TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Olukiiko lwa Busoga; Lwa kubbula ekitiibwa kya Kyabazinga oba okukizza mu kinnya

Olukiiko lwa Busoga; Lwa kubbula ekitiibwa kya Kyabazinga oba okukizza mu kinnya

Added 17th July 2014

Pulezidenti Museveni yatongozza Olukiiko lwa Busoga oluggya, olugenda okutema empenda ezinaalonda Kyabazinga. TOM GWEBAYANGA akulaga eddimu eritunuulidde Olukiiko luno.



Pulezidenti Museveni yatongozza Olukiiko lwa Busoga oluggya, olugenda okutema empenda ezinaalonda Kyabazinga. TOM GWEBAYANGA akulaga eddimu eritunuulidde Olukiiko luno.

Ssosolye bw’atafa atuuka ku lyengedde! Olugero lutuukira bulungi ku Busoga oluvannyuma lw’okutongoza Olukiiko oluggya olw’abantu 94. Omukolo gwabadde ku kitebe ky’Obwakyabazinga e Bugembe nga 29 May 2014.

Omukolo guno gwakkakkanyizza emitima gy’Abasoga kubanga lino ly’ekkubo lyokka ery’okufuna Kyabazinga atali wa kusika muguwa.

Museveni yasiimye obuvumu bwa Isabalangira wa Busoga, era nga y’akola nga Kyabazinga, David Kaunhe Wakholi olw’okugatta Abalangira 10 ne bakola Olukiiko, okuggyako ow’e Bulamogi, Edward Colombus Wambuzi ataabaddewo n’atatuma na mubaka.

Olukiiko lwa Busoga luzze lubuuka emiziziko kuba lwe lwalayizibwa, Poliisi n’amagye gaabagaana okulinnya ku kitebe nti teruli mu mateeka.

Ku olwo omukolo baaguzza ku Bilkon Hotel mu Jinja, gye baalondera Sipiika, munnamateeka George William Mutyabule n’omumyuka, Florence Biruma.

Kino kyazinzeeko vulugu abaddewo bukya Henry Wako Muloki afa mu August 2008. Abalangira 11 abalonda Kyabazinga bwe baalemwa okulonda omuggya, abamu nga baagala Omulangira Willam Gabula Nadiope iv ate abamu Edward Colombus Wambuzi, mutabani wa Muloki y’aba afuuka Kyabazinga.

EMYAKA ESATU tewali LUKIIKO
Gibadde giweze emyaka esatu nga Busoga terina Lukiiko, okuva ekisanja ky’Olukiiko olukadde kiggwaako mu 2011. Kino ky’ekibadde kisibye okulonda Kyabazinga kuba Olukiiko lwe lulina okutuula luyise Semateeka ali mu bubage, anaasinziirwako okukikola.

Ekirala z’enkaayana wakati w’abawagizi ne Edward Colombus Wambuzi (Bulamogi), eyalondebwa nga 31 October 2008 n’Omulangira William Gabula Nadiope 1V owa Bugabula BB e Kamuli, eyalondebwa nga 5 October 2009.

Abawagizi bano be babadde bakubagana amakuuli ng’abamu baddukira mu Kkooti, abamu wa Museveni, okuwoza ensonga z’ebyobuwangwa n’ennono!

Okusinzirira ku Sipiika Mutyabule, Busoga evudde mu masang’anzira kuba okubulawo kw’olukiiko kusibye byonna.

“Abalangira baalemwa okukkaanya, kwe kusalawo tulongoose mu Ssemateeka, mubeeremu obuwayiro obunaagobererwa okutereeza Busoga nga tusookera ku ngeri Kyabazinga gy’anaalondebwamu,” Mutyabule, bwe yagambye.

Okulongoosa Ssemateeka kwatandika mu 2002, Muloki bwe yatongoza akakiiko aka Busoga Constitutional Review Commission (BCRC) nga kakulirwa munnamateeka Shaban Muziransa wabula kaali tekannamaliriza, Muloki n’afa.

Enkaayana z’omusika bwe zaabalukawo, Busoga Lukiiko enkadde n’olukiiko lw’Ebika baasalawo nti okulonda Kyabazinga omupya, Ssemateeka alina kuba nga w’ali.

ABA WAMBUZI BAWAKANYA AKAKIIKO
Pulezidenti Museveni yawa akakiiko obukadde 80 okwebuuza mu Masaza wabula mu makkati awo, aba Wambuzi baakiwakanya nti Ssemateeka teyeetaagibwa kuba nti omuntu waabwe yalondebwa dda.

Era okukiggumiza, baagaana akakiiko okulinnya mu Ssaza ly’e Bulamogi, Wambuzi ly’akulembera.

Nga kasinzirira ku birowoozo by’Amasaza 10, akakiiko kaakola ebbago lya Ssemateeka kyokka lyetaaga okusomerwa Olukiiko olutaliiwo ate nga lwe lulonda Kyabazinga.

