TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ziizino emmotoka ezisinga okujjumbirwa ba pulezidenti mu nsi yonna

Ziizino emmotoka ezisinga okujjumbirwa ba pulezidenti mu nsi yonna

Added 2nd September 2015

LABA mmotoka z’abakulembeze b’amawanga 20 ezisinga okuba ez’ebbeeyi. Mmotoka zino ku ngulu oziraba ng’eza bulijjo kyokka munda ttanka ennwaanyi eziwedde emirimu olw’obugumu obw’ekitalo bwe ziriko ng’ezisinga teziyitamu masasi. Kkampuni gye baziweeseza bazimalirako amagezi n’obukugu.

 Bya Musasi waffe


LABA mmotoka z’abakulembeze b’amawanga 20 ezisinga okuba ez’ebbeeyi.
Mmotoka zino ku ngulu oziraba ng’eza bulijjo kyokka munda ttanka ennwaanyi eziwedde emirimu olw’obugumu obw’ekitalo bwe ziriko ng’ezisinga teziyitamu masasi. Kkampuni gye baziweeseza bazimalirako amagezi n’obukugu.

Zigula buwumbi nga munda zisabikiddwaamu ebisawo okwetooloola era singa wabaawo akabenje bivaayo ne bibikka Pulezidenti n’atatuusibwako buzibu. Mmotoka zino ziwenyuka nga kaweewo era ng’ezisinga zidduka mayiro 130 (kiromita 210) mu ssaawa emu n’okusigawo.

Ate endala singa baziggyako empiira gyazo emigazi egitayitamu masasi, zisobola okudduka okusingawo. Emipiira gyazo nga gyabadde ng’egiggwaamu omukka, gisobola okutambula mayiro ezisoba mu 30 nga terina buzibu bwonna.

Zirina kkamera ku buli kasonda ezikwata ebifaananyi mu maaso n’emabega mu mayiro nnamba ne zibiweereza ku lutimbe lwa ddereeva ne Pulezidenti.

Munda mulimu kumpi buli kintu ekikola ofiisi ya Pulezidenti naddala ebyempuliziganya nga n’ezimu asobola n’okukubiriza olukiiko lwa Kabinenti ye ng’atambula.

Emitto gya mmotoka egisinga gyekyusakyusa okufuuka okusinzira Pulezidenti ky’aba ayagala okugeza okukola ekitanda, emmeeza n’ebirala. Zirina yingini ez’amaanyi era amafuta ziwuuta mawuute.

Kenya – MercedesBenz pullman s600
Mmotoka eno eyagala okufaananamu eya Pulezidenti Museveni. Wabula eya Uhuru Kenyatta nkola mpya ate eya Museveni (Mercedes-Benz S 500 Pullman Guard).

Mmotoka eno ebbalirwamu akakadde ka doola (eza Uganda 3,665,000,000/-). Ekolebwa Bagirimaani era baamala ebbanga nga bagiweesa mu ngeri ey’obukugu, obwegendereza n’amagezi okuwa pulezidenti Uhuru obukuumi obumala. Baagikolera ku kitebe kyabwe ekikulu ekya Benz okumpi n’ekibuga Stuttgart.

Ewuuta amafuta, edduka nnyo, tekubwa bbomu, erimu kkamera eziketta omulabe ate munda yeeyaza era pulezidenti abeera ng’ali mu ofiisi ye anti asobola okugikyusa okusinziira ku kiki ky’ayagala okukola ng’ali ku lugendo.

Eno Pulezidenti wa Russia, Putin Viadimir 

RUSSIA – MERCEDES BENZ S CLASS LIMOUSINE
Eno Pulezidenti wa Russia, Putin Viadimir gy’atambuliramu. Baagiteekamu buli tekinologiya ayinza okukuuma omukulembeze ono nga tatuusiddwaako bulabe. Tekubwa bbomu, erimu kkamera ez’omulembe eziketta omulabe, tesobola kugwa ku kabenje era yakolebwa okutuukana ku maanyi ga Russia ng’erimu ku mawanga gakirimaanyi.

Equus vl500 limousine  Eno evugibwa pulezidenti Tan -Kang Yam.

south korea - hyundai equus vl500 limousine
Eno evugibwa pulezidenti Tan -Kang Yam. Mmotoka ya bbeeyi nga nayo baagiteekamu buli kintu eky’omulembe ekimukuuma nga tatuusiddwaako bulabe.

Eno ya Nnaabakyala wa Bungereza (Queen Elizabeth II) mw’atambulira.

United Kingdom – Bentley State Limousine
Zino ziri bbiri. Nnaabakyala wa Bungereza (Queen Elizabeth II) mw’atambulira. Mmotoka zino ez’ebyewuunyo zirina ebyokwerinda eby’amaanyi. Zaakolebwa kkampuni ya Bentley eri wansi wa Volkswagen Group nga nayo y’Abagirimani.

Baagimuwa mu 2002 ng’ekirabo olw’okuweza emyaka 50. Okusinziira ku mukutu gwa Dailymail buli emu ku mmotoka zino egula Pawunda obukadde 10 (eza Uganda 56,374,387,500/-). Olw’okukuuma obutonde bw’ensi, mmotoka zino zaakyusibwa mu 2009 ne zitandika okukozesa amafuta agakolebwa mu birime.

