TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Mzee Mwagalwa Kangavve omuzira afudde taweereddwa Muddaali

Mzee Mwagalwa Kangavve omuzira afudde taweereddwa Muddaali

Added 7th June 2014

KU Mmande nga June 9, Uganda egenda kujjukira abazira baayo mu bintu eby’enjawulo ng’omukolo omukulu gugenda kubeera Kikandwa-Mityana.





Bya Dickson Kulumba

KU Mmande nga June 9, Uganda egenda kujjukira abazira baayo mu bintu eby’enjawulo ng’omukolo omukulu gugenda kubeera Kikandwa-Mityana.

Emidaali gy’obuzira gizze gigabwa ku mikolo egy’enjawulo kyokka waliwo abantu abamu abaliko bye bakoze nga bano obo’olyawo kiba kya bulyazaamaanya obutakombezebwa ku mudaali.

Bw’oyogera ku Munnaluweero (kati omugenzi) Samuel Mwagalwa Kangavve, abamumanyi tebayinza butakubuulira engeri gye yakola ekinene mu lutalo olwaleeta NRM mu buyinza.

Christopher Ddamulira Kangavve, mutabani w’omugenzi omukulu aliwo, agamba nti nga famire, si bamativu olwa kitaabwe okufa nga tasiimiddwa bulungi wadde waakiri okuweebwayo ku muddaali, bo gwe bagamba nti gumusaanira olw’okulwanirira emirembe okudda mu ggwanga.

Mzee Mwagalwa Kangavve y’omu ku baatandika ekibiina kya UPM era yeyakola ennyo mu kubunyisa enjiri yaakyo e Mawogola wakati mu kusoomoozebwa okuva mu bibiina ebirala nti abasinga baali bawagira DP ne UPC kyokka ye n’agumira mu kibiina kye.

Nnamwandu w'omugenzi Kangavve

Kigambibwa nti yali omu ku abao gabira emidaali n’okusiima nga bwe babeera tebannamugabira,be balinan okubuuzibwa oba baamwerabira oboolyawo olwo ne bamujjukira.

‘Tekitegeeza nti taagufune’

Wabula Capt. Sulaiman Sserunjogi, Mmemba ku kakiiko akakola ku kasiimo k’abaazirwanako mu kanyigo k’e Luweero bera nga nzaalwa y’e Ssemuto, agamba nti ekya Mwagalwa Kangavve okufa nga taweereddwa mudaali, tekitegeeza nti tagenda kugufunira ddala.

“Ekirungi ekiriwo, Mzee Kangave afudde tavudde mu kibiiba kye ekya NRM era waliwo n’abalwanyi bangi abavudde mu bulamu bw’ensi eno nga tebaweereddwa midaali kyokka oluvannyuma ne baweebwa emidaali gyabwe.

N’olwekyo, aba famire baleme kwennyamira,” Capt Sserunjogi bwe yayogedde ku kya Kangavve obutaweebwa mudaali.

Sserunjogi ayongerako nti emidaali giriko akakiiko akagigaba era nga kano Pulezidenti Museveni takavunaanyizibwako butereevu.

Ab’akakiiko kano be bavunaanyizibwa ku kulonda abantu abookugabira emidaali n’okusiima nga bwe
babeera tebannamugabira, be balina okubuuzibwa oba baamwerabira oboolyawo olwo ne bamujjukira.

Maj. Roland Kakooza Mutale ng’ateeka bendera ku keesi ya mulwanyi munne ku Lwokusatu.

Gen. Elly Tumwine ayogedde
Ng’ayogerera ku kelesiya y’Abasodokisi ey’Omutukuvu Lukka e Lwemiyaga ku Mmande ku mukolo ab’ekitundu kino kwe baasiibuulidde omwagalwa waabwe ono, ssentebe w’akakiiko k’eggwanga akagaba emidaali, Gen.Elly Tumwin eyategeezezza abakungubazi nti wadde kirwisiddwa nnyo, Mzee Mwagalwa (abalwanyi gwe bamanyi nga ‘Dokita Sam’), yateekebwa ku lukalala lw’abo abanaaweebwa emidaali olw’emirimu gye yakola mu lutalo olwanunula eggwanga lino wakati wa 1981 ne 1986.

‘Dokita Sam’, yatwala okusoma kw’obwereere e Lwemiyaga bwe yatandika Kibundabunda Free School, n’awa abantu obujjanjabi nga bw’asobola.

Alese abaana abasukka mu 50.

John Lukwaya, ssentebe w’ekyalo Bugomba (gye baaziise omugenzi) agamba nti ekitundu omuzira ono, kirina obuzibubw’eddwaaliro ng’abantu batambula mayiro eziri wakati w’ennya n’omukaaga okutuuka awali obujjanjabi e Ssemuto n’e Kannyanda sso nga baafiirwa ente zaabwe ezaalibwa mu lutalo.

Oba Mzee Mwagalwa Kangavve anajjukirwa n’aweebwa omudaali oba nedda, byonna birindiddwa ku Mmande ku lunaku lw’Abazira! abaawa Pulezidenti Museveni (mu kiseera ekyo eyali omuyeekera) pulaani y’okulwanira olutalo luno mu bitundu bya Luweero, era eno gye yaziikiddwa ku kyalo Bugomba- Kangavve mu ggombolola y’e Makulubita ku Lwokusatu.

“Kya nnaku nti taata eyalwanirira eddembe okudda mu ggwanga najjanjabanga abayeekera n’obuyambi obw’enjawulo obulala, okufa nga tasiimiddwa,” Ddamulira bwe yayogedde mu kuziika kitaawe.   

               

Tekitegeeza nti taagufune’
Wabula Capt. Sulaiman Sserunjogi, Mmemba ku kakiiko akakola ku kasiimo k’abaazirwanako mu kanyigo k’e Luweero bera nga nzaalwa y’e Ssemuto, agamba nti ekya Mwagalwa Kangavve okufa nga taweereddwa mudaali, tekitegeeza nti tagenda kugufunira ddala.

“Ekirungi ekiriwo, Mzee Kangave afudde tavudde mu kibiiba kye ekya NRM era waliwo n’abalwanyi bangi abavudde mu bulamu bw’ensi eno nga tebaweereddwa midaali kyokka oluvannyuma ne baweebwa emidaali gyabwe.

N’olwekyo, aba famire baleme kwennyamira,” Capt Sserunjogi bwe yayogedde ku kya Kangavve obutaweebwa mudaali.

Sserunjogi ayongerako nti emidaali giriko akakiiko akagigaba era nga kano Pulezidenti Museveni takavunaanyizibwako butereevu.

Mzee Mwagalwa Kangavve omuzira afudde taweereddwa Muddaali

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...