TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Oluyimba lw'eggwanga; Bwe lukyusibwamu Bannayuganda banaalwagala okusinga kati?

Oluyimba lw'eggwanga; Bwe lukyusibwamu Bannayuganda banaalwagala okusinga kati?

Added 10th July 2014

WASEMBA ddi okuyimba oluyimba lw’eggwanga? Ye omanyi bwe baluyita? Watya singa oluyimba olwo lukyusibwa, kikuyisa kitya?



Bya HERBERT MUSOKE


WASEMBA ddi okuyimba oluyimba lw’eggwanga? Ye omanyi bwe baluyita? Watya singa oluyimba olwo lukyusibwa, kikuyisa kitya?

Oluyimba lw’eggwanga ke kamu ku bubonero okukakasa obwetwaze bw’eggwanga. Olwa Uganda lwayiiyizibwa mu 1961 ng’ebula ebbanga ttono tufune okwefuga.

Okuva mu 1894 okutuuka mu 1962, Uganda yali efugibwa Bungereza era ng’oluyimba lw’eggwanga lya Bungereza lwe lukola n’oluyimba lwa Uganda!

Wabula okulwanyira obwetwaze bwe kwanyinnyittira wassibwawo akakiiko akaakulemberwa Polof. Ssenteza Kajubi okunoonya omuntu asobola okuyiiya oluyimba gw’eggwanda era ng’omugenzi Polof. George Wilberforce Kakoma eyaluyiiya yali memba ku kakiiko kano.

Ogwo gwali mulembe gwa Benedicto Kiwanuka mu 1961, nga ye Katikkiro wa Uganda. Omuyiggo guno gwalangibwa mu Uganda Argus, olupapula lw’amawulire olwa Gavumenti nga basaba abalina obusobozi okuyiiya oluyimba lw’eggwanga.

Polof. George Kakoma eyayiiya oluyimba lw’eggwanga.

Zaali mpaka zennyini ng’ebimu ku bitunuulirwa mu kulonda oluyimba olusinga, mwalimu okuba nga lumpi, nga luyiiye, nga lwa makulu, luwaana era nga lutunuulidde ebiseera eby’omu maaso.

Akakiiko era kaali kaagala omuntu anaayiiya bendera y’eggwanga n’akabonero k’eggwanga. Kyokka akakiiko ka Polof. Ssenteza kaavumirirwa, nti kaali kasinga kutuulako bantu bava mu masekkati ga Uganda.

Gavumenti enkuumi yayingira mu nsonga zino. Oluvannyuma oluyimba bwa Polof. George William Kakoma, lwe lwatwalibwa okubeera oluyimba lw’eggwanga.

Ono musajja wattu atuuse kufa nga April, 08, 2012 nga tasasuddwa lwa ntuuyo ze!

Yaweebwa 2,000/- zokka ng’akasiimo ku fayiro nnamba (Civil Suit No.197 Of 2008) [2010] UGHC 40 (30 July 2010).

Kigambibwa nti ennyimba y’oluyimba luno yayiiyiizibwa Polof. Kakoma kyokka ebigambo byawandiikibwa mukwano gwe Peter Wyngard, eyali omusomesa mu Makerere Institute of Education.

AMATEEKA G’OLUYIMBA LW’EGGWANGA
Oluyimba luno bwe lubeera luyimbibwa buli muntu alina okuyimirira, alina okuleka byonna by’akola, omulema yekka y’ateekeddwa okuwanika omukono ate nga gwegolodde bulungi.

Ennaku zino oluyimba lwa Uganda terukyaweebwa kitiibwa, bangi basigala batudde oba nga batambula ng’eno bwe baluyimba.

Osanga kino kye kivuddeko Gavumenti okwenyiwa, nga kati eyagala okulukyusa bayiiyeeyo olulala.

Bannayuganda lwaki tebaagala kukyusa luyimba lwa ggwanga
MINISITA w’ebyobulambuzi, Maria Lubega Mutagamba, nga July 2 yayanjudde enteekateeka y’okukyusa oluyimba lw’eggwanga ng’emu ku ngeri eyinza okulwagazisa Bannayuganda wamu n’okusiga mu bantu omwoyo gw’eggwanga.

