TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Olunaku lw'abazira: Gavumenti etaddewo emisingi gy'okukulaakulanya eggwanga naye ogikozesezza otya?

Olunaku lw'abazira: Gavumenti etaddewo emisingi gy'okukulaakulanya eggwanga naye ogikozesezza otya?

Added 9th June 2015

ABAZIRA abasoba mu 300 be bagenda okwambazibwa emidaali leero ku mikolo gy’abazira ba Uganda egigenda okubeera ku kisaawe ky’essomero lya Katwe P/S mu muluka gw'e Kalokola, mu ggombolola y’e Ddwaaniro mu Kiboga.

Bya EDWARD SSERINNYA

ABAZIRA abasoba mu 300 be bagenda okwambazibwa emidaali leero ku mikolo gy’abazira ba Uganda egigenda okubeera ku kisaawe ky’essomero lya Katwe P/S mu muluka gw'e Kalokola, mu ggombolola y’e Ddwaaniro mu Kiboga.

Omukolo guno guli wansi w’omulamwa, ‘Building Blocks for a better Uganda’ ekivvuunulwa nti 'Okuzimba omusingi ogwa Uganda eyeeyagaza.'

Ssentebe wa Disitulikiti y’e Kiboga, Israel Yiga yagambye: Waliwo ebintu eby’enjawulo ebiteekeddwaawo Gavumenti okwongera amaanyi mu kuzimba Uganda eyeeyagaza.

Ekimu ku byo kwe kunyweza ebyokwerinda. Kino buli omu akiwaako obujulizi era ebyokwerinda biteekawo embeera okuba ng'abantu basobola okukola emirimu egitali gimu ne beekulaakulanya.
Kizibu okusanga ensi ekula oba eyeeyagaza ng’ebyokwerinda byayo biri yegeyege.

Ebyokwerinda ebirungi bisikiriza bayinvesita okuleeta kuno ensimbi. Era eno y’ensonga lwaki olaba nga Uganda yeeyongedde okutumbuka mu byobulambuzi kuba okwagazisa ensi yo abantu abalala olina kusooka kunyweza byakwerinda.

Ebyenjigiriza nabyo bitumbuse, wabula ate gye bikomye okukula bizadde ebbula ly’emirimu. Kino nakyo Gavumenti ekisalidde amagezi kubanga amatendekero g’ebyemikono gongeddwaamu wadde nga kisaanye okugongeramu amaanyi gabune mu ggwanga lyonna.

Kati n’e Kiboga batuzimbiddeyo limu. Wabula era wakyaliwo obwetaavu okusitula omutindo gwa UPE, kuba ayamba naye asaanye okwongeramu embavu atuukane n’omutindo.
Ssentebe wa NRM mu Buganda, Alhaji Abdul Nadduli agamba:

Ekimu ku bye twassaako essira gy’emirembe era Gavumenti ya NRM egikuumye nga gino gijja kututuusa mu bulamu obweyagaza.

Okulwanyisa obwavu nakyo kikoleddwa, abo abalowooza nti tetulwanyisizza bwavu beewuunyisa kubanga teri Gavumenti ejja kumalawo bwavu. Ne mu nsi engagga nayo abaavu gye bali. Bw’otunuulira Uganda kati ngazi nnyo n’abantu bakola emirimu egibakulaakulanya eyo yonna ngeri yaakulwanyisa bwavu.

Obukolero obutono bweyongedde mu bitundu eby’enjawulo ate n’amakolero amanene nago kati weegali, byonna byeyongedde nnyo ku mulembe gwa NRM.

Ssentebe w’ekyalo ky’e Muwanga mu ggombolola y’e Muwanga mu Kiboga, Paul Ssebulime agamba nti, Gavumenti wadde ekoze ebintu bingi, naye esaanye okwongera amaanyi mu byobulimi, bwe kiba kisoboka okusima ddaamu (ebidiba) mu byalo n’eteekawo n’enkola abalimi ne baba nga basobola okufukirira ebirime byabwe.

