TOP
 • Home
 • Emboozi
 • Elly Wamala; Ani yabba endongo ye ey'ebyafaayo evuddeko amaka ge okutabuka?

Elly Wamala; Ani yabba endongo ye ey'ebyafaayo evuddeko amaka ge okutabuka?

Added 11th December 2014

Wamala ajja kulwawo okwerabirwa mu byafaayo by’okuyimba mu ggwanga olw’ekitone kye ekinene ggwe ate olaba n’abayimbi 10 abaddamu ennyimba ze, baagezaako bugeza era abantu ne bagamba nti, waabulawo n’omu azituukiriza nga bwe yaziyimba!

Bya JOSEPHAT SSEGUYA NE MARTIN NDIJJO

UGANDA bwe yali ekuza emyaka 50 egy’ameefuga, Elly Wamala y’omu ku Bannayuganda abatono ennyo abaayogerwako mu kitabo ekyakubwa kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde ekiyitibwa Uganda at 50, ng’omu ku baalwanirira eddembe ng’ayita mu nnyimba ze.

Yali wansi w’omutwe ogugamba nti, The Clean face of Uganda’s music ekitegeeza nti, Omuziki gwa Uganda ogutaliimu kacica. Kino kye kimu ku biraga nga Elly Wamala eyafa mu 2004 era nga kati giweze emyaka 10, bw’ali muyimbi ow’ekyokulabirako.

Elly Wamala ne Nnaabagereka

Wamala ajja kulwawo okwerabirwa mu byafaayo by’okuyimba mu ggwanga olw’ekitone kye ekinene ggwe ate olaba n’abayimbi 10 abaddamu ennyimba ze, baagezaako bugeza era abantu ne bagamba nti, waabulawo n’omu azituukiriza nga bwe yaziyimba!

Amannya ge mu bujjuvu ye, Elishama Lukwata Wamala, eyazaalibwa 1935 omugenzi Ignatius Bukenya eyakazibwako erya Mutambuze n’omuky. Gladys Nabutiiti.

Wamala baamuzaalira Mbale ku kyalo Bulucheke gye baamuggya okumuleeta e Bulenga ku lw’e Mityana ewa kojjaawe, Daniel Katunda gye yakulira. Olw’okumuzaalirwa e Mbale, abantu abamu baali bamuyita Mugisu wabula kyategerekeka nti eno (e Mbale) taata we yali agenzeeyo ku mirimu egy’enjawulo n’omugenzi Semei Kakungulu eyannyikizaayo enfuga y’abafuzi b’amatwale (Abangereza). Bawamala baazaalibwa abaana 19 era ye mwana owookusatu mu luggya.

Agamu ku masomero ge yayitamu kuliko;
Bbira Church of Uganda, Mackay College Nateete, Mengo SS ne Chwa II Memorial School. Mu 1966 yasoma eby’okukola ku ttivvi mu ttendekero lya Thompson Foundation mu kibuga Glasgow ekya Scotland. Eyo gye yasomesebwa kafulu mu by’okusuna ggita, George Cissily n’afuna dipulooma mu kugikuba.

ATANDIKA OKUYIMBA

Yakolako mu maduuka g’Abayindi kyokka n’avaayo olw’okumutuntuza ku mulimu n’akola ng’atuukirwako abagenyi mu kkampuni eyali ekwata ennyimba eya Opel Tom Tom mu kibangirizi kya bannamakolero mu Kampala.

Opel Tom Tom bwe yaggalawo, Wamala yagenda mu kibuga Nairobi gye yakubiranga ggita mu kkampuni ya HiFi eyakwatanga ennyimba ku butambi ebiseera ebyo.

Abamanyi Wamala bagamba nti, kuva mu buto nga muyimbi era abamu ekitone kino baatandika okukiraba nga wa myaka etaano, olw’okucamulanga ennyo abooluganda n’abagenyi abajjanga awaka ng’abayimbiramu naddala obuyimba bwe yawuliranga ku leediyo Uganda.

Ku myaka 16, Wamala yatandikira ddala okuyimba okulimu okuvuganya n’okukola ssente era oluvannyuma yeegatta ku Sportsman Cha Cha Band eyali etandikiddwaawo n’ekigendegerwa ky’okutumbula sigala w’ekika kino, oluvannyuma yakola bbandi eyiye.

Ng’atandika okuyimba, Wamala yasooka kuyimba muziki w’ekika kya ‘Kadongokamu’ oluvannyuma yakyusa n’adda mu ‘Classic music’ ataggwa ku mulembe nga bw’olaba ennyimba ze.

