TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Lwaki abapoliisi abamenya amateeka tebakangavvulwa?

Lwaki abapoliisi abamenya amateeka tebakangavvulwa?

Added 25th August 2014

POLIISI ya Uganda ejaguza okuweza emyaka 100 bukya etandikibwawo. Wabula ensangi zino, abapoliisi be bamu ku bakuumaddembe abasinze okumenya amateeka.

POLIISI ya Uganda ejaguza okuweza emyaka 100 bukya etandikibwawo. Wabula ensangi zino, abapoliisi be bamu ku bakuumaddembe abasinze okumenya amateeka.

Wonna w’otuuka, abantu tebakyawa kitiibwa bapoliisi kubanga bw’otoba na ssente oyinza obutafuna bwenkanya.

ABASASI BA BUKEDDE balaze abanene mu poliisi abazza emisango kyokka mu kifo ky’okubakangavvula ne bakyusa bakyuse.

NGA June 5, 2014, Kkooti ewozesa abalyake yasingisizza abaserikale ba Poliisi babiri emisango gy’okulya enguzi , okukozesa obubi ebifo byabwe, omulamuzi n’abasalira ekibonerezo kya kusibwa emyaka esatu mu kkomera e Luzira.

Abaasingisiddwa emisango ye; Afande Moses Odongo ne Afande Julius Opiira, omulamuzi Margaret Tibulwa be yasingisizza omusango gw’obulyake oluvannyuma lw’oludda oluwaabi okuleeta mu kkooti obujulizi obumatiza nti ddala ba Afande beenyigira mu kulya enguzi n’okuvuluga omusango gwe baakwasibwa okukolako.

Oludda oluwaabi lwalaze mu kkooti y’Omulamuzi Tibulya nti wakati wa October 10, ne 17 2013, bofiisa bombi abaali ku Poliisi y’e Lira baasaba enguzi ya 2,100,000/- okusobola okutta omusango gwe baali bakolako.

Wabula Omulamuzi yabakkirizza okusasula engassi ya mitwalo 50 buli omu kubanga babadde baggalirwa mu kkomera ku limanda okuva mu October 2013 lwe baakwatibwa.

Bofiisa bano si be baserikale ba Poliisi abasoose okukwatibwa mu buzzi bw’emisango wabula ne bannaabwe bangi bazze bakwatibwa naddala ku byekuusa ku kukozesa obubi ofiisi zaabwe, okulya enguzi, okutulugunya abasibe, n’okuvumaganya erinnya lya Poliisi, obwa lujuuju n’emisango ebirala.

Wabula abamu ku bofiisa ba Poliisi naddala ab’amadaala aga waggulu abagambibwa okuzza emisango, balina engeri gye battirwa ku liiso, era bangi bali mu bifo eby’amaanyi wadde ng’alina ebbala

ABAMU KU BOFIISA ABALIKO EBBALA

AIGP GRACE TURYAGUMANAWE
Mu lipoota y’akakiiko k’Omulamuzi Julia Sebutinde akassibwawo Gavumenti mu 1999 okubuuliriza ku bulyake, enguzi n’emivuyo mu Poliisi, Grace Turyagunamawe y’omu ku bofiisa abaasingisibwa emisango n’akakiio ne kasemba bavunaanibwe n’okugobwa mu poliisi.

Ku muko 415 mu lipoota eno, akakiiko ka Muky. Sebutinde kaakizuula nti Poliisi y’ebidduka, Turyagumanawe gye yali akulira mu biseera ebyo yali efumbekeddemu enguzi, obubbi, obulyake n’okuzibukula abantu era nga byonna bboosi (Turyagumanawe) yali abiganyulwamu!

AIGP Grace Turyagumanawe, Sebutinde gwe yasemba agobwe.

Akakiiko kaakizuula nti abaserikale b’ebidduka abali wansi wa Turyagumanawe baalinanga enkola ‘ey’okukiika’ ewa bboosi nga bamuwa ensimbi oba enguzi akakiiko ka Sebutinde ze kaazuula nga zaali zaakazibwako erya ‘SITREP’.

Lipooti yasemba Turyagumanawe eyali ku ddaala lya Assistant Commissioner of Police (ACP) nti yali tasaanidde kubeera ku ddaala eryo na kukulira Poliisi y’ebidduka , ne kisembebwa agobwe, ekifo kirondebwemu omuntu alina empisa, obuvunaanyiizibwa n’obukugu.

