TOP

Abagagga abakoze ssente mu kasasiro

Added 17th October 2013

BULI kibi kibeera n''ekirungi! Kasasiro amanyiddwa ng''ekizibu ekikyasinze okumala ku bantu emirembe waliwo abamukolamu ebintu ebitali bimu ne bayoola ssente.



Bya HERBERT MUSOKE

BULI kibi kibeera n'ekirungi! Kasasiro amanyiddwa ng'ekizibu ekikyasinze okumala ku bantu emirembe waliwo abamukolamu ebintu ebitali bimu ne bayoola ssente.

Kasasiro asinga obulabe mu Uganda ye pulasitiika asuulibwa ava mu bucupa bw’amazzi, bbaafu ezaatise n’ebirala.

Abakugu bagamba nti bw’osuula pulasitiika awantu kitwala emyaka egisoba mu 1000 okuvunda, w’agwa ettaka oba olyononye, tewali kimera.

Wabula Mw. Amos Tamusuza Kambagira, akulira kkampuni ya Resintile EA Ltd e Lugogo agamba nti bamukolamu amategula.

"Okuzimbisa amategula gwe mulembe oguliwo kyokka amategula agabaddewo nga gakosa obutonde okugeza ag'ebbumba, we lisimibwa wasigalawo ekiwonko ate bwe gabeera gakaddiye oba nga gamenyese gafuuka gaabulabe mu ttaka kuba tegasobola kuddamu kufuuka ttaka olw'okuba gasooka kwokebwa.

Kyokka agano agaffe ge tukola mu pulasitiika ng’ebidomola, amabaafu, kompyuta enkadde, leediyo n'ebirala tugagya mu kasasiro.

Bwe goonooneka tuddamu ne kugasekula buto era ne tukolamu amalala ekitegeeza nti tewali kuddamu kwonoona butonde.,” Tamusuza bw’agamba.

Nannyonga ng’alaga ebintu by’akola mu kasasiro omuli emikeeka n’ebyokwewunda.

ENKOLA Y'AMATEGULA
Tufuna pulasitiika ne tumusunsula okusinziira ku langi olwo ne mmulongoosa bulungi. Oluvannyuma atemwatemwa mu butundutundu obutono.

Tumutabulamu omusenyu gw'omugga, omukung’unte ne guvaamu amayinja agayinza okuleeta ebituli mu mategula ne gayingiza amazzi.

Oluvannuma tubissa mu kyuma ekibeeramu ebbugumu erya waggulu ennyo (diguli 200-300), olwo ne tussa ku minzaani kuba ettegula lyaffe lizitowa kkiro bbiri olwo ne tussa mu kyuma ekinnyuga okufulumya ettegula.

Ettegula lyaffe ligula 3,540/- kyokka amategula nga 2,250 gasobola okusereka ennyumba n'eggwa kuba magazi, sikweya mita mugendamu mwenda gokka.

 

Omukozi wa Tamusuza ng’alaga engeri gye balongoosa kasasiro okukola amategula.

EBYOKWEWUNDA
Abakyala abasukka mu 150, balya ku byamikono bye bakola okuva mu buseke bwa sooda, ssoole z'ebigatto ebikadde, ebipapula n'ebirala nga bakolamu eby'emikono.

Bano abeegattira mu kibiina kya Kinnawattaka Women Initiative e Kinnawattaka e Nakawa, ekyatandikibwa Benedicta Nanyonga bakola emikeeka, emisipi, eng'atto, ensawo, engoye n'ebirala bye batunda ne beeyimirizaawo.

Nanyonga agamba nti, "Natandika ne kapito wa 500/- mwe nnagula ekidomola ky'amazzi ku 200/- ne kasaketi ya ssabbuumi w'obuwunga ku 300/- ne njoza obuseke bwe nali nkung’aanyizza.

Nasooka kuluka mukeeka mu buseke buno kyokka mbeera nkyaguluka ne wabaawo omusajja eyagwekwata era olwagumaliriza n'agugula 70,000/-.

Oluvannyuma lw'okulaba ebirungi bye nafuna mu buseke buno ng'omuntu, nasalawo obuteesigaliza kyama kino ne mpita bakyala banange naddala ba namwandu n'abaana abatalina mwasirizi ne baneegattako era ne tukola ekibiina kya "Kinawataka Women Initiative", kati ekirina ba mmemba abasoba mu 150.

Abakyala bano bakola ngatto okuva mu kasasiro, babeera mu Kisenyi mu Kampala.

Mu kiseera kino tukola ensawo ezikozesebwa okugula ebintu mu katale, ezitambuza kompyuta z'omu ngalo, obw'abakyala obw'omu ngalo nga zino zitandikira ku 5,000/- okutuuka ku 99,000/-, emikeeta nga kino giri ku 50,000/-, emisipi giri wakati wa 5,000/- ne 10,00/-, eby'okumatu bigula 5,000/-, obukeeta bw'okumeeza bugula wakatu wa 2,000/- ne 4,000/-.

