TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Abapoliisi abatulugunya abantu lwaki bakuza bakuze!

Abapoliisi abatulugunya abantu lwaki bakuza bakuze!

Added 29th January 2015

AFANDE Joram Mwesigye, abadde DPC wa Poliisi ya Kampalamukadde ayolekedde okusibwa emyaka etaano singa omusango gw'okutulugunya bannamawulire ogwamugguddwaako mu kkooti y'oku Buganda Road gumukka mu vvi.

Bya Ahmed Mukiibi

AFANDE Joram Mwesigye, abadde DPC wa Poliisi ya Kampalamukadde  ayolekedde okusibwa emyaka etaano singa omusango gw'okutulugunya bannamawulire ogwamugguddwaako mu kkooti y'oku Buganda Road gumukka mu vvi.

Mwesigye yabadde  ng'akwatiddwa ekitambo ku mutwe olw'engeri gye yafubutudde  n'okukubaakuba bannamawulire ekyatuusizza  bakama be okumunaabira mu maaso.

Mukama we,  Gen. Kale Kayihura yamuyimirizza  ku mulimu n'alagira akwatibwe olw'ettima n'effujjo lye yayolesezza  ku bannamawulire omuli Andrew Lwanga owa WBS gwe yasinsimudde waaya y'amazannyalaze ku mutwe kumpi kwagala kumutta!

Mwesigye  yakwatiddwa  nga January 13, 2015 ne bamuggalira e Kireka  ku kitebe kya Special Investigations Unit (SIU) okumala ennaku ssatu  oluvannyuma n'asimbibwa mu kkooti ku Buganda Road n'avunaanibwa.

Emisango  egy'okukuba n'okutulugunya Bannamawulire  egyagguddwa ku DPC Mwesigye gisimbuliziddwa mu tteeka erya 'Prohibition and Prevention of Torture Act 2012 era singa ginaamukka mu vvi, ajja kusibwa  emyaka etaano oba okuwa engassi enzito.

Naye ggwe nange tuyinza okuba nga tutimbibwa bbula! Kizuuse nga kumpi abappoliisi bonna abakwatibwa nga bakoze obuvuyo, bwe batabakuza, babakyusa bukyusa ne babongera n’amayinja olwo ne babatwala awalala okusigala nga banola ebokolobero!

 Gen. Kayihura oluusi yeefuula agenda okukola okubuuliriza kyokka gye biggweera ng'abampembe  beekunnumbidde  ng'embuzi eyasizza entamu!

DPC Joram Mweigye ( akutte kibooko era ali ku kkono) yakuba munnamawulire.

 

EBIKOLOBERO BYA POLIISI  KU BANTU 

Nga April 22, 2011 mu biseera by’okwekalakaasa okwa Walk2 Work, abaserikale ba Poliisi mu Nyendo baasindirira amasasi mu beekalakaasi ne batta omwana ow’emyaka ebiri Juliana Namwanga!. 

 Gen. Kayihura kye yakola, kwe kukyusa  Afande Fred Ssekiwere eyali RPC n’amutwala  mu kitongole ky’ebikwekweto bya Poliisi,  ekifo kye n’akissaamu  Simon Wafana gwe yaggya e Mbarara gye yali nga DPC. 

Omuserikale agambibwa okutta omwana naye yakyusibwa n’atwalibwa mu kitundu ekirala era ebyo awo we byakoma!

Mu biseera bye bimu eby’okwekalakaasa, abaserikale  b’e Kajjansi  ku lw’e Ntebe baakuba omukazi owoolubuto olw’emyezi omusanvu, Brenda Nalwendo  amasasi ne bamuyiwa ebyenda n’akomayo era singa Katonda teyazza bibye, mukazi wattu yali afiiridde bwemage! Ekyewunyisa tewali muserikale wa Poliisi yakwatibwa, abaserikale abaali basse omukazi ono na kati mwebali mu Poliisi!

Nga  29 April 2011, omuserikale wa Poliisi Gilbert Arinaitwe Bwana katono  atte Dr. Kizza Besigye emisana ttuku  ng’ensi eraba, bwe yakwata ennyondo  ne pisito n’ayasaayasa endabirwamu z’emmotoka ye n’alyoka amufuuyira kaamulari  ne ttiyaggaasi butereevu mu mmunye!

Andrew Lwanga owa WBS (wakati) baamutwala mu ddwaaliro nga biwalattaka oluvannyuma lw’owapoliisi okumukuba ennyo.

Ng’amaze okumufuuyira kaamulali, Arinaitwe eyali mu ngoye eza bulijjo,   yasika Besigye ebitogi n’amukasuka ng’ekitereke   ku kabangali ya Poliisi  ne bamutwaka nga tamanyi biri ku nsi.

Kyatereegekeka oluvannyuma  nti omuvubuka eyali akoze effujjo ku Besigye ye , Gilbert Arinaitwe, ofiisa wa Poliisi ali ku ddaala lya  ASP  nga mu kiseera ekyo yali akola mu RRU e  Kireka.