Nga lipoota ya Sebutinde emaze okufuluma, olukiiko lwa baminisita (Kabinenti) lwatuula ne lugiteesaako era baminisita bakkaanya, lipoota essibwe mu nkola, Turyagumanawe ne bofiisa abalala abaali bazuuliddwa nga balina emisango bakangavvulwe n’okugobwa mu Poliisi.

Gen. Edward Katumba Wamala bwe yalondebwa mu buduumizi bwa Poliisi mu April wa 2001, Turyagumanawe gwe yasookerako okukwata ku nkoona n’amuwummuza ng’agamba nti yali assa mu nkola lipoota ya Sebutinde , kyokka Katumba olwava mu Poliisi mu 2005, Gen Kale Kayihura eyamuddira mu bigere yasookera ku kuzza Turyagumanawe mu Poliisi awatali kusooka ku munoonyerezaako ku nsonga zaalambikibwa mu lipoota ya Sebutinde!

Turyagunamawe eyayingira Poliisi mu 1981 y’omu ku bofiisa ab’embazuulu, abadde ku mwanjo mu bikwekweto n’okukkakkanya obujagalalo n’okwekalakssa okubaddewo naddala mu Kampala.

Mu kiseera kino , Turyagumanawe y’aduumira ebikwekweto bya poliisi mu ggwanga lyonna, era talina musango gwonna gwe yali avunaanyiniddwa mu byasembebwa akakiiko ka Sebutinde!

 

Robert Sematta ng’alaga ezimu ku mmundu. Naye alina emisango.

ROBERT SEMATA
NGA July 19, 2009, Pulezidenti Museveni eyali tasalikako musale yasinziira e Nateete okumpi n’e Busega n’alagira okukwatibwa kw’akulira Poliisi y’e Nateete n’abaserikale olw’okwekobaana n’omugagga ne bakoonakoona ennyumba ya nnamukadde Perepetwa Nalumoso ow’e Busega. E
ra Pulezidenti yamwambulirawo n’ennyota mu lujjudde.

Pulezidenti okutuuka okutabuka, abatuuze b’e Nateete baamala kumuloopera nti waliwo omugagga eyali akozesezza Poliisi okusengula abantu ekiro nga talina biwandiiko.

Ofiisa wa Poliisi eyakwatibwa ye Robert Semata eyali akulira Poliisi y’e Nateete n’omuserikale omulala Swaley Moses, bombi ne bassibwa ku mpingu n’okuggyibwako wamu n’omugagga Davis Kakwenzire.

Semata bwe yakwatibwa, omuduumizi wa Polisii, Gen. Kale Kayuhura yategeeza nti ensonga ze zikwassiddwa ekitongole kya Poliisi ekivunaanyizibwa ku kukwasisa empisa n’omutindo ekya Professional Standards Unit (PSU).

Omusango Semata gwe yazza gwali gwa kwekobaana n’omugagga ne basengula nnamukadde mu maka ge n’okukoona ennyumba n’asigala ttayo.

Semata yali ku ddala lya C/ASP yatwalibwa mu kkooti ku Mwanga II, Road wabula omusango tegwagenda mu maaso, kyokka mu kifo kya Poliisi okumukangavvula, Kayihura yamukuza mu 2010 n’asindikibwa e Lira nga DPC. Kayihura yazzeemu okukuza Semata mu 2012 n’atuuka ku ddaala lya SP

Wabula mu January w’omwaka guno, Semata yaggyiddwa ku bwa DPC bw’e Lira olw'emisango egyekuusa ku mpisa, obulyake n’okutyoboola ekitiibwa kya Poliisi era kati ensonga ze zazziddwaayo mu PSU okunoonyerezebwako.

Entabwe yavudde ku batuuze b’e Lira okuwandiikira Gen. Kayihura nti DPC Semata n’abaserikale baayo be bakulira ababbi ababatigomya era babapangisa n’emmundu n’okwenyigira mu mivuyo emirala.

Semata ne banne basatu okuli, OC CIID Joseph Kirabo, omumyuka wa D/IP Bernard Agwe, ne OC Station Patrick Mawerere baasindikiddwa ku PSU okunoonyerezebwako.

GILBERT BWANA ARINAITWE
Nga 29 April 2011, omubuvuka Arinaitwe katono atte Dr. Kizza Besigye emisana ttuku bwe yakwata ennyondo ne Pisito n’ayasaayasa endabirwamu z’emmotoka ye n’alyoka amufuuyira kaamulali ne ttiyaggaasi butereevu mu mmunye ng’eno kkamera za ttivvi bwe zikwata ebigenda mu maaso!

