TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ani akkiriza 'bayinvesita'abajja kuno okutunda endeku ne niigiina?

Ani akkiriza 'bayinvesita'abajja kuno okutunda endeku ne niigiina?

Added 17th January 2015

KATI giweze emyaka mingi nga mu kizimbe kya Maria Galleria mu Kampala, abatundako obutambi bwa firimu n’ennyimba Bayindi n’Abachina abajja nga bayinvesita!

Bya HERBERT MUSOKE

KATI giweze emyaka mingi nga mu kizimbe kya Maria Galleria mu Kampala, abatundako obutambi bwa firimu n’ennyimba Bayindi n’Abachina abajja nga bayinvesita!

Ku Wilson Road, Abachina, Abayindi n’Abapakistan baamumalawo! Batunda buviiri bw’abakyala, niigiina n’obugatto bw’amasanda!

Bw’otuuka e Kireka, supamaketi y’Abachina eriwo tetunze bicupuli beereka batyo, ate Obuchina bungi nnyo nga ne kapito waabwe taweza bukadde 20 muli n’obuza nti teri Bannayuganda bayinza kukola bizinensi zino? Bano batugasiza wa?

E Bweyogerere era bwe kiri, Abachina beekwasiza mu kasupamaketi kaabwe, mwe batunda ebintu bingi eby’ebicupuli! Abayindi, Abachina, Abanigeria, Abalundi ne Bannakenya bazinzeeko Mukono, Najjanankumbi, Bwaise era abamu batandise n’okugula ettaka n’okuligobako abatuuze ekitakkirizibwa.

Okimanyi nti abamu batamndiseewo n‘amakanisa g’Abalokole, ne bakung’aanya omudidi gwa ssente nga bwe bazizza ewaabwe?

Olowooza Bannayuganda e Buyindi, e China oba e Japan beegiriisa nga ffe bwe tuleka abagwira?

Ono Omukorea  Li Weng abadde apangisa kazigo e Lusaze nga mw’akwatira abakazi.

Omusomi wange, abagwira bano bajja batya mu Uganda? Tekisoboka okuba nga waliwo ekkobaane n’abo abaafuna edda olukusa olubakkiriza okukolera muno, ne balyoka bajja ne batukinako?

Ensonda mu poliisi ziraga nti ne mu Gavumenti mulimu abakungu, nga bo bizinensi yaabwe ya kuyingiza muno bagwira n’okubafunira ebiwandiiko ebiboogerako, olwo bo ne beeriisa omusimbi!

Enkola eriwo ya kuyita bayinvesita, be twakazaako erya bamusigansimbi. Bangi bazze ne batandikawo n’amakampuni, ne babaggyako n’emisolo egimu naye nga baleese babbi!

E Luzira gye buvuddeko, baaklwakwatayo Omuyindi eyali asiika kabalagala! Gye bujja, Abayindi n’Abachina bajja kutandika okusiika capati.

Bangi bw’obabuuza beeyita Bannayuganda, olwo ne bakola n’obulimu obutakkirizibwa. Naye ng’oyawula otya Omuyindi Munnayuganda n’atali? Baabadde basaba babafuule eggwanga, naye olaba bajja kati nga mu Konsitityusoni yaffe temuli Bayindi, bwe banaabakkiriza ng’eggwanga gunaaba gutya?

Mw. Mwasa Mugenyimubi, omukulembeze mu Muzaana zooni mu Kisenyi agamba nti mu Uganda abagwira bangi obasanga batunda buduuka, okufumba emmere mu birabo, okuweereza ku bizimbe ebizimbibwa n’emirimu emirala egyandikoleddwa Bannayuganda.

“Abagwira bano naddala Abachina, Abayindi, Pakistan n’abalala be wandirowoozezza nti bagenda kutandikawo emirimu oba ebintu eby’amaanyi ng’amakolero bakwewuunyisa okubasanga nga beekomekedde mu kaduuka kamu abantu nga kkumi batunda bugatto bwa niigiina”, Mwasa bw’agamba.

Uganda ebalirirwa okubaamu abagwira abatakkirizibwa emitwalo 35. Bangi ku bano babadde beekweka mu Kampala, naye kati bw’ogenda e Jinja, Mbale, Mukono, Wakiso n’e Masaka batuuse.

