TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Abakuuma amaka ne bizinensi lwaki beefudde okubba n'okutta bakama baabwe?

Abakuuma amaka ne bizinensi lwaki beefudde okubba n'okutta bakama baabwe?

Added 8th August 2014

ABASERIKALE ba poliisi basattira lw’ababbi ababayigga okubatta oluvannyuma lw’abadde aduumira ekitongole kya Flying Squad akirwanyisa obubbi bw’emmundu e Kawempe okuttibwa.



Bya HERBERT MUSOKE NE SHAMIRAH NABIDDO

ABASERIKALE ba poliisi basattira lw’ababbi ababayigga okubatta oluvannyuma lw’abadde aduumira ekitongole kya Flying Squad akirwanyisa obubbi bw’emmundu e Kawempe okuttibwa.

Ssaalongo David Kyambadde yattibwa ku Lwokutaano nga July, 25, 2014 ekyawalirizza omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Andrew Flex Kaweesi okufulumya olukalala lwa bofiisa ba poliisi 15 abayiggibwa ababbi okubatta.

Okusinziira ku Kaweesi, abaserikale babiri ku bali ku lukalala luno bamaze okuttibwa nga kuno kwe kuli Haji Abdul Ssebaggala eyakubwa amasasi ng’adda awaka e Lungujja mu May.

Ng’oggyeeko bano, omwaka oguwedde abaserikale ba poliisi basatu okuli ASP, Mathias Nteziriyalyo eyattibwa e Bulenga mu July, 2013, Maj. Achilles Tumushabe ne Simon Bariyo abawanyisiganya n’ababbi amasasi e Mubende.

Emmundu abakuumi gye baakozesa mu bubbi
ng’ezuuliddwa e Kanyanya.

Kuno kw’ogattako abasuubuzi abazze battibwa mu Kampala n’abakulembeze b’Abasiramu, ne batuukia n’okulowooza nti kirabika waliwo oluwe lw’okusanyaawo obusiraamu nga batta abakulembeze babwe okubanafuya.

Obadde okimanyi nti n’amakampuni g’abakuumi amangi mu Uganda naddala mu Kampala bongedde okubizza embeera?

Lipoota ya poliisi eraga nti abakuumi bano obapangisa mmundu zaabwe eri ababbi n’abatemu oba bo bennyini okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka!

Abantu abasoba 20, be bakattibwa emmundu mu mwaka guno gwokka, ate omukutu gwa yintaneeti ogwa www.gunpolicy.org, gulaga ng’abantu 280, be battibwa mu 2009; 351 mu 2008; 247 mu 2007; 377 mu 2006, 368 mu 2004.

Kino kirese emitima gy’abantu nga gyewanise olwo abalina ssente baddukidde mu bitongole ebikuumi okubawa obaserikale okubakuuma kyokka n’abaserikale bano bafuuse ekizibu anti be bakwatira mu bubbi n’obutemu nabo beeyongedde.

ABAKUUMI BALI MU BUBBI
Hussain Lubega ne Peter Ewuw aba Saracen, baakwatibwa poliisi oluvannyuma lw’okwekobaana ne ddereeva wa mmotoka nnamba UAJ 019B n’abaserikale abalala okuva mu kkampuni ya Saracen
ne babba emitayimbwa egizimbisibwa ku ekizimbe ky’okujjanjaba kookolo (Cancer institute) e Mulago.

Kigambibwa nti Owuw ye yaluka olukwe ng’asuubizza banne okubawa 100,000/- buli omu oluvannyuma lw’omupango okuyitamu.

Bano baggulwako omusango gw’obubbi ku fayiro SD 42/30/04/2014 ku poliisi y’e Mulago.

Richard Tsau ne Moses Wakhata aba kkampuni ya Delta force baakwatibwa mu bubbi bwa supamaketi ya Peoples' e Kanyanya we baali basindikiddwa okukuuma ne babba ssente ezitaamanyibwa muwendo n’ebimu ku bintu.

Oluvannyuma baasuula basuula emmundu gye baali bakozesa mu kiyumba ekimu ekiriraanyeewo era nga banoonyezebwa poliisi oluvannyuma lw’okudduka ng’omusango gwabwe guli ku poliisi y’e Kanyanya ku SD 16/15/04/2014.

Ismail Musasizi ne Isaac Mulefu abakuumi b’ekitongole kya Saracen baakwatibwa poliisi y'e Wandegeya nga babbye bbanka ya Pride gye baali bakuuma bwe baamenya seefu ne babba ssente eziri mu bukadde.

Bano baggulwako omusongo gw’obubbi ku fayiro nnamba SD 47/28/04/2014.

Joseph Maseleka ( oluusi yeeyita Amon Bwambale), yakwatibwa poliisi y'e Nakulabye ng’abbye ebintu bya bbanka ya Pride gye yali akuuma omwali Flat T.V, homesheeta, DVD ne birala nga bibalirirwamu obukadde 5.

Ono yaggulwako omusango ku fayiro nnamba SD 24/18/07/2014

‘Abakuumi basasulwa kitono kye bava babba’
KAMINSONA wa poliisi avunaanyizibwa ku bw’okwerinda n’emundu z’obwanannyini, Bazil Mugisha agamba nti babadde bafubye okukugira emmundu eziweebwa abantu kinnoomu, naye abakuumi bapangisa emmundu zaabwe eri ababbi.

