TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Abebibanja abali mu bukadde banaggya wa emitwalo 10 okwewandiisa ku ttaka lya Kabaka?

Abebibanja abali mu bukadde banaggya wa emitwalo 10 okwewandiisa ku ttaka lya Kabaka?

Added 4th June 2015

ABALINA ebibanja ku ttaka lya Kabaka e Kyaggwe ne Kyaddondo, emitima gibasula ku mitwe olw’engeri eyeeraliikiriza eyitiddwaamu okuwandiisa ebibanja ne poloti zaabwe.

Bya HERBERT MUSOKE


ABALINA ebibanja ku ttaka lya Kabaka e Kyaggwe ne Kyaddondo, emitima gibasula ku mitwe olw’engeri eyeeraliikiriza eyitiddwaamu okuwandiisa ebibanja ne poloti zaabwe.

Okutya kwabwe kuli nti ssente ezibasabibwa ennyingi ennyo ate mu kiseera ekitono kyokka ng'abakungu b’e Mmengo abasindikibwa okubawandiika tebababuulira kinaddirira eri oyo anaalemererwa okwewandiisa mu myezi esatu egy'abaweereddwa.

Ekirala ekyeraliikiriza kwe kuddamu embeera eyali e Makindye, kkampuni emu eyasindikibwa ab’e Mmengo bwe yaggya ssente ku bantu n’ebawandiisa kyokka bwe waayita ekiseera ne babeegaana.

Bwe yali atongoza enkola y'okuwandiisa abali ku ttaka lya Kabaka wiiki ewedde, akulira ebyettaka mu Buganda Land Board (BLB), Bashir Kizito yagamba nti, “Buli alina ekibanja waakusasula 100,000/- okwewandiisa.

Alina okuwaayo obufaananyi bwa paasipooti busatu, ebiwandiiko ebikwata ku ttaka n'okulaga obwannannyini omuli endagaano y'okugula, ekiraamo, ekiwandiiko ky'okukuwa n'ebirala."

Okwewandiisa kwatandise ku Mmande nga June 1. Wabula abebibanja mu bitundu bino balowooza nti luno lukwe olukoleddwa okubagoba ku ttaka nga bwe kiri ku lya Gavumenti eya wakati!

"Ekisinze okutwewanisa emitima, kwe kuba nti abantu bano abajja okutuwandiisa bwe tubabuuza ekinaddirira singa omuntu alemererwa okwewandiisa mu kiseera ekiteereddwaawo batutegeeza kimu nti, Kabaka tagoba bantu be kyokka ekiseera kijja kutuuka ng'ayagala okukozesa ettaka lye kuba talabako nnyini lyo olwo ng'aliko alina okuvaawo mu ngeri yonna", Muky. Hanifah Nannyonjo ow'e Ntaawo- Mukono bw'agamba.

Kyokka nga na kino si kituufu kubanga ab’e Kigo baabagobawo wadde babadde basasula obusuulu ettaka ne balizimbako amayumba g’abagagga!

SSENTE MPITIRIVU

Jack Kyazze ow’e Namaliiri-Kasawo agamba, "Tosobola kugamba muntu kwewandiisa ng'asasudde 100,000/- nga ne fiizi z'abaana zitwesibwa kkutiya era ng'abaana baffe bangi batudde ng'olinga alina ekigendererwa ky'okulemesa abantu okwewandiisa obatwaleko ebyabwe!".

Kyazze agamba nti enkola y'okusasuza abantu ssente ezifaanagana awatali njawulo ku balina ebibanja ebinene n'abalina obuwugiro yaakunyigiriza kubanga abamu bbeeyi y’ebibanja byabwe yenkanira ddala ssente ezeetaagisa okumalayo emitendera gyonna egy'okwewandiisa.

Ekiriwo, ow’ekibanja asasula emitwalo 10 eri omutongole n’afuna lisiiti. Zino ziringa za fayiro erimu ebikukwatako! Oluvannyuma olina okusasula 350,000/- okufuna satifikeeti y'obwannannyini, bw'omala n'osasula 750,000/- okuweebwa abapunta okupima ettaka lyo olwo ne bakubalirira okusinziira ku bugazi bw'ettaka ng’okutwaliza awamu buli yiika ogisasulira 1,500,000/- okuweebwa liizi.

"Okutwaliza awamu okuwandiisa ettaka kikwetaagisa 1,200,000/- kyokka ng'abantu bangi abalina ettaka nga teriweza wadde akakadde naye omugambe akwate ezisoba mu kakadde awandiise ettaka lye ng'olinga amuguza ekibanja ekirala ate nga ne ssente tazirina!", Mw. Kyazze bwe yeewuunyizza.