Ng’oggyeeko okubeera ofiisa wa Poliisi, Arinaitwe musajja Mukukole era y’akulira ebyokwerinda mu kkanisa y’Omusumba Robert Kayanja eya Miracle Centre e Lubaga!

Mu November wa 2014, omuwaabi w’emisango gya Gavumenti yasalawo nti Arinaitwe  talina musango  kubanga fayiro ya Poliisi  gye yakola  mu kunoonyereza yali tematiza kwongera musango mu maaso, bwatyo Arinaitwe kati ayiinaayina!

Kigambibwa nti Gen. Kayihuya  yamusindika  mu ttendekero lya Poliisi erya Kabalye e Masindi  n’ayogera okutendekebwa  era yamaliriza dda n’adda mu Kampala!

Eyatta abayizi e Makerere ali mu Kampala ameketa nsimbi

Mu November wa 2013, Afande James  Ruhweza yaduumira  abaserikale ba Poliisi abaakuba munnamateeka   Abdulla Kiwanuka ne bamuyulizayuliza engoye ku KCCA  bwe yali atutte  ekiragiro kya kkooti ekiyimiriza Minisita wa Kampala Frank Tumwebaze  okukubiriza olukiiko lwa bakansala olwaggyamu Loodi Meeya Erias Lukwago obwesige. 

Abapoliisi y’e Hoima abatta abantu babiri mu 2010.

Ruhweza nga ye RPC wa Kampala South,(atwala Poliisi ya  CPS, Ntebe, Kajjansi ne Kabalagala), taggulwangako musango gwonna n'okutuusa kati wadde nga IGP Gen. Kayihura yali asuubizza okukola okubuuliriza 

Mu ngeri y'emu,  Ruhweza ng'akyali DPC  ku CPS mu 2012,  ye yakulira ebibinja ky'abappoliisi abaateega  abalema abeegattira mu kibiina kya National Union of Disabled Persons in Uganda (NUDIPU)  abaali batwala ekiwandiiko ku Palamenti ne babakubamu ttiyaggaasi n'amasasi ag'ebipiira  ne bagwa ebigwo  ne  banuubuka n'emiggo kwe batambulira ne bagisuulawo, era eby’okugenda  ku Palamenti  Ruhweza n'abirinnyamu eggere . Wabula n'okutuusa kati Ruhwezi talina musango gwonna gwe yali avunaaniddwa ku bikolobero bino!

Afande Alifonse Birigamba, yali akulira poliisi y'oku ppaaka empya mu 2009, yali ne  ofiisa omulala AIP  Aggrey Wakabi eyali akulira poliisi y'oku Owino   be baawa ebiragiro eri  abaserikale abakyala  ne batyoboola  omubaka wa Kampala Nabillah Naggayi Sempala kumpi okumwambulamu engoye emisana ttuku bwe yali agezaako okukuba olukung'aana mu katale ka Owino. 

Ensonga ez'okutyoboola Nabillah omuli okumufungula, okumukwata ku mabeere n’ebirala zaatuuka mu Palamenti, ababaka ne bassa Gen. Kayihura ku nninga era n'asuubiza okukangavvula bofiisa  bombi.

Wabula mu kifo ky’okukangavvulwa,  Wakabi yakyusibwa  n’atwalibwa ku poliisi ya Kampalamukadde n’aweebwa obuvunaanyizibwa obulala n'oluvannyuma n'aggyibwayo n'atwalibwa okukulira poliisi y'oku Kalerwe, Nabweru, Bwaise ku Mambule Rd gye yava  n'akomezebwawo ku Kampalamukadde ng'aduumira ebikwekweto.  

Wakabi yakuzibwa okuva ku ddaala  lya Sajenti n'atuusibwa ku ddaala lya AIP.  Birigamba  naye yakuzibwa okuva  ku ddaala lya AIP n'afulibwa IP n'atwalibwa  okukulira Poliisi y'e Kazo!

Nga February, 26, 2011, abaserikale ba Poliisi y'e Buikwe  baatulugunya  omutuuze w'e Njeru,  Annet Namuddu  mu biseera by'okulonda kwa ssentebe wa LC5  oluvanyuma ne bamuyoola mu bbanga ne bamukasuka ku kabangali  n'asookawo omutwe ng'amagulu gali waggulu.

DPC James Peter Aurien yakwatibwa lwa butemu.

Akakiiko akakwasisa empisa mu Poliisi kaatuula ku Jinja CPS  nga kakubirizibwa Pufredic Lukooya ne kavunaana OC wa Poliisi y'e Njeru, Adrew Gudoi n'omuserikale  we,  Sgt Bruham Tabu era emisango ne gibasinga. Gudoi baamussa amayinja okuva ku ddaala lya  ASP (obuyinja busatu)  okudda  ku ddaala lya IP (akayinja kamu) ne bamuwummuza ne ku mulimu.