Mu lukung’aana luno, minisita yabadde n’amyuka omubaka wa Uganda mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN), Kintu Nyago, omuyimbi Omumerika John Gado, omuyimbi Maro ne munnakatemba Alex Mukulu.

Minisita Mutagamba agamba nti okukyusa oluyimba lw’eggwanga kyakusaasaanyizibwako doola 75,000 (eza wano187,500,000/-).

“Tumaze okukola enteekateeka z’okukyusa mu luyimba lw’eggwanga okukakasa nga buli muntu alutegeera bulungi, alwagala era aluyimba n’essanyu wamu n’okulussaamu ekitiibwa ekirugwanira”, Minisita Mutagamba bw’agamba.

BAKUBAGANYE EMPAWA
Omwogezi w’ekibiina kya NRM, Ofwono Opondo agamba nti Okukyusa oluyimba lw’eggwanga si ky’ekisinga obukulu era ekyandibadde kissibwamu ssente z’eggwanga kuba waliwo ebintu ebirala naddala ebiruma Bannayuganda.

“Simanyi oba ddala Muky. Mutagamba yakoze okunoonyereza okukakasa nga ddala abantu tebaagala luyimba luno. Lwaki ayagala lukyusibwe kuba oyinza okwesanga nga waliwo ensonga endala lwaki tebaluyimba”, Mw. Opondo bwe yagambye.

Ssentebe wa disitulikiti y’e Luweero, Haji Abdul Nadduli agamba nti, “Amagezi bwe ganaatuyitirirako olwo buli kimu nga kituuse okufaafaagana kuba tujja kutuuka okwagala okuyusa buli kimu.

Ekikulu mu luyimba luno si kunyuma kwalwo wabula amakulu agalulimu n’ebyo ebyagobererwa nga luyiiyizibwa n’ensengeka y’ebigambo,” bw’agamba.

Agamba: Oluyimba luno lwayiiyizibwa mu ngeri ennyonnyola embeera za Bannayuganda mu bufunze nga bw’olaba obubonero obulala bwonna kuba singa omuntu abeera waakuwandiika bikwata ku Uganda asobola okuwandiika obutabo obuwera olwo byonna tubisse mu luyimba oba buli kye tulina mu Uganda tukisse mu kabonero?

Waliwo abaagala Uganda ekyusibwe erinnya eyitibwe MVERA (Mabira, Victoria, Elgon, Rwezori, Albert) mbu buli kitundu olwo kibeere nga kikiikiriddwa. Bwe tunaagenda nga tukyusa buli kimu tunaakoma wa?,” Haji Nadduli bw’abuuza.

Omuzannyi w’omupiira, Hakim Magumba, agamba nti bw’owuliriza ennyimba z’amawanga amalala n’olwaffe tolina w’osinziira kugamba nti lwandirukyusizza kuba luyimba lunyuvu okukamala.

Ono agamba nti eky’abantu obutayagala oba obutamanya luyimba luno si nsonga ereetera kulukyusa kuba abatalumanyi basobola okulusomesebwa n’abaana mu masomero ne lubatendekebwa ekyo ne kiggwa.

Eyali meeya wa Kampala, Ssebaana Kizito, agamba nti oluyimba luno terwetaaga wadde okukwatibwako kuba lulinga buwangwa bwa ggwanga ng’okubutaataaganya kibeera kitaataaganya ggwanga lyonna.

“Abagamba okukyusa oluyimba luno si ly’eggwanga kuba luno luyimba lwa ggwanga, si lwa muntu ssekinnoomu.

Okugamba nti abantu tebaagala kuluyimba, kisobola okuva ku nsonga ez’enjawulo omuli obutalumanya oba okuba nti omuntu oba emikolo kwe balina okuluyimbira tebabyagala nga bye birina okukyusibwa, Mw. Ssebaana bw’agamba.

Omuyimbi Bobi Wine, agamba nti okukyusa oluyimba lw’eggwanga kigenda kuba ekikolwa ky’obutaliimu ekikyasinze mu byasa byonna omuntu by’abadde ku nsi.