Mu Kisenyi, ekitundu ekisinga kyafuuka kya Basomali, E Kabowa, Abasudani bakizinzeeko wadde olutalo mu nsi yaabwe lwaggwa dda!

Hassan Kato, omusuubuzi mu katale ka Park yard agamba nti ng’oggyeeko abagwira abayingira nga bayinvesita, waliwo ekizibu ky’abagwiira abalala abajja muno nga babundabunda kyokka ne bagaana okudda ewaabwe ng’embeera eteredde.

“Kwewuunyisa nti mu mawanga amalala wadde agatuliraanye, tosobola kumala gabeerayo kyokka ffe wano abantu bajja ng’abanoonya obubudamu oluyitawo akaseera nga bafuuka bannansi n’okutandika okutigomya bannansi naddala ku ttaka”, Kato bw’agamba.

‘Waliwo olukwe lw’okuyingiza abagwira’

BAVUGANYA MU BUSUUBUZI  

Ssentebe w'ekibiina ekigatta abasuubuzi mu Uganda ekya KACITA Uganda, Mw. Everest Kayondo agamba nti bamaze ebbanga nga basaba Gavumenti okussaawo embeera etangira abagwira okukola buli mulimu bannansi gwe basobola okukola kyokka tefaayo.

Bernard Randall baamukwata lwa kulya balenzi bisiyaga.

“Bw'otunuulira emirimu emirala naddala eky'ekikugu ng'obusawo, abasomesa, ebyobufuzi n'ebirala olina kubeera Munnayuganda okugikola kyokka obusuubuzi baabuggula, buli asobola nga tebafudde ku ggwanga gy'ova.

Kino kirungi kyokka olw'okuba nti embeera ze tukoleramu za njawulo okuviira ddala ku mawanga gaffe kuba bannaffe abagwira Gavumenti zaabwe ziriko bye zibawa ebibawa enkizo ku ffe ate n'eyaffe n'ebongera ng'obutasasula musolo okumala ebbanga ekituggya mu bizinensi.

Tetwagala Gavumenti ewere abagwira okukolera muno, wabula twagala bakole emirimu egyetaagisa ssente ennyingi ze tutasobola gamba nga wooteeri, amalwaliro, amakolero n'ebirala”, Mw. Kayondo bw'agamba.

Musa Lwanga omusuubuzi ku Mutaasa Kafeero Plaza agamba nti “omwaka oguwedde mu bikwekweto ebyakolebwa minisitule y'ensonga z'omunda, waliwo abagwira abaalina ebiwandiiko ebiraga nti bayinvesita kyokka nga balina amaduuka ga kapito wa 200,000/-, nga batunda buviiri bwa bakyala!

Kino Mw. Kayondo akinenyeza Gavumenti gy'agamba nti obukwakkulizo bwe yassaawo eri omugwira alina okukolera kuno bunafu gamba okubeera n'emitwalo 10 gyokka egya Doola n'agamba nti gyandiyongezeddwa okutuuka ku mitwalo gya Doola 50.

Mu ngeri y'emu agamba nti ssente zino zandimazenga kuyisibwa mu bbanka y'eggwanga enkulu (Bank of Uganda), kubanga bbanka z'obusuubuzi eziriwo zzo tezigoberera kukakasa ssente ziri ku akawunti ya muntu n'engeri gye zikozeseddwaamu. Kale emitwalo gya Doola 10 giyinza okuyingiza muno abagwira nga 20, nga zikyusa bukyusa akawunti.

Okugeza Omuyindi oba Omuchina omu bw’ajja, wayita emyezi ebiri n’omulala n’ajjira ku ssente ze zimu ezaaleeta eyasooka.

Bw’otuuka ewa Bbakuli n’e Kampalamukadde, Abayindi n’Abachina bangi abasula mu nnyumba emu. Awo we basinziira ne bakola mu biduuka mu Kampala okutuusa lwe baneetongola.

EBIZIBU KU BWAGWIRA

Mw. Kayondo agamba nti bwe bagenda okusuubula e China, abantu naddala Abachina boogera mu lulimi lwe bategeera obulungi era abeera agula nga n'atunda aguza muntu we ate nga ffe kikwetaagisa omuvvuunuzi era bakuguza ng’aguza omugwira.

