TOP

Emmundu ezitta abasuubuzi ziva wa?

Added 14th November 2013

ABASUUBUZI Bannayuganda 24 be battiddwa omwaka guno gwokka mu S. Sudan, emmotoka 14 ne zitwalibwa wamu n’okufiirwa emmaali ebalirirwamu obukadde bwa doola 15.



Bya Herbert Musoke

ABASUUBUZI Bannayuganda 24 be battiddwa omwaka guno gwokka mu S. Sudan, emmotoka 14 ne zitwalibwa wamu n’okufiirwa emmaali ebalirirwamu obukadde bwa doola 15.

Okumanya embeera mbi eri abasuubuzi Bannayuganda, ekibiina ekigatta abasuubulira e Juba ekya Uganda Traders Association of South Sudan (UTASS) kyatutte n’ekiwandiiko e Tanzania nga kigezaako okuziyiza S. Sudan eyasabye nayo efuulibwe mmemba mu mukago gw’amawanga ga East Afrika.

Era ssentebe w’ekibiina kino, Patrick Ntege Walusimbi yeebuuza lwaki S. Sudan yandikkiriziddwa mu mukago guno ng’abaserikale baayo be batulugunya abasuubuzi Bannayuganda n’okubanyagako ebyabwe.

Wabula omusomi wange kimanye nti omwaka 2013 gubadde mubi nnyo eri abasuubuzi Bannayuganda. Mu Uganda mwokka, abasuubuzi abasoba mu 62 be baakattibwa, bano bakubibwa masasi, butayimbwa, okubatuga oba obutemu obw’engeri endala zonna.

Lwaki battiddwa nnyo omwaka guno? Ani abatta? Abafa basinze kuva mu kitundu?

Dr. Johnson Byabashaija, akulira eby’amakomera mu Uganda agamba nti ku bamenyi b’amateeka ab’emisango eminene 200 agateereddwa omwaka guno, 45 bazzeemu ne bakwatibwa olw’okuzza emisango eminene omuli okutta n’okuddamu okubba.

Agamba nti bano be bavuddeko obutemu okweyongera kubanga ssente bw’ebuze ate ng’abamenyi b’amateeka nga bano bateereddwa okuva mu kkomera, kye basooka okulowoozaako kya kutta abalinawo ku ssente bazibanyageko.

Dr. Byabashaija alowooza nti ekibonerezo ky’okuwanika ku kalabba kyandibadde kiddamu okussibwa mu nkola olwo abatta bannaabwe lwe banaatya nti nabo baakuttibwa.

Naye ng’ekibonerezo nga kino kiyambira wa omusuubuzi nga Innocent Birimumaiso eyali akola mu Kolugi supamaketi e Nateete, eyattibwa nga September 13, omutemu bwe yagiyingira okubba ssente n’ebyamaguzi ebirala?

Mu August, omusuubuzi Rogers Kawuki eyali akola mu Kings Bet e Bukoto, ababbi baamuteega ne bamukuba amasasi, ne bakuuna ne ssente ezitamanyiddwa muwendo.

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala, Ibn Ssenkumbi agamba nti wadde bakutte be bateebereza okutemula abasuubuzi abawerako, naye era babata kubanga tewaba bujulizi.

“Kirabika abatemu ennaku zino bafunye obukodyo obwenjawulo kuba we baddiza emisango tusangawo obujulizi butono ddala,” Ssenkumbi bw’agamba.

Emmundu ze bakozesa  baziggya wa?

Ssenkumbi agamba nti emmundu nnyingi ezitali mu mateeka mu Uganda kubanga tuliraanye amawanga agalimu entalo n’obusambattuko.

“Tulina obuzibu bw’entalo eziri mu nsi ezituliraanye nga South Sudan, DR Congo, Somalia n’endala ate nga tetulina ngeri esingako ey’okukuumamu nsalo zaffe okutangira abayingira n’emmundu ekivuddeko emmundu ezitali mu mateeka okweyongera mu Uganda”, Ssenkumbi bw’agamba.

Kaminsona wa poliisi avunaanyizibwa ku byokwerinda n’emmundu z’obwannannyini, Bazil Mugisha agamba nti emundu ezimu ziggyibwa mu bantu ababeera baziweereddwa mu mateeka kyokka ne baziragajjalira gamba ng’abazireka mu mmotoka nga bagenda okukyakala oba okugula ebintu olwo ababbi ne bamenya mmotoka zaabwe.

Abamu babakubye masasi, abalala muliro

Omuduumizi wa Poliisi mu Uganda, Maj. Gen. Kale Kayihura agamba nti emmundu ezimu ezikozesebwa mu butemu kizuulibwa nti ziba zaafunibwa mu mateeka, nti kyokka n’endala nnyingi eziyingira mu ggwanga zisajjudde ensonga eno.

Omukulu gwa www.gunpolicy.org, gulaga nga mu Uganda mulimu emmundu ezisoba mu 400,000, nga ku zino emmundu 2,770 ze ziri mu mateeka ate ezisoba mu 200,000 ziriwo mu bukyamu.

