TOP
  • Home
  • Emboozi
  • 'Asidi gwe banjiira yandabya ku magombe'

'Asidi gwe banjiira yandabya ku magombe'

Added 5th June 2014

OMUSUMBA Umar Mulinde eyakomyewo mu Uganda n’enkovu ezaava ku asidi gwe baamuyiira mu December wa 2011 awa ekyokulabirako ekirungi lwaki etteeka ku nkozesa ya asidi mu Uganda lisaanye okussibwawo mu bwangu.



Bya MOSES LEMISA


OMUSUMBA Umar Mulinde eyakomyewo mu Uganda n’enkovu ezaava ku asidi gwe baamuyiira mu December wa 2011 awa ekyokulabirako ekirungi lwaki etteeka ku nkozesa ya asidi mu Uganda lisaanye okussibwawo mu bwangu.

Wadde Abalokole okuva mu kkanisa ye eya Gospel Life Centre baabadde mu kucacanca olw’amadda gano agaabadde tegasuubirwa, buli Munnayuganda yandibadde mweraliikirivu kubanga asidi abunye buli wamu kyokka bangi abakola ebikolobero bino balya butaala!

Abazigu abaayiira Mulinde asidi poliisi yabalema okukwata. Baayiira Mulinde asidi nga December 24, 2011. Obulumi bw’ayiseemu nga bamujjanjaba e Yisirayiri abuwoza nga lutabaalo, era bw’atandika okukunyumiza toyagala amale.

Olususu lwa Paasita Mulinde lufaanana bwe luti.

Bino by’annyonnyola ku bulamu bwe obw’emyaka esatu gy’amaze e Yisirayiri nga bamuzimba feesi ye edde buggya:

Nnali nva mu lukung’aana lwa njiri e Masajja, naye mba nnaakatuuka ku kkanisa yange e Namasuba ne banjiira asidi mu maaso.

Nnawulira ng’abazigu badduka bwe beewaana nga bwe bamaze okunzita, abaaliwo bantwala mu ddwaaliro e Mengo ng’eno gye bampeera obujjanjabi obusookerwako.

E Mengo nnasulayo olunaku lumu, enkeera ne bantwala mu ddwaaliro lya Kampala International Hospital, nabo baagezaako ne balaba nga tebajja kusobola ne bansindika e Buyindi gye nnamala wiiki emu ne ntwalibwa mu Yisirayiri mu ddwaaliro eriyitibwa Sheba gye banzijanjabidde okutuusa lwe mponye.

We natuukira mu Yisirayiri nga sisobola kwogera kuba olulimi lwali luvunze, ng’emimwa n’amaaso tebisobola kulaba era kino kyantwalira ekiseera ng’abasawo balwanagana nange okunjasamya okumpa eddagala. Nnatwala ekiseera nga sisobola kusenya mannyo!

Singa nnasigala mu Uganda osanga nnandifudde kuba ensingo yali emaze okufunako ekiwundu ekinene, nga buli lwe nkitunulako nkaaba nga mmanyi ngenda kufa.

 

Kitaka Nsubuga naye baamuyiira asidi.

Amannyo  nga gaasannyalala era kumpi n’omubiri gwonna era nga sisobola na kutambula. Abasawo bampa akagaali nga kwe ntambulira.

Abasawo baasoma lipoota eyava mu Kampala International n’eyava e Buyindi oluvannyuma bampa eddagala erisirisa obulumi, banjigyako omusaayi oguwerako nga muno ate mwe baakola eddagala ku lunaku lwe lumu nga bakozesa DNA n’ekigendererwa ky’okufulumya obulumi n’okuziyiza ebiwundu ebirala ebyali bitandise okuzuuka ku mubiri gwange.

Oluvannyuma abasawo bannaaza mu ngeri y’ekisawo okulabika nti ebiwundu biyonjo ddala nga kino baakikolera mu ssaawa bbiri era eddagala lye baali bakoze mu musaayi gwange baatandika okulinsiiga era eryasigalawo baalisuula kuba lyali terisobola kujjanjaba muntu mulala.

Asidi aluma nnyo kuba oba owulira omuliro mu mubiri gwonna naye ekirungi buli lwe mbadde mbuwulira nga bampa eddagala mu ddaakika 10 buba bumaze okusirika, era okuddamu okubuwulira nga wayise essaawa nnamba.

Obulumi bwe nnalozaako ssaagala muntu yenna ayiirwe asidi era ng’enda kukola ekisoboka okukwatagana n’ebibiina ebiyamba abayiiriddwa asidi wano mu Uganda mbikwataganye ne mikwano gyange ebweru wa Uganda okulaba nga babaako kye bayamba abantu ababa bayiiriddwa asidi.

Dan Nyanzi, muganda we ye yamuyiira asidi, Poliisi yamuta.