Nga October 2  2013, abaserikale  bataano okuli;  ASP  Daniel Asobasi  Okumu, Cpl. Geoffrey  Odong, Sgt. Simon Peter Oswama,  Patrick  Muwonge  ne Alafa Lwanga  baatulugunya emisana ttuku omusajja Kasim Ssuuna  eyali agenze  ku ofiisi y'ekkolero lya Mukwano Group of Companies Ltd  okubanja ssente ze.

 Ssuuna eyali omulwadde ng'omukono gusibiddwa mu bandegi oluvannyuma lw'ekyuma kya Mukwano okumutemako engalo bbiri yakubwa bubi nnyo, bwe yali agenze  okusaba ssente ez'okumuliyiirira. 

 Nga November 17, 2018, kkooti ya Poliisi yabasingisa emisango,  abana;  ASP  Daniel Asobasi Okumu, Cpl.  Geoffrey  Odong , Patrick Muwonge ne Lwanga Alafa ne bagobwa mu Poliisi ate  Sgt. Simon Peter Oswama  ne bamukendereza ku kibonero  n'assibwa eddaala okuva ku   sajenti  okudda ku kopolo.

Omugagga Kitandwe kata bamumize omusu

Omugagga w'omu Kampala,  Tom Kitandwe nga ye nnanyini bizimbe okuli Galiraaya ne Gazaland    yali omu ku bantu abasoba mu 50 abaayoolebwa  Poliisi nga March  24, 2012  mu kikwekweto eky'okuzuula omuntu eyakasuka ettoffaali  okuva ku kizimbe waggulu  ne likuba muserikale John Michael Ariong ku mutwe n'afiirawo.

Kitandwe yasooka n'akubwa  n'okutulugunyizibwa nga bamukwata n'oluvannyuma bwe yatuusibwa e Kireka ku kitebe kya SIU n'abakwate abalala, abaserikale ne bongera okumuyisa obubi,   embeera n'etabuka ne bamuyimbula, bagagga banne  ne bamuddusa mu ddwaaliro  e Kenya nga biwala ttaka.

Wabula tewali kyakolebwa ku bappoliisi abaamutulugunya wadde nga Gen. Kayihura yali asuubizza okukoonyereza.

Abaserikale b'omu Poliisi ya Kira Road  baakuba munnamawulire Edward Echwalu nga  March 21, 2012,  ne bamwonoonera ne kkamera  ye  ey'ebbeeyi bwe yali akwata amawulire   nga Besigye  atwaliddwa mu Poliisi eyo.

 Wadde Ecweru yeekubira enduulu ewa Gen. Kayihura, tewali kyakolebwa ku baserikale abo. Ku lunaku lwe lumu olwo, munnamawulire omulala Anatoli Luswa yakubwa abaserikale ab'oku CPS ne bamwonoonera kkamera kyokka nabo  tewali yabanenyaako .

Abalala abawonye

Munnamawulire omulala  Isaac Kasamani yakigwako nga  February 12, 2012, abaserikale   bwe baamutunuzaamu emmundu n'asimattukira watono okukubwa amasasi bwe yali akuba ebifaananyi ku lukung'aana olw'abooludda oluvuganya  , Poliisi lwe yali egumbulula. Tewali wa Poliisi yavunaanyibwa olw'ekikolwa ekyo.

 

Bannamawulire abazze bakubwa kuliko; Joseph Mutebe owa Bukedde, Hasifa Wanyama owa Kingdom FM, Siraje Lubwama owa Observer, William Ntege  eyeeyita 'Kyuma kya Yesu’, n'abalala abazze bakubwa kyokka  ne bwe baloopa abaserikale ababakuba tewali  yali avunaaniddwa!

 

Abapoliisi abatulugunya abantu lwaki bakuza bakuze!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ndagga ng'ayogera eri bannamawulire.

'Amasomero agasomesa ebibii...

Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Wakiso, Daniel Ndagga, ategeezezza ng'amasomero agasinga bwe gaziimudde...

Ente ali mu kifaananyi ne banne gye baakwatiddwa nayo.

Babakutte lubona n'ente enzibe

Poliisi y'e Sseeta Nazigo mu disitulikiti y'e Mukono ekutte abasajja babiri abateeberezebwa okuba ababbi b'ente...

Minisita Kuteesa

Minisita Sam Kuteesa ayanju...

MINISITA w'enkolagana y'amawanga g'ebweru, Sam Kahamba Kuteesa ayanjudde lipooti ku bwegugungo obwaliwo nga November...

Myeyu asibiddwa emyaka ena.

Eyakwatibwa n'ebyambalo by'...

SSENTEBE wa kkooti y'amagye e Makindye, Lt. Gen. Andrew Gutti asibye omusajja emyaka ena mu kkomera e Kitalya lwa...

Bakiraaka ba kkooti nga bambadde yunifoomu.

Baleese yunifoomu z'abakozi...

Kaweefube w'okulwanyisa obuli bw'enguzi, essiga eddamuzi limukwasizza maanyi bwe litongoza  yunifoomu  egenda okwambalibwa...