TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Laba omukozi by'ayinza okutuusa ku mwana wo!

Laba omukozi by'ayinza okutuusa ku mwana wo!

Added 27th November 2014

OKUNOONYEREZA okukoleddwa ekibiina ky’ensi yonna ekivunaanyizibwa ku nsonga z’abaana ekya UNICEF kulaga nti abaana abasoba mu bukadde busatu n’ekitundu (3,500,000) be batulugunyizibwa mu Uganda, abamu ne batuuka n’okufa.

Bya AHMED MUKIIBI

OKUNOONYEREZA okukoleddwa ekibiina ky’ensi yonna ekivunaanyizibwa ku nsonga z’abaana ekya UNICEF kulaga nti abaana abasoba mu bukadde busatu n’ekitundu (3,500,000) be batulugunyizibwa mu Uganda, abamu ne batuuka n’okufa.

Ku baana abo abatulugunyizibwa, abasinga obulungi bali wakati w’emyaka 5 ne 16 ng’ebikolobero bibakolebwako bazadde baabwe, ab’enganda zaabwe, abakozi ab’awaka ababalabirira, n’abantu abalala omuli n’abasomesa baabwe.

Okutulugunya kuno, okusinziira ku lipoota ya UNICEF ey’omwaka 2013, kuli mu ngeri nnyingi omuli okubakabawaza, okutemwa embale, okutuusibwako obuvune, okukubwa emiggo egituusa n’okubalemaza, okwokebwa omuliro ne bagongobala, okubinikibwa emirimu ne beetamwa obulamu, okusuzibwa obubi, okugobwa awaka ne basibira ku nguudo, okummibwa emmere, okugaan ibwa okusoma n’ebikolobero ebirala.

Musa Wandera emikono gyonna baagyokya.

Minisitule ey’ebikula ky’abantu nayo erina okunoonyereza kwe yakola mu 2013 ne kizuulibwa nti eddembe ly’abaana 66 ku buli 100 mu Uganda lityoboolwa mu ngeri ezitali zimu ng’abamu babatigaatiga, okuwemulwa, okusobezebwako n’okukakibwa omukwano abantu ababeera nabo awaka ne ku masomero ne mu makubo gye bayita.

Poliisi ya Uganda nayo mu lipooota yaayo ku buzzi bw’emisango ey’omwaka 2012 yalaga nti okukabawaza abaana abato kwali kweyongedde ebitundu 5 ku 100 nga mu mwaka ogwo (2013) emisango 8,000 egy’abaana abasobozeddwaako gye gyali giroopeddwa ku Poliisi.

Ono baamwokya ku mutwe n’emikono.

Ekibiina ky’obwannakyewa ekya Save Street Children Uganda (SASCU) ekiyamba ku kusitula embeera z’abaana ab’oku nguudo kyakoze okunoonyereza mwe kyazuulidde nti abaana obukadde munaana bali mu bulabe obw’okutuusibwako n’okukolwako ebikolobero olw’embeera gye balimu awaka n’abantu abakyamu ababeetolodde.

Okunoonyereza kuno era kwazudde nti ku baana abo obukadde omunaana, abaana obukadde mukaaga babeera mu maka agajjudde ennaku n’obwavu nga kino nakyo kibassa mu mbeera eyinza okubaviirako okutulugunyizibwa n’eddembe lyabwe okutyoboolwa.

Martin Alaku baamukubira kufuka ku buliri.

Ekibiina kya African Network for the Prevention and Protection against Child Abuse and Neglect, (ANPPCAN) nakyo kirina okunoonyeza kwe kyakola ku kutulugunya abaana mu Uganda ne kizuula ng’abaana b’omu bitundu eby’omu Busoga be basinga okukolwako ebikolobero.

Mu kunoonyreza kuno, Busoga eddirirwa ekitundu kya Acholi mu kutulugunya abaana. Aba ANPPCAN bagamba nti ebikolobero ebisinga okukolebwa ku baana mu bitundu ebyo, kwe kubasobyako n’okubatusaako obuvune ku mibiri.

Aba ANPPCAN baakizudde nti ku baana abasobezebwako mu Uganda, emisango 60 ku buli 100 gyokka gye gituuka ku Poliisi, gisirikirwa oba babimalira eyo, abaana ne basigala mu bulimu kubanga abamu basiigibwa n’endwadde.

Ab’ekibiina kya SASCU bagamba nti mu kiseera kino, abaana 105,000 ne balina obulwadde bwa siriimu. Buli mwaka abaana 20,000 be basiigibwa siriimu okusinziira ku kibiina kya SASCU.

Ssebuuma bamwokya ku butuuliro.

Ku baana abalwadde ba siriimu, aba SASCU bagamba nti abafuna obujjanjabi bali 27 bokka ku buli 100, abasigadde baliwo ku lwa Katonda!

 

‘Bakama baffe nabo batukolako ebikolobero lwa kusirika!’

 

OKUNOONYEREZA okukoleddwa ekibiina ekirwanirira eddembe ky’abakozi n’abaana ekya Platform For Labour Action (PLA) kuzudde nti mu Uganda, abakozi b’awaka 78 ku buli 100 batulugunyizibwa bakama baabwe.