“Minisita ono mu kifo ky’okulowooza ku bintu by’okwonoona ssente z’omuwi w’omusolo, lwaki talowooza ku biyinza okuyamba abantu ng’abaana abafa nga bazaalibwa, abakyala abafa nga bazaala n’embeera endala okulaba ng’abantu bafuna obulamu obulungi’, Bobi Wine bw’agamba.

Mw. Livingstone Ssewannyana, akulira ekitongole ky’eddembe ly’obuntu mu Uganda, agamba nti okukyusa oluyimba lw’eggwanga si ky’ekisinga obukulu ku bizibu eggwanga bye lirina era ekisaanidde okussibwako essira nga waliwo ebiruma abantu nga enguudo embi, eddagala n’embeera y’amalwaliro n’ebirala.

“Gavumenti okuyiwa obutitimbe bwa ssente mbu ekyusa luyimba lwa ggwanga kubeera kwonoonya ssente za muwi wa musolo kuba sisuubira nti aliko okunoonyereza okukakasa ky’ayogera nti abantu tebaagala luyimba lwa ggwanga ensonga gy’awa okulukyusa,” bwe yagambye.

Minisita w’amawulire mu Gavumenti y’e Mmengo, Denis Walusimbi Ssengendo agamba: Ekikulu si kukyusa luyimba wabula okuzuula ensonga lwaki abantu tebakyayagala kuyimba luyimba luno nga bwe gwali mu biseera by’edda.

Omubaka wa Pulezidenti mu Kampala, Hajati Aisha Kabanda agamba nti ekizibu si kukyusa luyimba, wabula okukola ku nsonga oluyimba ze lussaako essira n’okussa mu mikono gya Bannayuganda.

“Okugeza oluyimba luno lulaga nga Uganda bw’erina ettaka eggimu ne Bannayuganda bwe beenyumiriza mu mirimu gye bakolera eggwanga lyabwe kyokka bwe batunuulira nga tebalina kye bafuna mu ttaka lino okuggyako okufiirwa ssente ze bassaamu sisuubira nga basobola okufuna amaanyi agaluyimba n’essanyu,” bwe yagambye.

Pulezidenti w’ekibiina kya UFA, Betty Kamya agamba nti oluyimba luno lusobola okukyusibwa singa eggwanga liba nga terikyalina bikulu byakukolako ate nga lukyusibwa ku lw’obulungi bwa bannansi sso si balambuzi.

“Nandyagadde okukyusa okussaamu akatundu akalambika obuvunaanyizibwa bwa bannansi eri eggwanga lyabwe nga bw’olaba mu ‘Kitiibwa kya Buganda’, Obuganda we buwera ‘Okwewaayo okukuza Buganda’, nga ky’ekimu ekiyinza okuyamba okussa mu Bannayuganda omutima gw’okukola n’amaanyi’, Muky. Kamya bw’agamba.


Oluyimba lw’eggwanga; Bwe lukyusibwamu Bannayuganda banaalwagala okusinga kati?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ndagga ng'ayogera eri bannamawulire.

'Amasomero agasomesa ebibii...

Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Wakiso, Daniel Ndagga, ategeezezza ng'amasomero agasinga bwe gaziimudde...

Ente ali mu kifaananyi ne banne gye baakwatiddwa nayo.

Babakutte lubona n'ente enzibe

Poliisi y'e Sseeta Nazigo mu disitulikiti y'e Mukono ekutte abasajja babiri abateeberezebwa okuba ababbi b'ente...

Minisita Kuteesa

Minisita Sam Kuteesa ayanju...

MINISITA w'enkolagana y'amawanga g'ebweru, Sam Kahamba Kuteesa ayanjudde lipooti ku bwegugungo obwaliwo nga November...

Myeyu asibiddwa emyaka ena.

Eyakwatibwa n'ebyambalo by'...

SSENTEBE wa kkooti y'amagye e Makindye, Lt. Gen. Andrew Gutti asibye omusajja emyaka ena mu kkomera e Kitalya lwa...

Bakiraaka ba kkooti nga bambadde yunifoomu.

Baleese yunifoomu z'abakozi...

Kaweefube w'okulwanyisa obuli bw'enguzi, essiga eddamuzi limukwasizza maanyi bwe litongoza  yunifoomu  egenda okwambalibwa...