Ng’amaze okumufuuyira kaamulali, Arinaitwe eyali mu ngoye eza bulijjo, yasika Besigye ebitogi n’amukasuka ng’ekitereke ku kabangali ya Poliisi n’atwalibwa ku Poliisi nga tamanyi biri ku nsi.

Oluvannyuma Besigye yayimbulwa ng’embeera mbi n’atwalibwa e Nairobi mu Kenya gye yamala okumpi omwezi mulamba ng’ajjanjabibwa amaaso.

Kyategeerekeka oluvannyuma nti omuvubuka eyali akoze effujjo ku Besigye ye , Gilbert Arinaitwe, ofiisa wa Poliisi ali ku ddaala lya Assistant Superintendent of Police nga mu kiseera ekyo yali akola mu RRU e Kireka.

Ng’oggyeeko okubeera ofiisa wa Poliisi, Arinaitwe musajja Mulokole era y’akulira ebyokwerinda mu kkanisa ya Robert Kayanja eya Miracle Centre e Lubaga

N’okutuusa kati, omuduumizi wa Poliisi Gen. Kayihura talina kye yali akoze muvubuka ono wabula yamusindika mu ttendekero lya Poliisi eya Police Training School Kabalye e Masindi era kati yakomawo mw’ali mu kibuga!

IP ALIFUNSI BIRINGAMBA
Ono yali akulira poliisi y’oku ppaaka empya mu 2009, yali ne ofiisa omulala AIP Aggrey Wakabi eyali akulira poliisi y’omu Owino ne bawa ebiragiro abaserikale abakyala abaatyoboola omubaka wa Kampala Nabilah Naggayi Sempala kumpi okumwambulamu engoye emisana ttuku bwe yali agezaako okukuba olukung’aana mu katale ka Owino.

Ensonga z’okutyoboola omubaka Nabilah zaatuuka mu Palamenti, ababaka ne bacoomera omuduumizi wa Poliisi Gen. Kayihura era n’asuubiza okukangavvula bofiisa bombi, Biringamba ne Wakabi.

Wabula mu kifo ky’okubakangavvula, Wakabi bwe yaggyibwa mu Owino yatwalibwa ku poliisi ya Kampalamukadde n’aweebwa omulimu gw’okukulira emirimu ku poliisi eno n’oluvannyuma n’aggyibwayo n’atwalibwa okukulira poliisi y’oku Kalerwe, Nabweru, Bwaise ku Mambule Rd gye yava n’akomezebwawo ku Kampalamukadde ng’aduumira ebikwekweto!

Wakabi kati yakomezeddwaawo mu Owino ng’aduumira ebikwekweto era yakuzibwa okuva ku ddaala lya Sajenti n’atuusibwa ku ddaala lya AIP.

Aduumira poliisi ya Jinja Rd, Ashraf Seiko Chemonges lwe yakwata abatunda enjaga.

SP Seiko yabuza emmundu naye yeeriira butaala

SP/ CHEMONGES ASHRAF SEIKO
Mu April wa 2012, Chemonges bwe yali DPC w’e Mukono yabuza emmundu ne leediyo ya Poliisi mu ngeri etaategeerekeka n’aggulwako emisango mu PSU kyokka oluvannyuma lw’okuggyibwako sitaatimenti, Chemonges yayimbulwa ku kakalu ka Poliisi.

Chemonges , mu sitaatimenti gye yakola ku PSU yategeeza nti ababbi baamuyingirira mu nnyumba nga yeebase ne babba pisito, leediyo ya Poliisi, empingu n’omusipi.

Wadde etteeka lya Poliisi mu katundu nnamba 26 ligamba nti omuserikale yenna abuza oba abulwako ebintu eby’omulimu ng’emmundu n’ebirala abeera azzizza omusango era akangavvulwa, Chemonges talina musango gwe yaggulwako wabula mu January omwaka guno yasindikiddwa e Lira nga DPC!

Yasooka kubeera DPC wa Jinja Road mu 2009 we yaggyibwa n’atwalibwa e Lira nga DPC n’akomawo ku Jinja Road nga DPC we yava okutwalibwa e Mukono nga DPC gye yabuliza emmundu.

DPC w’e Kabalagala Francis Chemusto.

SP/FRANCIS CHEMUSTO:
Nga October 1, 2013, 2 Oct 2013, DPC w’e Kabalagala Francis Chemusto n’akulira bambega ba Poliisi mu kitundu kino Deo Kikomeko bombi baakwatibwa ku biragiro by’omuduumizi wa Poliisi Gen. Kale Kayihura ku bigambibwa nti baali babulankanyizza ebizibiti bya Poliisi.