Abakozi babatulugunya mu ngeri nnyingi, omuli okubakuba kibooko n’okubasambasamba abamu ne baggyamu n’endwadde.

Okunoonyereza kwakolebwa mu March wa 2014, mu Kampala ne Wakiso.
Omukungu w'ekibiina kino, , Isaac Arinaitwe agamba nti abakozi b'awaka abasinga obungi bakolera mu bugubi olw’engeri embi gye bayisibwamu nti era abamu ekiruyi bakimalira ku baana ba bakama baabwe.

Kale Arinaitwe agamba nti ebikolobero ebyefaanaanyirizaako ebyakoleddwa omuwala Jolly Tumuhiirwe eyatulugunyizza omwana ow’emyakaebiri Aneela tabyewuunya.

EBIMU KU BIVAAKO ABAKOZI  B’AWAKA OKWEYISA OBUBI

  • Okusasulwa ssente entono, mu Kampala ne Wakiso kyazuuliddwa nti basasulwa wakati wa 10,000 ne 50,000/- buli mwezi.
  • Okulyazaamanyizibwa ssente entono ze basasulwa. Kyazuuliddwa nti abakozi b’awaka 28 ku buli 100 babalyazaamanya.
  • Okukubibwa kibooko era 16 ku buli 100 baagambye nti babakuba ate bangi bafa kimugunyu!
  • Abakozi 22 ku buli 100 baagambye nti babavuma nnyo mu maka gye bakolera.
  • Abakozi 8 ku buli 100 baagambye nti bammibwa emmere. Abalala baagambye nti balya efisse ng’abaawaka bamaze okukkuta.
  • Waliwo abayitibwa amannya agabalengezza, oba okubalangira amawanga, eddiini oba ekikula.
  • Abamu bakakibwa omukwano naddala bakama baabwe, kyokka bangi teboogera wadde okuloopa ku Poliiis olw’okutya okufiirwa omulimu.
  • Abakozi kumpi 90 ku buli 100 tebawummulako, omwaka bagumalako nga bakola ennaku zonna.
  • Abakozi abamu baagambye nti basuzibwa nga mbwa nga basula wansi ku ttaka ku bufaliso obw’oluwewere. Abamu basula mu sitoowa.
  • Abakozi 15 buli buli 100 baagambye nti babinikibwa emirimu ne batafunako wadde obwekyusizo.
  • Abalala baagambye nti ne bwe balwala, tebabajjanjaba.
  • Okuboozesa obuwale bwa bakama baabwe obw'omunda.
  • Abakozi bangi bwe balwaza oba okufiirwa, bakama baabwe tebabakkiriza kudda mu kyalo wabula babatiisatiisa okubagoba.
  • Ba bboosi abamu balina amateeka ag’ekikopi ge bawa abakozi nga tebabakkiriza kutuula nabo wamu nga balya emmere wabula babagobera mmanju.
  • Abakozi abamu balisibwa emmere ya njawulo ku b’awaka. Amaka agalimu emize gino, bili lwe bafumba enkoko oba ennyama, omukozi bamuwaayo 500/- yeegulire ebinyeebwa oba mukene
  • Okubasasuza ebintu by’awaka ebyatise oba ebifudde

Joy Namuwaya baamuyiira mazzi agookya

Aba PLA baategeezezza nti okunoonyereza kwabwe kuzudde nga ba bboosi abakyala be basinga okuliisa abakozi akakanja.

Baminisita basiimye Agataliiko Nfuufu
BAMINISITA okuli Mary Karooro Okurut, ow’ekikula ky’abantu ne Ronald Kibuule ow’abavubuka n’abaana, basiimye Agataliiko Nfuufu ku Bukedde TV olw’okukulemberamu okulaga akatambi k’omuwala Jolly Tumuhiirwe ng’atulugunya omwana.

Bukedde TV ye yasoose okulaga akatambi kano mu mawulire g’Olwokutaano lwa wiiki ewedde, ekyasaanudde abakulembeze ku mitendera gyonna ne bayingira mu nsonga eno.

Kibuule ne Karooro baasiimye Bukedde TV ne basemba egende mu maaso ng’eraga ebikolobero ebikolebwa ku baana ne mu maka, birwanyisibwe.

Ono kitaawe yeyamusibira mu katimba kano

 

Laba omukozi by’ayinza okutuusa ku mwana wo!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssewannyana ng'annyonnyola bannamawulire.

Njagala ntebe ya FUFA - All...

Allan Ssewanya omubaka wa Makindye West alangiridde nga bw'agenda okwesimbawo ku ntebe ya Pulezidenti wa FUFA asigukkulule...

Mininsita Amelia n'aba UNBS balambula ekyuma ky'entyangawuuzi ekyaweebwa abalimi e Kammengo.

Gavt. yaakwongera ebibiina ...

MINISITULE y'ebyobusuubuzi esuubizza okwongera ebibiina by'obwegassi obuyambi bw'ebyuma ebissa ebirime n'ekigendererwa...

Abayizi ba Iganga Town View SSS nga balinda okukola ebigezo byabwe.

Ebigezo bya S.6 e Iganga bi...

EBIGEZO by'abayizi ba S.6 bitandise bulungi era mu budde awatali buzibu bwonna okwetooloola amasomero ag'enjawulo...

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...