Agamba nti mu bitongole ebikuumaddembe, abakuumi bano be basinze okuzza emisango.

Okugeza mu 2011 abakuumi mu kkampuni zino be baasinga abaserikale bonna mu Uganda okuzza emisango. Bazza emisango 339 ne baddirirwa poliisi eyazza emisango 164.

Mu mwaka ogwo, abakuumi bano batta abantu 40 n’abalala 15 baabasimattuka busimattusi.

Emisango egyaloopebwa ku poliisi egirimu abakuumi bano gyali 226 mu 2012. Kizuuliddwa nti abakuumi bano bazza nnyo emisango gy’okutulugunya n’obuliisamaanyi.

Omwaka oguwedde emisango 45 gye bazza gyali gyekuusa ku buliisamaanyi!

Omwaka oguwedde okusinziira ku poliisi, abakuumi bano bazza emisango gy’obubbi 157 ekyawaliriza omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano , Andrew Felix Kaweesi okulagira nti kkampuni y’abakuumi eneesangibwa ng’abakuumi baayo bazza nnyo emisango yaakuggalwa.

“Abakuumi bano beekobaana n’ababbi n’abatemu okutulugunya abantu. Oluusi beesibamu n’emiguwa mu bulago ng’obubbi bumaze okubaawo okuwa ekifaananyi nti baabatulugunyizza nga bagenda okubba,” bw’agamba.

Likodi za poliisi ziraga nti mu Uganda mulimu kkampuni z’abakuumi ezisoba mu 86.

Nga July, 07,2014, Andrew Kachkora nga musomesa mu yunivasite y’e Gulu yakubwa omukuumi amasasi agaamuttirawo e Gulu.

Mu 2006, abazigu baakuba eyali akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango, James Habutiriro amasasi agaamutta e Bukoto.

Oluvannyuma kyazuulibwa nti mwalimu abakuumi ba kkampuni emu. Mu April wa 2010, abakuumibwe baakuba amasasi, abayizi ba  Yunivasite y’e Makerere babiri, abantu baalina ekirowoozo nti abakuumi baggyibweko emmundu.

Sharon Kuku owa Pinnacle Security agamba nti abakuumi abasinga baali baserikale ba poliisi oba amagye ne bawummula, batendeke bulungi, kale okubaggyako emmundu kinaataasa kitya ebintu by’abantu bye balina okukuuma?

Mugisha agamba nti abakuumi abamu bafuna emitwalo 15 sso nga bakuuma ebintu byabukadde.

Ku mbeera eriwo zino tezisobola kubeezaawo muntu yenna alina okusasula fi izi, okusasula ssente z’ennyumba, ng’ate abakuumi bakola essaawa nnyingi.

Awa amagezi Amakampuni gano okwongera ku musaala gw’abakuumi.

Jane Nalumansi ow’e Lungujja agamba nti omukuumi ku bbaala emu e Mengo yamukwata n’amukaka omukwano.

“Nze sirowooza nti musaala, kuba omusajja ono yali amaze ebbanga ng’ankwana, bwe nnagaana kwe kukwata olumu bwe nnali nfuka emmanju w’ebbaala. Kati omusaala gukwataganira wa na kino?,” bw’abuuza.

Omukuumi ono yasibibwa era ali Luzira.

Hajji Amir Lukose ow’e Seeta agamba nti kkampuni z’abakuumi ziyitiridde, ate ezimu za banene mu Gavumenti, kale bakola ebikolobero awatali abakuba ku mukono kuba bakimanyi layisinsi
ya kkampuni tewali ajja kugisazaamu.

Kaminsona Mugisha, agamba nti mu kiseera kino batandise okulamba emmundu zonna eziri mu Uganda okutandikira ku z’obwannannyini, ebitongole by’obwannannyini ebikuumi, poliisi n’amagye.

Osanga kino kinaaziyiza abakuumi okukozesa obubi ezaabwe n’obutazipangisa babbi na batemu.

Abakuuma amaka ne bizinensi lwaki beefudde okubba n’okutta bakama baabwe?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakadde abasinga ob...

Omu ku bakadde ababadde basinga obukulu mu Uganda afudde!

Nantume ng'akaaba

Nantume atulise n'akaaba bw...

Omuyimbi Moureen Nantume atulise n'akaaba bw'ajjukidde engeri Katonda gye yamuggya mu bwayaaya n'amufuula sereebu...

Kangave ne Deborah nga bamema

Eyali omwogezi wa Poliisi a...

Eyali omwogezi wa poliisi mu bitundu okuli e Luweero ne Masaka, Paul Kangave ayanjuddwa mu bazadde ba mukyalawe...

Katikkiro Charles Peter Mayiga n'omuyimbi Carol Nantongo

Carol Nantongo afe essanyu ...

OMUYIMBI Carlo Nantongo kate afe essanyu Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yamuwaanye nti ayimba ‘ebiriyo'. ...

Nina Roz ne Daddy Andre nga bamema

Nina Roz asekeredde abamuye...

" NG'ENZE ne Andre abalala bali ku byabwe. Okukyala kuwedde kati mulinde kwanjula na mbaga," bwatyo omuyimbi Nina...