
Bya Basasi Baffe
SHEIKH NUHU MUZAATA Batte yazaalibwa mu myaka gya 1950 e Bwayise mu Lufula Zooni okumpi ne Kimombasa mu maka g'omugenzi Adam Muzaata.
Kitaawe Adam Muzaata yali Sheikh ajjanjaba abantu ng'ayita mu kubasomera edduwa nga yeeyambisa Kkulaani , abamu ku Basiraamu gye baavumirira nga bakiyita 'okukuba ebitabo'. Yafa mu myaka gya 1990 n'aziikibwa e Kazo kyokka oluvannyuma ebisigala bye byaziikulwa ne Sheikh Muzaata n'aba famire ye ne babiziika e Kigogwa, ku luguudo lw’e Bombo.
Kigambibwa nti jjajja wa Muzaata, omugenzi Kamadi Muzaata yava Tanzania mu myaka gya 1800 n'ajja mu Buganda ku mulembe gwa Ssekabaka Ssuuni 11 eyali Kabaka wa Buganda wakati 1830 okutuuka 1856.
Ensonda zaategeezezza nti Kamadi Muzaata yali musawo wa kinnansi nga y'akola ku omu ku baka Ssekabaka Ssuuna ayitibwa Muganzirwazza. Muganzirwazza ye yali maama wa Ssekabaka Mwanga II. Kigambibwa nti Kamadi oluvannyuma yalya omutala e Mbale gye yazaalira kitaawe wa Sheikh Muzaata, Adam Muzaata.
Okunoonyereza kwaffe kuzudde nti Muganzirwazza yasalawo okuwa Kamadi Muzaata ettaka e Bwayise asobole okubeera omumpi naye era bwatyo n'asenguka okuva e Mbale amakanda n'agakuba e Bwayise, era we yafiira mutabani we Adam Muzaata n'amusikira era awo we yazaalira Shiekh Muzaata mu myaka gya 1950
Sheikh Muzaata yakulira Bwayise wakati mu mbeera y’abantu abasula mu mugotteko era abamu ku bamaseeka bagamba nti olulimi lw'akozesa oluvuma, obwannaamwatulira n'obutaluma mu bigambo yayonka biyonke ggwe ate kiki kye wandisuubidde!
Muzaata yava buto nga waakiwago era abaali bamanyi kitaawe Sheikh Adam bagamba nti 'Agaassaaka ge gattula' ,anti naye yali musajja omuwaggufu, ekifuba kye nga kya ngabo nga mutabani we ate nga muddugavu kagongolo okufaananira ddala nga Sheikh Muzaata.
Sheikh Muzaata (ku ddyo) mu kusabira omugenzi Sheikh Bahiiga e Kibuli.
Okusoma kwa Muzaata tekwali kulambulufu nnyo, kubanga bwe yali yaakatandika okwogera kitaawe n'atandika okumusosa eddiini ne Kkulaani era bwe yaweza emyaka nga musanvu n'amutwala e Bwayise mu Bilal.
Ku Biral e Bwayise teyabandaalawo n'adda ku Bilal Quran Islamic School e Wandegeya edda awaayitibwanga mu binyira
Bamaseeka abaasoma ne Muzaata bang’ambye nti okuva nga bakyali naye ku ssomero nga muvubuka atiisa n'abasomesa olw'ekikula kye era nga tanyigirwa mu nnoga.
Bamasheikh bano ng'abasinga baasoma naye ku Bilal Quran Islamic School e Wandegeya okuva mu 1979 ne ku Yunivasite e Madina kyokka nga baasabye amannya gaabwe gasirikirwe baagambye nti yali muvubuka mukambwe nnyo ku ssomero.
Baagambye nti yakulemberako akeediimo ku Bilal , abayizi ne basaanyaawo ebintu by’omukulu w'essomero eyayitibwanga Sheikh Kalanzi nga bamulanga okuddukanya obubi essomero!
Amaka ga Sheikh Muzaata agasangibwa e Kawempe mu Keeti Falaawo zooni.
