TOP

Ssekukkulu okutali ttooke!

Added 18th December 2014

KUBAMU akafaananyi nga ku Ssekukkulu eno ebindabinda tolidde ku ttooke! Nga mu lusuku wadde ka mukubyakkonde tokalina kubanga ebitooke byonna byakala!

Bya EDWARD SSERINNYA


KUBAMU akafaananyi nga ku Ssekukkulu eno ebindabinda tolidde ku ttooke! Nga mu lusuku wadde ka mukubyakkonde tokalina kubanga ebitooke byonna byakala!

Amatooke y'emu ku mmere esinga okwettanirwa wano mu Uganda, endala egigobereza kuliko muwogo ne kasooli.
Bangi naddala mu Buganda n'ebuvanjuba bwa Uganda bw'atalya ku ttooke awulira ng’atalidde mmere.

Bw’oba omu ku bawoomerwa ettooke kwata ku ttama kuba akabi kaalabise dda! Mu kiseera kino obulwadde bwa kiwotokwa obusinga okutawaanya ebitooke bubunye buli wamu nti abakugu batandise okweraliikirira nti ebitooke byandisaanirawo ddala!

Akawuka ka kiwotokwa kasobola okulya olusuku lwonna ne luggwaawo awatali kusosola bugazi bwa lusuku era kalya buli kika kya kitooke.

Okuva mu 2001 akawuka kano lwe kaazingako Uganda, ebitundu nga Masaka, Kiboga, Luweero n'ebirala abalimi baayo bakaasimula bugolo era bangi kubo eby'okulima amatooke baabivaako dda! E Buvanjuba bwa Uganda baali bakuba gudiikudde, wabula emyaka ng’esatu emabega akawuka kaabazinda era kabakekemya bukoko.

Ebyo byandibadde awo ng'akawuka kano kaliko eddagala oba oli awo omulimi yandikanyizza kufuuyira, naye tekalina ddagala era amagezi ge bakuwa singa okalaba ku kitooke kusigulawo kikolo kyonna okyokye n'oluvannyuma oyiseewo akabanga osimbe ekikolo ekirala.

Naye n'omulimu gw'osigula ebitooke si mwangu, ate abalimi abamu balemwa okwekuuma ebikozesebwa mu nnimiro gamba ng’enkumbi, ejjambiya, obwambe, ebiwabyo n'ebikozesebwa ebirala. Kino nakyo abalimi batono abakikola ate abamu era babisobya ne basigala nga batambuza obulwadde mu nnimro.

 

Abamu bafubye okwerinda obulwadde mu nsuku zaabwe, naye ate balirwana bbo ne basigala nga tebalina kye bakozeewo kulwanyisa biwuka, era ekiddako kiwuka kutambula nga kiva ewa muliraanwa nga kidda mu lusuku oluyonjo era ne bamaliriza nga bakotokedde busa!

Ate oli akubuuza nti akawuka akatambuzibwa obuswera olwo okalwanyisa otya? Kale byonna kati ensuku zisigaddewo ku Bwakatonda! Wabula kubamu akafaananyi omuntu alina yiika egendamu ebikolo 450, nga buli mwezi osigulayo ebikolo 5, olwo omwaka onooba osigudde bimeka?

 

Kino kitegeeza nti ku myaka egitasukka mukaaga olusuku ojja kuba olumazeewo, nga tolutemamu mmere wabula osigula akawuka nga kakuli bubi! Emyaka nga 50, wandyesanga ng’okulya ku ttooke kifuuse kizibu ate nga lya bbeeyi nnyo singa tewabaawo kikolebwea mangu.

Ettooke nga lisaanikiddwa mu sseppiki

 

Eddagala eritta akawuka libuze

Dr. Andrew Kiggundu, omu ku banoonyereza ku bitooke e Kawanda, agamba: Eddagala eritta akawuka akakaza ebitooke likyatulemye okuzuula, wabula mu kiseera kino tumaze okuunoonyereza ne tufuna endagabutonde (ggiini) okuva mu kaamulali ne tuzissa mu bitooke.

Ebitooke bye bimu tubiteekamu n’akawuka ka kiwotokwa, ng’ekigendererwa nti singa olusuku lukwatibwa akawuka ne kasanga nga munda mu kitooke mulimu akawuka akaasookamu, kiba kizibu ekitooke ekyo okukosebwa ennyo. Wabula twesanze ng’era waliwo ebitooke ebifa wadde tubikozeeko bwe tuti!

Ekibi kiri nti ebitooke bino birina kukoma ku kubinoonyerezaako tebisobola kutuuka ku balimi, kubanga enkola ey’okusimbuliza ggiini okugiggya mu kaamulali okugissa mu bitooke byaffe Ebiganda ebyakozesebwa tekkirizibwa mu Uganda kuba tewali tteeka.

N’olwekyo ebitooke ebigumira kiwotokwa okusobola okubizaazaamu okusobola okutuuka ku balimi, etteeka lino kati eriri mu Palamenti lirina kusooka kuyita.

