TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Obulombolombo obwawula abasajja ku balenzi

Obulombolombo obwawula abasajja ku balenzi

Added 18th August 2014

AMAWANGA mangi gakola obulombolombo obukakasa nti omulenzi asajjakudde. Wano mu Buganda ekimu ku bigezo bye baawanga omulenzi balabe oba asajjakudde kwe kusala enkoko era baabatandisanga kuva ku myaka 12 egyo gye baagambanga nti tegikyakubwa yaabwe.

Bya EMMANUEL LUGANDA

AMAWANGA mangi gakola obulombolombo obukakasa nti omulenzi asajjakudde. Wano mu Buganda ekimu ku bigezo bye baawanga omulenzi balabe oba asajjakudde kwe kusala enkoko era baabatandisanga kuva ku myaka 12 egyo gye baagambanga nti tegikyakubwa yaabwe.

Mu Bugisu omukolo ogulaga nti omulenzi asajjakudde gwa kusala Mbalu.

Mu buwangwa bw’Abagisu omulenzi okufuuka omusajja atuukiridde balina okumusala Embalu.
Ekiseera ky’okusala Embalu bwe kituuka, Abagisu beetaba mu bikujjuko okuli okutambula okwetooloola ebyalo by’abo be bagenda okusala Embalu, okukyalira ebifo by’obuwangwa basanyuse lubaale n’okuyimba ennyimba z’obuwangwa nga bwe batyabula amazina gaabwe.

Akambe ke bakozesa okusala Embalu.

EMBALU YATANDIKA ETYA?
Richard Wetaya omutuuze ku kyalo Bumboi mu disitulikiti y’e Mbale agamba:
Abakulira ebyobuwangwa e Bugisu bagamba nti okusala Embalu kwasibuka ku jjajja w’Abagisu Masaba bwe yali ayagala okuwasa muwala w’Abakalenjin okuva e Kenya eyali ayitibwa Nabarwa ng’ono okumusala Embalu kaali katego okulaba oba yali muzira ekimala okugumiira akambe.

Okusinziira ku ngero z’Abagisu, omuntu eyasooka okusalwa Embalu yali tamalaako mu nsonga z’amaka kwe kumusala nga erimu ku makubo g’okunogera eddagala ekizibu ky’obwassekibotte kye yalina.

Ensonda ezimu okuva mu buwangwa bw’Abagisu zigamba nti omuntu gwe baasooka okusala Embalu baali bamubonereza lwa kwegadanga ne bakaabasajja kwe kusalawo bamulaawe nga bamusala Embalu. Wabula omusajja ono bwe yawona yatandikira we yakoma okukijjanya bakaabasajja ekyawaliliza abasajja abalala okubasala Embalu nga balowoza nti omusajja bwe bakusala Embalu oba osaza kimu mu nsonga z’omukwano.

BYE BAKUKOLAKO NGA BANAAKUSALA
Wetaya agamba:
Nga tebannansala Mbalu, nneetooloola ku kyalo nga nnyimba n’okuzina okumala ennaku 3, okunsiiga obuwunga bwa muwogo mu mutwe n’ebikanja by’amalwa ku mubiri gwonna.

Abeng'anda zange baazina nga bwe banneetooloola nga bakuba eng'oma nga bwe bayimba. Abawala okuli ne bannyinaze beetaba mu mbuutu eno nga bwe basaakaanya.

Abakulu b’ebyobuwangwa bantambuza ku kyalo nga bannambuza ebifo by’obuwangwa nga bwe ntegeeza balubaale ekigendererwa kyange eky’okunsala Embalu n’okubasaba emikisa ban¬zikirize nfuuke omusajja omujjuvu.

Nga ntuuse mu kifo, nneetooloola emirundi mingi nga nnyimba ennyimba z’obuwangwa ezitendereza balubaale nga mbasaba obuvumu nsobole okukola abakadde kye baagala. Bwe namala okuyimba, bampa omulandira gwe bayita ‘Luli’ gwe nagaaya ne mmira amazzi gaagwo.

Oluvannyuma lw’akaseera, nafuna amaanyi ag’enjawulo ne mpulira nga njagala bansale mu kadde ako.

Ekyewuunyisa, omulandira guno ogwa ‘Luli’ tebaganya mwana muto kumanya gye guva nga bagamba nti bayinza okugukozesa obubi nga tebannatuuka. Simanyi mulandira guno we baguggya naye nzujukira gwali gwa kiragala nga muwanvu nga oluwuzi.

LWE BASALA EMBALU
Oluvannyuma lw’ennaku ssatu, bansiiga eddagala ly’ekinnansi erimanyiddwa nga Itanyi eryannyongera obuvumu. Baalinsiba ku kagere akasajja eddala ne balintega ne ndibuuka.

Kigambibwa nti omuntu bwe bamusiiga eddagala lino ne batamusala asobola okwesala yekka olw’obuvumu bw’aba nabwo.

Oluvannyuma bandagira nze ne bannange okuyimirira mu ssaako omusazi w’Embalu n’omuyambi we bajja nga babagalidde obwambe bubiri obwogi nga bumasamasa ne batandiika okutusala omu kw’omu era baakikola mu bwangu obw’ekitalo.

