TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Babirye talina mikono na magulu naye akola buli kimu!: Baze yamusuulawo

Babirye talina mikono na magulu naye akola buli kimu!: Baze yamusuulawo

Added 10th April 2015

ENJOGERA egamba nti obulema si buteesobola etuukira bulungi ku mulongo Annet Babirye Luwambo omutuuze w’e Bunnamwaya mu Wakiso, olw’engeri gy’akolamu emirimu kyokka nga talina bigere na mikono!

Bya EDWARD SSERINNYA 

ENJOGERA egamba nti obulema si buteesobola etuukira bulungi ku mulongo Annet Babirye Luwambo omutuuze w’e Bunnamwaya mu Wakiso, olw’engeri gy’akolamu emirimu kyokka  nga talina bigere na mikono!  
 
Okusooka okusisinkana Babirye nnasoose kwebuuza nga ggwe, ono atalina mikono akola atya omulimu gwa ofiisi? Kompyuta aginyiga atya? Ye awandiika atya? Muli ne nneebuuza nti guno omulimu lwaki tebaaguwa omuntu alina emikono?
 
Wabula mu ddaakika ttaano nga ndi ne Babirye, nnabadde mmaze okweddamu ebibuuzo byonna! 
Babirye asobola okuwandiika ate ayinza okuba ng’asinga naawe asoma bino ng’ate olina emikono.
 
Anyiga essimu n’akubira omuntu gw’ayagala ka kube kukeberamu linnya alikebera, asobola okukozesa kompyuta kyonna ky’ayagala ne ku yintanenti agendako, asobola okusiimuula ennyumba, okusitula omwana n’okwoza! 
Era bano abaana b’ennaku zino abanafu tobageza ku Babirye mu kukola emirimu.
 
 
Babirye ng’awandiika.
 
Ggwe okimanyi nti waliwo abakyala abooza engoye ne zitatukula? Kati olowooza oyinza okubamugezaako? Babirye agamba, ekimuyamba okukola bino kwe kuba nga yasalawo okukozesa buli kitundu ku mubiri gwe, kuba yakizuula nti kye kyokka ekisobola okumuyamba, era ekiruubirirwa kye mu nsi kwe kulaba ng’abeera bulungi n’abaana be abana b’alina.
 
Ebikwata ku bulamu bwe
 
Bibirye gwe nnasanze mu ofiisi za FIDA (ekibiina ky’abakyala balooya) e Kamwokya ng’anyiga kompyuta ng\eno bw’anywa ku caayi, olugira n’akuba ku ssimu yannyumiriza olugendo lw’obulamu bwe omuli n’omusajja eyamukuba embaga kyokka n’amusuulawo n’abaana baabwe bana era kati y’abalabirira:
 
Nazaalibwa April 28, 1975e Namagabi-Kayunga, ew’omugenzi  Ssaalongo Sylvester Luwambo n’Omumbejja Paulina Nkinzi  ( ono gyali e Kayunga).
 
Obulamu bwange tebubadde bwangu nnyo kubanga okuva ku myezi mwenda bantemako emikono olw’obulwadde obwali bugivunza wamu n’ebigere era nkuze bantegeeza nti nnalwala olukusense ng’eno y’ensonga eyabitemyako.
 
Obulamu tebwabeera bwangu, kubanga n’abazadde ssaako abooluganda be nnali nsuubira okubeera nange mu kaseera akazibu bankwekanga nga balaba mbaswaza, okwo gattako obutabaako kye bannyamba okuggyako mwannyinaze Denis Buyoga Katongole mu famire yonna.
 
Annet Babirye talina mikono na magulu naye yeesobola.
 
N’embeera eno gy’olaba gye ndimu y’annyamba yekka abalala bonna teri afaayo, naye Mukama ambeezaawo. 
 
Mu kusoma kyannumanga nnyo ng’abantu bwe mba ntambula mu kkubo nga bampita mulema, nga kinnuma kuba nalabanga abansosola!
 
Mu 1997 nnagenda mu lukung’aana e Seeta-Mukono olwali ku wooteeri ya Elly’s Motel eno gye naddiramu essuubi kubanga nnalabayo abalema abatasobola kweyamba! Tolaba nti nze sirina mikono na bigere naye bali nga bali bubi nnyo ate nga banneegomba kubanga nze nsobola okwekolera emirimu egisinga. 
 
Era okuva olwo nnaguma, luli nga nnyambala sikaati eziriko ensawo ne bwe nnabanga nva ku ssomero ng’emikono ngikweka mu nsawo olw’okutya okumpita omulema, wabula ebyo ne mbivaako ne bwe bampita mulema nga sikyafaayo nneetambuliranga byange. 
 
Okusoma n’okukola  
 
Dr. Francis Kitaka owa Quality Chemicals ye yansomesa okuva mu S.I okutuuka lwe nnamaliriza dipulooma mu by’obutonde by’ensi e  Makerere.
 