‘Nabutono’ lwe yasooka okufulumya mu myaka gy’ataano era luno lwamutunda nnyo okuva olwo teyadda mabega era yaleka ennyimba ezaasoba mu 60.

Wamala nga muto ng’ali n’endongo ye ey’ekika kya Echo gye yali alaamidde abaana kyokka ow’omutima omubi n’agibba.

Ezimu ku nnyimba ze ezaakwata abantu omubabiro kuliko;
 Boda boda, Nabutono olwa 1959, Talanta olwa 1960, Welcome Pope Paul olwa 1969, Viola olwa 1974, Akaana ka Kawalya mu 1974, Sacramento 1994, Ebinyumu Ebyaffe mu 1998, Ani Yali Amanyi mu 1999 n’endala.

YAKOLAKO KU TIVVI
Ng’oggyeeko okuyimba, Wamala yaliko omukozi ku UTV nga tennafuuka UBC era mu kiseera ekyo ye yali akulira abateesitesi ba pulogulaamu ez’enjawulo (Productions Director). Ate yamala ebbanga ddene nga ye ssentebe wa LC1 eya Kyengera-Mugongo.

Abakyala be yazaalamu abaana;
1. Lovinsa Namuli Drucira (mukyala mukulu) ali mu maka e Makindye.
2. Rebecca Nakalanzi Wamala abeera Kyengera Mugongo zooni A (yamala naye emyaka 33)
3. Jeniffer Nabisaalu
4. Norah Namubiru (yafa)

Ekiraamo kya Elly Wamala ekyassa famire ku bunkenke
Olumbe;
Waliwo abeebuuza olumbe lwa Wamala lwe lulyabizibwa kyokka yalaama obutayabizibwanga lumbe. Yalaama kuziikibwa mu maka ge e Mugongo-Kyengera ate omusika alagibwe amangu ddala nga yaakamala okuziikibwa.

Ggita;
Yali ya kika kya Echo era mu kiraamo kye yalaga nga bw’ajaagala ennyo n’alagira bagitereke abaana n’abazzukulu, mikwano gye n’abalambuzi bagirabengako. Kyokka Fiona Robinah Nanjobe (Mukasa) yategeeza nga bwe yabula amangu ddala nga kitaawe afudde!

Mu August w’omwaka gunop (2014) Fiona Nanjobe yategeeza Bukedde nti, abantu abataamanyika baagibba ne batta ekyafaayo ekyo.

Yaggyeeyo ekifaananyi kya ggita eno n’akiraga mu bulumi ng’agamba nti, ku mukolo ng’aweza emyaka 12 ng’afudde kyandibadde kikulu abantu okugirabako.

Ggita eno y’eri mu kifaananyi ekyasangiddwa mu ddiiro lya nnamwandu w’e Mugongo, Rebecca Nakalanzi. yalagibwa nga Wamala agisuna.

Ate nnamwandu omulala, Lovinsa Drucira Namuli ow’e Makindye yategeezezza nti, yalabagana ne Wamala nga wa myaka 16 era nti wadde tebaasooka kugenda mu bya mukwano okutuusa nga bakuze, ggita eno yagiraba nga Wamala agikuba era yali agiwangaazizza nnyo.

Ennyimba ze;
Yalaama n’alaga ng’ekimu ku by’obugagga by’alese z’ennyimba ze empya n’enkadde. Yawandiika bw’ati; Abaana bange bwe bali bayimbi ate nga mulimu ne bannamateeka, zinaayinza okuvaamu ensimbi kubanga nnyingi ku zo zikyayinza okuddibwamu ne zisigala ku mulembe.

ABAANA BE 12;

 • Fiona Nanjobe Robinah (Fiona Mukasa)
 • Spurgeon Herman Wamala (omusika)
 • Barbra Gladys Nakasolya
 • James Rogers Muwanga
 • Flavia Deborah Nalubega
 • Viola Ruth Namuyomba
 • Juliet Nabatanda
 • Susan Marion Naiga
 • Lydia Gladys Florence Nassaka
 • Dennis Wamala
 • Getrude Rosette Nabukenya
 • Patricia Roy Nansamba

Abaana abaatwala ekitone kye eky’okuyimba kuliko Robinah Fiona Nanjobe, Spurgeon Wamala, James Muwanga, Lydia Wamala n’abalala.

LOVINSA NAMULI DRUCIRA
Ono ye mukyalamukulu abeera e Makindye. Agamba nti yalaba Wamala nga bakyali bato. Agamba nti, olw’okuba Wamala yayimbanga ennyimba ng’azituuma amannya g’abakyala, abantu baalowoozanga nti amannya ago g’ayimba baabanga bakyala be sso nga si kituufu.