Ebizibiti ebyazaalira Chemusto ne Kikomeko obuzibu yali njaga ey’obuwunga eyitibwa ‘Cocaine’, gye baali basuuzizza abagwiira kyokka ne bagibulaankanya nga kigambibwa nti bagyezibika.

Bombi, Chemusto ne Kikomeko baakwatibwa ekitongole kya PSU wabula baasibwa ekiseera kitono e Nsambya ku kaduukulu ka poliisi oluvannyuma ne bayimbulwa ku kakalu ka Poliisi.

Ekyewuunyisa, waayita omwezi gumu n’ekitundu, Gen Kayihura n’akola enkyukakyuka mu Poliisi nga November 25 2013, SP Francis Chemusto n’azzibwayo e Kabalagala nga DPC.

Kikomeko yakyusibwa n’atwalibwa e Kawempe n’akuzibwa ng’aduumira bambega mu mambuka ga Kampala yonna.

PSU n’okutuusa kati tennyonnyolanga wa we yatuuka ku misango egyavunaanyibwa Chemusto ne Kikomeko n’okutegeeza eggwanga oba ebizibiti (enjaga) eyabakwasa yazuulibwa!

Norman Musinga, kati akulira ebikwekweto bya tulafiki mu ggwanga lwe yakwata kansala Bernard Luyiga.

SP/NORMAN MUSINGA
Norman Musinga bwe yali DPC wa CPS mu Kampala mu 2011 yayimirizibwa mukama we, omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Andrew Kaweesi nga kigambibwa nti waliwo omusajja eyali akwatiddwa n’emmundu n’aggalirwa ku CPS oluvannyuma lw’okukuba amasasi mu kabinja k’abeekalakaasi aka A4C e Namungoona kyokka Musinga n’amuyimbula nga tayise mu mateeka.

Mu kwewozaako, Musinga yategeeza nti omusibe yali amutoloseeko, wabula Kaweesi yasinziira mu lukung’aana lwa bannamawulire ku CPS n’awummuza Musinga kyokka omuduumizi wa Poliisi Kale Kayihura yamuzza ku mulimu nga tewannayita wadde wiiki!

Olwazzibwa ku mulimu, Musinga yasibira ku Palamenti okutaayiza ekibinja ky’abantu abaali beekalakaasa nga bawakanya ababaka okwewa obukadde 103 ez’okugula mmotoka, bonna n’abayoola n’ebipande byabwe.

Omubaka Hussein Kyanjo yeemulugunya mu Palamenti olw’engeri Kayihura gye yali atiitiibyamu Musinga n’agamba nti tewali njawulo n’omuvubuka Gilbert Bwana eyatulugunya Besigye emisana ttuku kyokka Poliisi n’etabaako ky’emukola.

Ensonga za Musinga olwatuuka mu Palamenti, Kayihura kwe kumuggya e Kampala n’amusindika e Kiruhura mu Nkore gye yatwalibwa ng’omuduumizi wa Poliisi, mu nkyukakyuka ze yakola mu bofiisa ba Poliisi mu March wa 2012.

E Kiruhura, Musinga yamazzeeyo emyaka ebiri n’azzibwa mu Kampala mu nkyukakyuka Gen. Kayihura ze yakoze mu March omwaka guno nga kati ali kitongole kya Poliisi y’ebidduka!

SP/ JAMES RUHWEZA
Ono kati ye RPC wa Kampala South, etwala CPS, Ntebe, Kajjansi ne Kabalagala. Ruhweza abadde DPC wa CPS okumala emyaka egisukka mu esatu.

Wabula baamuggyeewo oluvannyuma lw’okuwaabirwa emisango ebiri eminene okuli okukuba abalema ttiyagaasi abali ku Parliament Avenue abaali bagenda okulaba omukungu w’akakiiko ka Gavumenti ak’ebyettaka mu 2013.

Mu ngeri y’emu Ruhweza yakuliramu ekikwekweto ekyakuba munnamateeka w’omu Kampala, Abdullah Kiwanuka ne bamulemesa okutwala ekiragiro kya kkooti ekigaana kanso ya KCCA okugoba Erias Lukwago ku bwa Loodi Meeya.

Gen. Kayihura bwe yayitibwa mu Palamenti mu February omwaka guno okunnyonnyola ku by’okukuba looya Kiwanuka, yategeeza nga bw’agenda okunoonyereza ku bofiisa be abaali ku KCCA kyokka n’okutuusa kati Ruhweza takwatibwangako!

