TOP
  • Home
  • Emboozi
  • 'Yaaya yasiiga abaana bange 3 akawuka ka siriimu'

'Yaaya yasiiga abaana bange 3 akawuka ka siriimu'

Added 19th June 2014

OMUKOZI akuyambako awaka wamufuna mu makubo matuufu? Ye omumanyi nnyo?



Bya LAWRENCE KITATTA

OMUKOZI akuyambako awaka wamufuna mu makubo matuufu? Ye omumanyi nnyo?

Okimanyi nti omukozi oyo luyinza okuba olumbe lw’ekirago, sso ng’ate mu ngeri endala y’abeezaawo amaka go?

Gw’olina wayita mu bakayungirizi? Obeesiga nti si bafere abagenda okukulyako ezizo n’okukupangira ababbi?

Bridget Nanyonga, omutuuze w’e Naalya, era omukozi mu kibiina ky’amawanga amagatte asiiba mu maziga,abaana be basatu, omukozi w’awaka yabasiiga siriimu!

Nanyonga anyumya: Namala ekiseera nga sirina mulimu, bwe nnasaba ne ngufuna mu UN, nacamuukirira nnyo era ne ntandikirawo okunoonya omukozi anaalabirira abaana bange.

Nagenda e Kireka waliwo akabiina akaali kanoonyeza bayaaya emirimu gy’okukola mu maka. Omukozi baamunfunira mu nnaku bbiri ng’ava Mafubira. Nnamuweereza 60,000/- ze yaweereza omukozi era ne mmufuna. 

Namulaga eby’okukola naye nga nange nkola nnyo. Waliwo lwe nnatandika okukolera e Mbarara, ng’omwezi nkomawo emirundi ebiri.okulaba ku baana.

Awaka nnalinawo mutabani wange omukulu owa S3, amuddako yali mu P7 ate asembayo ng’asoma P4. Wiikendi emu nnali ndi waka ne mutabani wange omuto  n’annyumiza bwe yeebaka n’omukozi mu kisenge kye.

Nze enkyo ssaakifaako nnyo, kyampa essanyu kuba omukozi yali akwatagana bulungi n’abaana. Wabula ekyammala amaanyi kwe kukomawo olunaku lumu ng’omukozi endabikaye ekyuse, namulabirawo ng’ali lubuto. Yang’amba nti lwa mutabani wange omukulu! Bwe nnamukaza yambuulira buli kimu kye baakolanga n’omukozi.  Olwo lwe nzijukira omwana omuto bye yang’amba nti asula n’omukozi!

Nangobi yasiika capati emyaka mingi n’atasasulwa.

Natwala abaana bonna ku musaayi okubakebeza, ebyavaayo nga byonna biraga nti balina akawuka ka mukenenya!

Awo we nnakoma okutegeera, nneesanga mu ddwaaliro nga ndi ku kitanda! Oluvannyuma nagenda okudda e Kireka we naggya omukozi nga baasenguka dda nga n’abaliwo tebabamanyi.

Omukozi nnamugoba n’agenda n’olubuto lwe, nze mmulaba ng’omutemu!

Yabba omwana wange

Agnes Nakato, omutuuze e Bweyogerere tagenda kwerabira olunaku lwe yabulako akatono okugwa eddalu ng’omukozi gwe yali amaze naye olunaku lumu adduse n’omwana we omuwere!

Nakato anyumya: Emirimu gya ssaluuni gyali gimmalawo, kwe kufuna omukozi annyambeko  ku baana ababiri be nnina.

Omukulu Kenneth Kizito (3) yali asoma, oyo nga nsooka kumutwalayo nange ne ng’enda mu gyange.

Omuto ow’omwaka ogumu n’ekitundu ye yali yeetaaga okulabirirwa, era gwe nnaleetera omukozi  eyali yeeyita  Aisha Birungi.

Namuleeta kawungeezi, lwali lwa Ssande enkeera ku Mmande ng’enda okukomawo ku ssaawa nga 12:00 ez’olweggulo ng’omwana omuto ali awo akaaba, ng’omukulu omukozi adduse naye!

