TOP

Ebbula ly'amazzi e Mityana n'e Mubende

Added 30th October 2014

SINGA ente zaali zoogera oba nga zisobola okulwana n’amazzi simanyi yanditaasizza lutalo lwazo n’abantu mu ggombbolola y’e Myanzi nga zibalanga okukimanga amazzi mu bidiba ate nazo mwe zinywa!

Bya EDWARD SSERINNYA


SINGA ente zaali zoogera oba nga zisobola okulwana n’amazzi simanyi yanditaasizza lutalo lwazo n’abantu mu ggombbolola y’e Myanzi nga zibalanga okukimanga amazzi mu bidiba ate nazo mwe zinywa!

Bino oyinza okubiyita eby’okubalaato, naye bwe liba ssuubi ab’e Myanzi lyabaggwaamu dda, teri ayamba!
Ekiri e Myanzi okibuulira munno ng’atakiraba anti eby’okunywa amazzi amayonjo bbo baabivaako bakanya kwejjanjaba ndwadde eziva ku mazzi amacaafu.

Abatuuze mu ggombolola eno okuva mu LC ez’enjawulo okuli Tonterekera, Myanzi Village, Myanzi tawuni, Kiswera n’ebyalo ebirala ebiriraanye bonna bali mu kizibu ky’amazzi kyokka nga mubitundu bino mulimu amalwaliro n’amasomero gonna gakima mu bidiba.

                                Kino ekidiba nakyo bakikimako amazzi

Kati oli bw’agamba nti abantu bano amazzi bagalwanira n’ente taba mukyamu kubanga ebidiba omukimwa amazzi ate n’ente mwezinywa. Kati abanguya ebigambo ebidiba bino batandise okubikazaako amannya amannya si agaziwaana wabula agaggyayo embeera embi gye zirimu, waliwo oluli mu Myanzi Tawuni balukazaako lya, mbiriddembiraba ate abamu baluyita mbinywedde mbiraba, endala enzizi bazikazaako lusaala n’emannya amalala, naye bw’otuuka ku nzizi zino zikumalako eky’ewungula.

Ssentebe w’akabuga k’e Myanzi, Dauda Bukenya agamba nti, mu kubala okwakaggwa Myanzi tawuni mwalimu abantu 1,600, naye bano tebalina luzzi lwa mudumu oba nayikondo yonna kwe bakima mazzi.

Mu myanzi mulimu poliisi, eddwaaliro gattako obulwaliro obutono bwonna bufuna amazzi ku kidiba ekiteeka obulamu bw’abantu ku bunkenke.

Myanzi eyimirirawo ku luzzi lumu lwe bayita Kayuuyo kyokka luno lwa nkoma ate lucaafu nnyo. Oluzzi lwonna okutuuka ku nkoma wagegera, nga bw’olutuukako omutima ogukozesa amazzi gaalwo gufa.

Mu ggombolola Myanzi baali baasimamu enzizi ennyimpi mukaaga nga zino ze ziyamba ku bantu okufuna ku mazzi amayonjo, naye zonna zaafa era kati tebalina mazzi.

Bassentebe b’ebyalo bagayaavu - Kibuuka 

Ssentebe w’e Kiswera, Noah Ssewannyana agamba nti ekyalo kye kiriko amaka 170, ate abantu basoba mu 600, kuliko amassomero ga siniya 3, ne pulayimale 4 zonna tebalina luzzi kwe bakima.

“Nayikondo eyali ekoleddwa kati emaze emyezi etaano nga yafa, abantu baali bagezezzaako okuziddaabiriza naye ne bigaana kubanga tebalina bukugu. Kale kati amazzi tugakima mu kidiba,” bwe yang’ambye.

Bwe natuuse ku kidiba kino nakyo kikwasa ennaku, oluzzi mwe basena amazzi ate n’abantu kwe booleza engoye. Oluzzi luno tekuli nkoma, okusenamu amazzi olina kusooka kulinnyamu olwo ate n’osena amazzi!

Amazzi gano singa ojja ennyonta ekuluma onywa bunywi era Ssekweyama agamba nti abakulu n’abaana baganywa si mafumbe ekintu ekiteeka obulamu bwabwe mu katyabaga kuba abamu abalinnya mu lizzi okusena amazzi balekamu obuwuka, wabula kati byonna babirekera Katonda y’amanyi.

Ssentebe wa Myanzi Village, Anthony Kabanda Mulumba, agamba ekyalo ky’akulembera mulimu abantu abasoba mu 700, naye ekyewuunyisa temuli luzzi luvaako mazzi mayonjo n’olumu, bwonna obuzzi obwalimu bwafa dda, nga kati bakima ku luzzi lwa nkoma.

Wabula ekizibu ky’amazzi tekitandise kati, kimaze emyaka egisoba mu 40. Amazzi abakulembeze kuno gaabalema era badda mu kwekwasa tewali ayamba, oluzzi olubeezaawo tawuni y’e Myanzi, ggombolola, eddwaaliro ne poliisi ente kwe zinywa n’abantu kwe booleza mmotoka nga mukoka adda mu mazzi.

