TOP

Ani ayokya akatale ka Park yard?

Added 5th December 2013

GUNO mulundi gwakusatu okuva mu 2009 ng’akatale ka Park Yard gakwata omuliro emmaali y’abasuubuzi n’esaanawo.


 



Bya HERBERT MUSOKE

GUNO mulundi gwakusatu okuva mu 2009 ng’akatale ka Park Yard gakwata omuliro emmaali y’abasuubuzi n’esaanawo.

Wabula omusomi wange weebuuze nti ani ayokya akatale ka park Yard? Lwaki buli lwe kaggya wasooka kubaawo butakkaanya ku ttaka oba mu basuubuzi?

KIKI EKIVAAKO OMULIRO?

Abasuubuzi bangi bagamba nti waliwo olukwe lw’okubagoba mu kifo kino olwo abagagga mu Kampala bakyeddize nga bwe kyakolebwa ku ppaaka empya abagagga bwe baagigabana ne bwe kyali kikoleddwa mu katale k’ewa Kisekka okutuusa Loodi Meeya Erias Lukwago bwe yakasuuza omugagga.

Abasuubuzi kino bakissa ku ngeri omuliro gye guzze gusaanyaawo emmaali yaabwe.

JB Lukwago, omu ku basuubuzi mu katale kano agamba nti bw’ogoberera engeri omuliro gye guzze gukwatamu olaba nga waliwo ekkobaane kubanga emirundi gyonna omuliro gubadde gukwata ku wiikendi era nga ne ku mulundi guno kirabika nga baali baagala kukookya ssaawa zino naye ne balemererwa.

“Abagagga bangi abaagala okwezza ettaka ly’akatale kano. Waliwo n’ekizimbe ekiri emabega waffe, watya nga baagala kutusengula bakyerule?,” bw’abuuza.

Kyokka nnannyini kizimbe kino, Hamis Kiggundu nnannyini Ham Towers e Wandegeya agamba nti, “Abasuubuzi baleme kunneesibako kubanga nze nsinze okufiirwa muj muliro guno.

Ekizimbe kyange omuliro gukinafuyizza, nnina kukiddamu. Nnali nnamala dda okutikka eby’okusereka, bijja kutuula awo nga tewali muliro gutambula. Ekizimbe kye nzimba nkizimbira basuubuzi, lwaki ate mbafiiriza?,” bwe yabuuzizza.

Zam Nakirijja agamba nti “Emiriro gyonna egizze gitusaanyaawo abakulembeze bazze batusuubiza okutuwa obukuumi era baatuwa ne poliisi bbiri ng’emu eri bweru, endala eri munda naye ogamba otya nti ddala akatale kasobola okuggya ne kasaanawo nga tewali muntu alaga we guvudde okuggyako nga waliwo ekkobaane mu baserikale bennyini,” bw’abuuza.

Omulundi ogwasooka nga 25, Feb 2009, abasuubizi baalumiriza aba kkampuni ya Kalita abaali baagala okuzimba ppaaka ya bbaasi mu kisaawe e Nakivubo ne batuuka n’okwekalakaasa ne bamenya ebibaati bye baali bakubye.

Kino baakiggya ku biveera ebyasangibwa ku ludda lw’ekisaawe nga balumiriza nti kuno kwe kwakoleezebwa omuliro ogwasaanyaawo akatale omulundi ogwo.

Poliisi yasuubiza okukola okunoonyereza ekyavaako omuliro omulundi ogwo kyokka lipoota bwe yavaayo ng’eraga nti akatale baali baakazimba bubi!

Maj. Gen. Kayihura ne minisita w’ebyokwerinda Crispus Kiyonga baakyaddeko mu Park Yard.

ENKAAYANA MU KATALE

Abasuubuzi abalala okuli George Mubiru baalumiriza abaali abakulembeze b’akatale kano nga bakulemberwa ssentebe Godfrey Busuulwa okubeera mu kkobaane ly’okwokya akatale kaabwe era ne babaggulako omusango ku poliisi ya Kampalamukadde.

Abakulembeze bano okwali; ssentebe Godfrey Busuulwa, omumyuka we John Byaruhanga, omuwanika John Bosco Lukwago, omuwandiisi Muhammed Musisi, ow’ebyokwerinda Ismail Sserwanja ne Ezra Kabeera baakwatibwa ne baggalirwa mu kkomera e Luzira.

Omwaka guno, omuduumizi wa poliisi Gen. Kale Kayihura yasaawo obukiiko bubiri obwakulemberwa eyali akulira bambega mu Kampala, Godfrey Musana n’akola ku nsonga z’okukwanaganya poliisi n’omuntu wabulijjo Asan Kasingye kyokka na kati tewali amanyi byava mu kunoonyereza kwabwe.

Nga March 20/2010, omuliro gwakwata omudaala gwa mukyala Florence Kabonyi era poliisi n’ekwata abavubuka babiri, Frank Walakira ne Brian Sserwadde abasiika capati mu Kironde zooni abaagambibwa okulekawo ssigiri eyavaako omuliro kyokka bino byakoma wano.

