TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Amayirungi: Abantu be gawaniridde banadda wa Palamenti bw'eneegawera?

Amayirungi: Abantu be gawaniridde banadda wa Palamenti bw'eneegawera?

Added 20th November 2014

WALIWO okusika omuguwa mu Palamenti, ababaka abali ku kakiiko akayisa amateeka ku biragalalagala kaleese ekiteeso ky’okuwera amayirungi.

Bya EDWARD SSERINNYA NE HERBERT MUSOKE


WALIWO okusika omuguwa mu Palamenti, ababaka abali ku kakiiko akayisa amateeka ku biragalalagala kaleese ekiteeso ky’okuwera amayirungi. Wabula ababaka abalala bakiwakanya nnyo, bagamba nti bwe kyakuleetawo obumenyi bw’amateeka.

Ababaka okuli, Alice Alaso (Serere), Olivia Kwagala (Iganga), Naome Kaabule (Luuka), Samuel Ssemugaba (Kiboga west) Dr. Lulume Bayiga owa Buikwe South n’abalala bawagira etteeka okuyisibwa eriwera Amayirungi nti kuba gavuddeko abantu okutabuka emitwe n’okunaabuka ensonyi ne batandika okwenyigira mu bikolobero n’obumenyi bw’amateeka.

Abaliwakanya okuli Muwanga Kivumbi ne Mariam Nalubega abakiikirira Butambala ne Medard Lubega Sseggona bagamba nti okuwera Amayirungi kyakuvaako abantu bangi okufiirwa emirimu n’okusannyalaza enkulaakulana mu bitundu byabwe. Bano baagala amayirungi gawanduukululwe ku lukalala lw’ebiragalagala eby’omutawaana.

Omubaka w’e Nakawa Fred Ruhindi we yabasoomolezza nti, okuwagira abagalima oba totunuulidde bulabe bwe gatuusa ku bantu abagakozes.

Awagira nti gasaanye gawerebwe oluvannyuma lw’okusomesa abalimi akabi akagalimu n’okubabuulira nti basobola okudda ku birime ebirala. Sseggona ayagala etteeka eriwera ebiragalagala liyite wabula baggyemu Amayirungi gokka kubanga lipoota ya bannassaayansi ku Mayirungi ekontana, kuba abamu bagamba nti galina obulabe ate abalala tegalina.

ebiragala eby’obulabe
Akakiiko bwe kaakoze okunoonyereza ku biragalalagala eby’obulabe mu ggwanga, Amayirungi gateekeddwa mu kya 20, sigala mu kya kutaano, omwenge mu kya mwenda, ate ebyo byo ku katale kwebiri.

Abawagira Amayirungi babuuza nti: Lwaki tebasooka kuwera mwenge naye ne balandukira ku Mayirungi agali mu 20? Akawaayiro 11, mu tteeka lino kaagala okuwera Amayirungi mu mbeera zonna nga keesigama ku bulabe bwe galina eri obulamu bw’abantu.

Ssentebe w’akakiiko akakola ku kulwanyisa ebiragalalagla mu Palamenti, Benny Bugembe bwe yabadde ayanjula lipoota y’akakiiko yagambye nti mu 2005 minisitule y’ebyobulamu yalaga ng’abantu mu Uganda 5 -10 ku 100 baali bakozesa ebiragalalagala omuli enjagala, amayirungi, taaba, amafuta g’ennyonyi, walagi n’ebirala.

                         Mawejje Wasswa, omu ku balimi b’amayirungi e Nakirama.

ABALIMI

Vincent Kizito, Ssentebe w’ekibiina kya, Wakiso Miraa Growers & Dealers Association Ltd (MIGADAW), ekigatta abalimi n’abasuubuzi b’Abayirungi mu Wakiso, Butambala, Buikwe ne Kampala agamba nti, omulimu gw’okulima amayirungi mu bitundu bino gwe gubayimirizzaawo.

Yagambye nti ababaka beekube mu kifuba: Bw’otegereza embeera y’ebyenfuna mu ggwanga, bw’owera amayirungi olwo abagalima bagenda kudda wa?

“Kisaanye basooke okunoonyereza nga tebannagawera, kuba n’ebirime ng’ebitooke n’emmwaanyi bikaze,” bwe yagambye.
Agamba: Amayirungi gatonzeewo emirimu kuba mu Wakiso mulimu abalimi abasoba mu 24,950, Butambala 16,000, Buikwe 7,150 ate mu Kampala mulimu abasuubuzi abasoba mu 1,030 nga bano bakozesa abantu abasoba mu 147,690.

Bano bonna balina famire ezibayimiriddeko, n’olwekyo okusaanyawo omulimu gw’Amayirumngi kuba kwekuba ssasi mu kigere.”

Amayirungi gamaze mu Uganda emyaka egisoba mu 70 nga galimibwa mu disitulikiti ezisoba mu 20. Gaaleetebwa Sheikh Omuwarabu eyali asomesa Bamaseeka e Butambala era nga gye gasooka okulimibwa. Kizito agamba nti ye omwezi afuna 600,000/- mu bikolo ebitono ennyo by’alina awaka.

