TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Abakolera abasumba b'Abalokole bakaaba butasasulwa

Abakolera abasumba b'Abalokole bakaaba butasasulwa

Added 25th February 2014

ABANTU abakolera abasumba b’abalokole abasinga babawanda lulusu olw’okubakozesa ne batabasasula.



Bya MUSASI WAFFE
ABANTU abakolera abasumba b’abalokole abasinga babawanda lulusu olw’okubakozesa ne batabasasula.

Abasumba bano abasinga enjiri yaabwe yeesigama ku kubuulira bantu okuba abakozi, okusaba Katonda okubakuza ku mirimu n’okusasulwa mu budde.

Abamu ku bantu abakozeseddwa abasumba bano bagamba nti abasinga obutasasula kuliko omusumba, Jackson Ssennyonga ow’ekkanisa ya Christian Life Church e Bwaise, David Kiganda ow’ekkanisa ya Christianity Focus Centre mu Kisenyi n’abalala.

OMUSUMBA JACKSON SSENNYONGA
Abamu ku bantu abakoledde Omusumba Ssennyonga ku laadiyo ne ttivvi bagamba nti tayagala kusasula bakozi ng’era bw’alaba bamubanja emyezi egisoba mu esatu ng’abagoba ng’awandiika abalala.

Abakozi bano bagamba nti batono abafunira ssente mu bbanka ng’abasinga omwezi oluggwako balina kugenda mu ofi isi ne babasasula.

Omu ku bakozi ba Top Ttivvi yategeezezza nti bamaze emyezi egiwera nga tebasasulwa kyokka omusumba Ssennyonga bwe yabadde ng’abasasula, eyabadde abanja emyezi mukaaga ng’asasulwa emitwalo 200,000/- omwezi, buli mwezi yagusazeeko emitwalo 100,000/-.

“Bannange Katonda asaasire abasumba kuba be bandibadde eky’okulabirako naye Ssennyonga musajja alina ssente, Top Ttiivi ne Top Leediyo ziyingiza ssente naye okusasula tayagala,” omu ku bakozi ba Ssennyonga bwe yategeezezza.

Ssennyonga

Yayongeddeko nti Ssennyonga alina amatabi ga Top Leediyo agawerako mu bitundu ebyenjawulo ssaako amaka agalabirira abaana abatalina mwasirizi kyokka ng’abasinga mu kiseera kino bakaaba nga kino kivuddeko n’abamu ku bakozi okumubba.

Gye buvuddeko omu ku bakozi, Filex Engola gw’amaze naye emyaka 20 kigambibwa nti yamubba obukadde 20 ensonga omusumba n’azikwasa poliisi y’oku Kaleerwe.

Kigambibwa nti Engola yasooka kukolera ku ttabi lya Top leediyo e Kampala nga y’akwasaganya ebya ssente wabula oluvannyuma Ssennyonga yamusindika e Lira ku Leediyo ye eya Rhino Fm.

Mu kusooka Engola yali akola ng’avunaanyizibwa ku byensimbi ku kkanisa ya Ssenyonga era nga y’omu ku basajja be abamubeera ku lusegere.

Kigambibwa yawambye n’emmotoka y’omusumba ekika kya Elgrand gye yamweyaziseeko ng’amutegeezezza nga bw’agenda okutwaliramu Abazungu wabula waayise ennaku ssatu Ssennyonga n’asindika ababalirizi b’ebitabo bamubale era ne bazuula nti waliyo ssente ezaabulankana mu Leediyo ya Rhino FM.

Wabula ensonda zaategeezezza nti Engola talina ssente ze yabbye wabula Ssenyonga yayagadde kumusibako musango olw’okuba yali yafuna enkolagana n’Abazungu ababadde bawa Leediyo ze obuyambi.

Abasumba abasinga obutasasula balina bizinensi ze baateekawo okusobola okutumbula enjiri n’ekigendererwa ky’okufunamu ssente.

Ezimu ku bizinensi zino kuliko Laadiyo, Ttiivi, ebifo by’abaana enfuuzi n’ebirala.

OMUSUMBA DAVID KIGANDA
Abamu ku bakozi b’omusumba Kiganda bagamba nti bw’aba abuulira enjiri abagamba bawase, bakole nnyo bave mu mizigo, bazimbe amayumba n’ebirala naye nti banaazimba batya oba okuwasa nga tebasasulwa musaala?

Mu kiseera kino abakozi be aba Kingdom Fm 93.0 babanja emyezi etaano, ab’ekkanisa babanja emyezi ebiri kyokka nga bonna bamaze wiiki 12 nga tebafuna nsako.

Wabula ate abalala baategeezezza nti kituufu babanja omusumba Kiganda naye emabega abadde abasasula bulungi naye kati waliwo ebintu by’akwasaganyizza bingi okuli okwagala okutandikawo ttivvi nga kuno kwossa n’ettaka lye yagula kw’agenda okuzimba ekkanisa.

Bagamba nti mu 2009 ne 2010 we yali azimbira omulongooti gwa Kingdom era yamala ekiseera nga tabasasula kyokka oluvannyuma yabasasula nga ne ku luno bakimanyi nti ajja kubasasula.

Wabula omusumba Kiganda yategeezezza Bukedde ku ssimu nti ye abakozi be basanyufu mpozzi nga waliwo abaagobwa nga be boogera batyo.

Yagambye nti naye alina kkampuni nnyingi z’abanja naye tagendako mu mawulire ababanjize eyo. “Kati ssebo abakozi ba Kingdom FM bwe bazze ku Bukedde okubagamba nti sibasasula mmwe mwabasasudde kuba nze abatwala bandibadde basooka kungamba okusinga okujja mu mawulire,” Kiganda bwe yategeezezza.

Dr. Serwadda

OMUTUME SERWADDA
Dr. Serwadda omu ku basumba abagambibwa okusasula abakozi be, yateegeezezza nti abasumba obutasasula tekirina we kyekuusiza ku bulokole.

Yagambye nti abamu ku basumba batandikawo bizinensi ez’enjawulo nga tebamaze kwetegeka ate abamu bizinensi zino tezivaamu ssente zisobola kusasula bakozi bonna.

Yayongeddeko waliwo abamu ku basumba abafuna ssente mu bizinensi ze baba bataddewo kyokka nga tebaagala kusasula kye yayise omuntu okuba “omuggulu,” ekitegeeza nti omuntu abeera n’emmere ng’akkuse kyokka n’agikulemesa okugirya.

Njagala abantu baawule ebintu kuba omusumba w’abalokole naye muntu ng’abalala kale eky’obutasasula ndowooza kiva ku muntu, oluusi nga ssente ntono eziyingizibwa mu kkampuni n’ebirala,” Serwadda bwe yategeezezza.

Abakolera abasumba b’abalokole bakaaba butasasulwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...

Basse owa S3 ne balagirira ...

ABATEMU babuzizzaawo omuwala owa S3 okuva mu maka ga bakadde be ne bamusobyako oluvannyuma ne bamutta, omulambo...

Luzinda

Desire Luzinda tatudde!

OMUYIMBI Desire Luzinda abamu gwe baakazaako erya ‘Kitone’ naye nno tatuula. Bwe yabadde agogera ku bulamu bwe...

Kenzo

KENZO: Ayambalidde abamulan...

BWE yatuuse ku bamuvuma olw’okusisinkana Pulezidenti Museveni n’okumulangira okulya ssente, Kenzo yakangudde ku...