Bamaseeka bagamba nti Muzaata yali atiibwa abayizi bonna omuli n'abebibiina ebya waggulu nga kasita kaakutandanga n'omunyiiza nga yakwambalidde dda, oba luyi ng'alukupacca oba tteke ng'akusam-basamba awatali amugambako
Wadde yali wa mbazzuulu, Muzaata yali mujjumbize era ng'ebigambo abisoma bulungi, nga yettanira nnyo kiraabu ez'enjawulo mu ssomero mwe baasinziiranga okukubagannya ebirowoozo, okukaayana n'okusingira ddala ku masomo mu ddiini.
Muzaata yava ku Bilal mu 1982 n'agenda yeegatta ku University of Madina mu Saudi Arabia eyo gye yatikkirirwa ekitiibwa ky'obwa Sheikh omujjuvu
Bwe yadda okuva e Saudi Arabia , Muzaata yatandika okukola emirimu egy'obusuubizi ng'eno bw'alyowa emyoyo. Yatandika kkampuni ey'abalambuzi etwala abantu e Mecca ne Madina ku Hijja ne Umurah omulimu gw'akyakola n'okutuusa kati.
Abamanyi famire ya Muzaata bagamba nti yasooka kuwasa muwala w'omugenzi Bujirita kyokka ne baawukana oluvannyuma lw'ekiseera.
Mu kiseera kino Muzaata alina abakyala babiri okuli n'ayitibwa Qurusum Muzaata, akola mu KCCA , Muky. Jeniffer gye yamuwadde omulimu omwaka oguwedde nga Muzaata yaakamala omukukolokota ku bye yali atiisatiisa okugaana Abasiraamu okwaziina! Muzaata okuva olwo takyakolokota Jennifer Musisi!
Amaka we bazaala Sheikh Muzaata agasangibwa e Bwaise mu Lufula zooni.
Bamasheikh bye bagamba
Ibrahim Hassan Kirya, omwogezi w'olukiiko lwa Supreme Mufti:
Waliwo abali emabega w'enteekateeka eno ey'okusiga obukyayi wakati wa Mmengo n'obukulembeze bw'e Kibuli era twabategedde. Naye kirina okutegeerekeka nti ebintu ebyogerwako bikadde nnyo mu kiseera bwe wabeerawo obuzibuzibu.
Naye ndowooza nti engeri obukulembeze bwaffe ne Mmengo gye bukuttemu ensonga eno ejja kutereera.
Muhamadi Kisambira, Ssaabawandiisi w'olukiiko lwa Supreme Mufti:
Obukulembeze bw’e Kibuli tebulina mbiranye yonna ne Mmengo era tutambulira wamu. Ebigambo by'omuntu omu, tebirina we bitukwatirako ffe abali mu bukulembeze bwa Supreme Mufti wabula oli yabyogedde ku lulwe era eyo ndowooza ye ng'omuntu.
Kasule Ndirangwa, Disitulikiti Khadi wa Kampala:
Ensonga eyo ejja kutereera era bakadde baffe bagikutte kannabwala okulaba ng'embeera edda mu nteeko nga Katonda ali wamu naffe.
Naye ekiri emabega wa kino naffe kikyatulemye okutegeera. Obutambi obwo bukadde nnyo naye twewunnya okulaba nga buvuddeyo ku ssaawa eno.
Sheikh Yahaya Lukwago, Ssentebe w'abatwala abalamazi e Mecca:
Nze ndowooza tewasaanye kubaawo mbeera yonna eyinza kulowoozesa bantu nti waliwo embiranye wakati wa Mmengo ne Muzaata. Ekisinga obukulu mu kiseera kino, kwe kulaba ng'enjuyi zombi zituula okusalira embeera eno amagezi era nnina obukakafu nti ebiriwo byonna bigenda kumalibwawo abakulembeze.
..............................................................................................................................................................
EBIRALA..................
Munyagwa yeemaze eggoga ng'alumba Muzaata ku by'Ettoffaali
Maama wa Muzaata avuddeyo ku ttofaali
Munyagwa yeemaze eggoga ng'alumba Muzaata ku by'Ettoffaali
Bobi Wine atabukidde Sheikh Muzaata ku by'Ettoffaali: 'Weetondere Obuganda bwonna'
...............................................................................................................................................................
Sheikh Muzaata: Kuva dda nga musajja wa buvuyo, yakulirako akeediimo ku Bilal e Wandegeya!