STEPHEN KATUNZE, MUNKABIRA NSAGGU

Nze okukulima Amayirungi nnatunda nnyumba yange e Mutundwe mu 2001 olwo ssente ze nafuna ne nzija ngula eno yiita 20 kwe nkolera buli kimu ekyange.

Mu kiseera kino wano waali kibira etaalina kikolerwako. Bwe namala okusimba Amayirungi natandika okukola ebintu ebirala era nga mu kiseera kino nayingira omulimu gw’obulunzi nga nnunda enkoko z’amagi nga nina enkoko ezisoba mu 10,000.

Nina ekiruubirirwa kya kulunda enkoko 50,000 era ng’olwokuba nti nakiraba ng’amayirungi ganfunira kiralu, nasalawo okukozesaako yiika emu n’ekitundu yokka ku ttaka lino ku birala era ng’olw’okuba nnina akafo kafunda nnatandise okuzimba ebiyumba bya kalina mwe ng’enda okuzirundira.

‘Abasawo bakakasizza nti Amayirungi tegakosa bwongo’

KATUNZE agamba: Gavumenti ekimanye nti Amayirungu ge tulina galiisa abantu bangi ddala okuva ku ffe abalimi, abakozi, abakungula, abavuzi b’ebidduka nga bodaboda, abasuubuzi , ab’amazzi n’abalala.

Olw’okuba nti ekitundu kyaffe kisingamu busozi, mu kiseera ky’ekyeya kikala nnyo.
Nasima oluzzi lw’omu ttaka wansi nga nkozesa masannyalaze okukuba amazzi gano okugassa mu ttanka mwe gava okufukirira era nga wano nkozesa ssente ezisoba mu kakadde ku masannyalaze.

Olw’okuba nti amazzi gabeera getaagisa mangi mpangisa ebimotoka ebireeta amazzi nga wano nkozesa obukadde obusoba mu bubiri buli wiiki.

Mu musiri guno nsobola okufunamu obukadde obusoba mu 20 omwezi n’ensobola okukola byonna bye nkola kuba n’amasannyalaze okutuuka mu kitundu kino gaali maanyi gange nga nkozesa ssente okuva mu mayirungi.

Nze ndowooza nti mu kifo ky’okuwera Amayirungi, Gavumenti esseewo amateeka agalambika enkozesa n’okulung’amya byonna ebigatwatako.

E South Afrika bagakolamu amajaani agayitibwa ‘Green Tea’ era ng’abantu bangi mu Uganda bagagula. E Thailand gakolebwamu eky’okunywa ekiyitibwa ‘Mikoshi Green Tea’ nga mu supamaketi kigulibwa 3,500/-.

Mu ngeri y’emu twafuna bamusigansimbi okuva e South Afrika nga baagala tubaguzenga amayirungi ttani 2000 buli mwezi kyokka nga tetugalina era ssente ne zitusuba.

                          Prossy Nakazibwe ne  Edith Nabukalu nga basiba amayirungi.

MAWEJJE WASSWA E NAKIRAMA

Tulimye Amayirungi emyaka egisoba mu 10 wamu n’okugalya naye tewali gwe gaali gatabudde.Ekizibu kyokka kiri ku bantu abagalya nga bagatabika n’ebintu ebirala naddala enjaga, walagi w’omu buveera n’ebirala.

PAUL KAWOOYA, SSAABAKRISTU  W’E NSAGGU

Obulamu bwange bwonna mbumaze mu mulimu guno kuba mwangu gwa kukola ate nga gufuna kuba ssente mweziri.
Mu Mayirungi mwe tuggya ssente ezisomesezza abaana baffe okutuukira ddala ku matendekero ga waggulu ekiyambye ennyo okulwanyisa obutamanya n’obutasoma mu bitundu byaffe.

Nze ndowooza nti ababaka nga tebannabaga tteeka, bandibadde bafuna abakugu mu by’obwongo ne bakola okunoonyereza okumala ku birungo ebiri mu Mayirungi n’engeri gye bikosaamu obwongo bw’abantu kuba abasinga batambulira ku bye bawulira naye nga tebabimanyi wadde okubikakasa.

ISMAIL KIBUUKA 52

Ndya Amayirungi naye sirina buzibu bwonna bwe nnali ngafunyeemu.
Oluvannyuma lw’emmwaanyi okufa, twagezaako ebitooke kyokka nabyo byalumbibwa akawuka era ne bifa. Muwogo gwe twalimanga okufunamu ssente ng’afiira mu ttaka olw’obuwuka, Amayirungi gabadde tegannaba kufuna bulwadde.

SSENTEBE LC 1 MUNKABIRA,  MIKE NSEREKO

Mbadde ku bukubulembeze bw’ekyalo kino okuva mu 1996, enkulaakulana tugifunye mu Mayirungi. Ebiseera by’emabega ng’abasomye tubawulira mu byalo birala naye kati buli matikkira ku kyalo kuno tubeera n’abayizi abawera abamalirizza emisomo mu yunivasite.