Wabula lipoota y’ekitongole ekivunaanyizibwa mu by’embalirira (National Bureau of Statistics), eya 2012 eraga nga emmundu 2270 ze ziri mu mateeka mu Uganda.

Omuduumizi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Andrew Felix Kaweesi agamba nti okuva mu June baakakwata ababbi abasoba mu 40 nga n’abamu basangibwa n’ebissi.

Okumanya embeera mbi, gye buvuddeko Gen. Kayihura yayisa ekiragiro okukuba okutta ababbi abasangibwa n’ebissi, naye era kino tekirobedde batemu kweriisa nkuuli.

 

okufuna emmundu

Kaminsona Mugisha agamba nti omuntu okufuna emmundu mu Uganda si muniino, kubanga alina okuyita mu mitendera egy’enjawulo, mu bukulembeze obutwala ekitundu gy’abeera okukakasa nti ddala mutuufu okuwa emmundu era ajja kugikozesa bulungi.

Okusookera ddala olina okuba ng’osussa emyaka 25. Ogenda n’ofuna ffoomu ezisaba okufuna emmundu ku kitebe kya poliisi ekikulu, z’ojjuza n’otwala ku LC1. Olukiiko lwa LC1 lwonna lulina okutuula okusalawo oba lukusemba okufuna emmundu okusinziira ku nneeyisa yo n’ebyafaayo bwa famire yo.

Bwe lubeera na lukkirizza n’ogenda ku LCII nga nabo bakola ky’ekimu. Ffoomu zino olina okuzitambula ku poliisi etwala ekitundu (DPC), ggombolola, disitulikiti, RDC, DISO n’oluvannyuma n’ozizza ku kitebe kya poliisi abasindika ba mbega okutuukira ddala ku bujajaabwo!

Bwe bamala okukakasa nti ddala osobola okubeera n’emmundu, ng’ebyafaayo byo birungi, eneeyisa mu bantu, osobola okufuga obusungu, tolina gw’owalaggana naye era ng’olina emirembe  mu maka go, nga ffoomu zino zisindikibwa ew’omuduumizi wa poliisi mu ggwanga , naye n’aziweereza ewa Minisita w’ensonga z’omunda alina okusalawo okwenkomeredde.

Bw’omala okukkirizibwa okufuna emmundu olina okugula emmundu yo.  

Ssente zisinziira ku kika ky’emmundu ky’oyagala naye nga zitandikira ku 2,500,000/- ne 6,000,000/- era otwalibwa mu kutendekebwa okwenjawulo mu ngeri y’okweyisaamu ng’olina emmundu n’amateeka amalala agagifuga wadde ng’obadde mu serikale.

Wabula ekyebuuzibwa nti LC ziri ludda wa ezikyatuula okusalawo abafuna emmundu ne be bazimma? Kuba LC ezisinga ziri bbiri bbiri, buli omu agenda ku LC gy’ayagala emukolere ku nsonga zaayo.

Gen. Kayihura agamba nti kyetaagisa okulondoola obulungi emmundu ezigabibwa n’okukuuma ebiwandiiko byazo mu ngeri esingako.

Okuva omwaka oguwedde, Poliisi ebadde ewandiisa emmundu eziri mu bantu n’ebitongole ebikuumaddembe, naye amasasi kwe banditegeeredde ani atta abasuubuzi, ebisosonkole byago si birambe!

Abatemuddwa mu 2013

 

January 8:  Bwire omuvuzi wa takisi ku siteegi y'e Nyendo- Masaka yasalwako malaaya omutwe.

January 10: Omusuubuzi w'omu Kampala Juvenal Nsenga yafiira mu ddwaaliro eriyitibwa Paragon erisangibwa e Bugolobi. Mukyala we Jackline Nsenga ye yamutomerera ku ggeeti mu maka gaabwe.

January 13: Abantu mwenda e Kyebe- Rakai battibwa. Ku bano kwaliko Pr. Steven Mugambe, mukyala we n'abalala okwali Noelina Nalinya. Abasinga baali basuubuzi.

January 15: Nnaggagga Dr. James Mulwana 76, yafiira mu ddwaaliro e Nakasero.

January 23: Omuwala Agnes Nalinya 32 ow'e Ganda- Nansana mu disitulikiti y'e Wakiso yattibwa. Ono ye yali nnanyinni Aggie's Restaurant & Takeaway mu kitundu kino.

January 23: Omusuubuzi Siraje Kaweesi eyali akolera mu Kisenyi, yafumitibwa ekiso mu kifuba.

February 1: Julius Ndora eyalina situdiyo y'ebifaananyi mu Kimwanyi zooni- Katanga e Wandegeya, yattibwa ababbi abaamufumita ekiso.

March 1: Omusuubuzi w’e Kinoni, Edisa Namayanja 43, yattibwa abantu abamulimba nti balina omukyala agenda okuzaala bwebatyo ne bamusaba ajje abatwaleko.

