TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Bannabuddu bawambye Kampala mu byobusuubuzi: Ssebalamu yakoma mu S1

Bannabuddu bawambye Kampala mu byobusuubuzi: Ssebalamu yakoma mu S1

Added 21st November 2013

SISINKANA John Ssebalamu, omugagga eyatandiikiriza enkola y’akeedi mu Kampala mu myaka gy’ekyenda. Ono y’omu ku bagagga abaava e Masaka ne bazingako Kampala era ne bamwezza nga Joseph Mutebi bw’akiraga.



SISINKANA John Ssebalamu, omugagga eyatandiikiriza enkola y’akeedi mu Kampala mu myaka gy’ekyenda. Ono y’omu ku bagagga abaava e Masaka ne bazingako Kampala era ne bamwezza nga Joseph Mutebi bw’akiraga.

W’OSOMERA bino nga Ssebalamu y’omu ku bagagga abatono ennyo abali mu Kampala akuumye ssente emyaka egisoba mu 30. Abalala bonna beeyita bagagga kyokka ng’amabanja gabakoma mu bulago, babaatisa ng’enjogera bw’eri!

Ye nnannyini Freedom City, ekizimbe ekyomulembe e Najjanankumbi ku lw’e Ntebe ekivugirwako n’emmotoka waggulu era ekirimu buli kimu ekyomulembe ky’oyinza okulowoozaako.

Freedom City, ekizimbe kya Ssebalamu e Najjanankumbi. Mu (katono), Rwakataka ne John Ssebalamu ( ku ddyo) bonna bava Buddu.

Ssebalamu yakoma mu S1

Ssebalamu agamba nti bamuzaala Kasanje, Masaka era gye yakulira. “ Eby’okusoma nnabikomya mu S1 mu 1982 ne ntandika okutunda amatooke n’endagala. Nga mbigula e Kasanje ne mbitunda mu Nyendo ate nga nkozesa kagaali!

Ebiseera ebyo amafuta gaali ga kkekwa, nze ne ndabawo bizinensi kwe kutandika okugatunda mu Masaka mwonna.

Nga nsiba ebidomola by’amafuta bina ku kagaali ne ntambula obutale bw’omubuulo nga bwe ngatunda nga ndi wamu ne baganda bange.

Oluvannyuma lw’emyaka mitono, twadda e Masaka ne tufuna emidaala ne tutandika okutunda engatto, ssente bwe zaawera ne nneegatta ne mukulu wange John Bosco Muwonge ne tujja e Kampala okusuubula,” bw’agamba.

Bino byaliwo luvannyuma lwa 1986 nga Museveni awambye gavumenti ya Tito Okello Lutwa.

“Nga tugula engatto mu Kampala ne tuzitunda e Masaka, ate nga kyali kyangu kubanga waali tewakyali loodibbulooka. Nzijukira ebiseera ebyo n’ebyamaguzi nga bigula nseko. Okugeza nga ppeya y’engatto z’amasanda eri ku 25,000/- mu Kampala!,” bw’ajjukira.

Essomero lya Kampala SS lya sarah Nkonge (mu katono). Ono alina ekizimbe ekirala ku Nasser Road.

Agamba nti omwaka gwa 1988 we gwatuukira nga bamanyiddwa mu Masaka. Mukulu waabwe Nayiga, eyali ababudaabuda n’okubawa ku magezi yafa mu 1989. Ono yalina amaduuka abiri ag’engoye mu Masaka naye ng’asuubula mu Kampala.

“Nayiga ye yatusaba okumwegattako mu 1988 era nzijukira nze nnalima obukadde 20 mu ssente enkadde, bwe twazikyusa mu  nga zivaamu 200, 000/-. 

Ssebalamu agamba: Mwannyina Nayiga bwe yafa nneegatta ne mukulu wange Muwonge okuddukanya amaduuka ge, bwe gaagaziwa ng’akatale k’e Masaka tekakyatumala kwe kudda e Kampala.

Famire emu ezinzeeko Kampala 

Ssebalamu agamba nti mu 1992 we yajjira mu Kampala yalina kapito wa bukadde 100.  Ezo zaali nnyingi mu kiseera ekyo kubanga doola ng’eri ku 900/-.

Nabbaale ng’ali ku bizimbe bye.