Gye twaggya omukozi yali yatugamba nti amumanyi bulungi, yatuwa ekifaananyi kye naye essimu gye yatuwa nti ya kitaawe olwagikubako oli ne yeegaana omuwala!

Ono mukama we yamwokya omukono.

Oluvannyuma twakizuula nti omuwala ono si gwe mulundi ogwali gusoose okubba w’akola. Ye bw’amala okubba ng’abulawo.

Twakizuula luvannyuma nti amannya ge amatuufu ye Byogero Aisha ng’ava Busoga. Era eyo bwe twalanga ku leediyo zaayo, waayita olunaku lumu omukozi n’asuula omwana e Jinja mu kasiko!”

Precious Kushemerirwe ow’e Seguku  agamba nti okuva omukozi lwe bamubba n’aleka ng’ennyumba nkalu yabeesonyiwa!

Kushemerirwe agamba: Mu 2011, mukwano gwange yanfunira omukozi, yamuggya Kinaawa  ng’asobola okukuuma awaka. 

Nga wayise emyezi esatu, natandika okuwulira ebigambo okuva mu baliranwa nti waliwo abavubuka abajja ewange okukyalira omuwala ono, nze nnalowooza nti baganzi be.

Lwe nnabiwulira waayitawo wiiki emu, nagenda okukomawo awaka ng’ebintu byonna babisitudde ne babitwala!

‘Abakozesa oluusi batuleeta omutima omubi’

Kyokka n’abakozi bagamba nti waliwo abakozesa abamu ababatulugunya abavaako ebikolobero bino okubaawo.

Jenifer Nattabi kati akola mu  katale e Nakawa. Agamba nti ennaku gye yalabira mu kukola obwayaaya yamuyigiriza nti ku nsi teri ayagala mwavu.

“Nnakolerako amaka ag’ebbeeyi, nga bansuubizza 60,000/- bulI mwezi.

Nafumbanga emmere naye nga sikkirizibwa kugiryako, nga bwe ngiryako ng’omusaala bagutema! Nze nga bangulira akawunga ne mukene wange, ate nga sikkirizibwa kusembera ku lujjuliro!

Righard Kasagga gye yali akola tebaamusasula.

Embeera nnali ngigumidde, naye oluvannyuma lw’emyezi mukaaga bwe nasaba ssente zange nga Ssekukkulu eneetera okutuuka, egyandibadde emitwalo 36, baatandika  okumbalira buli kimu kye mbadde nkozesa, okuva ku kawunga ne mukene, aw’okusula, amazzi ge nnanaabanga era okukkakkana nga bampadde emitwalo 11. Okuva olwo nnakoowa obwayaaya!”

Robinah Nakibuuka ow’e Kawempe na kati akyali mukozi. “Nze sikkirizibwa kusembera ku lujjuliro, olumala okusoosootola nnina kusigala mu ffumbiro okutuusa ng’okulya kuwedde. 

Sikkirizibwa kulaba ttivvi, singa nsobya bankuba kibooko,” bw’agamba.

Rehema Nakibuuka ow’e Mukono, agamba: Mbadde nkola obwayaaya okuva nga nnina emyaka 16 kuba nava mu ssomero nga bakadde bange bamaze okufa mu 2006.

Waliwo amaka gye mbadde nkola eyo e Namugongo eyo,  omusajja abadde talina buzibu bwonna gyendi wabula mukazi we nga mukambwe nnyo.

 Lwe nnatuukayo omwami yandaga ekisenge eky’okusulamu mu nnyumba ennene  wabula nnasulayo ennaku 2 zokka okukyala n’andagira okufulumya ebyange ntandike okusula  ku boyizikwota wabweru.

Omukyala yang’amba nti nnina kubeera mu ffumbiro, n’ekiyungu ky’omu nnyumba sirina kukifumbiramu. Baagulanga enkota y’ettooke naye ng’etteeka liri nti erina kumala wiiki, sso ng’awaka  baalina abaana 4, abakozi twali basatu nabo babiri.

Ng’omukyala aleka awagudde  ekiwagu ky’ettooke kimu,  nayisi y’omuceere oba n’amakolooni n’ebijanjaalo ekikopo kimu.

Kale ng’abaana tebakkuta, era olumu baalondalonda obukunkumuka mu kawooteeri ne babulya omukazi n’aswala nnyo, kyokka ate n’akubamu nze!”