Pulayimale nnagisomera ku St. Tereeza e Bunnamwaya, nasomerako mu Kitebi SSS gye nnatuulira S.4 ate S.6 ne ngimalira Ntebe SSS.
 
Naye tondaba mu bulema bwange, okuggyako ku bibuuzo bya S.6 kwokka kwe bannyongera obudde naye ku P.7 ne S.4 nnakozesa obudde bwe bumu n’abayizi abalina emikono gyombi! 
 
‘Baze yansuulawo naye nneekolera’
 
Bwe nnamaliriza okusoma ne ntandikwa okweyiiya, wabula mu mbeera eno okunoonya omulimu si kyangu kuba buli gy’ogenda okugusaba oli akulaba ng’atalina ky’asobola kukola.
 
Bangi oluyingira ofiisi ye alowooza ozze kumusaba buyambi, kale okukakasa alina omulimu nti mu bulemu bwo olina ky’oyinza okugatta ku kkampuni ye oba ekitongole si kyangu.
 
Aba Send a Cow e Ntinda be nnasooka okukolerako okuva mu 2008 okutuuka mu 2014, eno nnakolerangayo ng’omusomesa w’abalunzi be baawanga ente. Wabula okuva mu 1997 lwe nnamaliriza dipulooma nzize nkolerako mu bibiina eby’enjawulo nga njogera n’abantu be bakolagana nabo n’abo abalina obulemu nga mbazzaamu essuubi.
 
Mu kiseera kino nkolera mu kibiina kya FIDA e Kamwokya ng’eno ndiyo ng’omukozi ow’ekiseera ayambako ku kubuulirira abakyala abalina ebizibu ebitali bimu naddala ebikwatagana n’amaka.
 
Nneetaaga omulimu
 
Nsobola okusomesa nga mbuulira abantu ebigambo ebibazzaamu essuubi, nsobola okubudaabuda abalwadde ba siriimu, nsobola okukulira pulojekiti yonna nga zino ez’ebibiina by’obwannakyewa, nsobola okusomesa ku bikwata ku ddembe ly’abaana n’abantu abakulu kale omuntu asobola okunkozesa mu mbeera eyo aba annyambye kuba kijja kunnyamba okufuna fiizi z’abaana ezinfuukidde ekizibu kuba ne baze eyandinnyambye yandekawo.
 
 
Babirye ng’asiimuula. Ku ddyo, Babirye ng’ayoza.
 
Wabula singa mba nfunye omuntu n’ampa kapito ne mba nga nsobola okukolayo kabbizinensi akasobola okunnyingiriza ssente buli lunaku zinnyambako okulabirira awaka ate n’okufunamu fiizi z’abaana. nnali ndowoozezza okutandikawo akaduuka akatunda ebintu ebya lejjalejja naye byonna byagaana lwa kapito. 
 
Ebikwata ku famire
 
Bino Babirye tayagala kubyogerako nnyo kubanga bimujjukiza ebyaliwo, mu 2000.  “Nnali mu musomo e Gulu, kwe kufuna ssimu. Nnasooka kwekengera nnamba nga sigimanyi, ng’enda okugikwata nga ddoboozi lya musajja.
 
Bwe namubuuza nti ggwe ani? Kwe kunziramu nti, ‘Nze James Kiyingi, wabula njagala tusisinkaneko maaso ku maaso’.
 
Kino kyali kipya gyendi kubanga n’omuntu nga simumanyi. Nagaana okumusisinkana wabula yannemerako ng’ankubira amasimu buli kiseera.
 
Kale naawe ebyo obimanyi, yali ategeeza bya kung’anza. Nabuulirako mukwano gwange omu kwe kumpa amagezi okusisinkana omusajja ono kuba yang’amba nti era kye kiseera okumpa omwami era awo omukwano gwange ne Kiyingi we gutandikira.
 
Mu 2002 ne tuzaala omwana waffe asooka Eric Lumu kati alina emyaka 13 ng’asoma S.I ku Baptist High School Kitebi. Twazzaako Immaculate Nabayise 10, asoma P.5, kuddako Benjamin Sserunkuuma asoma P.3 bombi basomera ku Mother Care Preparatory n’asembayo Charles Kayinda ow’emyaka esatu atannatandika kusoma.
 
Wabula engeri gye nzaddemu abaana bano nayo ya matankane, oba omusajja yakozesa mukisa gwa kuba nga ndi mulema n’atandika okunjooga! Bwe nazaala omwana asooka era yabulamu awo, olwo n’adda n’annimbalimba kwe kunfunyisa olubuto olwokubiri.
 
 
Babirye n’abaana be.
 
