TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ssente za jegejege zikyalina amakulu mu Uganda?

Ssente za jegejege zikyalina amakulu mu Uganda?

Added 23rd April 2015

Nnagenze ku mudaala okugula ennyaanya za 200/-. Nabadde n''ekinusu akya 100/- n''ebinusu ebya 50/- kyokka omusuubuzi ebinusu ebya 50/- yabigaanyi!

Bya ALICE NAMUTEBI


Nnagenze ku mudaala okugula ennyaanya za 200/-. Nabadde n'ekinusu akya 100/- n'ebinusu ebya 50/- kyokka omusuubuzi ebinusu ebya 50/- yabigaanyi!

Wadde etteeka ligaana omuntu yenna okugaana ssente ezikkirizibwa, naye omusuubuzi ono ow’omu Owino yang’ambye nti ekinusu ekya 50/- tekikyalina mugaso mu Uganda kubanga nabo be basuubulako ebintu tebakyabikkiriza!

Eno y’embeera eri mu butale, mu maduuka, ku bbuca, mu bbaala n’awalala gye batunda ebyamaguzi, tebakyakkiriza binusu okuva ku 1/- okutuka ku 50/-!

Ensangi zino tekikyewuunyisa kusanga kinusu kya 50/- nga kisuuliddwa mu kubo naye nga tewali akironda, naye mirundi emeka gye wali osanze ekinusu ekya 100/-, 200/- , 500/- oba 1000/- nga tewali akironze?

Mu bifo bingi ekinusu kya 50/- tekikyakkirizibwa era embeera eno eviriddeko abantu bangi okugaanira ddala okubikwata nga beebuuza ebibuuzo nkumu omuli ssente zino zaggyibwawo, zikyalina omugaso n'ebirala bingi.

Mw. David Bingi, omuvuzi wa takisi ku luguudo lw'e Ntebe agamba nti abasaabaze tebakyakkiriza kubaddiza baalansi nga mulimu ekinusu kya 50/-.

“Lumu omusaabaze yakuba kondakita wange baalansi w'ebinusu bya 50/- bye yamuddiza,” bw’ajjukira.
Bingi agamba nti ne mu ppaaka enkadde mwe basinga okubeera, bw'ogenda okugula ekintu katugeze ‘Airtime’, emmere oba ekyokunywa tebakkiriza kinusu kya 50/-.

“Oyinza okutuuka ekiseera ng’olina ebinusu bya 50/- bya mitwalo 2 naye nga tolina waakubiwa era naffe kye tukola kubikaka bakasitoma , awo olutalo ne lubalukawo mu takisi” Mw. Bingi bwe yagambye.

Rose Nalwanga, omusuubuzi mu katale ka St Balikuddembe ng’atunda nnyaanya, obutungulu n’ebirala ebyefaanaanyirizaako bino agamba nti omuntu okuleetera ebinusu bya 50/- atakuguzeeko asinga.
“Tewali w’ogenda kutwala kinusu kya 50/- ne bakikkiriza kubanga ekimu bwe kigwa ekirala tekiba na mugaso ate nga tewakyali kintu kitundibwa 50/-. Kati okusinga okufiirizibwa agaaniddewo ekinusu kya 50/- asinga “ Nalwanga bwe yang’ambye.

Edda twagulanga akatungulu, kabalagala, sswiiti, eggirita, ekibiriiti n’ebirala ku 50/- naye kati ne bw’otambula mu butale oba mu maduuka kizibu okusangayo ekintu ekitundibwa ku 50/-, byonna bitandikira ku 100/- okweyongerayo abantu kye bava baddibya ekinusu kya 50/-.

Jegejege ezaafuluma mu 1987. Nnyingi zidibiziddwa

‘Bw’ogaana ssente za jegejege ozing’amya byanfuna’

Okugaana ekinnusu tekuli mu takisi, mu maduuka , mu butale ne mu bifo ebikyakalibwamu ebimu tebakkiriza binnusu bino ssaako ne mu birabo by’emmere.

Waliwo n'abalina endowooza nti omuntu bw’akuwa ekinusu kya 50/- abeera aleeteddemu ddogo kukusiraanya era abamu kye bava babugaana naddala mu butale.

Mw. Kelvin Kizito Kiyingi, amyuka omwogezi wa bbanka enkulu agamba nti baatandika okumanya ku nsonga y'abantu abamu okugaana ekinusu kya 50/- mu mwoleso gwa bannamakolero ogwali e Lugogo omwaka oguwedde.

Abantu bajjanga ku mudaala gwaffe nga babuuza oba ekinusu kya 50/- twakiggyawo, abalala nga beebuuza oba kikola mu bifo birondemu.
"Omuntu yenna agaana ekinusu kya 50/- akigaanira mu butamanya kubanga kikyakolera ddala era tetukiggyangawo" Mw. Kizito bwe yagambye.

Okugaana ekinusu kya 50/- kuli wano mu kibuga n'ebitundu ebiriraanyeewo naye bw'ogenda mu bitundu by’ewala nga e Lugazi, abasuubuzi bettanira nnyo ekinusu kya 50/- olw'ebikajjo bye batunda n'obuntu obutonotono.

Kizito Kiyingi agamba: Twatandiika kaweefube w'okwagazisa abantu ekinusu kino nga tukola pulogulaamu ku leediyo n'okugenda mu butale nga tusomesa abantu akalungi akali mu kukozesa ssente za jegejege naddala ekinusu kya 50/-
Kuno Mw. Kizito yagasseeko nti bw'ogenda mu nsi endala nga Kenya, abantu baayo bakozesa nnyo ebinusu bya ssente entono nga 10/- era bitambula bulungi lwakuba wano mu Uganda waliwo abantu abamu abayagala kubikozesa.

