TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Joan namazzi Kagezi: Abadde mukulembeze okuva e Makerere okutuusa lw'afudde

Joan namazzi Kagezi: Abadde mukulembeze okuva e Makerere okutuusa lw'afudde

Added 2nd April 2015

JOAN Namazzi Kagezi ajja kulwawo ng’ajjukirwa mu kitongole ekiramuzi n’abo abagoberera ebyamateeka n’emisango egy’amaanyi mu ggwanga naddala egy’ekuusa ku butemu.

Bya Musasi Waffe

JOAN Namazzi Kagezi ajja kulwawo ng’ajjukirwa mu kitongole ekiramuzi n’abo abagoberera ebyamateeka n’emisango egy’amaanyi mu ggwanga naddala egy’ekuusa ku butemu.

Si lwakuba yatiddwa, wabula olw’engeri gy’abadde akwatamu emisango egy’amaanyi ng’omuwaabi wa Gavumenti ate egisinga abadde agiwangula. 
 
Ye yawangula omusango gwa Akbar Godi eyali omubaka wa Arua Munisipaali ogw’okutta mukazi we; ogwa Tom Nkurungira ogw’okutta muganzi we.
 
Ye yawoza n’omusango gwa Dr. Aggrey Kiyingi, gwe baamulumiriza nti alina ky’amanyi ku kuttibwa kwa mukazi we  Robinah Kayaga mu 2005, Kiyingi omusango yaguyitako mu kkooti enkulu, wabula Gavumenti yajulira mu kkooti ejulirwamu etennaba kuwa nsala yaayo. 
 
Ku Mmande akawungeezi abatemu basse Kagezi e Kiwatule bwe yabadde ava okugula ebibala ne bamukuba amasasi.
Obutemu obw’ekika kino nga batta omuntu ava mu kitongole ekiramuzi bwasembayo ku mulembe gwa Idi Amin mu 1972, bwe baasikambula omulamuzi Benedicto Kiwanuka mu mmotoka ye ne bamutta! 
 
Wabula ku Kiwanuka kyategeerekeka nga yali mbeera ya byabufuzi, naye ku luno ekyassizza Kagezi kikyatankanibwa.
 
Abamu balowooza nti entabwe yandiba nga yavudde ku musango gw’abatujju abaatega bbomu e Lugogo mu 2010 gw’abadde awoza nga ne ku Lwokubiri olunaku olugobererera lwe baamusse gwabadde gukomawo mu kkooti. 
 
Abakungubazi beeyiye e Kiwaatule okukungubagira Kagezi.
 
Naye okufa kwa Kagezi abanguya ebigambo olukongoolo baluteeka ku poliisi nti, ye yalagajjalira obulamu bwe.
 
Yakimanya nti alina emisango egy’amaanyi ne balemwa okumuwa abaserikale abatambula naye buli w’adda, nti singa yabadde n’abakuumi abatemu bandibadde tebayinza kumwempankirako.
 
Bw’abadde akola emirimu 
 
Omu ku balooya ataayagadde kwatuukiriza mannya yabuuzizza: Amazima ani yandyagadde okutta Kagezi? Abadde muntumulamu, mukkakkamu, atasiba busungu ate atakuuma mpalana  ne bw’aba looya munne ng’amukoze ekikyamu.
 
Akamu ku bukodyo balooya bwe batera okukozesa okuwangula emisango kwe kunyiiza balooya ababa ku ludda olulala oba abawa obujulizi, wabula Kagezi mu mbeera eno nga tomuwanguliramu kubanga nga bw’aba mu kkooti nga tasobola kuva mu mbeera. Emirundi mingi nga bw’alaba looya ku ludda olulala ng’agezaako obuba omwenkanya ku bajulizi.
 
Ng’omusango bwe guggwa  ajja n’abuuza ku looya oyo n’akamwenyumwenyu!   
 
Kagezi y’omu ku bannamateeka eyali Ssaabalamuzi Benjamin Odoki be yalonda okuteekawo amateeka agalina okugobererwa abalamuzi okulaba ng’abantu abazza emisango egifaanagana bafuna ebibonerezo bye bimu. 

Joan namazzi Kagezi: Abadde mukulembeze okuva e Makerere okutuusa lw’afudde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emirango n'ebiwoobe bibuuti...

Emirango n'ebiwoobe bibuutikidde lutikko e Lubaga mu kuziika Ssaabasumba Lwanga

Omukolo gw'okuziika Ssaabas...

Omukolo gw'okuziika Ssaabasumba Lwanga mu bifaananyi

Paapa alonze Bp. Ssemwogere...

Paapa alonze Bp. Paul Ssemwogerere, ow'essaza lya Kasana - Luweero okubeera Ssaabasumba w'essaza lya Kampala ow'akaseera....

Paapa akungubagidde Ssaabas...

Paapa akungubagidde Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga ng'ono obubaka obukungubaga abutisse omubaka we mu Uganda,...

Omulangira Ssimbwa

Omulangira Ssimbwa eyasimat...

Omulangira Arnold Ssimbwa afudde. Ono ye Muzzukkulu wa Ssekabaka Muteesa II omukulu era y'omu ku baasimattuka akabenje...