Okubunyisa amasannyalaze nakyo kikulu, abantu batandikewo obukolero obutono gamba ng'ebyuma ebikuba kasooli, ebisunsula emmwaanyi okwo gattako okulongoosa enguudo n’okwongera amaanyi mu malwaliro.

Theodore Ssekikubo, omubaka w’e Lwemiyaga agamba: Kituufu waliwo Gavumenti by'ekoze okusobola okufuula Uganda eggwanga eryeyagaza ng'okulwanyisa obwavu, obutamanya n’effugabbi.

Naye esaanye okukyusa mu nkola kubanga singa tekikola, omubala gw’Abazira gugenda kufa. Ensonga eri nti bbo baalwanirira ggwanga kuba nga lyeyagaza, etteeka limusibyabyayi erikwata ku buli bw'enguzi abantu bagirya kyere tebakubwa ku mukono.

Pulezidenti ne bw’anaayogeranga nti beekabire byonna bya kumala biseera ng’amateeka tegakyusiddwa. Ensoma ya UPE nayo esaana eyongerwemu amaanyi, esobole okutuukana n’omutindo ebe nga yeegombesa.

Abaana abali mu UPE naddala mu byalo be basinga okugwa ebigezo, ebyo bye bisinga okuluma abantu era bijja kutwala eggwanga mu maaso.


Ofuuka otya Omuzira?

Okuva Uganda lwe yafuna obwetwaze mu 1962, wabaddewo ebintu bingi ebigwawo. Okugeza mu 1966 obutakkaanya bwa Obote ne Kabaka Muteesa kwe yava n’okulumba Olubiri; 1971-1979 omulembe gwa Amin gwaliisa bangi akakanja abamu ne batuuka okufa, okwo gattako olutalo olwaleeta gavumenti ya NRM mu buyinza.

Akatuubagiro ako konna, mubaddemu abakyala n’abasajja b’otoyinza kubuusa maaso nga bakoze kinene okulwanirira eggwanga lyabwe mu ngeri ezitali zimu nga n’abamu baalusuulamu akaba ate abamu balina enkovu ezitabaliva ku mibiri.

Era abamu bafunye omukisa okufuna emidaali nga bakyali balamu, ate abalala famire zaabwe be bagifunye nga bbo baafa dda.

Mu mbeera eno, mu 2001 Gavumenti yayisa etteeka omuyitwa okusiima abazira bano nga baweebwa emidaali erya National Honours and Awards Act nga lino lirambika bulungi emitendera omuyitibwa omuntu okulondebwa ng'omuzira w’eggwanga.

Etteeka lino era litondawo akakiiko akagabi k’emidaali aka Presidential Awards Committee (PAC). Akakiiko kano kayamba okuwabula Pulezidenti ku bantu abalina okufuna emidaali, okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe mu kawaayiro nnamba 5 mu tteeka lya National Honours and Awards Act, 2001. Waliwo emikolo gya mirundi mukaaga, Pulezidenti kw’agabira emidaali gino, okugeza January 25, olunaku NRM lwe yawamba; February 06, olunaku lw’amagye, March 08 olw’abakyala; May 01, olw’abakozi; June 09, olw’abazira b’eggwanga ne October 09, olw’Ameefuga ga Uganda.

Egimu ku midaali egigabwa kuliko ogwa Nalubaale, guno guweebwa abantu abakoze ennyo mu by’okunoonyereza, okutumbula ebyenfuna, ebyobuwangwa n’obusuubuzi ssaako abantu baabulijjo abayambyeko mu by’enkulaakulana y’amagye.

Omudaali gwa Katonga, guno tegutera kugabibwa, guweebwa abo abalina eky’enkizo ennyo mu magye era bapulezidenti be batera okugufuna. Rwenzori guno gugenda mu bantu abakoze ng'ekyokulabirako mu magye n’okuweereza okwenjawulo n’ebika ebirala.

Olunaku lw''abazira: Gavumenti etaddewo emisingi gy''okukulaakulanya eggwanga naye ogikozesezza otya?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...