TOP
  • Home
  • Emboozi
  • AFAANANA BESIGYE: Ayagala kusisinkana n''abooluganda lwa Besigye

AFAANANA BESIGYE: Ayagala kusisinkana n''abooluganda lwa Besigye

Added 14th August 2014

COL. Dr. Warren Kizza Besigye Kifefe yawasa mukyala we Ying. Winnie Karangwa Byanyima mu 1998 mu mukolo ogw’ekimpoowooze mu Eklezia ya Lourdel Chapel e Nsambya.

Bya Musasi Waffe

Omuvubuka Munnakenya COL. Dr. Warren Kizza Besigye Kifefe  yawasa mukyala we Ying. Winnie Karangwa Byanyima  mu 1998 mu mukolo ogw’ekimpoowooze mu Eklezia ya Lourdel Chapel e Nsambya.

Abaagalana bano baagattibwa Kalidinaali Emmanuel Wamala mu bufumbo obutukuvu ku mukolo ogwaliwo ku lunaku Olwokusatu nga mu Kklezia  mwalimu abantu ba muswaba  abatasukka 20 engeri gye lwali olw'okukola.

 Besigye yagenda okukuba Winnie  ekidaala nga bamaze emyaka kumpi kkumi  nga baagalana kyokka ng'omukwano gwabwe gwakyama, nga buli omu asula yekka. Baamala kugattibwa mu 1998 ne batandika okubeera bombi mu maka ga Besigye e Luzira 

 Nga Besigye tannakwatagana na Byanyima, yalina omukyala, omugenzi Judith Bitwire gwe yawasa mu bufumbo bwa kawundokakubyeddirisa.

 Bitwire ye maama wa mutabani wa Besigye omukulu, Adam Ampa Besigye  gwe yazaala mu 1988. Besigye agamba nti  baayawukana ne Judith mu 1991 era agenda okufa mu 1999 nga bamaze emyaka munaana nga baayakuna dda.

Wabula bwe baali tebannaawukana mu 1991, Judith yazaala omwana omulala mu 1990 kyokka bambi n’afa  mu 1991 nga tannaweza mwaka.

 Mu kampeyini z’obwapulezidenti eza 2001, obufumbo bwa Besigye ne Judith bwafuuka emboozi, Pulezidenti Museveni bwe yalumirizza Dr. Besigye nti alina obulwadde bwa Siriimu, nti mukazi we Judith n’omwana baafa bulwadde obwo!

Ng’okulonda kuwedde mu March wa 2001, Besigye yaloopa Pulezidenti Museveni  mu kkooti nti yali amubbye obululu gattako n’okumwonoona mu balonzi bwe yakimussaako nti mulwadde wa Siriimu.

Mu mpaaba ye, Besigye mwe yannyonnyolera nti kituufu, yaliko mu bufumbo ne Judith  wabula ne baawukana mu 1991, era nti kituufu baafiirwa omwana  n’oluvannyuma Judith naye n’afa mu 1999 kyokka ekyamutta Besigye teyakimanya.

Pulezidenti Museveni yeewozaako mu kiwandiiko kye yaweereza mu kkooti nti okwogera nti Besigye mulwadde teyakikola mu mutima mubi wabula yeesigama ku ndabika ya Besigye era nti teyabyogera kumwonoona mu balonzi.

AMPA BESIGYE

Kitaawe wa Judith, musajjamukulu Emmanuel Bitwire  yavaayo mu biseera ebyo n’asaba bannabyabufuzi okukikomya mbagirawo okuyingiza omwana we omugenzi mu lwokaano lw’ebyobufuzi kubanga mukaziwattu yali yeefiira dda.

Muzeeyi Bitwire yategeeza bannamawulire nti ebyali byogera ku muwala we byali bibajjukiza nga famire ennaku y’okufiirwa n’ategeeza nti n’omwana Adam Ampa Besigye, Judith gwe yaleka eyali asoma P7 ebiseera ebyo yali teyeetaaga kuwulira bintu ng’ebyo ku nnyina.