Omuyambi w’omusazi aleeta ekkutiya ejjudde ettaka n’agiteeka we bagenda okusalira Embalu, omusaayi gw’omuntu gwe basaze guleme kukulukuta nga batya nti bayinza okumuloga.

Omuyambi w’omusazi akwata obusajja bwo n’abusika, omusazi n’asalako ekikuta. Addamu n’asala akakuta akatono akabikka ku mutwe gw’obusajja. Azzaako okusala akaliba k’omunda akeeru.

Ensala zino ssatu ze zikomekkereza akalombolombo k’Embalu.

Obuliba buno obusatu babwegendereza nnyo era bwe bamala okubusala ku muntu, babuwa kitaawe oba kkojjaawe ng’ono abuteeka wansi w’ejjinja ettono eribeera okumpi ne we basalira (baleme kubukozesa kuloga gwe basaze).

Oluvannyuma obuliba babuggyayo wansi w’ejjinja ne babutwala mu nnyumba ya kitaawe w’oyo gwe basaze gye babutereka okumala ennaku 3.

Nga bamaze okunsala, bansiba olugoye ne bantuuza ku katebe okumala eddakiika 20 we banzigya ne bantwala eka. Bannyingiza mu nju ya kitange gye natambula yonna nga nsanyusa balubaale olw’obuwanguzi bwe nali ntuuseeko nga bwe mbasaba okunjagulizaako. (Kino kikolebwa okwewala okugwa eddalu ng’okuze.)

Namala ennaku ssatu nga sikkirizibwa kuliisa ngalo, nga bandiisa buliisa, ng’abakulu bagamba sinnafuuka musajja ajjudde.

Nga wayise ennaku ssatu, baayita omusajja eyansala n’ajja okunkolako emikolo gy’okunaaza engalo n’okufulumya obuliba.

Bannaaza engalo ne banaaza n’obuliba oluvannyuma ne babusiba mu kyayi ne babusuula mu kaabuyonjo okwewala ebikolwa by’obulogo.  Kw’olwo bannangirira nga omusajja omujjuvu.

Ku mukolo guno, bambuulirira ku musajja by’alina okukola omuli okulima n’okulunda. Era bampa ebikozesebwa nga najjolo, enkumbi n’embazzi. Okuwona kw’ekiwundu kusinziira ku mbuzi mmeka ze basala nga bakusala Embalu.

Nga wayiseewo emyezi ebiri, bankolera omukolo omulala gwe bayita Inemba ogwasomboola abantu b’oku kyalo ne bannabyabufuzi nga bankulisa akambe.

Ku mukolo guno abakadde bantegeeza nti nfuuse omusajja omujjuvu era nfune omuwala ow’okuwasa. Bandabula obutadayo kusaba maama mmere wadde okugenda mu kisenge kye.

EBIFA KU KAMBE AKASALA EMBALU
Akambe akasala Embalu kaamuwendo mu Bagisu kubanga ke kafuula omulenzi okuyitibwa omusajja. Balonda omuweesi ow’enjawulo akaweesa n’obwegendereza okumala emyezi
2.

Kabaako obwogi bubiri, kaba kamasamasa nga kalina obuwanvu bwa sentimita 5.

Okukafuula akoogi bakawagaza ejjinja eriddugavu. Frances Muyesa 87, omutuuze w’e Mbale agamba nti akambe akasala Embalu kalina ekyama ekikusike era tekakwat-wako buli omu.

Akambe kano kalina ekyama ekikusike kubanga ke kakozesebwa okusasula eb¬banja ly’obuwangwa ery’Abagisu erimanyiddwa nga Likobe.

ABEEBYOBULAMU BOOGEDDE
Okusinziira ku kitongole ky’ebyobulamu eky’ensi yonna ekya World Health Organisation, abavu¬buka abatali basale batera okufuna amabwa ku mitwe gy’obusajja bwabwe olw’ekikuta ekitereka obukyafu ekisikiriza obuwuka.

Wabula ekitongole ekya American Medical Association.com kitegeezezza nti wadde okusala kulungi naye bwe kitakolebwa bakugu, kiyinza okuvaako obuzibu nga okuvaamu omusaayi omungi ekiyinza okutta omuntu.


Obulombolombo obwawula abasajja ku balenzi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Endabirira y'akamwa n'amannyo.

▶️ Olabirira otya akamwa n'...

▶️ SSAAYANSI W'OBULAMU; Olabirira otya akamwa n'amannyo.  

Yiga okukola emisubbaawa awaka.

▶️ Yiga okukolera emisubbaa...

▶️ Yiga okukolera emisubbaawa awaka ofune ensimbi.

Dr. Specioza Wandira ng'annyonnyola.

▶️ Dr. Specioza Wandira aku...

▶️ Dr. Specioza Wandira akubirizza abantu okugenda babageme Covid 19.

Natalie E. Brown

Omubaka wa Amerika mu Ugand...

OMUBAKA wa  Amerika mu Uganda Natalie E. Brown ayagalizza  Abasiraamu ekisiibo  ekirungi n'agamba nti kino kibeera...

Abaserikale nga bawaayo ebyambalo.

Aba SPC bawaddeyo ebyambalo...

ABASIRIKALE 200  abaateekebwawo okuyambako mu biseera by'okulonda bazizzaayo ebyambalo bya poliisi abamu  nga...