Bumaali Nadduli ow’ekibanja e Kasawo agamba: Buli mutendera gwa kwewandiisa kuliko enkalu. Bw’omaliriza okwewandiisa nga bwe bagamba, okufuna ekyapa oba liizi olina okusasulira omupunta waabwe, ne bw’oba waleeta owuwo n’alipunta ebyo tebabikkiriza.

Katonda bw’akubikkako obusubi n’obimaliriza, okufuna ekyapa lutalo lulala kubanga nze nnamaliriza ebyange mu 2013 kyokka n’okutuusa kati sikifunanga!

Ben Mukasa ow’e Kabimbiri agamba nti okusinziira mu kusomesebwa kwe baafuna okuva eri abakungu b’ekitongole ky’ebyettaka, emiti omuli emivule, emiwafu, emisizi ne Kirundu si gya nnannyini kibanja era tewali akkirizibwa kugitema. Tewali akkirizibwa kukuba bbulooka oba okusima omusenyu.

okufuna liizi kwa nkalu
“Bano bagaba nnamba za ssimu, alina omuntu yenna abeerako gw’asisinkanye ng’asala ogumu ku miti gino oba asima omusenyu n’okukuba bbulooka abakubire bamuweese engassi”, Mukasa bw’annyonnyola.

Mw. Edward Kabombo, ssentebe wa LC1 owa Nyenje-Ntaawo, agamba nti enkola y’ekitongole ky’ebyettaka ekalubizza nnyo emirimu n’obuweereza bw’enteekateeka yonna kubanga abakungu baategeeza nti tebalina kukolagana na bakulembeze ba ku byalo.

“Mu kusomesa kw’abakungu b’ettaka okuva e Mmengo, aba LC tetulina kuyingira mu byattaka era ne mu kutunda, okugula oba enkaayana zonna ez’ebibanja tetulina kuyingiramu mbu bbo balina balooya baabwe abajja okukola ku nsonga ezo ku bwereere”, Kabombo bw’agamba.

Agattako nti ekyewuunyisa ofiisi z’ekitongole ky’ettaka zisangibwa ku Ssaza kwokka nga buli alina ekizibu kyonna gy’alina okugenda olwo bbo ab’oku Ssaza bakube ku kitebe ekikulu e Bulange baweereze looya.

Ggwe weebuuze balooya we banaafunira obudde okutuuka wansi mu byalo ng’abantu tebesse? Ye kkooti ki egenda okukkiriza okuwuliriza omusango gw’ettaka awatali ba LC be bawuliriramu!

Ekizibu ekinene ekiri e Kyaggwe nti obubuga bungi buli ku ttaka lya Kabaka. Abantu abali mu kabuga k’e Kabimbiri, Namaliiri, Ndese, Nakifuma, Naggalama, Kalagi, Kiyunga, Kabembe, Mpoma okutuukira ddala e Nassuuti bali ku ttaka lya Kabaka!

Kyokka ate ng’awo twogeddeko ku kkubo. Obubuga obulala obuli munda nga Mayangayanga, Kimmenyedde, Lutego, Kasawo, Ssinda-Namuganga, Nakanyonyi bonna bali ku ttaka lya Kabaka!

Ssaalongo Samwiri Mayombwe ow’e Namaliiri, agamba nti okuva edda nga ku byalo kubeerako abatongole, nga tubeera n’abaami b’amagombolola n’abalala ku mitendera egy’enjawulo nga bano enteekateeka zonna ezaavanga e Mmengo kwe zaatambuliranga. Kyokka bano balinga bw’olaba omuti gw’enduli anti byonna bitandikira ku bbo era kwe bikomekkerezebwa.

Obubuga bungi e Mukono buzimbiddwa ku ttaka lya Kabaka naye tebuusengulwe!

Gavt. egule ettaka eriwe abebibanja - Mirundi

Muky. Justine Namukwaya e Ntaawo agamba nti embeera y'obunkenke esinga kubeera ku basenze abaggya kubanga abakadde naddala abo abali ku ttaka ly'ensikirano nga ne bakadde baabwe baasasulako ku busuulu balinako we batandikira. Ono agamba nti okutya kuno kuleetedde abantu okutandika okwetundako ebibanja byabwe mu nkukutu okusobola okufunamu ssente.

Fred Ssonko ow'e Nabbaale, agamba nti enteekateeka eno teyandibadde mbi wabula enkola egobererwa okuwandiisa abantu y’etategeerekera. “Mmengo erabika etwefuulidde! Okusooka ebyettaka byali wa Katikkiro w'ebyalo ng'ensonga zonna ez'okwewandiisa gye ziri.

