TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Lubigi: Maama ayonsa abaana abasoba mu mitwalo 20 olunaku

Lubigi: Maama ayonsa abaana abasoba mu mitwalo 20 olunaku

Added 31st October 2013

OMUGGA Lubigi gwa byafaayo mu Buganda. Wabula w’osomera bino ng’essaawa yonna bujja kukya nga gusaanyeewo!



Bya Edward Sserinya ne Dickson Kulumba 

OMUGGA Lubigi gwa byafaayo mu Buganda. Wabula w’osomera bino ng’essaawa yonna bujja kukya nga gusaanyeewo! Edda Lubigi yawaniriranga byabuwangwa, kati awaniridde ebyenfuna by’abantu bangi mu Kampala.

Abamu bakimako mazzi ge bakozesa mu maka gaabwe ne mu wooteeri, abalala bagulimamu mmere ng’amayuuni ate abandi ne bagukubamu amatoffaali.

Bw’okwata ku luguudo oludda e Hoima baagufuula kirombe, ate aba bodaboda abagulinako siteegi n’obagamba okugusaanyaawo bayinza okukugobya amayinja anti nabo we baggya ekyokulya.

Ye abakazi abalinako ebirabo by’emmere b’oyinza okugoba ku Lubigi?

Ab’akatale batundira ku Lubigi era akawungeezi abasuubuzi baba ku mudido.

Kale bw’oyita Lubigi, maama ayonsa toba mukyamu! Bangi bandibonyeebonye singa taliiwo. Asalako akalippagano k’ebidduka n’oyita ku luguudo lwa Northern Bypass Lubigi y’akuyamba, ye luno olupya olwa Ntebe Express Highway olugenda okuba olw’okusasulira nalwo luyita mu Lubigi, kale olaba bw’agenda n’okutandika okuleetera gavumenti ensimbi?

EBYAFAAYO BYA LUBIGI
Nnaalongo Joyce Nakawuma Nkyawa omu ku bamanyi ebyobuwangwa agamba nti, omugga guno baazaala muzaale, maama waagwo ye Nalwanga. Agamba nti omugga baguzaala Bukoto wano mu Kampala, nti mulongo y’ensonga lwaki mulimu embuga z’abalongo okuli eya Lubigi, eya Bemba n’eya Mayinja.

Erinnya Lubigi, lyava ku kuba ekkung’aanyizo ly’emigga emingi. Kumpu obugga n’obwala obutonotono bwonna buyiwa mu Lubigi.

Olw’okuba edda baagulongoosanga era nga gulabika bulungi olwo abantu abaaguyitangako nga bagamba nti ‘Bannange omugga guno bagubigika emyala’ olwo erinnya Lubigi nga baliggya ku kubigika we lyava.

Abatundirako amatooke bangi

Nnaalongo Nakawuma agamba nti, ng’omugga omulala gwonna oguba n’obulombolombo ne Lubigi amumanyiiko akalombolombo kamu ak’obutanaabirwako ng’omuntu yeeyambudde kuba oli mwana kasita omweyambulira olwo oba omukunamidde.

MMENGO YALI EGUYONJA
Stanley Nsubuga, Ssentebe wa Nabweru South 1V agamba nti, “Nazaalibwa mu 1953 era amaka ga kitange nga galiraanye omugga guno, nsomye era nkuze ndaba Lubigi.

Omugga guno gufubutuka mu bitundu by’e Kanyanya ne gujja mu Nsooba-Kyebando, guugwo ku Kaleerwe olwo ne guyingira Bwaise ate ne gugenda ne gusalamu mu ludda e Hoima ne gweyongerayo e Busega n’e Nateete, kale abantu abali ku Lubigi bali eyo mu mitwalo.

Bano basima musenyu mu Lubigi ne bagutunda.

Mu myaka gy’ataano, Lubigi gwali mugga muteefu, ng’okuva ewa Bakuli okusalamu okudda e Hoima oluguudo nga lwa ttaka nga bakozesa malamu okuluddaabiriza.

Ennaku zino omwala guno gumanyi okubooga, naye edda si bwe kyali kuba Mengo munisipaali baali bagulongoosa era amazzi nga gatambula bulungi okuva e Nsooba-Kyebando okugenda okutuuka ku luguudo oludda e Mityana, era tebagukkiriza kuzika okutuusa mu 1966 enkola y’okuguddaabiriza lwe yakoma nga bamaze okuwang’angusa Ssekabaka Muteesa II. Kyokka era nga teguliiko mayumba nga bw’olaba baguzimbyeko ennaku zino.

Okulekera awo okugogola omwala guno, amazzi nago gaatuuka ne gasoberwa olwo ne gatandika okwenoonyeza ekkubo, n’okuyingirira amaka g’abantu e Nabweru, Bwaise n’awalala.

Enkuba bw’etonnya abatuuze abali okumpi ne Lubigi abamu basenguka.

