TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Baabano ba ssentebe abalya ekisanja ne pulezidenti Museveni

Baabano ba ssentebe abalya ekisanja ne pulezidenti Museveni

Added 16th October 2014

SISINKANA bassentebe ba LC I abalya ekisanja ne Pulezidenti Museveni! Bano abasajja n’abakazi bamaze emyaka 27 be ddu mu ntebe, tebaseguka, ne bwe kuba kulonda era be bakomyawo mu bitundu byabwe!

Bya VIVIEN NAKITENDE NE LAWRENCE KITATTA

SISINKANA bassentebe ba LC I abalya ekisanja ne Pulezidenti Museveni! Bano abasajja n’abakazi bamaze emyaka 27 be ddu mu ntebe, tebaseguka, ne bwe kuba kulonda era be bakomyawo mu bitundu byabwe!

Okulonda okwasooka mu 1987 kwakubirizbwanga bannamagye, ekyaleetera bangi okwewala okulonda kuno nga balowooza nti bye bimu n’ebizze bibaawo.

Mu kiseera ekyo nga ssentebe wa LC I aba mukulu nnyo, ng’ayitibwa ‘Pulezidenti w'ekitundu’. Olumu ssentebe e Kibuye yagaanako ne Katikkiro wa Buganda okwogerera mu lukung’aana ng’agamba nti teyamutegeezezzaako ng’anaakyala!
Bano be bamu ku bassentebe abafuze emyaka egisoba mu 27.

Erick Jjemba, ssentebe wa Kitebi yalondebwa 1987.

Agamba:Aba LC tukola nnyo okusnga kumpi abakulembeze abalala bonna. Tukola emisana n'ekiro wabula tulinga abakolera ebitole by'emmere, tetufuna musaala era ekyo nze kye kinnuma nti oluusi twefiiriza n'emirimu gyaffe ne tuweereza abantu naye tetusasulwa.

Obwassentebe mbumazeeko kati emyaka 27 naye bwetaagamu obwegendereza bungi naddala mu nsonga z'ettaka ezitabuse ennyo ensangi zino.

David Muyanja, ssentebe wa Busingiri zooni e Nyanama afuze ekyalo okuva mu 1986.

Nalondebwa mu 1986 ng'okulonda bassentebe kutandika era abantu baatusimbanga mu migongo. E Nyanama nga temuli bantu bangi, ekyalo ekiramba nga mubaamu abantu nga 500. kati tusoba mu 3,000 era kizibu bona okubakwata amannya. Nsaba Gavumenti etulowooozeeko ku misaala, tukola nnyo naye tetusiimwa.
David Kamya Lutaaya, ssentebe Gogonya I (1988)

Nalondebwa ku bwassentebe mu 1988, nnali nnina ekitongole kye nkoleramu ne ntandika n’ogwa ssentebe. Gogonya kyali kyalo kibi nnyo, nga bakubirayo matoffaali na kusima musenyu, nga birombe byereere.

Abatemu ng’eno gye basuula emirambo. Nze n’abatuuze abatono abaaliyo twalwanagana n’embeera nga tuli n’aba LDU.
Ekimpangaazizza ku Gogonya mazima na bwenkanya era abantu bammanyi ng'omutu omukambwe ennyo kuba nnyimirira ku mazima.

Ekizibu ekiriwo kati ebyalo batandise okubyawulayawulamu obutundutundu nga bagenda bateekayo bassentebe abalala ekyongedde obufere mu mulimu gwaffe. Eby'obufuzi bisusse nnyo mu mulimu gwaffe guno,edda abatu baatuwuliringamu nnyo ffe bassentebe naye kati obuyinza bwaffe bwajungululwa nnyo kuba bangi balowooza nti tetuliiwo mu mateeka.
Joseph Ssenyonga, ssentebe Gogonya II 1990:

Luli amayumba gaabanga mabale ku Gogonya, naye kati nnina abantu abasukka mu 10,000 ekitegeeza n’obuweereza bweyongedde.

Abantu beetaaga ebyokwerinda n’empeereza endala kyokka tetusasulwa misaala. Obukulembeze obwa
waggulu tebutuyambyeko kutuukiriza bulungi mirimu gyaffe wabula okutulengezza era y’ensonga lwaki balowooza nti tetuli mu mateeka. 

                                                  Abamu kuba ssentebe okuva mu bitundu eby'enjawulo

Twagala musaala tukooye okolera ebitole by'emmere.

ABDU Musoke Majwega, ssentebe Nsambya Central, 1987:

Obwassentebe bugenze bwonooneka kati mu Makindye, batonzeewo zooni endala ebyobufuzi byonoonye obukulembeze bwaffe ate nga bwali bulungi.

Twalwana nnyo okulaba nti emirembe gibaawo mu bitundu byaffe wabula tukola nnyo naye tetusasulwa.

Mariam Nakityo Majwega, wa Bakyala Nsambya Central, 1986:

Okuva mu 1986 nga mpeereza ng'ow’abakyala mu kitundu kyange ne ku LC II nayo nninayo obuweereza . Ebintu byasooka kuba byangu naye bigenze bikaluba, byetaagisa ssente ezitaliiwo.