Akola nga Kyabazinga , David Kaunhe n’olukiiko lw’Ebika kwe kuyisa ekiteeso Amasaza galonde abakiise abaakoze Olukiiko oluggya.

EMIRIMU
Sipiika Mutyabule agamba nti Olukiiko lwakusooka kwerondamu obukiiko obukola emirimu egy’enjawulo, bukole lipoota ey’awamu bugyanjule olwo Olukiiko olunene lulyoke lutuule.
Obukiiko buno kuliko ak’ebyettaka n’amayumba, aky’ebyensimbi, ak’ebyobulamu, aky’ebyobuwangwa n’ennono, ebyamasannyalaze n’obugagga bw’omu ttaka, aka Physical Infrastructure, aky’ebyobulimi, ak’ebyamateeka,ak’okuddaabulula n’okusonyiwagana n’ak’embeera z’abantu.

Mutyabule agamba nti Obukiiko bugenda kulondoola ebyobugagga by’Obwakyabazinga ng’ettaka ku bitebe bya disitulikiti n’amagombolola, emyalo eminene, ebibira, bbasale z’abayizi n’emisolo egiva mu makolero n’okulondoola ebibuze bukya Muloki afa.

Mu bbago lya Ssemateeka anaasomerwa Olukiiko mulimu ebisaanyizo by’ayagala Obwakyabazinga, b’ani abamulonda, obuyigirize bwe, ng’ava mu Masaza 5 agaleeta Kyabazinga, nga yazaalibwa mu Uganda, nga si lujuuju era ng’aweesa Busoga ekitiibwa.

Lukiiko era y’akutunula mu ttiimu eronda Kyabazinga oba abamulonda basigale 11 abaddewo oba kwongerweko abakulu b’Ebika.

Isabalangira wa Bugabula BB, Henry Woira yategezezza nti Lukiiko era yaakulondoola bbasale z’Obwakyabazinga bwe zibadde zigabwa mu masomero Kiira College Butiki, Busoga College Mwiiri, Nkanyoni Girls, Jinja College, Iganga SS, Wairaka College n’amalala.

Florence Biruma, amyuka Sipiika wa Lukiiko agamba nti y’akukozesa obuyinza bwayo eyite abaagula ettaka ly’Obwakyabazinga boogere abaalibaguza bakwatibwe ku nkoona.

Erimu ku ttaka eryatundibwa kuliko eryaliko abalwadde b’emitwe okumpi n’eddwaaliro ly’e Jinja ekkulu, ery’oku kitebe ky’Obwakyabazinga, akasozi Mpumudde, Kyabazinga omuggya kw’akolerwako emikolo, ery’ekkomera ly’e Bufulubi n’eddala. Mutyabule agamba nti August we gulituukira nga Busoga efunye Kyabazinga omuggya!

ABA WAMBUZI MU KKOOTI
Yadde biri bityo, aba Wambuzi tebatudde era baatutte omusango mu Kkooti y’e Jinja nga baagala Olukiiko oluggya lusazibwemu kuba bukya lulayizibwa, emirimu gyalwo girukola bweru w’amateeka!

Nga bayitira mu bannamateeka aba Matovu & Co Advocates n’aba Peter Mukidi Walubiri & Co Advocates, baagambye nti Oluliiko olwa bammemba 94 lufu, lulina kubaamu abakiise 110, okuli n’abo Kyabazinga (ataliiwo) b’alonda.

Bagamba nti yali nsobi okulayiza Olukiiko n’okulutongoza, nti yadde Museveni yabirimu ng’omugenyi omukulu tebijja kukola.

Olukiiko lwa Busoga; Lwa kubbula ekitiibwa kya Kyabazinga oba okukizza mu kinnya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ndagga ng'ayogera eri bannamawulire.

'Amasomero agasomesa ebibii...

Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Wakiso, Daniel Ndagga, ategeezezza ng'amasomero agasinga bwe gaziimudde...

Ente ali mu kifaananyi ne banne gye baakwatiddwa nayo.

Babakutte lubona n'ente enzibe

Poliisi y'e Sseeta Nazigo mu disitulikiti y'e Mukono ekutte abasajja babiri abateeberezebwa okuba ababbi b'ente...

Minisita Kuteesa

Minisita Sam Kuteesa ayanju...

MINISITA w'enkolagana y'amawanga g'ebweru, Sam Kahamba Kuteesa ayanjudde lipooti ku bwegugungo obwaliwo nga November...

Myeyu asibiddwa emyaka ena.

Eyakwatibwa n'ebyambalo by'...

SSENTEBE wa kkooti y'amagye e Makindye, Lt. Gen. Andrew Gutti asibye omusajja emyaka ena mu kkomera e Kitalya lwa...

Bakiraaka ba kkooti nga bambadde yunifoomu.

Baleese yunifoomu z'abakozi...

Kaweefube w'okulwanyisa obuli bw'enguzi, essiga eddamuzi limukwasizza maanyi bwe litongoza  yunifoomu  egenda okwambalibwa...