‘Baakatuloopera abapoliisi abasoba mu 1,000 mu Kampala’

PSU ky’ekitongole kya Poliisi ekivuunanyizibwa ku kubuuliriza ku misango n’okukwasisa abaserikale ba Poliisi mu ggwanga lyonna empisa.

Ekitongole kino kyatandikibwawo mu 2007 ng’okwemulugunya ku baserikale ba Poliisi kususse olw’abamu okweyisa obubi, okwenyigira mu buzzi bw’emisango obwa buli kika naddala okulya enguzi n’okudibaga emisango egiwaabwa ku Poliisi.

Okuva ekitongole kino lwe kyassibwawo, mu 2007, abapoliisi abasoba mu 10,000 be baakabuulirizbwako ku buzzi bw’emisango kyokka bangi bikoma awo abamu ne badda ne ku mirimu nga tebakangavvuddwa.

Okusinziira ku likodi za Poliisi, mu myaka ebiri egyasooka nga PSU etandikiddwaawo, abaserikale ba Poliisi 2,985 be baalopebwa wakati wa 2007 ne 2009.

Ate wakati wa 2010 ne 2012, abaserikale 7,048 be baalopebwa mu PSU wakati wa 2010 ne 2012 ne babuulirizibwaako ku misango egy’enjawulo.

Lipoota y’ekitongole kya PSU ey’omwaka 2011 eraga nti emisango 2,313 gye gyawawaabirwa abapoliisi nga kwaliko emisango 789 egy’okuvvuluga emisango gy’abantu gye babatwalira.

Ate lipoota ya PSU ey’omwaka 2012, eraga nti emisango 2,709 gye gyawawaabirwa aba Polisi nga kuliko emisango 950 egy’abapoliisi okubuza fayiro z’emisango, emisango 852 egy’aba Poliisi okweyisa mu ngeri eteri ya buvunaanyizibwa, emisango 147 egy’okukwatira abantu obwereere, emisango 97 egy’okulya enguzi n’emisango 70 egy’okutulugunya abantu ba bulijjo.

Mu lipoota eno, kirambikibwa nti ku misango 2,709 , aba PSU baakola okubuuliriza ku misango, 1,746 ne kuggwa kyokka emisango egisigadde 963 okubuuliriza kwali tegunnaggwa.

Lipoota ya 2012 eraga nti aba Poliisi b’omu kitundu ekya Kampala n’emiriraano (Kampala Metropolitan Area ) be baasinga okuloopebwa ne baddirirwa ab’omu kitundu ky’e Mbale.

Abapoliisi ba Kampala n’emiraano baaloopebwa 1,145, ekitebe kya Poliisi e Kampala misango 559 Mbale ( 225), Jinja(188), Gulu ( 140), Mbarara ( 114), Kabale ( 86), Hoima ( 83), Fort Portal(67), Arua (67), ne Masaka emisango 35).

Lwaki abapoliisi abamenya amateeka tebakangavvulwa?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssentebe Sserunjogi ng'alaga olukalala oluliko abantu be yagobye.

Ssentebe agobye abakulembez...

Ssentebe w'e Bujuuko agobye abakulembeze ku lukiiko lwe lwa kumutyoboola mu bantu. Francis Sserunjogi ow'e Bujuuko-...

Omugagga Dodoviko Mwanje ( ku kkono ) ng'ali ku kkooti e Kololo ne SSP Rashid Agero.

Okuwulira omusango oguvaanw...

WADDE nga gavumenti yamaliriza okunoonyereza ku musango oguvunaanibwa omugagga Dodovico Mwanje amanyiddwa nga Dodo...

Kityo eyakuliddemu enteekateeka y'ekyoto ng'ayogera.

''Ababuvuka mugondore amate...

OMWAMI wa Kabaka atwala eggombolola y'e Nsangi, Wasswa Mathias Kutanwa asabye abavubuka okuba abasaale mu kulwanyisa...

Abamu ku baana abaafudde.

Poliisi eyingidde mu by'aba...

POLIISI mu disitulikiti y'e Rakai eyingidde mu kunoonyereza ku kituufu ekyaviiriddeko abaana aba famire emu, abataano...

Brenda Nairuba ng’apooca mu ddwaaliro ly’e Kamuli-Mulago.

Bba amutemye lwa kumumma ma...

Maama wa bbebi ow'emyezi ebiri apooca. Ali ku kitanda mu ddwaaliro ly'e Kamuli-Mulago ekkulu oluvannyuma lwa bba...