TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Giigino emisaala gya Bannaddiini mu uganda

Giigino emisaala gya Bannaddiini mu uganda

Added 25th June 2015

OBADDE olimanyi nti bannaddiini n’ababuulira enjiri mu Uganda be bamu ku basinga okusasulwa mu nsi eno! Era nga munnaddiini atasasulwa bulungi w’akolera bwe batamukyusa waakiri abivaamu n’asiika empuuta?

Bya VIVIEN NAKITENDE

OBADDE olimanyi nti bannaddiini n’ababuulira enjiri mu Uganda be bamu ku basinga okusasulwa mu nsi eno! Era nga munnaddiini atasasulwa bulungi w’akolera bwe batamukyusa waakiri abivaamu n’asiika empuuta?

Okimanyi nti ennaku zino enjiri y’ebiragaano ebya munnaddiini okufiira mu bwavu baabivaako dda, kati bayigiriza kimu, ‘Mukama tayagala baavu!’

Mu Uganda, Abasumba naddala ab’abalokole be basinga okusasulwa ssente ennyingi. Era y’ensonga lwaki bapaasita nga Nabbi Samuel Kakande, Robert Kayanja, Joseph Sserwadda oba Imelda Namutebi oba Nabbi Manjeri bavuga emmotoka za bbeeyi, basula mu mayumba kw’okomya amaaso ate tebaggwa kuwummulako bweru wa ggwanga.

Lwaki? Kubanga ssente ze bakung’aanya mu makanisa gaabwe tewali abasaba nsaasaanya! Bw’akwata ez’akabbo n’assaako z’akung’aanya okuzimba ekkanisa, ez’ekimu eky’ekkumi, ez’okugula omukisa n’endala eziri awo ezitategeerekeka, oluzissa mu mmotoka tomubuuza gye yazitutte.

Era Abasumba b’abalokole olw’okuba be ‘bakamalabyonna’ kibanguyira okulanga ku leediyo ne ttivvi, kwe kugamba bo enjiri yafuuka bizinensi, bw’oba tolina ssente teweesumaalika mu maaso ge!

EKEREZIYA

Mu Eklezia, ensasula y’abaweereza etambulira ku busiimo, teriiyo musaala kubanga okukolera Klezia kibalibwa nti obeera weewaddeyo obulamu bwonna eri Katonda n'okumukolera.

Bw’oba muweereza mu Klezia, obeera kyabugagga kya Klezia, y’ensonga lwaki bafaaza tebawasa wadde okuzaala abaana era ne bwe bafa baziikibwa mu bifo bya Klezia.

“Akasiimo ka buli omu kisinziira ku kifo gy'akolera. Waliwo ebifo ebirimu abantu abangi, nga missa zisabwa emirundi mingi. Oyo atwala klezia eyo afuna nnyo.

Okugeza faaza akolera mu Kampala akasiimo ke kabeera kanene okusinga faaza w'e Butambala. Waliwo ebitundu ebivaamu ssente ennyingi, kale Bwanamukulu oyo naye ssente eziva mu kigo kye bwe ziba nnyingi naye afuna kingi,” omu ku batuula ku kakiiko akaddukanya ekigo ky’e Bweyogerere bwe yagambye.

Bwanamukulu e Kampala afuna akasiimo akali wakati wa 400,000/- ne 800,000/- buli mwezi. Guno gwe gwandibadde ng’omusaala,naye waliwo obusiimo obulala okuli entambula singa aba alina gy’agenze okusabira missa. Kano e Kampala kava ku 50,000/- okudda waggulu okusinziira ku gy’alaga.

Faaza bw’abatiza ne bw’agatta abagole nawo wabeerawo akasiimo akabeerawo ku ssente ezo ezisasulwa nga kano kava ku 100,000/- okudda waggulu okusinziira ku kifo.

Wabula mu byalo, ssente zino zibeera wansi ddala era osanga faaza agenze okusaba mmisa mu kitundu ng’afunye akasiimo ka mutwalo gumu gwokka!