Omwaka oguwedde abantu abaali ku ttaka ly'Obwakabaka baawandiikibwa ku bwereere era ne bakakasibwa nti bamanyiddwa ewa Kabaka ng'abatuuze ku ttaka kyokka n'akataayi tekasaze nti ate kuddamu kwewandiisa okuliko n'okusasula.

Amazima tekibeera kya bwenkanya okusasuza omuntu ali ku poloti, ng’alinako kayumba mw'asula nga temuva wadde omutwalo omwezi omugambe 100,000/- mu myezi esatu ng'anoonya 1,000/- lwa kugula mafuta na munnyo abeerewo", Ssonko bw'agamba.

E Makindye
Wadde ab’e Kyaggwe bali mu bweraliikirivu naye yonna abatudde ku ttaka lya Kabaka bali bubi era essaawa yonna ekizimba kiyinza okusamba eddagala.

Walakira Nyanzi ow'e Namasuba Kalina zooni mu Makindye- Ssaabagabo, agamba nti mu kiseera kino enkolagana yaabwe ne Mmengo si nnungi kubanga okupima ebibanja byabwe kwa buwaze. Eno bo basasula eziri wakati wa 900,000/- ne 1,200,000/-.

Mu ngeri y'emu, enkola egobererwa okusasula obusuulu si nnung'amu nga n'abatongole abasomesa ku by'ettaka nabo bye basomesa tebabitegeera bulungi.

Waliwo n'abayitibwa bakalondoozi abalondoola ettaka ly'Obwakabaka nga bano kye basinga okumanya kutiisatiisa nga bw'akunnyonnyola n'ototegeera n'omubuuza ng'akugamba "Owedde okugobwa ku ttaka!"
Rajab Kitonsa ow’e Bunnamwaya Busingiri zooni agamba nti ennaku zino mubeera ku ttaka Mmengo n'ebatunda nga temutegedde!

“Okugeza essomero lya Aggrey Memorial SS e Bunnamwaya ne Nabagereka P/S mu Kisenyi, twakeera ku makya nga tulakita esenda kuba tebaakolagana na bakulembeze ku byalo abandibadde balabula abatuuze,” bw’agamba.
Gorretti Nanyanzi ow’e Makindye Kirundu zooni, agamba nti kkampuni ya KK, yabawandiika ne basasula kyokka oluvannyuma Mmengo n'egyegaana , ne basigala awo mu bbanga!

Munnamawulire wa Pulezidenti, Tamale Mirundi yagambye nti emitwalo 10 Mmengo z’esaba ssente nnyingi nnyo. “Babba dda abantu nga bakozesa kkampuni ya KK.

Embeera y’ettaka eri mu Buganda y’eri n’e Bunyoro ne Ankole. Mmengo ky’eba ekola ekwate mayiro akenda eriguze Gavumenti y’ejja okusobola okulikuuma ku lw’abantu.Abasenze, Kiwalabye Male owa BLB b’alina mu mutwe tebakyaliwo mu Buganda. Abantu abazimbye amayumba ag’ebbeeyi, abasimbye kalittunsi, abakoze ku ttaka enkulaakulana abo bagenda kubassa wa? Oyo bw’omugamba okumuwa liizi, bw’eneggwaako adde wa?,” bwe yabuuzizza.

Kibirige Muteyanjala, omuwandiisi ku LC1 mu Kalina zooni, agamba nti Mmengo yatuwa amabaluwa agatuggyako obuyinza obutunda ettaka ly'Owakabaka. Twagafuna naye tetwakkiriza kubanga ne gavumenti ya wakati etuwa obuyinza okukola ku lwayo.

"Mmengo yandibadde ekkiriza ne tukolagana nayo mu nteekateeka eno kubanga tulina bingi bye tumanyi abantu baayo gye batabeera", Kibirige bw'agamba.

Ssempala Kigozi, oweggombolola ya Kabaka eya Makindye Ssaabagabo agamba nti tekyandibadde kirungi muntu kusenga ku ttaka lya Kabaka nga BLB temanyi .

Agamba nti abantu abagenda okusengulwa nga bagaala okuliyirirwa basasule fayiro ya mitwalo 10 ne bagyanjula mu kitongole ne kibasasula!

Salima Mirembe ow’e Mutungo agamba nti obeera mutuuze ng’omanyiddwa e Mmengo kyokka bwe muba musendebwa oba nga mwagala okuliyirirwa temulaba kirungi kya kuba basenze batuufu kubanga era musooka kwewuuba Mmengo kufuna bbaluwa ng’ate ebaako okusasulira obuwanana!

 

 

Abebibanja abali mu bukadde banaggya wa emitwalo 10 okwewandiisa ku ttaka lya Kabaka?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...