TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Mini: Abagiwera babikka ku maddu kyokka emala n'edda ku mulemnbe

Mini: Abagiwera babikka ku maddu kyokka emala n'edda ku mulemnbe

Added 27th February 2014

WAABADDEWO okusika omugwa mu Paalamenti ku Lwokubiri ng’ababaka abasajja abasinga obungi bawagira etteeka eryaweze enkunamyo ng’ate abakazi baagala liggyibweewo.Bya AHMED KATEREGGA

WAABADDEWO okusika omugwa mu Paalamenti ku Lwokubiri ng’ababaka abasajja abasinga obungi bawagira etteeka eryaweze enkunamyo ng’ate abakazi baagala liggyibweewo.

Ababaka abasajja abamu kabuzeeko katono bawagire abantu abatwalidde amateeka mu ngalo ne batandika okuyuza sikaati za mini abakazi abamu naddala abakaddiye ze babadde beesaze nga babasalira omusango nti gubasinga okwambala enkunamyo.

Ate ababaka abakazi kumpi bonna kino bakiwakanya nti kuba kutwalira mateeka mu ngalo era abamu etteeka lino baliwakanyizza kubanga nabo balabiddwaako emirundi egiwera ng’enkunamyo bazeesaze.

Betty Amongi (Mukazi/UPC/Oyam),  akulira akabondo k’abakazi mu Paalamenti yategeezezza nti wadde etteeka teririna we lyogerera ku sikaati nnyimpi naye nga lyogera ku kukunama, nti kyokka abasajja ab’empisa ensiiwuufu beegumbulidde omuze gw’okwambula abakazi abazambala gy’oba nti be baserikale abalina okulissa mu nkola.

Minisita w’ebyobuwangwa n’okusitula embeera z’abantu, Mary Karooro Okurut (Mukazi/NRM/Bushenyi) yakiyise bugwi bwa ddalu, abasajja abamu bwe basazeewo okwambula abakazi abambadde enkunamyo.

Abayaaye mu ppaaka ya takisi ono omukazi baamwambudde yadde tayambadde mini.

“Natuuzizza olukung’ana e Bushenyi ne ng’amba abasajja nti bano abakazi be bambula be bannyaabwe, bannyinaabwe era bawala baabwe,” bwe yategeezezza babaka banne.

Awo we zaaleeteddeBeratrice Anywar (Mukazi/FDC Kitgum) eyakazibwako erya  Maama Mabira eyalumirizza minista omubeezi ow’abavubuka, Ronald Kibuule nti yabadde ku laadiyo ya FM emu e Mukono n’akuma omuliro mu bavubuka, nti ng’etteeka ly’enkunamyo bwe liyise, batandike okwambula abawala abazammbala!

Sipiika Rebecca Kadaga yagenze okumagamaga nga Kibuule nga yeemuludde n’abulawo! Ate nga Kibuule y’omu mu September wa 2013, ye yasaba abapoliisi obutasooka kusalira nnyo musango basajja bakwata bakazi n’okubakaka omukwano, nti n’abakazi abo bayinza okuba nga be beereetedde ebizibu ne bayambala mini!

Oluvannyuma Kibuule yeerwanyeeko nti okuva lwe yeewozaako ku by’amulumirizibwa nti yakunga abavubuka okuyuza enkunamyo z’abawala, bwe yali ku mukolo gw’abavubuka ogumu e Ntungamo omwaka oguwedde, nti taddangayo kubaako ky’ayogera ku nsonga eyo.

Omumyuka wa Ssaabawabuzi wa Gavumenti mu by’amateeka, Fred Ruhindi yannyonnyodde nti, “Mu nkola eya bulijjo, ebbago ly’etteeka litandikira mu minisitule gye kikwatako. Lino etteeka lya minisitule evunaanyizibwa ku kukwasisa empisa n’obuntu bulamu (ekulirwa Rev. Fr. Simon Lukodo.”

Ani apima sikaati ekkirizibwa?

Fr. Lukodo  emirundi mingi azze akidding’ana nti etteeka teryajjiridde kuwera sikaati nnyimpi, nti era tezoogerwako mu tteeka lino wabula lyo lirwanyisa buseegu omuli okukunama n’okukema abantu bakole eby’ekikaba.

Olumu yagamba nti “Okwambala sikaati ennyimpi bwe kiba tekigenderwamu kukunamira bantu na kusaaliza balala, tekiba na mutawaana gwonna.”

Ekyebuuzibwa nti ani asalawo nti, eno enkunamyo egenderera kusaaliza basajja? Fr. Lokodo  agamba nti wajja kussibwawo akakiiko akanaakola ku nsonga eno nga katuulako abantu abeebuuzibwako ensonga enkulu, omuli bannaddinii, Abataka ne bannamawulire.