KATIKKIRO WA BUNGEREZA – Jaguar XJ Sentinel
Eno ya Katikkiro wa Bungereza. Yakolebwa kkampuni ya Jaquar Land Rover mu 2010. Ezitowa kkiro 3,800 olw’ebyuma ebizito ebitayitamu masasi, n’obutakubwa bbomu ebyagiteekebwamu. Yingini yaayo erina amaanyi ga 5.0 L 510 PS (375 KW) supercharged AJ Gen III V8 (Petrol). Mmotoka eno nga tennaba kussibwamu byuma n’ebintu ebigifuula ey’enjawulo egula doola 300,000 (eza Uganda akawumbi nga kamu n’okusoba).

POPE – MERCEDES BENZ M -CLASS SPORT
Paapa abeera n’emmotoka ez’enjawulo okuli ne ‘Popemobile’ gy’akozesa okulambula abantu be. ‘Popemobile’ zizze zikyuka n’okuwundibwa mu nkola ey’omulembe n’ebintu eby’enjawulo okusinziira kw’eyo Paapa aliko gy’ayagala. Oluusi kisinziira ku nsi gy’agenda okukyala. Bwe baba tebeekakasa byakwerinda byabwe, bamuwa erimu tekinologiya ow’omulembe ennyo.

Mmotoka zino teziyitamu masasi, zirimu ekifo eky’enjawulo ekirimu omukka Paapa gwe yeeyambisa okussa (oxygen), ezimu zikolebwa nga Paapa asobola okutuula ng’ate endala alina kuyimirira. Paapa Francis mmotoka gy’akozesa yeeyo Paapa Benedict XVI gye yali akozesa ku mulembe gwe ekika kya Mercedes Benz M- Class Sport. Mu 2011 yali ebalirirwamu £345,000 (eza Uganda 1, 717, 020,000/-).

Eno ya Pulezidenti wa China  Xi Jinping

CHINA – Hongqi Limousine 
Kino kye kika ekisinga ebbeeyi mu China. Pulezidenti Xi Jinping bw’aba agenda okukyala mu mawanga amalala, atambula n’ekyuma kye kino olw’ebyokwerinda.

Mmotoka eno nga tennaba kwongerwamu tekinologiya agituusa ku ssa ly’okutambuza Pulezidenti, egula doola 800,000. Kino kitegeeza nti ssente zino zigula eya Pulezidenti Museveni ng’amaze okuteekamu ebigifuula ey’omulembe.

Eno ya Pulezidenti wa India, Pranab Mukherjee

India – Mercedes Benz S600  (W221) Pullman Guard
Eno ya Pulezidenti wa India, Pranab Mukherjee. Abagirimaani be baagikola era kyabatwalira emyaka munaana. Baagikola n’obukugu, obwegendereza n’amagezi okuwa Pulezidenti ono obukuumi, ekitiibwa n’okumuwummuza omutima. Terina njawulo n’eya pulezidenti wa Kenya. Nga tennaba kuteekebwamu ebyokulwanyisa ebigifuula ey’omulembe egula doola 300,000 (eza Uganda 1,076,400,000/-). 

Eno baagikazaako lya ‘Beast’. Pulezidenti wa Amerika Barack Obama gy’atambuliramu

United States – Cadillac One
Eno baagikazaako lya ‘Beast’. Pulezidenti wa Amerika Barack Obama gy’atambuliramu era kkampuni egikola eteekamu buli kyakulwanyisa eky’amaanyi okukuuma Pulezidenti obutafuna bulabe. Yagifuna mu 2009 nga yaakatuula ku ntebe y’obwa pulezidenti. Aba kkampuni ya General Motors be baagikola ne bagimalirako amagezi gonna.

Teyitamu masasi wadde bbomu, tefuna kabenje, ezitowa nnyo era okusinziira ku mukutu gwa Wikipedia, ebalirirwamu doola akakadde kamu n’ekitundu ($1.5 million) eza Uganda 5,508,000,000/-.

GERMANY – MERCEDES BENZ S 600 
Benz eno kika kya Mercedes-Benz S600L. Y’emu ku mmotoka ezisinga okuba ez’omulembe mu nsi yonna. Ng’emaze okuteekebwamu buli kyetaagisa, ebalirirwamu obuwumbi n’obuwumbi bwa ssente anti be bakola n’ez’abakulembeze abalala.

 

Ziizino emmotoka ezisinga okujjumbirwa ba pulezidenti mu nsi yonna

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaagala okugaggawala mukol...

OMUSUMBA w'essaza lya Kasana Luweero, Paul Semwogerere awadde amagezi abaagala okugaggawala beewale okwesaasira,...

Omusumba Ndalike

Omusumba avumiridde abeeraguza

OMUSUMBA Stephen Ndalike atwala ettwale ly'e Luzira mu Kkanisa y'Abadiventi avumiridde omuze gw'okweraguza ogweyongedde...

Omulabirizi  Bukomeko (ku ddyo), omulabirizi Wilson Mutebi, Minisita Nabakooba neKatuukiro wa Busoga, Joseph Muvawala.

Dr. Bukomeko ajaguzza omwak...

Omulabirizi wa Mityana, Dr. James Bukomeko alangiridde enkola, ey'okutandikawo ebintu ebivaamu ensimbi n'agamba...

Abakulembeze ba Rwampara ku mukolo.

Balaze ebiyinza okuvaako ab...

AKULIRA ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Rwampara, Muky. Kelen Tukamuhirwe ategeezezza nti ng'abayizi beetegeka...

Kkwiini ow'emyaka 94  ne bba Philip 99.

Ebintu 8 Kkwiini wa Bungere...

KKWIINI Elizabeth yagattibwa n'Omulangira Philip (mu kiseera kino ali ku ndiri mu ddwaaliro) nga November 20, 1947...