera eyamufunyisa olubuto, kwe kumutwala ku poliisi bamukube kibooko ayogere. Jovia ssiimugobe waka, kati muli nneebuuza, omwana gw’anaazaala anampita atya!

Kasiriivu baamuggye ku poliiisi e Kitebi gye yatwaliddwa mukyala we kati ali mu kkomera e Luzira. Atwala poliisi y'e Kitebi, Abdu Hamidhu Kabojja yategeezezza nti Kasiriivu singa kinazuulibwa nti ye taata w'omwana wa kutwalibwa mu kkooti avunaanibwe omusango gw'okukabassanya omwana we (incest) oguli ku fayiro SD: 31/06/09/13.

‘Taata yankaka omukwano n’anfunyisa olubuto’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssentebe Sserunjogi ng'alaga olukalala oluliko abantu be yagobye.

Ssentebe agobye abakulembez...

Ssentebe w'e Bujuuko agobye abakulembeze ku lukiiko lwe lwa kumutyoboola mu bantu. Francis Sserunjogi ow'e Bujuuko-...

Omugagga Dodoviko Mwanje ( ku kkono ) ng'ali ku kkooti e Kololo ne SSP Rashid Agero.

Okuwulira omusango oguvaanw...

WADDE nga gavumenti yamaliriza okunoonyereza ku musango oguvunaanibwa omugagga Dodovico Mwanje amanyiddwa nga Dodo...

Kityo eyakuliddemu enteekateeka y'ekyoto ng'ayogera.

''Ababuvuka mugondore amate...

OMWAMI wa Kabaka atwala eggombolola y'e Nsangi, Wasswa Mathias Kutanwa asabye abavubuka okuba abasaale mu kulwanyisa...

Abamu ku baana abaafudde.

Poliisi eyingidde mu by'aba...

POLIISI mu disitulikiti y'e Rakai eyingidde mu kunoonyereza ku kituufu ekyaviiriddeko abaana aba famire emu, abataano...

Brenda Nairuba ng’apooca mu ddwaaliro ly’e Kamuli-Mulago.

Bba amutemye lwa kumumma ma...

Maama wa bbebi ow'emyezi ebiri apooca. Ali ku kitanda mu ddwaaliro ly'e Kamuli-Mulago ekkulu oluvannyuma lwa bba...