TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Kyama ki ekiri mu miggo gy'abakulembeze?

Kyama ki ekiri mu miggo gy'abakulembeze?

Added 22nd January 2015

PULEZIDENTI Museveni bwe yabadde e Rukungiri ku wiikendi, Abataka baayo baamukwasizza effumu n’akatebe ne bamulaamira okufuga okutuusa lw’alikoowa

Bya Edward sserinya


PULEZIDENTI Museveni bwe yabadde e Rukungiri ku wiikendi, Abataka baayo baamukwasizza effumu n’akatebe ne bamulaamira okufuga okutuusa lw’alikoowa

Guno si gwe mulundi ogusoose, Pulezidenti abamuwa amafumu n’engabo wamu n’obutebe bangi. Wabula kyewuunyisa nti abakulembeze wonna mu nsi bakwata emiggo oba amafumu. Kyama ki ekigalimu?

Omukisa (oba eddogo) ly’obukulembeze mwe liba oba bagakwata kulya sswaga ng’enjogera y’abavubuka bw’eri ennaku zino?

Lwaki bannaddiini, abasamize, mu maka wamu na ku buli mutendera gwa bukulembeze, bangi bakwata emiggo, amafumu n’engabo?

Omuggo kuva dda nga kabonero ka bukulembeze. Ebyafaayo biraga nti mu maka g’Omuganda, omusajja yabanga n’omuggo oguyitibwa ‘Tonjoogeramwange’, ogulaga obulamuzi bwe.

Omuggo guno wamu n’effumu n’engabo oli bwe yabanga asikira mukadde we nga bye bamukwasa ng’akabonero akalaga nti oli musajja ateekeddwa okulwanirira amaka go n’okugagabirira.

Mu Banyankore n’Abatagwenda, bo baakwatanga na miggo. Era omusajja bwe yakyalanga mu maka gy’agenda okuggya omuwala anaafumbirwa mutabani we ng’agenda n’abantu abakutte emiggo okukakasa nti mwetegefu okukuuma muwala waabwe, tewali kabi kajja kumutuukako!

Mu Buganda, omuggo guviira ddala mu bukulembeze obwa waggulu. Ssaabalangira wa Buganda akwata omuggo Awakulennume, ogulaga nti asukkulumyeko ku Balangira abalala.

Bangi bawanuuza nti ogwo gwe muggo omukulembeze gwe yeegangiramu, ne yeenywereza mu buyinza. Abalala bagulaba nga kyakulwanyisa, nti abakuumi bo bwe baggwaawo oba osobola okwerwanako.

Omu ku bakulira abasawo b’ekinnansi mu Uganda, Maama Fiina agamba nti, emiggo gino girimu engeri za mirundi esatu. Waliwo abakwata emiggo okweganga era nga mwe muli eddogo lyabwe era mwe balitambuliza ky’ova olaba nga batera nnyo okugikwata mu biseera eby’obuzibu.

Ate waliwo abakwata emiggo egya malidaadi nga giraga ssente ze balina, egimu baba bagiteekako ne zaabu, ate waliwo abalala abakwata emiggo nga gya buwangwa.

Gen. Omer Bashir owa Sudan ye akwata mboobo era bangi kwe bamulabira, Jomo Kenyatta, Pulezidenti wa Kenya eyasooka naye gye yakwatanga.

Bufalansa y’emu ku nsi ezaasooka okubaamu abakulembeze abakwata emiggo, wabula emiggo gyabwe byabanga byakulwanyisa.

Emiggo tegitera kugwa bakulembeze ba nnono , wabula bano bagikozesa ng’akabonero akalaga obukulembeze era nga gibaako n’obulombolombo byagyo. Okugeza wano mu Buganda, Ddamula Katikkiro aba alondeddwa okufugirako Kabaka alina okumulwanirira sikulwa wabaawo eddindirizi erimunyaga.

Ne mu bisaakaate by’abaami abakulu mu Buganda, era emiggo gino gikwatibwa. Kaamuswaga, Ssekiboobo, Ppookino bonna baabanga n’emiggo gy’obuwangwa. Gituukira ddala ne mu sipiika w’olukiiko lwa Buganda, nga bwe kiri e Bungereza mu nkiiko zaayo nga sipiika akulemberwa muggo okumala ebyeya n’ebisiibo.

Mu nkiiko za bannabyabufuzi mu mawanga agatali gamu baba n’emiggo gino ng’akabonero k’obuyinza. Okugeza mu palamenti ya Uganda, sipiika akubiriza olukiiko n’omuggo guno; mu KCCA nayo bagulina n’ebitebe bya disitulikiti nayo omuggo bagulina, wabula ne mu mawanga g’Abazungu okugeza Bungereza, Scotland, Canada, Wales n’ensi endala enkiiko zaabwe tezituula ng’omuggo teguliiwo, era n’omala ogwemanikirako bakugoba mu lukiiko!

Naye abaffe kyama ki ekiri emabega w’omuggo guno abakulembeze gwe bayita nagwo?

Pulezidenti wa South Sudan Salva Kiir y’omu ku bakulembeze abatatera kugwa muggo era ne bwe yajja wano mu October w’omwaka oguwedde ku meefuga, yajja nagwo.

Akaggo ke yakawunda bulungi, wano abamu we bawanuuliza nti olw’ebizibu bye yalimu ng’abayeekera ba Riek Machar bamuli bubi wano we balowoolereza nti oba oli awo abakulembeze bamanyi okukwata emiggo gino mu buzibu.