Bafaaza abalala abayambako ku Bwanamukulu bafunira wakati wa 200,000/- ne 500,000/- omwezi mu Kampala. Okwo gattako obusiimo obulala, wabula yo mu byalo oluusi weesanga nga Bwanamukulu afuna akasiimo ka mitwalo 20 omwezi ate abali mu bifo ebyavu ennyo ng’enfuna ntono bafuna nga mitwalo 10!

Kalidinaali ng’abatiza abaana. Ye takyafuna musaala okuggyako akasiimo.

Omukungu omulala okuva mu kigo ky’omu Ndeeba yagambye nti, singa ekigo kiba kikung’aanya ssente nnyingi, kitegeeza nti n'akasiimo ka Bwanamukulu ne bafaaza abayambi be nako omwezi kajja kuba kangi.

Kano kasalibwawo akakiiko akafuga ekigo ekyo (parish council) okusinziira ku nnyingiza y'ekigo era wano mu Kampala kigambibwa nti Klezia ya Christ the King (Yezu Kabaka) mu kibuga wakati y’esinga okusasulwa ennyingi kuba nayo ekung’aanya kingi.

Obusiimo bw'ebbali obutali bwa mwezi kigambibwa nti busingira ddala akasiimo k'omwezi era buno buyinza okukubisaamu ak'omwezi emirundi nga 10 kuba faaza singa agenda mu byalo okusabisa mmisa ate ne ssente z'akabbo ezikung'aanyizibwa avaayo nazo kale singa agenda mu mmisa erimu abaloodi kitegeeza akabbo nako kabeera kaloodi (weesanga nga bwanamukulu omwezi amalidde mu bukadde nga butaano).

Bangi balina ebyobugagga bye basirikidde ebbali

Ssente z’obusiimo bwa bafaaza zonna ziba zaabwe, tekubaako za bikozesebwa kubanga Eklezia ebalabirira mu buli kimu omuli okulya, okunywa, okusula, okubajjanjaba n’ebirala.

Ng’oggyeeko ebyo, Bwanamukulu singa akung’aanya ssente ezigenda ku ssaza nga nnyingi nayo afunayo akasiimo ku ssente ezo ezigenda ku ssaza  era n’ayongereza ku kasiimo k’omwezi.

Kalidinaali

Ono ye tafuna byonna naye alabirirwa era ye abeera kyabugagga kya Klezia. Y’emuliisa, okutambula, obujjanjabi, obukuumi wabula singa ayitibwa okusoma mmisa aweebwa ebbaasa enzito ssaako okuweebwa ebirabo ebitali bikake.

Ssaabasumba ye omusaala gwe guba munene ddala wadde tegumanyiddwa. Ssente ezikung'aanyizibwa okuva wansi mu klezia zonna zigenda ku ssaza ekkulu ery’ekitundu ekyo eva  enteekateeka ya Klezia y’ensonga lwaki akasiimo ka Ssaabasumba kaba kanene okusinga obw’abalala. 

 Era ono abeera mmemba ku byobugagga bya Klezia byonna  okuli amalwaliro, amasomero ate eno afunayo ‘omusaala’ nga mmemba w’olukiiko olufuzi.

Wabula singa bafaaza oba Ababiikira babeerako emirimu gyabwe emisomerere ng’obusawo, obusomesa n'ebirala  ne bafuna emirimu mu buyigirize bwabwe ng'abasawo oba abasomesa  eyo yo bafunayo emisaala era ezo ssente ziba zaabwe.

Ssabasumba ow'essazza ekkulu ery'e Kampala Dr Cyprian KizitoLwanga

EKKANISA

Eno omusaala gw'abaweereza gusinziira ku kiti omuntu kw’abeera aweereza era ensonga nnyingi ezitunuulirwa. Eno bbo bafuna emisaala kubanga balina amaka ag'okulabirira n'abaana.