Mu kiseera ekyo Ampa yalina emyaka 13. Kati Ampa alina emyaka 26 ng’abeera San Francisco, mu ssaza ly’e  California mu Amerika. Ampa yasoma byakusiiga  bifaananyi e Canada 

Anselm Kyamufumu Besigye

Winnie Byanyima yamala omwaka gumu mu bufumbo bwe ne Besigye n’akubawo eddenzi  mu ddwaaliro lya  Agha Khan mu kibuga Nairobi e Kenya nga September 1, 1999, 

Omwana ono omulenzi Besigye yamuwa erinnya erya Anselm Kyamufumu Besigye era ye mwana yekka Byanyima gw’alina mu Besigye mu mufumbo bwabwe kati obuyingidde emyaka 16.

Anselm kati ow’emyaka 15 abeera ne nnyina Byanyima e Wallingford, mu ssaza ly’e Connecticut mu Amerika. Byanyima y’akulira ekitongole ekya Oxfam International.

BAWALA BA BESIGYE

Ng’oggyeeko  Ampa ne Anslem, abaana ba Besigye abalala tebamanyiddwa kyokka ng’ab’omunda mu famire  babbiddeko Bukedde nti Besigye alina abawala basatu nga bonsatule bavubukidde ddala.

“ Dr.Besigye  alina abawala  basatu  batera okubeera mu maka ge e Kasangati era tabakweka”, omu ku bayambi ba Besigye eyasabye obutamwatuukiriza bwe yategeezezza.

Ensonda zaategeezezza nti omu ku bawala ba Besigye yamufumbiza mu January omwana guno ku mukolu ogw’ekyama ogwabadde mu maka ge e Rwakabengo mu kibuga ky’e Rukungiri.

Ebikwata ku  buzaale bw’abawala abo Besigye abikuuma nga kyama kyokka ensonda zaategeezezza nti yabazaala mu biseera  nga yaakaawunana ne Judith mu 1991.

BESIGYE YALINA OMUKAZI E KENYA?

Mu April wa 1981, Dr. Kizza Besigye  yadduka mu Uganda ng’abajaasi ba Obote baagala okumumiza omusu, ekiwejjowejjo Nairobi mu Kenya gye yamala omwaka mulamba.

Bangi abafaanagana mu nsi

Besigye agamba nti abajaasi ba Obote baamuyoola bwe yali agenze ku wooteeri ya Sheraton, mu biseera ebyo eyayitibwanga Apollo Hotel ne bamutwala  ku International Hotel, kati eyitibwa Serena ne bamutulugunya kumpi kumutta bussi.

Wabula oluvannyuma baamuyimbula ne bamulagira okweyanjula enkeera kyokka teyaddayo n’atokola mu Uganda n’agwa mu Kenya gye yasanga Jim Muhwezi ne David Sejjusa, abaamulekayo mu Kenya bo ne bagenda mu nsiko okwegatta ku Museveni.

Besigye agamba nti yafuna omulimu mu ddwaaliro  lya Agha Khan  era yamala omwaka mulamba n’asalawo okwegatta ku bayeera ba Museveni e Luwero. 

Besigye  yategeezezza nti oyo omuvubuka Munnakenya  eyamufaanana   tayinza kubeera mutabani we kubanga  abaana be bonna abamanyi.

Omuvubuka oyo, Jeff Ochieng ow’emyaka 22  atamanyi kitaawe kyokka nga yafaanana Besigye okufa obufi  agamba nti ategeka kujja mu Uganda babakebere omusaayi kubanga naye akooye abantu  okukimussaako nti mutabani wa Besigye!

Jeff Ochieng ky'agamba

Ochieng yategeezezza nti ye mwetegefu okusisinkana Besigye wamu n'abooluganda lwe singa aweebwa omukisa

Munnakenya afaanana atya abaana ba Besigye bonna!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...