Yajja ne baganda be  Bosco Muwonge, Drake Lubega, Segawa atunda engatto ne mwannyinaabwe  Christine Nabukeera bonna abalina ebizimbe mu Kampala!

Ssebalamu ne Bosco Muwonge be bamu ku basuubuzi Bannayuganda abaasooka okusuubulira e Dubai. Nga baleeta endibota ze baayitanga daziini.

“E Dubai abasuubuzi baayo abaabanga n’ebyamaguzi ebingi nga bamanyi okutuwola ku bbanja ne tubasasula oluvannyuma.  Edduuka lyaffe eryasooka mu Kampala lyali ku kizimbe kya Skylite  ekiriraanye awaali bbaasi z’Abaganda. 

Twawa bangi essuubi ly’okukola bizinensi mu Kampala era abagaggawadde nabo bangi,” bw’agamba.

Bizinensi y’ebizimbe

Ssebalamu agamba nti wakati wa 2007 ne 2010, ssente z’ebizimbe n’obupangisa zaalinnya nnyo mu Kampala.

Amaka ga Hajji Swaibu Nseera ( mu katono) owa Sesa Arcade.

“Olw’okuba nnali mmaze ebbanga nga nneegomba ekizimbe kya Garden City kwe kusalawo nange okuzimba ekizimbe ekyange okuli ebifo ebisanyukirwamu, abasuubuzi kwe basobola okufuna amaduuka n’ebirala.

Nnali nguze yiika ssatu n’ekitundu e  Najjanankumbi ku lw’e Ntebe okuva ku Buganda Land Board  ku kakadde ka ddoola kamu era kwe kuzimbako Freedom City. 

Singa nnali sirina kkampuni eyange ezimba osanga nnandisaasaanyizza obuwumbi 45 okuzimbawo naye olw’okuba nneegulira buli kimu okuva ku musenyu kino kyannyambako.

Pulaani nze nnakyekubira, nze nnalondoola okukizimba! Okusooka nnali njagala ebeere wooteeri naye ne nkyusaamu.

Ku Freedom City kuliko supamaketi esinga obunene, bbanka eziwera mukaaga, sineema, ebiriiro n’ebirala bingi.

Ssente ezaakizimba nnaziggya mu bbanka ne ngattako ezange ze nnatereka,” bw’agamba.

Ham Towers e Makerere ya Hamis Kiggundu mu katono.

FAKITOLE Y’ENGOYE

Ssebalamu agamba nti 2004 we yatuukira ng’asuubula engoye nnyingi okuva e  China. “Pulezidenti yali atutegeeza lunye nti mu kifo ky’okusuubula e China naffe tusseewo amakolero tuwe abantu emirimu ate nga tujja kufunamu nnyo.

Nneegatta n’abagagga abalala ne tutandika ekkolero erya SEBCO  erikola engoye. Naye ekitongole kya URA kyannemesa kuba kyabalanga bubi emisolo ng’ebikola amapeesa n’engoye babissaako omusolo mungi era mu 2006 ekkolero ne ndiggalawo.

Naddayo okusuubula engoye nga bwe nnakolanga edda nga nziggya Dybai n’e China. Naye na bino nabireka ne nneemalira ku ttaka n’amayumba.

Engeri gye yayingirira ogw’ebizimbe n’ettaka

Ssebalamu agamba nti ekitongole kya  Custodian Board, ekyakwasibwa obuyinza ku bizimbe by’Abayindi bwe kyatandika okubibaddiza, bangi baali tebakyabyagala, nga balina obulamu obweyagaza yonna gye bali nga tebaagala kudda mu Uganda.

Wavamunno ne Hajji Swaibu Nseera owa Sesa Arcade.Ku (ddyo) ye Joseph Yiga owa Steel & Tube

“Baatandika okutunda ebizimbe byabwe ku ssente ntono. Ng’oyinza okufuna ekizimbe wakati w’obukadde 72 ne 180, eza luno wakati w’obukadde 200 ne 500. 

Abaali bafunye liizi ku bizimbe bino tebaalina ssente zibigula ku Bayindi. Eno y’engeri abagagga nga Sudhir Ruparelia ne Karim Hirji gye baafunamu ebizimbe ebingi bwe biti mu Kampala. 