Lubigi mugga ogwakung’aanyanga emyala mu Kampala

WILLIAM MUTYABA
Ono naye aludde ku Lubigi era agamba: Natandika okulaba omugga guno mu 1945 olwo lwe ntandika okubeera e Kampala ewa mukulu wange Erunayo Ssemakula. Twali tubeera awo okuliraana Lubigi, era na kati we mbeera naye nga obutaka bwaffe buli mu Bulemeezi.

Mwattu okufaananako n’ennaku zino nga waliwo abalimiramu, naye ate edda baalimirangamu nnyo nga kuliko n’ekitundu okuli emmwaanyi, lumonde n’amayuuni naye kati emmwaanyi tezikyaliwo. Kati ku ssaawa eno abantu basinga kulimiramu mayuuni.

Oluguudo lwa Entebbe Express Highway oluzimbibwa mu Lubigi.

Mutyaba agamba nti, edda abantu nga bazimba beebalama omugga guno, naye ekibuga bwe kyagenda kisembera olwo abantu okuva eri e Nateete okujja okutuukira ddala e Bwaise ne batandika okuzimba ku mugga ate kino okubaawo nga n’okugogola omwala byakoma dda kale ne kivaako omugga Lubigi gwe bayogerangako okuba omuteefu era okwava n’enjogera eya ‘Oteese nga aga Lubigi’ olwo ne guva ku buteefu bwago ne gutandika okulumba abantu ne guyingira mu mayumba gaabwe.

LUBIGI WA NGERI NGA SIITI
Ssentebe Nsubuga agamba nti, okumanya nga Lubigi mugga gwa ngeri, bwe gaba maka oyinza okumuyita maama azaala akuza anti abantu bangi abamwetoloodde mwe baggya ekyokulya.

Lubigi bw’afaanana ng’ayita mu Kawaala.

Abamu balimamu mayuuni, abalala bakubamu matoffaali ate abandi batundiramu musenyu, kale amaka mangi g’alabirira.

Ate nno bwe kituuka ku bagenda ne beeyambululira ebisiraani mu Lubigi n’ossaako n’abo abagendayo okusaba emikisa nabo tobala, kye tutamanyi obanga ddala bwe bagisaba bagifuna, naye era ssebo bangi bagezaako.

Wabula waliwo Lubigi abamwasimula obugolo naddala ng’enkuba etonnye gubooga ne guyingira mu mayumba g’abantu, olw’obukambwe bwa Lubigi abamu ku bantu abamusenga okumpi nga bamuyita munnaabwe yabalumba n’abagoba mu mayumba gaabwe!

Kale eyo y’ensonga lwaki bw’otandika okwogera ku Lubigi waliwo abasanyuka n’abatayagala kuwulira bimukwatako.

Ab’ekitongole ky’amazzi bazimba mu Lubigi.

B’ANI ABATTATTANA LUBIGI?
Omukwanaganya w’ensonga z’obutonde mu minisitule y’ebyettaka,obulimi n’obutonde bwensi mu Bwakabaka bwa Buganda, Muky. Carol Kizibaziba agamba nti okusenga kw’abantu mu kitundu kino, y’emu ku nsonga ezittattanye olutobazzi luno n’agamba nti bangi bakikola awatali kusooka kufuna lukusa okuva mu batwala ensonga z’obutonde okusooka okubalambika engeri gye bayinza okukozesa olutobazi nga luno kyokka nga tebonoona butonde bwansi.

Kizibaziba agamba nti ensi nga bw’egenda ekulaakulana, kitegeeza nti kyonna ekikolebwa kikolebwa ku bintu bya butonde naye okwekenneenya okw’amaanyi kulina okukolebwa abakugu okulaba nga pulojekiti ezikolebwa mu lutobazzi nga ey’okuzimba oluguudo lwa Entebbe Express Highway nga tezirina buzibu bwe zireeta.

Bassaako ne ppaaka ya takisi, abalala boolezaako mmotoka.

Lubigi: Maama ayonsa abaana abasoba mu mitwalo 20 olunaku

More From The Author

Eby

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lutaaya Mukomazi

Minisita wa Kabaka eyafudde...

Edward William Lutaaya Mukomazi, eyaliko minisita wa Buganda avunaanyizibwa ku byobulimi, ebibira n'obutonde bw'ensi...

Dr. Bbosa owa Ebonies

Bannange nkyali sitede sinn...

Munnakatemba omututumufu Sam Bagenda amanyiddwa nga Dr. Bbosa owa Ebonies avuddeyo n'asambajja ebigambibwa nti...

Munnamateeka Nalukoola

Looya avuddeyo n'awagira N...

Munnamateeka Erias Luyimbazi Nalukoola avuddeyo n'awagira Magie Kayima (Nabbi Omukazi) okusaba obukadde obusoba...

Isma ayogedde ku bulwadde b...

Isma ayogedde ku bulwadde obuluma Sheikh Muzaata,  Loodi meeya Lukwago n'ebyobufuzi ebyenjawulo mu ggwanga.

Bobi Wine nga yaakatuuka e Buliisa.

Bobi alaze bw'agenda okugab...

ROBERT Kyagulanyi Ssentamu ' ‘Bobi Wine' asuubizza ab'e Bunyoro nti ng'afuuse Pulezidenti wa Uganda, abantu abagobeddwa...