Bw’oba osasula ebintu ebimu ng’amafuta, amasannyalaze, ‘airtime’ n'amazzi , abantu kye batamanyi mubaamu 50/- oluusi n’ezikka ne wansi, lwakuba abantu tebakyegendereza. Kati siringisi 5/- bwe ziba zirina bye zigula lwaki 50/- tezibaako bye zigula? Kiyingi bwe yabuuzizza.

Mw. Joseph Mukwaya, omusuubuuzi ku Giant Shopping Arcade agamba nti Gavumenti y’etefuddeeyo ku miwendo gya bintu ne ssente abantu kwe kutandika okuzisosola.

“Bw’ogenda e Kenya, omuwendo gw’akapapula ka ssente ogusemba obunene gwa 1,000/- naye ffe tuli mu 50,000/- ekitegeeza nti abantu bajja kweyunira nnyo ssente ennene baleke entono ng’ekinusu kya 50/-,” bw’agamba.
Omuwendo gwa ssente gye gukoma okubeera omunene n'ebbeyi y'ebintu erinnya ekivaako obusente obutono okubudibya y'ensonga lwaki e Kenya bo n'ekinusu ekya 5/- zibeera ssente mpitirivu era abantu bazikozesa.

Kelvin Kizito Kiyingi

Okugeza buli omu ayagala Doola, naye akapapula ka Doola akasembayo obunene ka kikumi. Kale ne bw’oba ne Doola emu era olaba ng’ekyali ya mugazo. Mu 1987 bwe baakyusa ssente, ekinusu ekya 1/- kyabangako bye kigula.
Ne kaakati, singa Gavumenti edibya akapapula ak’emitwalo etaano, emitwalo ebiri, omutwalo ogumu ne 5000/-, ssente zonna eza jegejege zijja kweyongera omugaso era abantu bazikozese.

Gavumenti nayo yandibadde evaayo n’eteeka ekkomo ku miwendo gy'ebintu ebimu kubanga edda ekinusu kya 50/- kyalina bye kisobola okugula naye kati tekikyalina.

Issa Ssekitto akulira ekibiina ekigata abasuubuzi ekya KACITA agamba nti okuggyako okuyuza empale ekinusu kya 50/- tekikyalina mugaso kubanga tekirina kye kisobola kugula.

"Nze ne bwe ng’enda mu bbanka ne bampa ebinusu bya 50/- mbirekawo," Ssekitto bwe yagambye. Ebinusu byandibadde bitandikira ku 100/- oba 500/- kubanga zo zisobola okugula ekintu naye 50/- kisaana kuggyibwawo kubanga okukifunamu osooka kugattako kinnewaakyo!

Omukugu mu byenfuna, Mw. Charles Ocici owa Enterprise Uganda agamba nti Bannayuganda gye banaakoma okugaana okukozesa ssente za jjegejege emirimu n’enkulaakulana bigenda kweyongera okusereba.

“Yinvesita bw’aba ateekateeka okukola bizinensi mu Uganda asooka kusoma nfuna yaffe bw’eri. Kino kitegeeza nti okukola bizinensi n’etambula bulungi olina okutunda ebintu ku bbeeyi eya wansi nga ku 100/, 500/ kubanga abantu baffe abasinga ze basobola okufuna amangu

Wabula singa abantu bajeema ne bagaana okukozesa ssente za jjegejege emikisa gy’emirimu okutandkibwawo mu Uganda babeera bagisse kubanga tososbola kutandika bizinensi ng’otunda ekintu kya 10,000/ naye ng’abalina okukigula tebasobola ssente zino.

Y’ensonga lwaki abantu bangi batya okutandikawo emirimu n’emisolo Gavumenti gy’esolooza ne giba mitono,” bw’agamba.

Wabula mumateeka MacDosman Kabega agamba nti tewali musango singa omuntu agaana ssente. “Ssemateeka awa buli muntu eddembe okukola ky’aba ayagala singa kibeera tekinyigiriza muntu mulala era nga ne ku ssente omuntu wa ddembe okuzigaana bw’aba tazaagala,” bwe yagambye.

 

 

Ssente za jegejege zikyalina amakulu mu Uganda?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaavunaaniddwa mu kkooti y'amagye.

ABAGAMBIBWA OKUNYAGA OMUKOZ...

ABAGAMBIBWA okulumba amaka g’omukozi wa bbanka nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu kkooti y’amagye omu nakkiriza...

Ekiggwa ky'Abajulizi e Namu...

Engeri Ekiggwa ky'Abajulizi e Namugongo gye kifaanana. Eno gye battira Abajulizi era ekifo kino kyafuuka kya bulambuzi...

Abamu ku beetabye mu lukiiko.

Alina poloti etaweza 50 ku ...

Minisitule y’eby’ettaka n’okuteekerateekera ebibuga bafulumizza enteekateeka empya ey’okuzimba mu bibuga. Bategeezezza...

SPC Faizal Katende.

SPC Faizal Katende eyakwati...

OFIISA wa poliisi SPC Faizal Katende asabye kkooti emukkirize okuyimbulwa ku kakalu ka`ayo. Bino Ssentebe wa kkooti...

Ssentebe Sserwanga (alina enkumbi) ng'atema evvuunike ly'okuzimba eddwaaliro.

Gavumenti ewadde ab'e Kayun...

GAVUMENTI ewadde ab’e Kayunga obukadde bw’ensimbi 600 okugaziya eddwaaliro lya Busaale mu ggombolola y’e Kayunga...