Ate abantu abayiirwa asidi abamu tebalina busobozi kugenda mu kkooti kuloopa babatusizzaako ekikolwa eky’obutujju, naye ng’enda kulaba ng’abantu abo mbayambako okubafunira bannamateeka.

Wano sinnaba kuwona, mu mwaka guno nga tegunnagwaako ngenda kuddayo nfune obujjanjabi obusembayo ndyoke nkomerewo ddala mu Uganda, okuddamu okukakkalabya obulungi emirimu gyange egy’okubuulira ekigambo.

Abasawo bang’amba nti asidi gwe banjiira yali muka nnyo, era okuwona Katonda yazza bibye!

Ebbanga lye mmaze ku kitanda embeera tebadde nnyangu kuba buli kiseera mbadde nneetunulako ne ndabira ddala nga ndi mufu naye Katonda wa maanyi.

Mbadde nsiiba mu nnyiriri za Bayibuli nga bwe nsaba Katonda amponye asonyiwe n’abanjiira asidi.

E MULAGO
Bw’otuuka mu woodi y’abayiiriddwa asidi e Mulago oyinza okwewuunya olw’obulumi n’ekivundu ekiriyo!

Awo ku mulyango waliwo ebigambo ebirabula abagenyi obutayingirayo. Ekigendererwa kya kugoba abayinza okuba n’obuwuka obw’omutawaana okukwata ku balwadde bano, abasinga abalina ebiwundu ku mibiri gyabwe gyonna.

Wabula ekituufu kiri nti ne bwe batandikataddewo, era batono abayingirayo kubanga eri ggeyeena ya ku nsi!

Dr Robert Ssentongo, akulira woodi y’abayiiriddwa asidi agamba nti tekyetaagisa kwogera ku muwendo gw’abayiiriddwa kubanga buli lw’agwogerako afuna abalwadde abalala bangi.

Wabula ng’ekituufu kiri nti omuwendo gweyongedde, okuva mu 1996.

Abalala abayiiriddwa asidi nga Lynette Kirungi, Hanifa Nakiryowa eyali akola mu kitongole kya UNICEF n’abalala bali eyo bapooca.

Dr. Ssentongo akkiriza nti bafuna nnyo abayiiriddwa asidi ng’ennaku enkulu zisembedde, wamu n’ebiseera bya kampeyini z’ebyobufuzi.

ASIDI AVA WA?
Asidi asinga akozesebwa mu Uganda y’oyo abeera mu laabu z’amasomero, akola mu bbaatule ne mu makolero.

Dr. Ssentongo ajjukira nti edda mu myaka gy’ekyenda ng'okuyiira munno asidi kibalibwa mu butujju, naye kati beesibye ku bannalukalala ba Al-Shabaab.

Awa amagezi nti gwe bayiiridde asidi ng’obujjanjabi obusookerwako omuyiira amazzi mangi awo we bamuyiye ate omwambule yenna.

Oli gwe bayiiridde asidi bw’omuyiwako amazzi amangi ddala (kikole nga tosirisa), ekiwundu tekisima nnyo.

E Mulago abasawo balongoosa aba asidi kumpi buli kiseera. Okuwona kisinziira wa we bamuyiye.

Omusawo agamba nti obubonero obuyinza okukusigalako mulimu enkovu, oluusi asidi ayinza okuggyamu amaaso, ennyindo, obukoowekoowe, n’emimwa gyennyini.

“Kizibu nnyo okuddamu okutunula nga bwe wali. Waliwo abayiirwa asidi nga balina kukyusibwa bitundu ebimu eby’emibiri,” omusawo bw’annyonnyola.

ETTEEKA ERIRIWO
Tewali tteeka ku asidi mu kiseera kino, kyokka bakibala ng’emisango emirala egizzibwa. Oli bw’akwatibwa avunaanibwa gwa kugezaako kutta muntu, bwe gumusinga ayinza okusibwa amayisa.

Naye Palamenti eyagala kuleeta tteeka erikugira entunda ya asidi n’erifuula ekikolwa kino eky’obutemu.

Mu 1985, ekibiina ekigatta abayiiriddwa asidi ne basimattuka ekya Acid Survivors Foundation Uganda (ASFU) kyatandikibwawo, we twogerera kirina bammemba abasoba mu 400.

Hanifa Nakiryowa muganzi we yamuyiira asidi.

Okusinziira ku kibiina kino, bakyala be basinze okuyiira asidi, ensonga eyinza kuva ku byabusuubuzi, ebyobufuzi, enkaayana z’ebyettaka ne bakazibaggya!

Okozeewo ki okulabanga 'ekiyiira asidi' mu Uganda kiggwawo?

‘Asidi gwe banjiira yandabya ku magombe’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...

Nyombi ng'alaga olubuto mw'afulumira.

Afulumira mu kapiira alaajanye

OMUVUBUKA ow'emyaka 32 alaajana oluvannyuma ly'okumulongoosa ekyenda n'atawona nga kati yeetaaga obukadde butaano...