Kino bakigatta ne ku butakkaanya obuliwo wakati wa pulezidenti Museveni ne Mbabazi, ab’e Kannungu baawa Mbabazi engabo n’omuggo ne bamusibirira okuguma asobole okuyita mu bizibu by’alimu, mukiseera ekyo baali baakamala okumuwummuza ku kifo ky’obwa Katikkiro bwa Uganda.

Ate wano jjo ly’abalamu ng’alambula Isingiro, Pulezidenti naye baamukwasizza engabo n’effumu ng’akabonero akalaga obuvumu n’okwang’anga abalabe. Naye ye asinga kwagala mmundu ye Rwitabagomi, ng’atambula nayo bw’aba gy’agenda asuubira okusangayo ebikalubye!

Omwogezi w’essaza ekkulu erya Kampala Msgr. Wynand Katende agamba: Nga tetunnagenda ku bakulembeze, mu buwangwa bwaffe omusajja yakwatanga omuggo okusobola okwerinda ekintu kyonna ekigwawo.

Tewali musajja yabanga na maka nga tegaliimu muggo n’olwekyo okukwata omuggo wano mu Buganda kya buwangwa.
Omuggo mu Klezia gukwatibwa musumba oyo y’akulembera endiga era gwe tusuubira okutulaga ekkubo kuba y’akulembera sso talina kudda mabega kubanga bw’anadda emabega ate agenda kukuba.

Akabonero akalala ak’omuggo kwe kwerinda ate ng’atangira obulabe bwonna obusobola okutuuka ku bantu b’akulembera n’ekirala omuggo gulaga obwenkanya kuba omulembeze alina okuba n’obwenkanya.

Kale k’abe mukulembeze ow’ensi oba muyite munnabyabufuzi alina okukwata muggo okusobola okulamula obulungi abantu, nga wano mu Buganda, Katikkiro aweebwa Ddamula n’agikozesa okulamula obulungi Obuganda n’obwenkanya.

Msgr Katende agamba nti, abakulembeze ba kuno abamu okukwata emiggo baabikoppa ku Bazungu nga bw’olaba okusala enkuubo, wabula ng’abakulembeze abamu mu Afrika baboogerako ng’abatambulizaamu eddogo.
Okugeza Julius Nyerere eyali owa Tanzania nga tagwa kaggo ke.

Kigambibwa nti nnyina yali mulogo nga kano naye mw’atambuliza eddogo ate abakulembeze nga Amin ne Obote nabo olumu baateranga okukwata obuggo obw’amasaali.

Wabula emiggo gikola mu bifo ebimu okulaga obuyinza n’obusukkulumu okugeza mu palamenti ezitali zimu nga e Bungereza balina omuggo gwe bateeka emabega w’omukubiriza w’olukiiko okulaga obusukkulumu.

Mu Lukiiko lwa Buganda n’ebifo ebirala akubiriza olukiiko y’akulemberamu n’omuggo ng’akabonero akalaga amaanyi n’obukulembe bwe. Ye Ssaabasajja mu kifo ky’omuggo abeera na mpeta eraga obuyinza bwe.

Omwogezi wa Uganda Muslim Supreme Council, Hajji Nsereko Mutumba agamba nti, omuggo mu Busiraamu tegulina makulu gonna era wano mu Uganda abakulembeze b’Obusiraamu tewali n’omu agukwata kuba nange sigukwata. Kyokka waliwo abagamba nti, okukwata omuggo kikuweesa empeera kuba kabonero akalaga okwekuuma!

 

 

 


naye ate tewali musango gwonna gw’oba ozizza singa tokwata muggo guno.
Ate munsi endala nga Wales, eno nabo mu lukiiko lwabwe olukulu olw’eggwanga balina omuggo ogwa zaabu nga nga guno guliko n’akabonero k’ensi eno era bagukozesa okulaga obuyinza n’obusuukulumu obuguliko nga gussibwamu nnyo ekkitiibwa nga guno gulabikira ne ku mikolo egy’eggwanga egy’amaanyi.

 

Kyama ki ekiri mu miggo gy’abakulembeze?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulabirizi Rt. Rev Kityo Luwalira ng'akwasa Ven. Canon Moses Banja ne mukyala we Rev. Can Dr. Banja Baibuli.

Mwongere okusabira Ssaabasa...

OMULABIRIZI w'e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira, akunze Obuganda okwongera okusabira  Ssaabasajja Kabaka,...

Dombo ng'annyonnyola.

Pulezidenti waakusooka kusi...

Omukulembeze w'eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni asazeewo okutandika okusisinkana ababaka ba NRM abapya abaakalondebwa...

Katikkiro Mayiga ng’ayogera.

▶️ Ebibuuzo 10 eri Katikkir...

ABATAKA abakulu b'ebika n'abantu ab'enjawulo bavuddeyo ku byayogeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mbeera...

Wakabi abatuuze gwe baakubye nga bamulumiriza okumenya ebbaala n'abba.

'Munsonyiwe okubba naye mu ...

KINYOZI bamukwatidde mu bubbi n'asaba bamusonyiwe kubanga  mu saluuni  temuli ssente zimumala kweyimirizaawo....

Abakungubazi nga bakungaanye okulaba agambibwa okumenya emmotoka n'abba eyakubiddwa mu kuziika Fr. Tamale .

Bakubye agambibwa okubba mu...

ABAKUNGUBAZI batebuse omubbi agambibwa okulabiriza Bafaaza nga bali mu Mmisa eyawerekedde munnaabwe Fr. Joseph...