By’oba otunuulira ng’onoona yaaya

Shifrah Nampijja, akulira ekibiina ekiyitibwa Bakozi Twezimbe e Kansanga agamba nti abantu abasinga bo batunuulira kimu kufuna  yaaya nga tebafuddeeyo kumanya omuntu gw’aleeta ayise mu makubo matuufu.

Nabbosa Joan yali yaaya n’abivaamu nga bamukuba nnyo.

“Anoonya yaaya mwenonere ewaabwe, kikuyambe okumanya w’osobola okutuukira bwe wabaawo omutawaana.

Omukozi sooka omukebeze akawuka ka mukenenya nga tannajja waka okwewala ow’omutima omubi ayagala okukabasiiga mwenna.

Tokozesa babbulooka kuba nabo balina ebizibu byabwe, ne bw’ajjuza  empapula ezikwata ku mukozi tebayinza kumwogerako bibi,” Nampijja bw’agamba.

Joan Nabbosa ,16, nga kati alina etendekero ery’ebyemikono lyasomeramu e Kyebando agamba nti ssenga we yamuggya Gomba ng’amaze P.6 n’amuleeta eKampala okukola.

“Twasooka kubeera Wakaliga, oluvannyuma ne nfuna omulimu e Ntinda naye nga nzuukuka ku 11:00 ez’oku makya, nga nneebaza ku 7:00 ez’ekiro!

Nga nzuukuka ne ntegeka abaana, ne nfumba ekyenkya. Bino nnabigumira, naye omukazi ng’ankuba nnyo!

Yansuubiza okunsasula 40,000/- naye zino yazisasulako emyezi ebiri egyasooka, egyaddako omwenda teyampa wadde ennusu!,” bw’agamba.

Minisha  Nangobi ,15, baamuggya Jinja naye yakolera emyezi 11 n’atasasulwa.

“Nga nzuukula ssaawa  11 okukanda capati ne nnyinyuka ku 6:00 ez’ekiro naye nga nkolera bitole bya mmere. Ab’ekibiina ekiyamba abaana be bannonda, kati mbeera Kyebando sso nga nnali nkolera Salaama.

Issac  Arinitwe, akola ku by’okuteekerateekera ekibiina ekirwanirira eddembe ly’abakozi abakola emirimu gy’awaka (Platform for Labour action) agamba nti okusinziira ku kunoonyereza kwe bakoze okuva mu 2007 bafunye abakozi 80 ku buli 100 abatulugunyizibwa.

“Tukola ebikwekweto ne tukwata bayaaya abali wakati w’emyaka 13 ne 16 okubaggya mu bikomera by’abagagga nga n’abamu batulugunyizibwa.

Tulina gwe twaggye mu maka e Bukoto nga babadde bamusasula 20,000/- omwezi, nannyini maka ng’amukozesa sso nga yava Ntung’amo. Twagenze okubalirira  ng’omwana  alina okusasulwa 1,400,000/- n’okumujjanjaba ,” Arinaitwe bwe yagambye.

 ENSASULA YA YAAYA

Nampijja agamba nti bangi basasulwa bitole bya mmere gye bakolera. Agamba nti ebiseera ebimu, abasajja bawaayo ssente nnyingi ew’omukozi kyokka ng’omukyala w’awaka ezimu azezza.

Awa amagezi nti wasaanye okubaawo endagaano wakati w’omukozi ne mukama we erambika emirimu gy’alina okukola, ssente z’ateekeddwa okufuna naye ekibi nti oluusi kino tekizobola olw’embeera.

OBUFERE OBULI MU BAKAYUNGIRIZI

Nampijja alabula abantu abanoonya abakozi b’awaka nti bakayungirizi bayinza okubazaalira ebizibu.

“Bakayungirizi abo tebalina gye banoonya bakozi abo wabula olw’okuba balina ofiisi bayaaya bennyini be bajja nga babeenoonyeza. Akuggyako ssente nti anona omukozi e Jinja oba awalala, sso ng’ali awo kunpi,” bw’agamba.

‘Yaaya yasiiga abaana bange 3 akawuka ka siriimu’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...