Mu gamu ku mannya Namuli g’ayogerako mulimu Viola, Regina, Akaana ka Kawalya n’amalala. Namuli anyumya nti, okuyimba Akaana ka Kawalya, Wamala yavanga e Mugongo gye yali abeera n’agenda e Bulange-Mengo mu maka g’omuyimbi omugenzi Eclas Kawalya, taata w’omuyimbi Joanita Kawalya owa Afrigo band kyokka ate yali tayimba ku muyimbi Joanita ng’abamu bwe balowooza.

Agamba nti, ekimu ku byayamba Wamala okuyimba ennyo, yassanga obudde ku mulimu gwe ate nga tabeera mu bya kunywa njaga n’ebiragalalagala ebirala ng’abayimbi abalala kyokka ekisinga obukulu, ebyabakyala yali tabigenderako.

Yagasseeko nti, k’abeere ye kennyini, baagenda okukkaanya ku byalaavu nga bombi ebintu by’omukwano lwe basoose wano we yagattiddeko nti, wadde yafunayo abalala oluvannyuma, naye era yasigala ye nnamba emu!

Namuli yagambye nti, waliwo akatabo akakwata ku byafaayo bya Wamala akagenda okufuluma ku Lwokutaano nga 12 December, omwaka guno ku lunaku lw’ekivvulu kya All Stars mwe yasuubirizza emboozi endala nnyingi ezikwata ku bba. Kyokka teyannyonnyodde ngeri gye yava Mugongo n’adda e Makindye ate e Mugongo ne wassibwayo maama w’abaana omulala.

Abamu ku baana ba Wamala

REBECCA NAKALANZI WAMALA
Bwe yabuuziddwa bw’amazeeko emyaka 10 nga bba taliiwo yategeezezza nti yalokoka ne yeekwasa Yesu era ekisa kye kye kimuyambye okuguma n’agattako okukolera awamu n’abaana be.

Yagambye nti, wadde Wamala yafa nga ye yeekwasa dda Yesu, yali tayinza kumugaana bidongo bya nsi kubanga kizibu okulemesa omuntu ekitone kye.

Bwe yabuuziddwa ku nkolagana y’abaana be ne maama omulala (Namuli) abeera e Makindye, okufuna obutakkaanya ku nnyimba za kitaabwe nga buli ludda luziyita zaalwo abamu ku baana nga Fiona Nanjobe n’atuuka n’okuwakanya enteekateeka z’ekivvulu kya Elly Wamala All Stars Concert, yazzeemu nti, tewali ku baana akaayana.

“Abaana ba Wamala bangi bayimbi ate n’abatali bayimbi waakiri basunyi ba ggita, bakubi ba nnanga n’ebirala.

Ate era ennyimba ezo bazimanyi nti zaabwe bonna. Bakimanyi kiri na mu mateeka teri yazeefuga.” Bwatyo Rebecca eyasangiddwa mu maka ge e Kyengera ku Mmande bwe yategeezezza.

Tosubwa ekivvulu ekiyitiddwa Elly Wamala All Stars Concert ekitegekeddwa ku wooteeri ya Serena enkya ku Lwokutaano ng’abayimbi bonna abaddamu ennyimba ze ne Afrigo Band bali ku siteegi.

Elly Wamala; Ani yabba endongo ye ey’ebyafaayo evuddeko amaka ge okutabuka?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ndagga ng'ayogera eri bannamawulire.

'Amasomero agasomesa ebibii...

Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Wakiso, Daniel Ndagga, ategeezezza ng'amasomero agasinga bwe gaziimudde...

Ente ali mu kifaananyi ne banne gye baakwatiddwa nayo.

Babakutte lubona n'ente enzibe

Poliisi y'e Sseeta Nazigo mu disitulikiti y'e Mukono ekutte abasajja babiri abateeberezebwa okuba ababbi b'ente...

Minisita Kuteesa

Minisita Sam Kuteesa ayanju...

MINISITA w'enkolagana y'amawanga g'ebweru, Sam Kahamba Kuteesa ayanjudde lipooti ku bwegugungo obwaliwo nga November...

Myeyu asibiddwa emyaka ena.

Eyakwatibwa n'ebyambalo by'...

SSENTEBE wa kkooti y'amagye e Makindye, Lt. Gen. Andrew Gutti asibye omusajja emyaka ena mu kkomera e Kitalya lwa...

Bakiraaka ba kkooti nga bambadde yunifoomu.

Baleese yunifoomu z'abakozi...

Kaweefube w'okulwanyisa obuli bw'enguzi, essiga eddamuzi limukwasizza maanyi bwe litongoza  yunifoomu  egenda okwambalibwa...