Enkuba bw’etonnya era esomba mukoka lwonna ne lujjula ettaka, kale embeera y’amazzi yo eri bubi ddala. Simeo Muwanga Nsubuga, nga ono bamuzaala mu kituindu kino agamba nti, alina enteekateeka okulaba ng’akolagana n’ebibiina bw’obwannakyewa basobole okuleeta amazzi mu kitundu kino nga babasimira na

Ku musana tunywa ttosi Kansala

Kansala wa Myanzi ku Disitulikiti e Mubende, Dan Kasule Lukoma agamba: Nafuba n’enfunayo nayikondo bbiri, emu eri Lumumba ate endala eri ku kyalo Tonterekera, wabula mu Myanzi tawuni yo temuli wadde nayikondo n’emu ekola, amazzi bagakima ku bidiba ate ente kwe zinywa.

Naye ekizibu ekirala ekiriwo, abantu tebakyayagalira ddala kukola bulungibwansi, buli kimu balinda Gavumenti kati ne bw’obagamba okwekolamu omulimu okusondayo ku nsimbi Gavumenti etuwe abakugu abaziddaabiriza era tabakkiriza.

Kyokka ekivaamu be bagula amazzi aga 500/- ekidomola, sso singa olumu tukwatagana bulungi ebizibu ebyo biyinza okugonjoolwa. Naye ng’amazima gali nti, amazzi kizibu kinene mu ggombolola y’e Myanzi ate nno ku musana tunywera ddala ttosi!

Abdul Ssempa, akulira ebyobulamu mu kitundu kino agamba nti, amazzi macaafu era ekitundu kiri bubi ddala. Naye olumu obuzibu bw’amazzi macaafu tebulabirawo naye waliwo obweraliikirivu nti wajja kubaawo obuzibu ekiseera kyonna.

Amyuka Ssentebe w’eggombolola y’e Myanzi, Augustine Kasinzi agamba kituufu Myanzi alina ekizibu ky’amazzi, naddala mubiseera eby’omusana tewaba mazzi kuba ebitundu ebimu tebirina nsulo nga balinda mazzi ga mukoka.

SSENTEBE W’E MUBENDE

Francis Kibuuka Amooti, annyonnyola bw’ati ku nsonga y’amazzi: Ggombolola okuli Kitenga, Kiganda, Myanzi, Kasambya, Nalutuntu, Nabingola n’endala nazo ziri bubi mu by’amazzi.

Wabula nayikondo singa esimwa ku kyalo, Gavumenti olugiggyako omukono abatuuze beerondamu akakiiko akaddukanya oluzzi, kano kasolooza ssente mu bantu ezitabanyigiriza nga singa oluzzi lufa nga baluddaabiriza nga tebalinze Gavumenti.

Naye kati buli lw’olaba nayikondo eyafa, kitegeeza n’akakiiko tekakola! Wabula Mubende Disitulikiti nnene, okusima ebidiba, okuddaabiriza nayikondo n’okukola empya kyetaagisa waakiri obuwumbi bubiri buli mwaka, naye mu mbalirira yaffe mubaamu obukadde obutawera na 700.

E Myanzi waliwo Abazungu abagenda okutuyambako okuzimbamu enzizi, nga baatandikidde Kitenga. Waliwo n’amazzi g’emidumu, ekitongole ky’amazzi kitandise okukola okulaba nga batusaayo amazzi ga payipu e Bukuya mu tawuni, Kitenga mu tawuni, Kasambya mu tawuni ate ne mu Kiganda Gavumenti yateekayo obuwumbi buna bayambibwe ku kizibu ky’amazzi.

 

Ebbula ly’amazzi e Mityana n’e Mubende

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC ng'ayogera eri abantu.

Ab'e Bukomansimbi mwewale e...

Omubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti y'e Bukomansimbi, Yahaya Kakooza alabudde abantu b'e Bukomansimbi obutetantala...

Isma yeetondedde Full Figur...

Isma abeera ku mikutu gya sosolo midiya ng'ayogerera banne amafuukule kyaddaaki yeetondedde Full Figure gwe yavuma...

Isma atabukidde Bajjo olw'o...

Isma atera okubeera ku mikutu gya sosolo midiya egy'enjawulo ng'avuma abantu n'okuboogerera ebikankana atabukidde...

Minisita ng'ayogera eri abasuubuzi.

Okulonda abakulembeze b'aka...

Okulonda kw'abakulembeze b'abasuubuzi mu katale k'e Wandegeya kuyiise abasuubuzi bwe bawakanyizza amateeka agabadde...

Abaana b’omugenzi Ssentamu mu kkooti e Mbarara.

'Pulezidenti tuyambe ku mug...

ABAANA b'omugenzi Ssentamu eyali abeera mu kibuga Mbarara nga bakulembeddwaamu omusika, Kyagulanyi Ssentamu balaajanidde...