Katikkiro  Amama Mbabazi ye  yagambye nti, olukiiko lwa baminista lugenda kuddamu okwetegereza etteeka eryakayisibwa ekintu ababaka abakazi kye baakubidde ennyo emizira kyokka ng’abasajja bafuguma!

Abamu ku babaka abasajja nga  Stephen Ochola (FDC/Serere) ne Hassan Kapd Fungaroo (FDC Ovonji), baawolerezza abasajja nti tebambula bakazi bambadde bulungi, nti wabula bambula abo bokka abambadde enkunamyo.

“Ku mmwe ababaka abakazi waliwo ayambadde enkunamyo? Lwaki ne bakazi bannammwe abalala tebambala ennyambala ebaweesa ekitiibwa?”, Fungaroo bwe yabuuzizzza kyokka ababaka abakazi kata bamulye bumere!

Ku Mmande, okubaka Hajjati Nabilah Naggayi Sempala (FDC/Mukazi/Kampala) yavumiridde nnyo etteeka lino era n’akolimira n’abasajja ababadde bayuza enkunamyo z’abakazi. Yasabye liddemu okutunulwamu, gavumenti kye yakkirizza okukola.

Etteeka ne mu ndongo esinga okuba abawala nga bano lijja kubasangayo.

Omwogezi wa Poliisi, Judith  Nabakooba yagambye nti abantu si be balina obuyinza okusalawo kw’ani ayambadde mini oba nedda. Nti ogwo mulimu gw’akakiiko Gavumenti k’egenda okussaawo nga Minisita amaze okussaawo ebiragiro ebinaawekera etteeka lino, byombi ebitannaba kukolebwa.

Omukulu wa poliisi e Nansana, Muhammad Kirumira yagambye nti, abantu bwe baba baagala nnyo okukwata abambadde enkunamyo, basaanidde okubakwata obulungi babatwale ku poliisi oba okugitemyako ne bagiragirira we bali n’ejja ebakwata.

Kyokka kino kisobola okuba ekizibu kubanga teri mumenyi w’amateeka asobola kukkiriza muntu wa bulijjo kumukwata mu ddembe kumutwala ku poliisi oba okulinda abaserikale bamusange w’amenyedde amateeka.

AMIN LWE YAWERA MINI NE TIGHT

NGA Idi Amin awambye obuyinza ku Mmande nga January 25 1971, yakidding’ana nnyo nti bambega ba Obote, be yayitanga ab’ekkanzu, abaali mu kitongole kya General Service Unit (GSU) ekyali kikulirwa kizibwe wa Obote, Akena Adoko, baali bambala nnyo sikaati ennyimpi ate nga za bupati! Abasajja nabo baali bambala nnyo empale ezibakwata ezaayitibwanga “tight” (soma tayiti).

Kyokka bino Amin we yabyogereranga, nga gino gifuuse misono egyali gyambalwa abakazi bonna omwali n’eyali muk’embuga Miria Nakitto Obote. Omuwala ataayambalanga mini ne tayiti nga si wa mulembe, era kyali kye kimu n’omusajja ataayambalanga mpale kadumu oba tayiti!

Amin, eyali amaze okulangirira olutalo lw’ebyenfuna nga August 24 1972, ng’ayogerera mu kibinja ky’aggye ery’oku ttaka ne ku mazzi e Tororo, mwe yagobera Bamuyindimuzungu, yafuuka omusaale mu kulwanirira obuwangwa bw’Ekiddugavu, era n’ayogerera Oluganda mu lukiiko lw’ekibiina ky’amawanga amagatte mu kibuga New York ekya Amerika mu 1975, we yabeerera ssentebe wa OAU, ng’eyali omubaka wa Uganda ow’enkalakkalira, Sheikh Khalid Yunus Kinene yavvuunula mu Lungereza..

Olwo yali amaze okuwera engoye za mini ne tayiti era ng’omuntu akwatibwa ng’abyambadde ng’asimbwa mu mbuga z’amateeka, bwe gumusinga  awa engassi oba okusibwa mu kkomera.

Olw’okuba poliisi yali etandise okunafuwa, Amin yali yalagira dda amagye okugiyambangako mu kukwasisa amateeka n’ebiragiro era eyali omuduumi w’ekibinja kya Suicide Reconnaissance Regiment e Masaka, Brig. Isaac Maliyamungu, yabukeerezanga nkokola okulawuna ekibuga Masaka n’obubuga obulala nga Kyotera okukwata abambadde mini ne tayiti n’abakuba embooko mu lujjudde, awatali na kumala kubatwala mu kkooti.