Obumenyi bw’amateeka bukendedde nnyo naddala obubbi kuba abantu abasinga bakeera ku makya ssaawa nga 11:00 okugenda okukola ate nga bakimanyi nti bagenda kusasulwa.

Kino kiyambye nnyo abantu okutereka ssente n’okwezimba era nga bangi abazimbye amayumba amalungi.
Waliwo ekkobaane okufiiriza abantu nga bwe baakola ku Vanilla e Mukono!

OKUNOONYEREZA

Kasozi agamba nti oluvannyuma lwa Gavumenti okutandika okulaga nga bwerina enteekateeka z’okuwera Amayirungi agatuyimirizaawo, twasalawo okutandika okukola okunoonyereza tukakase oba nga ddala ebyogerwa ku kireme kyaffe bituufu tukyesonyiwe.

Twagenda mu minisitule y’ensonga z’omunda mu laabu ya gavumenti (Directorate of Government Analytical Laboratory), e Wandegeya okunoonyereza era lipoota ya Dr. David Mutende eraga nti Amayirungi galimu ebirungo ebicamula obwongo bw’omuntu kyokka nga si byabulabe nnyo eri obulamu gwaffe.

 

Mu ngeri y’emu lipoota eyafulumizibwa Dr. Archileo N. Kaaya, akulira ekitongole kya Food Technology and Nutrition mu Makerere University eyafulimizibwa nga 05,02,2014 yalaga nti Amayirungin galimu ebirungo ebivaamu amaanyi, Potassium ne Vitamini C ne Phenolic Compounds.

Yalaga nti ebirungo bino birina omugaso mu bulamu bw’omuntu okuli okukwanaganya puleesa mu musaayi, okukuuma omutima nga gukuba bulungi, okuyamba ku ntambuza y’omusaayi mu misuwa, okwongera ku bungi bw’omusaayi ogugenda ku bwongo n’ebirala.

Mungeri y’emu lipoota eraga nti ebirungo ebina okuli, Cathine, Cathenone, Norephedrine ne Phellandrone biccamula obwongo bw’omuntu n’okutamiiza nga biyitiridde bikola obutundu 0.086 ku 100 ku birungo ebiri mu mayirungi.

Ebirungo bino era bifulumizibwa mu kikoola ekimaze okunogebwa okuyita mu mazzi ge kifulumya era nga mu ssaawa emu n’ekitundu ebirungo ekya Cathine ne Cathenone bibeera biweddemu ate mu ssaawa 12 ebibiri ebisigadde nabyo bivaamu.

Era yalaga nti mu 1980, ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna (WHO), kyalaga wadde Amayirungi galimu ebirungo ebisobola okutabula obwongo bw’omuntu ebirungo bino bitono bw’ogeraageranya n’omwenge ne taaba.

Dr. Kaaya yategeeza nti abantu abalya Amayingi basaanidde okuyambibwako nga balambikibwa ku ngeri ennung’amu gye basobola okugakozesa kuba galina omugaso mu bulamu bwabwe.

POLIISI

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Fred Enanga agamba nti nga poliisi babadde batambulira ku mateeka agaliwo naye nga kigambibwa nti Amayirungi kimu ku bisinze okutabula abantu emitwe.

“Wabula waliwo abagamba nti amayirungi gano baliko bye gayambye ng’okukuuma baddereeva nga batunula ne kitangira obubenje, okuwonya endwadde n’ebirala kyokka mu ngeri y’emu tusaanira okutunuulira engeri gye galeetamu obumenyi bw’amateeka kuba bangi be tukwatidde mu bumenyi bw’amateeka nga balina ebikoola bino mu nsawo,” bwe yagambye.

Amayirungi: Abantu be gawaniridde banadda wa Palamenti bw’eneegawera?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ndagga ng'ayogera eri bannamawulire.

'Amasomero agasomesa ebibii...

Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Wakiso, Daniel Ndagga, ategeezezza ng'amasomero agasinga bwe gaziimudde...

Ente ali mu kifaananyi ne banne gye baakwatiddwa nayo.

Babakutte lubona n'ente enzibe

Poliisi y'e Sseeta Nazigo mu disitulikiti y'e Mukono ekutte abasajja babiri abateeberezebwa okuba ababbi b'ente...

Minisita Kuteesa

Minisita Sam Kuteesa ayanju...

MINISITA w'enkolagana y'amawanga g'ebweru, Sam Kahamba Kuteesa ayanjudde lipooti ku bwegugungo obwaliwo nga November...

Myeyu asibiddwa emyaka ena.

Eyakwatibwa n'ebyambalo by'...

SSENTEBE wa kkooti y'amagye e Makindye, Lt. Gen. Andrew Gutti asibye omusajja emyaka ena mu kkomera e Kitalya lwa...

Bakiraaka ba kkooti nga bambadde yunifoomu.

Baleese yunifoomu z'abakozi...

Kaweefube w'okulwanyisa obuli bw'enguzi, essiga eddamuzi limukwasizza maanyi bwe litongoza  yunifoomu  egenda okwambalibwa...