March 5: Abasajja basatu bateega Steven Ssenkoma, eyali akulira kkampuni entunzi y’ettaka eyitibwa Ritz Property Consults ku Namaganda Plaza mu Kampala. ku ssaawa 12 ez'oku makya ne bamutemaatema. Ssenkoma 50

March 8: Omujaasi wa UPDF Pte Okot yatta bajaasi banne bataano n'abantu abalala bana e Bombo. Ku kwaliko Maama Jackie eyali nnannyinni bbaala abajaasi bano mwe baali banywera.

March 11: Omusuubuzi Rogers Atugonza 29, eyalina edduuka mu zooni eyitibwa Kiduukulu e Hoima yattibwa biso ebyenda ne biyiika.

March 15: Amon Mwebesa 36, eyali nnannyini Mercy Enterprises erya mobile money mu Ddungu zooni- Kisaasi, yakubwa masasi.

March 16: E Kawempe omusajja yeefuula azze okuzanya zzaala mu kifo ekiyitibwa Big Win Slot Machine n’afumita Ibrahim Musoke ekiso n'amutta. 

March 23: Brave Aineamani 22, yattirwa Kamwokya ne bamunyagako obukadde 20 mu dduuka lye mu Kisenyi II Zooni.

March 24: Hajj Mohammed Mpindi Kizza, eyalina edduuka lya sipeeya wa mmotoka ewa Bakuli, yattibwa n'aba famire ye abalala basatu. Yalina n'amaka amalala e Makerere- Kavule mu Kiggundu zooni.

March 26:  Poliisi yategeza nga bweyali ekutte omusajja Mustapha Musoke 'Black Heavy' ono yali abba n'okutta abantu. Bamwogezza nategeza nga bwe yatta Omuyindi e Bukesa- Mmengo n’amunyagako obukadde 35. Yatta omukuumi wa Dr. Wambatya e Kitebi n'anyaga ssente. Yatta omukuumi w'e Nalukolongo n'anyaga ssente era yateega abasuubuzi e Mutukula n’abba obukadde 250 era yatta n'abantu abalala babiri.

April14: Meddie Tamale, nnannyini City Junior School ku Kalerwe era omukozi wa MTN, yakubwa masasi e Mukono.

May 9: Abatemu baasima ekituli mu nju ne bayingirira Isma Ssemaganda ne Aisha Nagadya ab’e Kayebe- Nangabo ne babasala obulago ng’embuzi.

May 11: Omusuubuzi Muslim Kitanda eyalina ne mobile money, yakubwa amasaasi ku ggeeti y’amaka ge e Nansana mu Ochieng zooni ( zooni 8)

June 2: Omusuubuzi Ismail Kawooya ow’e Najjeera- Kira yasirikkira mu muliro wamu n’abaana be Shakira Nakubulwa 6, ne Saidah Namale. 

June 3 : Omusuubuzi w’emmotoka mu Kampala, Paul Kalema 35, yakubwa ennyondo n’afa. Yali wa Hamroad Empire Foundation.

June 14: Abazigu bakuba Abdul Bampigga eyali atunda amafuta ku ssundiro lya Dawson e Nyendo- Masaka.

June 17:  Omusuubuzi w’emmwanyi e Kyotera, Charles Yiga 34, yattibwa mu bukambwe ku ssaawa 10 ez’ekkiro.

June 26: Micheal Sekajja 43, atunda sipeeya e Bwaise, omutuuze mu Maganjo A, yakubwa abaserikale ba poliisi ne bamutta.

July 17: Ismail Ssebbi ow’e Kitintale Zooni 9, yakubwa amasasi. Yali wa kakiiko ka LC nga wa byakwerinda mu kitundu kino.

July 18: Godfrey Sekajugo, eyali omukozi wa State House yakubwa amasasi mu Ddamulira Bar e Mutundwe.

July 27: James Tamale, 22, ow’e  Kitintale Zooni I, abatemu baamuttira Mutungo ne bamubbako ne pikipiki ye.

July 30: Mathias Nteziryayo, eyali akulira bambega ku poliisi e Bulenga  yattiobwa batemu.

August 2:  Steven Ssuuna 31, eyali owa BV Motors okuliraana Petrocity e Ndeeba era manerenda yaggyiira mu nju gye yali yaakayingiramu e Lweza mu zooni A. 

August 2: Gaddi Sulukumana, owa poliisi y’e Seeta yattibwa masasi bwe yali akola ku luguudo lw’e Ntinda.

August 7: Swaibu Kalibbala, omusuubuzi w’embaawo e Mukono, yakubwa amasasi nga bukya. Abaserikale ba poliisi y’ebibira  be baamukuba ne bamutta.

August 8: Rogers Kawuki, eyali omukulu mu  Kings Betting Investment Company yakubwa masasi e Bukoto.

August 10: Hajj Siraje Ssenyonjo ow’e Seeta baamuyiira asidi n’afa.

 

Emmundu ezitta abasuubuzi ziva wa?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...

Nyombi ng'alaga olubuto mw'afulumira.

Afulumira mu kapiira alaajanye

OMUVUBUKA ow'emyaka 32 alaajana oluvannyuma ly'okumulongoosa ekyenda n'atawona nga kati yeetaaga obukadde butaano...