Ndowooza yalaba tewali ky’anannimba ku luno yadda na mbaga era twagattibwa mu 2005. Awo nnazaala abaana abalala era nga yeebuzaabuza bwatyo, okutuusa wano mu January wa 2014 bwe yagendera ddala, siddangamu kumuwuliza era simanyi gy’ali. nze nnwana n’abaana bange mu buli kimu, era tebalina waka nti oba lugoye luuluno lwa taata! 
 
Babirye y’esobola mu bintu ebimu  
 
“Babirye neesobola mu bintu ebimu, nze togaana kunjoleza n’olowooza nti onnumizza nnyo kubanga nsobola okweyoleza engoye n’emikono gyange egitaliiko. Nsobola okukunya olugoye ne lutukula, era nze tewali anjoleza ssuuka zange kubanga ntya nti bajja kuzigubya!
 
Nsiimuula awaka, emikono singa gigaana nkozesa ebigere! Nsitula omwana ate ne munywesa ne caayi oba okumuliisa emmere, nsobola okuwandiika, mwattu waliwo n’abalina emikono ebiri be nsinga okuwandiika obulungi n’okwanguya nga mpandiika.
 
Ekintu kye sisobola kukola kwe kusitula ebizitowa n’okuwaata emmere kubanga nnabulwa engeri gye nkwatamu akambe. Wabula ng’enda mu Kampala ne ngula ebintu eby’enjawulo ne nninnya takisi oba bodaboda ne nzira awaka.”
 
Olukusense 
 
“Nnali wa myezi mwenda nga mu kiseera ekyo mbeera ne jjajjange Anna Nakiwala nga gwe bansuulira e Bunnamwaya. Ono ye yanga’amba nti nalwala olukusense olwandeetera okuvunda emikono n’amagulu ne batuuka okugatemako.
 
 
Babirye tanyiga kompyuta aweneenya mbwa!
 
Wabula maama wange okunsuulawo ng’agamba nti yali takyasobola mbeera yange. Nnabeera ne kitange okumala ekiseera nga jjajja afudde ne taata okutuusa lwe yafa nga gwe nneekubako, ate ne mulongo munnange Nakato oba oli awo gwe nandibadde naye bang’amba nti ono yabuuka nga baakatuzaala.
 
Okusoomoozebwa mu bulamu
 
Namanyiira abantu okumpita mulema era sikifaako, wabula abantu bayitirira okuntunuulira. Oli n’akulaba n’atuuka n’okuyita munne ajje alabe! Bwe baba beesemberedde n’akoona ku munne, mpulira nga kimmalako emirembe!
 
Abantu abatuyisaamu amaaso naddala gye tusaba emirimu nga balowooza nti omulema teyeesobola abo nabo, bantama.
Okuweerera abaana nga siriiko ayamba nakyo nkisanze nga kizibu kubanga, olumu emirimu gimbula ssente ne zibula nakyo kimpa obuzibu.
 
Okubalabirira nakyo kizibu, wabula waliwo omukyala Josephine Namirembe, mulirwna wange amanyiddwa ennyo nga ‘maama w’abaana’ annyambako ku by’emmere ebiseera ebimu.
 
Okusomooza okulala kuba ku bigere bino, omusana kasita gwaka ennyo bitandika okuzimba n’emikono okutandika okuyubuka ne ginnuma nnyo. 
 
Obubaka
 
Abantu naddala abalina obulemu ku mibiri gyabwe tebalina kwenyooma, babeeko bye bakola okulaba nga beetuusaako bye baagala bave mu kulowoolereza mu kusabiriza. 

 

Babirye talina mikono na magulu naye akola buli kimu!: Baze yamusuulawo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaavunaaniddwa mu kkooti y'amagye.

ABAGAMBIBWA OKUNYAGA OMUKOZ...

ABAGAMBIBWA okulumba amaka g’omukozi wa bbanka nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu kkooti y’amagye omu nakkiriza...

Ekiggwa ky'Abajulizi e Namu...

Engeri Ekiggwa ky'Abajulizi e Namugongo gye kifaanana. Eno gye battira Abajulizi era ekifo kino kyafuuka kya bulambuzi...

Abamu ku beetabye mu lukiiko.

Alina poloti etaweza 50 ku ...

Minisitule y’eby’ettaka n’okuteekerateekera ebibuga bafulumizza enteekateeka empya ey’okuzimba mu bibuga. Bategeezezza...

SPC Faizal Katende.

SPC Faizal Katende eyakwati...

OFIISA wa poliisi SPC Faizal Katende asabye kkooti emukkirize okuyimbulwa ku kakalu ka`ayo. Bino Ssentebe wa kkooti...

Ssentebe Sserwanga (alina enkumbi) ng'atema evvuunike ly'okuzimba eddwaaliro.

Gavumenti ewadde ab'e Kayun...

GAVUMENTI ewadde ab’e Kayunga obukadde bw’ensimbi 600 okugaziya eddwaaliro lya Busaale mu ggombolola y’e Kayunga...