Munnamawulire Conrad Nkuutu eyaliko omuwandiisi wa kampuni ya New Vision, mutabani wa Shaban Nkuutu, eyali Minista w’ebyobusuubuzi ku Obote l agamba nti yawonya nnyina okukwatibwa ofiisa w’amagye ku Kampala Road okumpi n’ekibangirizi kya City Square, bwe yali agenda okumukwata amangu ddala nga yaakava mu mmotoka, n’aleekaanira waggulu nti “Va ku maama, va ku maama, va ku maama’ ekyakung’aanya abantu, ofiisa eby’okukwata owa mini n’abivaako!MAKISI NE BEEROBOTOMU

Awo abayiiya b’emisono tebaasuulirawo bubonero ne bajja n’ebiteEteeyi ebiwanvu okuva ku bibegabega okutuuka ku bigere, ebyayitibwanga MAKISI oba “Amin nvaako” awamu ne sikaati empanvu ezaayitibwanga “Half Marks.”

Emisono gy’ekikongo omwali ebitengi ebyayambalwanga abasajja n’abakazi, ate ng’abakazi babisiba ne ku mitwe ngyo gy’ayala nnyo nga Amin aweze enviiri za wiigi ng’agamba nti zaali ziragirizibwa kuva mu Bazungu nga zoonoonoona obuwangwa bw’Ekiddugavu.

Ng’olukiiko lwa OAU mu 1975, munnamawulire omugenzi  Venansio Ssennoga, eyali owa Radio Uganda, yagamba nti mu bagenyi abajja, mwe mwali Pulezidenti Omar Bongo ne mukyala we, Bongo yali ayambadde empale ey’amagulu amagazi wansi ku bigere, eyamanyibwa nga Beerobotomu eyacaaka n’esikira tayiti ate bombi omwami n’omukyala, baali bambadde engatto z’ekikondo, ekyatitibwanga pulatifoomu okubongerako obuwanvu, olw’okuba baali bampi, era ne zituumwa erinnya erya Gaboni ne zicaaka nnyo.

Lwali lumu mu 1976, Amin n’agenda ku Radio Uganda n’alangirira nti yali aweze okusiba enviiri z’obuso obwali buva ku muliraano e Kenya ng’agamba nti okuzisiba kwali kutwala ekiseera kiwanvu mu ssaluuni ng’ate abakazi naddala abakozi ba Gavumenti, baalina eby’okukola bingi. Kino era kyatandikirawo okusisbwa mu nkola.

MINI NE SIRIITI ZISITULA BUTO

Nga Amin asiguukuluddwa mu 1979, abantu tebaasooka kwesala mangu mini kubanga era bannaddiini n’Abataka baali bazivumirira. Bajja ne sikaati ezaakomanga mu ntumbwe ezaayitibwanga “Mid” ne zicaaka nnyo, kyokka ku Obote ll, abakazi abasuubulanga e Dubai, baatandikiriza okwambala engoye ezitangaala ne sikaati ennyimpi, ate, abamu ku bakomboozi nga Yoweri Museveni, baali bazze n’empale za  jjiini ne zicaaka mu bavubuka.

 

Wabula Museveni bwe yagambibwa nti yalabwako ku mwalo ogumu e Ntebe ng’ava Libya mu jjiini, abajaasi ba Obote baatandika okukwata buli muvubuka eyali ayambala Jjiini mu Kampala n’emiriraano nga bagamba nti muyeekera.

Gwajabagira, abayeekera ba UFM abaali baduumirwa omugenzi Dr.Andrew Lutakome Kayiira bwe baalumba enkambi y’omu Lubiri e Mengo nga February 22 1982, nga bali mu Jjiini, olwo kumpi Jjiini ne ziwerebwa mu Uganda, okutuusa nga NRM ezze mu buyinza mu 1986.

Okuva olwo okwambala sikaati ennyimpi nga n’ezimu njaseemu ekimanyiddwa nga siriiti ne kisitula buto okutuusa etteeka lino lwe likoleddwa.

 


 

 

 

Mini: Abagiwera babikka ku maddu kyokka emala n’edda ku mulemnbe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mbuga ne Vivian

Ebya SK Mbuga ne mukyala we...

JALIA Vivian Mbuga yasoose kuvaayo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book n’avumirira ebikolwa by’obutabanguko mu...

Obutungulu busobola okukugg...

GWE abadde alowooza nti obwavu bwakwesibako era nga n’olumu weeyita mwavu, okukaaba kwo kukomye anti obutungulu...

Paul Kafeero

Ebya Kafeero okuziikuulwa b...

ABAANA ba Paul Kafeero bana bapangisizza looya omupya okubawolereza mu musango ogwabawawaabiddwa bannaabwe 10....

Engeri Corona gy'akosezzaam...

Engeri abatawulira, abatayogera n’abaliko obulemu obulala ate nga balina obulwadde bw’olukonvuba gye bakoseddwaamu...

Ennyumba Ssendawula gye yazimba e Kayunga.

Famire y'omusama amansa sse...

OLUKIIKO lwa ffamire olwatudde ku nsonga z’omuvubuka wa ‘Rich Gang’ Luke Junior Ssendawula lwasazeewo aziikibwe...