Ngoggyeeko ebyo abagwira abasinga Gavumenti zaabwe zibaddiza ebitundu 20 ku 100 ku musolo gwe basasula era bangi bagenda okutuuka wano ng'agenda kukola magoba.

Abasuubuzi abasinga tutambulira mu kwewola kyokka bbo ewaabwe babawolera ku magoba ga bitundu 4 ku 100, wano mu Uganda amagoba ga 23-25 ku 100 ekituggya mu bizinensi.

Bano bayingira tulowooza bagenda kutuyamba kyokka bakola gwa kunyuunyuunta ggwanga anti buli magoba ge bakola bagazza waabwe.

Abagwiira y'emu ku nsonga eziviirako ssente z'obupangisa okupaala buli lukya anti bbo bwe babeera baagadde ekifo bakitwala kubanga basasula mwaka ate ng'abasuubuzi ba kuno basasula myezi esatu ekinene. Kayondo agamba nti singa Gavumenti tebaako ky'ekola mu bwangu, mu myaka 3-5 mu maaso Bannayuganda bangi bagenda kuba nga bavudde mu busuubuzi nga busigadde mu mikono gy'abagwira.

MINISITULE BY'EGAMBA

Mw. Benjamin Katuna, omumyuka w'omwogezi w'ekitongole  ekiyingiza muno abagwira abayingira mu ggwanga mu minisitule y'ensonga z'omunda agamba nti abagwira balina kinene kye bongera ku nkulaakulana y'eggwanga.

“Tusaanye okukimanya nti tewali ggwanga lisobola kukula lyokka era abagwira bano tubafunamu ssente eziri mu buwumbi obusoba mu 50 buli mwaka okuva mu misolo ne layisinsi z'okukolera muno nga zino zibeera wakati w'omwaka gumu n’esatu.

Bano natondawo emirimu eri Bannayuganda okuyita mu kkampuni n'ebitongole bye batandikawo.

Abaafuuka bannansi

Waliwo abagwira abaludde mu Uganda ne bafuuka bannansi olw'ebbanga lye bamaze gamba abali mu myaka egisukka mu 10. Bano abamu baafuuka bannansi kubanga mu kiseera ekyo obukwakkulizo bwali bukyali bunafu ng'Abayindi.

Abamu baafuuka Bannayuganda olw'okufumbiriganwa ne Bannayuganda ate abalala baaweebwa amabaluwa g'obutuuze.

OKULONDOOLA

Mw. Katuna agamba nti Gavumenti efubye okufuuza abagwira abeeyingiza. “Omwaka oguwedde twakwata abagwira abasoba mu 600 ne tubazza ewaabwe olw'obutabeera na biwandiiko bituufu.

Abagwira lwe baakwata olw’okwereeta mu Uganda.

Bannayuganda bamanye nti omulimu gw'okulondoola obutuufu bw'abagwira si gwa Gavumenti yokka wabula nabo. Singa olaba omugwira mu kitundu muloope ku poliisi tumukime,” Katuna bwe yagambye.

Obukwakkulizo ku bayinvesita

Bw’oba yinvesita

  • Omuntu agenda okutandikawo bizinensi oba kkampuni ateekwa okuba ne kapito wa mitwalo gya doola 10 (eza wano obukadde 285).
  • Ate kisinziira ku bunene bwa bizinensi gy'ayagala okukola
  • Ekifo w'agenda okugissa. Talina kukosa butonde ne bannansi.
  • Alina okuba ng’omusolo gw’asasula munene ddala.
  • Alina okulaga ebbaluwa eva mu bakuumaddembe gy’ava.
  • Ebbaluwa emukakasa nga musigansimbi.
  • Ebbaluwa (layisinsi) okuva mu kitongole ekifuga ekitundu mw’agenda okukolera okugeza KCCA.

Eri ayingira okukola

  • Bano baweebwa ebbaluwa oluvannyuma lw'okukakasa nti obukugu bw'alina tebuliimu mu gwanga oba bwetaagibwa.
  • Kkampuni oba ekitongole ky'agenda okukolera kirina okumuwa ebiwandiiko byonna ebiweebwa bamusigansimbi singa abeera ng'agenda kukolera mugwira.

Ani akkiriza ‘bayinvesita’abajja kuno okutunda endeku ne niigiina?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...