Omubuulizi e Kampala afuna wakati wa 600,000/- ne 700,000/- omwezi ate mu kyalo wakati wa 300,000/- ne 500,000/- omwezi era na zino kisinziira ku maanyi g'ekifo awali obuweereza era gwe musaala gw'ofuna.

Mpozzi waliwo amakanisa agalina pulojekiti ez'enjawulo omuli okulunda ebisolo, okulima, ebifo awakuumirwa n'okwoleza mmotoka n'ebirala. Bino bwe bivaamu ssente byongera ku nnyingiza y'ababuulizi b'ekkanisa eyo.

Okugeza ekkanisa y’e Bulange mu bwassaabadinkoni bw’e Mengo erina amayumba g’abapangisa, kale omwawule n’abaweereza mu kkanisa eno bafunayo ku ssente mu pulojekiti ng’eno okwongereza ku musaala.

Ssaabadinkoni n'omwawule abo bali wakati wa kakadde kamu n'emitwalo 20 n'obukadde obubiri  ate mu kyalo bali wakati  wa 700,000/- ne 800,000/- wabula enjawulo nti Abakulistaayo ku nsonga z'okutoola okuwaayo eri ekkanisa bakyali banafumu bw’ogeraageranya n'Abakatoliki. Wabula nabo singa omubuulizi, Ssaabadinkoni oba omwawule abaako gy’agenze okusumba nayo afunayo amafuta agamutambuza oba akasiimo okusinziira ku b’agenze okusumba.

 Ssaabalabirizi, omusaala gwe gukubisaamu emirundi ebiri ogwa Ssaabadinkoni, ate abalabirizi abaawummula bbo ensasula yaabwe temanyiddwa bulungi era abakulisitaayo abamu baleetawo ekiteeso nti nabo bafunengayo emisaala basobole okubeezaawo obulamu bwabwe nga bweyagaza. 

Ng'oggyeko emisaala, Ekkanisa eyambako abakulembeze baayo mu  kuweerera abaana n'okubawa obujjanjabi n'amayumba aw'okusula ne famire zaabwe.

Omulabirizi w'ekkanisa ya Uganda  eyammula  Livingstone Mpalanyi Nkoyooyo agamba, “Abalabirizi abaawummula tufunayo 300,000/- buli mwezi naye era tezimala kubeezaawo bulamu.

 Ky'ova olaba Ekkanisa egamba nti omulabirizi awummulire ku myaka 65 ng'akyalinamu ku maanyi agasobola okubaako ebintu by'akola okufunamu ku ssente era kati abalabirizi bangi abawummula baweebwa entandikwa omuli ente okutandikirako okulunda,” bwe yagambye.

Ensonda zang’ambye nti mu Kampala, abaweereza b’ekkanisa bafuna ssente mpitirivu. Okugeza, mu bulabirizi bw’e Namirembe, omwawule asemba afuna 1,700,000/-!

Mu bulabirizi bw’e Kampala, ssente ze bakung’aanya zonna batoolako ebitundu 15 ku buli 100 ne ziweerezebwa ku bulabirizi, ez\isigaddewo zonna zisigala awo abaweereza ne bazigabanyaamu ebyetaagisa okuli n’obusiimo bwabwe! Kati ggwe lowooza ku Busabadinkoni nga obw’e Bukoto ,obuuze nti ssente mmeka ze bakung’aanya buli lusaba! 

Ekkanisa y’esasula amasannyalaze, amazzi ate gye gatali abaweereza babawa ssente ezenkanankana z’ebidomola by’amafuta bibiri okukola ng’enku!

Omu ku baawule abaawummula eyagaanyi okumwatuukiriza yagambye nti, “Abaweereza b’Ekkanisa oluusi tugamba nti tetufuna ssente zimala, naye oli agenda okuwummula ayinza okusiibulira omwaka mulamba naye nga buli gy’agenda akung’aanya ssente ezinaamugulira ebintu by’anaawummulirako.

