
Bebe Cool.
Bebe Cool alabudde omuyimbi Nubian Lee ne Pulodyusa Dan Magic n'abasaba okukomya okwenyigira mu bikolwa ebisoomooza abakuumaddembe. Bebe Cool agamba nti Bobi Wine gwe bawagira n'okufiirako n'atuuka n'okubakya poliisi n'amagye tabafaako akolerera famire ye.
Agamba nti waakiri baalibadde n'ennyumba ennungi oba okuvuga ku mmotoka empya. Bebe Cool okwogera bino ndowooza kiddiridde pulodyusa Dan Magic okukubwa ekintu ekigambibwa okuba gulunedi ne kimwasa omumwa bwe yabadde ne Bobi Wine nga banoonya obululu mu bitundu by'e Kayunga.