Mu  1995, nnazimba Capital House, ekizimbe kyange ekyasooka mu Kampala. Kiri ku Ben Kiwanuka Street. Sitayiro nnagikoppa Dubai. Mu bbanga ttono abalala baali bankoppye.

Na buli kati nnejjusa lwaki ssaagula oba okuzimba ebizimbe ebingi ebiseera ebyo, kuba kati bbeeyi yaabyo erinnye nnyo.

Wakati wa 1995 ne 1998, nnagula ebizimbe ebirala bingi mu Kampala, naye ate nnabitunda dda.

Nnazimba Naiga Chambers ne Mini Price ku Kampala Road. Ekibi nti bbeeyi y’okuzimba ekizimbe yeeyongedde nnyo okuva mu mwaka gwa 2000.

Waliwo bye ntunze omuli  Carlton Hotel n’eyali Container Village naye nnabitunda.”

Bizinensi ya famire

Ssebalamu agamba nti bakolagana nnyo mu famire yaabwe. “Ffe twakizuula nti bw’obeera omu toyinza kugenda wala. Oyinza okuba omulungi mu kulaba omukisa gwa bizinensi naye ng’olimu okutya, weetaaga muganda wo ataliimu kutya okutwala ekirowoozo ekyo mu maaso,” bw’agamba.

Abagagga abava e Buddu

 

  • Gordon Wavamunno owa Spear Motors , WBS, Wava Water, n’ebirala bingi
  • Drake Lubega owa Qualcel Terminal n’ebizimbe ebirala ebisukka mu 25 mu Kampala wakati
  • Christine Nabukeera  owa Nana Enterprises. Alina ebizimbe 4 ku Nabugabo, wakati mu kibuga alinawo 7.
  • John Bosco Muwonge  owa Cooper Complex, Kisenyi Bus terminal, Namayuba Taxis park, alina amajaani n’ebizimbe ebirala ebisukka mu 20 mu Kampala.

Naiga Chambers eri mu kitono ya Ssebalamu.

  • Deo Kaketo owa JBK Plaza ku Luwum Street n’ebizimbe ebirala ebisukka mu 5 mu kibuga wakati
  • Kiyimba  owa Ambiance atunda ebyuma bya disiko ewa Kisekka alina ambiance  okuli ey’e Masaka, Mityana n’enddala gy’azimba ewa Bakuli mu Kampala
  • Ephraim Ntaganda  owa E .Towers ku Kampala Road , ekyuma kya ssabuuni e Kyengera n’ebizimbe ebirala 
  • Guster Lule Ntakke owa Ntake bakery , Nalule acarde e Nakaseero n’ebizimbe ebirala ebisukka mu 10 mu kibuga wakati.
  • BMK Kibirige owa Hotel Africana n’ebizimbe ebirala mu kibuga kyonna ebisukka mu 30.
  • Sk Mbuga  avuga Hummer ebbiri mu kibuga eziriko SK mbuga
  • Jamil Ssentongo  ono ayiwaayiwa ssente ennyo ennaku zino mu Kampala .
  • Haji Magoba ow’omu Ndeeba n’ebizimbe ebirala
  • Peter Mayiga, Katikkiro ekitiibwa kye kimala okumufuula omugagga
  • Asuman Ssebulondo owa Bulondo Apartments  e Kawempe
  • Joseph Yiga owa Steel and Tube  Industries ekola amabaati  alina ebizimbe  kumpi buli nsonda ya mu kibuga
  • Teopista Nabbaale alina Hotel ku Martin road n’ebizimbe mu kikuubo 
  • Haman Kasozi  owa Sand beach Nabugabo n’ebizimbe ebirala bingi e Namasuba ne Najjanankumbi
  • Lutalo  nnannyini kizimbe okuli Ken Joy Super market atunda sipeeya mu Kampala
  • Brig Elly Kayanja alina ttenda z’adduukanya kumpi mu buli katale ne ppaaka mu kibuga
  • Flex Kabuye muto wa Brig Kayanja eyawasa embaga ey’akawumbi kalamba gye buvuddeko.
  • Dick Kizito owa Kizito Towers n’ebizimbe bingi e Naggulu, Muyenga ne Kansanga

 



Bannabuddu bawambye Kampala mu byobusuubuzi: Ssebalamu yakoma mu S1

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...