Paasita Sserwadda ng'ali mu lukung'aana lw'abalokole e Namboole

Abo abayagga ndowooza nti be banafu, kuba amakanisa mangi naddala mu byalo galina ettaka erisoba mu yiika ssatu nga singa omuweereza oyo alikozesa n’ateekako pulojekiti ez’enkulaakukana, agenda okuvaawo ng’agaggawadde!”

Kyokka amakanisa agamu gagunjizzaawo enkola y’okutegekera abaweereza baabwe. Okugeza mu busabadinkoni bw’e Gayaaza, babadde bakolagana ne kkampuni ya yinsuwa eya ISEA baterekenga 100,000/- buli mwezi zibayambeko gye bujja. Omusumba eno asasulwa 480,000/- omwezi.

Abasiraamu batandise okusasula

Eno tewabaddeeyo nnyo bya misaala  wabula buli muzikiti gulina enkola, Abasiraamu beesonda ne basasula Imaam waabwe abasaazisa. Ate waliyo emizikiti gy'obwannannyini, gino nagyo bannyini gyo basasula ba Imam baabwe ssente z'omusaala okuva ku 400,000/- omwezi okusinziira ku nnannyini gwo. Okugeza Imaam w'omuzikiti gwa Mukwano omusaala gwe gwegasa.

Ng'oggyeko okubeera nti abasiraamu babeera bakola mirimu gya Allah naye nabo basolooza ssente mu Basiraamu era buli ssente ezisoloozebwa mu muzikiti ne zigenda mu kakiiko k'Abasiraamu aka waggulu,  Imaam w'omuzikiti ogwo afunako ebitundu bibiri n'ekitundu (2.5) ku buli 100 ku ssente z’abeera akung’aagyizza mu mwezi ogwo.

Kale singa akung’aanya obukadde nga 200 omwezi kitegeeza naye aba afuna akawera.

Era nabo enfuna y'Abasiraamu mu bibuga ne mu byalo eyawukana kubanga mu bibuga bakung'aanya ssente ezeegasa okusinga mu byalo nayo obukulembeze gyebukoma okweyongera waggulu n'enfuna nayo ng'erinnya.

 

Mu November w’omwaka oguwedde, Mufti wa Uganda, Sheikh Shaban Ramathan Mubajje yalangirira nga ba disitulikiti khadi bonna 53 abali mu Uganda bwe bajja okusasulwa omusaala gwa buli mwezi naye teyagwogera! Omusumba  Jeremiah Alisengawa, omuwandiisi w’obusumba bwa Central Buganda mu b’Adiventi ne  Faaza Nicholas Bayego, Bwanamukulu wa kelesiya ya St. Nicholas e Namungoona baagambye nti abaweereza baabwe bafuna omusaala naye tebaagwogedde.

 

yiino enfuna y''abannaddiini mu uganda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaavunaaniddwa mu kkooti y'amagye.

ABAGAMBIBWA OKUNYAGA OMUKOZ...

ABAGAMBIBWA okulumba amaka g’omukozi wa bbanka nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu kkooti y’amagye omu nakkiriza...

Ekiggwa ky'Abajulizi e Namu...

Engeri Ekiggwa ky'Abajulizi e Namugongo gye kifaanana. Eno gye battira Abajulizi era ekifo kino kyafuuka kya bulambuzi...

Abamu ku beetabye mu lukiiko.

Alina poloti etaweza 50 ku ...

Minisitule y’eby’ettaka n’okuteekerateekera ebibuga bafulumizza enteekateeka empya ey’okuzimba mu bibuga. Bategeezezza...

SPC Faizal Katende.

SPC Faizal Katende eyakwati...

OFIISA wa poliisi SPC Faizal Katende asabye kkooti emukkirize okuyimbulwa ku kakalu ka`ayo. Bino Ssentebe wa kkooti...

Ssentebe Sserwanga (alina enkumbi) ng'atema evvuunike ly'okuzimba eddwaaliro.

Gavumenti ewadde ab'e Kayun...

GAVUMENTI ewadde ab’e Kayunga obukadde bw’ensimbi 600 okugaziya eddwaaliro lya Busaale mu ggombolola y’e Kayunga...