Kyokka nga bano bakyawoza mu 2011, akatale kano kaddamu okukwata omuliro nga July, 31 era ebyamaguzi by’abasuubuzi byonna ne bisaanawo nga n’ezimu ku kalina ku katale ka St. Balikuddembe (owino) zirugendeddemu.

Akakiiko k’omuwogezi wa poliisi Judith Nabakoba ku muliro guno  nga kakulemberwa Paul Kato na buli kati ebyavaamu tebirabwanga.

Omuduumizi wa poliisi Gen. Kale Kayihura yategeeza nga poliisi bw’etutte evvu e South Afrika okulwekebejja naye eyo lyalemerayo!

Ku mulundi guno poliisi yagamba nti akatale temwalimu makubo musobola kuyita mmotoka kutuuka wali muliro nti singa gaalimu osanga bandbadde ne bye bataasaako.

Poliisi ebadde  ekola ekisaanidde?

Abakulembeze b’akatale omuli ssentebe Hamza Kalema baakendeeza ku midaala gy’akatale kyokka ate kazzeemu okuggya!

Omusuubuzi Sulaiman Kato agamba nti mu miriro gyonna, mmotoka za poliisi zituuka kyokka weewuunya ekizireeta kuba zituuka ne zisooka ziyimirira nga bagamba nti teziriimu mazzi okumala eddakiika nga 30 ate bwe batandika okuzikiza tebafa ku mmaali ezikirira wabula okwekolera nga bwe balaba.

Suzan Nalunkuuma agamba nti guno omuliro gulimu abatwala ekisaawe kya Nakivubo. “Oluvannyuma lw’okulemererwa okutugoba nga bayita mu kutwongeza empooza basazeewo kwokya mmaali yaffe tusobole okudda mu byalo ae oba tunaaba tetukyalina kye tukola!,”bw’alowooza.

 

Ani mulagajjavu mu by’akatale ka Park Yard? 

Kansala Salim Uhuru, agamba nti omuliro guno guvudde ku bulagajjavu bwa KCCA etafuddeyo kuteekerateekera basuubuzi bano okubaggya mu mbeera gye bakoleramu basobole okuzimba ebizimbe ebyomulembe ebisobola okutangira omuliro.

“Poliisi bw’eba eyagala kunoonyereza erina kutandikira ku batwala kisaawe kya Nakivubo kuba bano baggya ku basuubuzi ssente okuli n’okubawa obukuumi era nga baakakasa abasuubuzi nti tebagenda kuddamu kufuna mbeera eno nga waliwo n’abaserikale be baabawa”, kansala Uhuru bw’agamba.

Maj. Gen. Kayihura ne minisita w’ebyokwerinda Crispus Kiyonga baakyaddeko mu Park Yard.

POLIISI BY’EGAMBA

Omuduumizi wa poliisi mu Kampala, Andrew Flex Kaweesi agamba nti omuliro mu katale kano gusinga kuva ku nkaayana ezikalimu ng’abantu bakaayanira obuyinza n’okubaako engeri gyebafunamu ng’abantu.

“Kumpi buli musuubuzi alina endowooza ye ku kivuddeko omuliro wabula nga poliisi tetusobola kutwala bigambo by’abasuubuzi kuba tebirina nnyo bujulizi wabula tugenda kukola okunoonyereza okukakasa ekivuddeko omuliro guno.

Mu ngeri y’emu tugenda kukolagana n’abakulembeze ba KCCA n’ebitongole bya Gavumenti ebikola ku kuteekerateekera ekibuga okulaba ng’akatale akaddamu okuzimbibwa tebabeera ka mbaawo na biveera ekiyinza okuvaako”, Gen Kayihura bw’agamba.

Ye aduumira poliisi ezikiriza omuliro mu ggwanga, Joseph Mugisa agamba nti, “Nga poliisi ezikiriza omuliro twatuuse mu kiseera kyokka olw’okuba ebintu byonna ebiri mu katale kano byaka we twatuukidde nga tewali kye tusobola kukola okuggyako okuzingiza omuliro guno guleme kusaasaanira bitundu birala ng’akatale ka St. Balikuddembe n’ekizimbe kya Jesco.”

Ensonga nnyingi eziyinza okuba nga zaavuddeko omuliro guno okugeza bw’otuuka mu katale kako osisinkana ebitundu bintu omufumbirwa ekitegeeza nti omuliro gusobla okuba nga gwavudde ku ssigiri, wabula kino eyali ssentebe Godfrey Busuulwa akiwakanyizza ng’agamba nti akatale kabaddewo okumala emyaka 25 nga tewali muliro okutuusa abagagga lwe baatandika okwagala ettaka lyabwe.

Mu ngeri y’emu agamba nti engeri akatale gye kaazimbibwamu teyanguyiza mmotoka zizikiza muliro kuyingira era twasigadde ku kkubo ate okuyita ku Kafumbe Mukasa nga waliwo kitulakita ektasimbiddwa wakati mu luguudo engeri gye lukolebwa.

Kyokka waliwo abasuubuzi abang’ambye nti olukwe luyinza okubaamu n’aba KCCA, nga baagala ababadde mu park yard badde mu katale kaabwe aka USAFI ke baazimba kyokka kati nga kabuzeemu abakagendamu!

 


 

Ani ayokya akatale ka Park yard?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.