Edward Mutebi, ssentebe Nkere zooni Kibuye, 1990:

Nafugako ne ku mulembe gwa Obote II ne Lutwa nga nkola nga mayumbakkumi nga tebunnafuulibwa bwa LC nga bwe guli kati.Mu kusooka obwassentebe bwali butambula bulungi naye kasita baatongoza ebibiina byobufuzi, ebintu ne byonooneka, kati buli omu alina endowooza ye, ebyalo babikutuddemu obutundutundu lwa byabufuzi.

Mu Makindye eyali RDC Mulowooza Kayondo bwe yatandika okusala mu zooni zaffe okutondawo
empya, ebyokwerinda nabyo byanafuwa anti buli omu alina ssentebe we gy’agenda!
Richard Ssentongo, ssentebe wa Nabisaalu zooni Makindye, 1986:

Mu kutulonda mu 1986, enkola yali nzibu anti abantu baasooka kugaana kulonda okutuusa
Gavumenti bwe yayiiya akakodyo k'okugaba ssukaali nga buli alonda bamuwa ssukaali!

Ebintu byasooka kutambula bulungi nga bassentebe tulina obuyinza bwaffe wabula kati bikaabya amaziga, tukola nnyo tetukyalina buyinza ate tetusasulwa kale embeera eno ekaluubirizza emirimu gyaffe.

Lawrence Muwanga, ssentebe wa Katwe Central zooni,1986:

Okutulonda mu 1986 abantu baatusimbanga mu migongo, nga bakamanda b'amagye be batulondesa.Kino kyatiisa
abantu abamu ne batalonda nga balowoooza wayinza okubaawo obulabe.

Akakiiko kabeerangako abantu 7 okuli ssentebe n'omumyuka we, omuwandiisi, ow’ebyensimbi, ow’ebyokwerinda, owamawulire, n’ow'abakyala wabula kati bali 10, baayongerako ow'abavubuka, abakadde ow'abalema.

Twafunanga ku misomo ne batusomesa bye tulina okukolera abantu naye ebintu bikyuse nnyo, bassentebe twali ba maanyi nga tutiibwa era nga ne poliisi bw’eba erina gw’eyagala mu kitundu esookera wa ssentebe, ssentebe bwe yabanga ne ky’agamba poliisi ng’awulirizibwa naye kati ne poliisi etuyita babbi!

Tetwalina makomera ku ntandikwa kuba tewaaliwo poliiisi. Ng'abazzi b'emisango oluusi tubakuba kibooko mu lujjudde okubagunjula, kati tulinga bisiikirize.

Haji Sowedi Wasajja, ssentebeKiganda zooni Katwe, 1986:

Nze omu ku baatandika obwassentebe nga bwakaleetebwa era nnaliko omukulembeze okuva ku mirembe gya
Ssekabaka Muteesa II nga ndi mutongole w’omuluka gw’e Katwe.

Mu kusooka, baatusuubiza okutuddiza ebitundu 25 ku 100 ku ssente ezinaasoloozebwanga mu bitundu byaffe wabula byonna tebyatuukirizibwa.

Mu 1999 baatugamba nti tupangise ofi isi tuleme kukolera mu maka gaffe era ne tuzifuna naye zaatulema kuba Gavumenti tezisasula.

Mu 2011 baatusuubiza okutuwa obugaali wabula nabwo tebaabutuwa, baabubbira ku kisaawe e Ntebe. Naye ggwe
tokyewuunya engeri obugaali gye bubbibwa emisana ttuku!

Obwassentebe sirina kye mbwenyumirizaamu kuba Gavumenti tetutegedde buweereza bwaffe na byonna bye yatusuubiza tetulina kye twali tufunye
 

Baabano ba ssentebe abalya ekisanja ne pulezidenti Museven

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ndagga ng'ayogera eri bannamawulire.

'Amasomero agasomesa ebibii...

Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Wakiso, Daniel Ndagga, ategeezezza ng'amasomero agasinga bwe gaziimudde...

Ente ali mu kifaananyi ne banne gye baakwatiddwa nayo.

Babakutte lubona n'ente enzibe

Poliisi y'e Sseeta Nazigo mu disitulikiti y'e Mukono ekutte abasajja babiri abateeberezebwa okuba ababbi b'ente...

Minisita Kuteesa

Minisita Sam Kuteesa ayanju...

MINISITA w'enkolagana y'amawanga g'ebweru, Sam Kahamba Kuteesa ayanjudde lipooti ku bwegugungo obwaliwo nga November...

Myeyu asibiddwa emyaka ena.

Eyakwatibwa n'ebyambalo by'...

SSENTEBE wa kkooti y'amagye e Makindye, Lt. Gen. Andrew Gutti asibye omusajja emyaka ena mu kkomera e Kitalya lwa...

Bakiraaka ba kkooti nga bambadde yunifoomu.

Baleese yunifoomu z'abakozi...

Kaweefube w'okulwanyisa obuli bw'enguzi, essiga eddamuzi limukwasizza maanyi bwe litongoza  yunifoomu  egenda okwambalibwa...