Ebitooke okufa n’okubitabulamu kamyu bisigalewo oyagala ki?                                                

Akulira okunoonyereza ku bitooke e Kawanda Dr. Jerome Kubiriba agamba: Kinneewuunyisa ababaka ba Palamenti abamu okugamba nti bagenda kwebuuza ku balonzi baabwe basobole okuyisa etteeka lino! Kuwabula ki kwe basuubira okufuna mu balonzi nga ne kye bababuuzaako tebakimanyi?

Tebasimbanga ku bitooke oba ensigo ez'ekika kino olwo bagenda kubafunamu ki?Ekikulu mu byonna bbo ababaka balina okutegeera obulungi bwa tekinologiya ono ne bayisa etteeka ku lw’obulungi bw'abantu be bakiikirira, olwo kiyambe abantu okufuna ensigo ennungi kibongere ku bugagga bw'emmere n'ensimbi nga bafunye ebirime ebitatawaanyizibwa buwuka.”
Omu ku bannasaayansi ataayagadde kumwatuukiriza agamba:

Ekimu ku bisibye etteeka lino kwe kuba ng'ababaka abasinga ebintu bya ssaayansi n'ebyobulimi tebabitegeera. Ate tebakoma ku butabitegeera wabula n'okubyagala tebabyagala, kale kino nakyo kifuuse kizibu.

Ababaka bw'obagamba ku bintu by'okusimbuliza ggiini okuva mu kirime ekimu okudda ku kirala, abamu tebabimanyi kale kyewuunyisa abamu obasanga nga bali mu ng’ambo nti ebirime ebigenda okufuluma bya butwa, tebijja kuddamu kusimbibwa n'ebirala ebiringa ebyo ekintu ekitali kituufu.

Mu mbeera eno, Dr. Kiggundu agamba: Singa okusimbuliza kuno kubaawo, tewali kintu kirala kikyuka mu kirime. Ekirime kisigala nga bwe kibadde, mu mpooma, okubala, ebbanga lye kikulira ate mwattu kiyambibwa mu kulwanyisa ndwadde nga n'olumu baba n'obusobozi obukyongeramu vitamiini.

Kyokka James Nabende, omulimi w’olusuku e Butambala agamba nti bwe baali baleeta ebitooke bya FHIA, bwe batyo bwe baayogeranga nti empooma y’emmere tekyuka. “kati FHIA okuggyako ng’enjala ekuluma nnyo toyinza kumufumbamu mmere n’egenda, mpizzi ng’ogenda kugiwa mbizzi n’ebisolo ebirala,” bw’agamba.

Mathias Kasamba, omubaka wa Kakuuto era mmemba ku kakiiko ka palamenti ak'ebyobulimi, obuvubi n'obulunzi agamba: Etteeka lino lisaanye okuyita, wabula wakyaliwo ababaka abamu abalirinako endowooza enkyamu nti oba oli awo tekinologiya ono ayinza okuba ow'obulabe eri abantu ekintu ekitali kituufu.

Ate ekirungi mu byonna kye batya, era y'ensonga lwaki etteeka lijja ndowooza kyandibadde kibawa buvumu kuba ebyo bye balowooza nti bibi etteeka bye ligenda okutunulamu.

Naye singa etteeka lino teriyita si bitooke byokka, wabula Uganda tugenda kufiirwa ebintu bingi mu kwekulaakulanya n'okusobola okulongoosa omutindo gw'ebirime byaffe.

Wabula omubaka omukyala owa disitulikiti y'e Bukomansimbi, Susan Namaganda era nga mmemba ku kakiiko ka palamenti aka ssaayaansi ne tekinologiya kati akalina etteeka lino agamba: Buli Munnayuganda ayagala ensi ye, tasaanye kuwagira tteeka lino kubanga obulabe obulirimu tetujja kubusobola kubufuga nga tumaze okuliyisa.
Mu nsi gye balima emmere eya GMO okugeza nga Amerika emmere eteri ya GMO bagiseera okusinga eya GMO enkolerere.

Lwaki Uganda tetwesiba nnyo ku kulima emmere eyaffe ey’obutonde ne tugaziya akatale kaffe ebweru wa Uganda okusinga okudda ku mmere enkolerere?

Bannasaayansi mu kifo ky'okulowoolereza mu kusimbuliza ggiini, lwaki tebanoonyereza ne bazuula eddagala eritta akawuka akakaza ebitooke?

Etteeka lino nze siraba gye litutwala okuggyako okwongera endwadde nga kookolo, enkulambi mu baana, okuleeta omugejjo ebintu bye tutajja kusobola kulwanyisa nga ne siriimu akyatuzinya ngera.”

Mu supamaketi mulimu ebintu bya GMO kubanga ebintu biva e South Afrika, Asia n'awalala era babirya, sso etteeka bwe liyita bino bya kwekeenneenyezebwa.

Ekirala ababaka abalimu okutya bandibadde batuukirira bannasaayansi ne babannyonnyola bulungi ku nkola y'okusimbuliza ggiini okuva mu kirime ekimu okudda mu kirala.
 

Ssekukkulu okutali ttooke!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...