Mu kiseera kino abaagala okuyiga okuluka ebintu bino osasula 150,000/- n'otendekebwa ate tuguze ettaka kwe tugenda okuzimba ettendekero ne ofiisi z'ekibiina okwongera okuyamba abantu nga bwe tutaaso obutonde. ‘Amanda mu kasasiro oyinza okugafunamu emitwalo 10 olunaku’

AMANDA GA KASASIRO
Abantu batema emiti okufuna enku n'okwokya amanda wabula Sarah Zalwango owa Nakulabye Briquettes Technology, akola, asomesa n'okutendeka abantu okukola amanda okuva mu kasasiro!

"Njagala buli omu okimanye nti kasasiro gw'olina, oyo gw'osiiba oyitira ow'akagaali okutwala asuuleeyo, osuula zaabu agenda okukufuula binojjo.

Natandika okukola amanda mu kasasiro mu 2010 naye mu kiseera kino namaze okugula ettaka e Bunamwaya nga kati ng’enda kuzimbayo ttendekero lya kukola manda ne fakitole olwo ntandike okunoga ssente.

Amanda gano gasoboka okukolebwa buli muntu wonna w'obeera ate ng'ofuna ssente. Okugeza singa obeera ng'osasula 500/- okukutwalira kasasiro buli wiiki omwezi zibeera 2,000/- , omwaka 24,000/-.

Muky. Zalwango ng’alaga amanda g’akola mu kasasiro.

Zino zirabika ng’entono naye jjukira tekigenda kukoma kw'olwo kigenda kusigalawo ebbanga lyonna.

Mu ngeri y'emu amanda gaffe gatandikira ku 100/- eryanda limu kyokka ng'emiti gatandikira ku 1,000/-. Amanda agavudde mu kasasiro g'oguze 1,000/- gasobola okufumba ennaku bbiri kyokka ag'emiti gafumba omulundi gumu ne gagwako.

Ensawo y'amanda agavudde mu kasasiro ya 100,000/- nga esobola okukola okumala emyezi esatu ate agavudde mu miti emu ya 60,000/- nga eno tesobola wadde okumalako omwezi ogumu, era bangi bakozesa ensawo bbiri oba ssatu ekitegeeza nti omwezi obeera osaasaanya 120,000/- ne 180,000/-

Waliwo eryanda erituula erimu mu sigiri nga ligula 1,500/- kyokka nga lisobola okufumba ennaku nga bbiri.


EBIGATTO EBIKADDE
WALI weebuuzizza engatto z'okaddiya gye ziraga? Okimanyi nti kimu ku bisaanyizaawo obutonde bw’ensi mu Uganda?

Alfred Muwonge mu Kisenyi, asuubula ebigatto ebikadde ebisuuliddwa ku kasasiro n'abikolamu ebintu ebirala eby'omugaso ng'engatto, ssoole n'ebirala mw’anoga ssente.

Muwonge agamba nti yatandika omulimu guno mu 1987 oluvannyuma lw'olutalo lw'okwenunula abantu ne bakubirizibwa buli omu okubaako ky'akola ekisobola okuzimba ensi ye n'okugissa ku mulembe olw'okutaagulwataagulwa kwe yayitamu.

"Natandika na kusuubula ng'atto nkadde nga nzooza ne nzitunda.Mu kiseera ekyo nazigulanga Katuna mu Rwanda kubanga ye yali eva engoye enkadde ezaaleetebwanga Abafalansa okuzigabira ababundabunda.

Oluvannyuma lwa bizinensi yange okukula, natandika okugula engatto zino okuva mu bantu nga ngula ez’amaliba n’amasanda nga nzitundira ku Katuba ku Owino. Abasuubuzi bwe baamanya nti zifuna ne bayingirira bizinensi, eyange n’ensala.

Bizinensi yatuuka negaanira ddala olwo ne nsigaza ttani, ne ttani z’engatto enkadde kwe kusalawo okuyiiyaamu ekintu ekirala.

Nasooka kukola bugatto bwa bakyala ne ssapatu nga nsala ebigatto ne jjirita ne mbifumba mu ssepiki ne mbiyiwa mu katiba ke nakola.

Nga ntandise okufulumya engatto mu bungi, Omuzungu Anderious, eyalina mukwano gwe Omuyindi eyali okola mu kkampuni ya Uganda Shoe Company, eyali ekola engatto z’ebitongole ebikuumaddembe n’ampa omulimu gw’okukola engatto.

Wano we nayiiyiza ssole y’engatto ekika kya Camel eyatunda ennyo era eyampa ettutumu mu Uganda n’amawanga agaliraanye wo nga Rwanda.

Olw’okusiima omulimu gwe nakola, bampa ekirabo kya kugenda Girimaani ne mbalaga nti engatto Abazungu ze baali bakola zaali tezigendera ku nkula ya Bafirika kuba zaali zifa mangu olw’enkula y’ebigere.
 

Abagagga abakoze ssente mu kasasiro

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...

Nyombi ng'alaga olubuto mw'afulumira.

Afulumira mu kapiira alaajanye

OMUVUBUKA ow'emyaka 32 alaajana oluvannyuma ly'okumulongoosa ekyenda n'atawona nga kati yeetaaga obukadde butaano...