Bya Musasi Waffe
POLIISI ekutte abakozi ba kkampuni ya Multiple Industries abeeyimirira eyali omukozi wa kkampuni eno ku poliisi ku misango gy’okukuba abantu
Dick Byarugaba 68, ow’e Bukasa ne Gerald Wamimbi 39, ow’e Wabigalo Makindye nga bakola ne kkampuni ya Multiple Industries e Kisugu mu munisipaali y’e Makindye
be baakwatiddwa poliisi y’e Mulago oluvannyuma lw’okweyimirira eyali omukozi wa kkampuni ku kakalu ka poliisi ku musango gw’okukuba abantu babiri okwali n’omwana n’abatuusaako ebisago kyokka oluvannyuma n’abula.
Kigambibwa nti nga May 31, 2022 ku poliisi e Mulago Byarugaba ne Wamimbi
beeyimirira Emmanuel Nasasira gwe baali bamanyi obulungi nti nga May 25, 2022 e Mulago ku ddwaaliro mu munisipaali y’e Kawempe yakuba Francis Otayi ne mutabani we Otayi Junior.
Omusango baagwegaanyi ne basaba kkooti beeyimirirwe basobole okunoonya Nasasira omulamuzi kye yagaanyi n’abasindika mu kkomera e Luzira ng’abeng’anda zaabwe bwe
banoonya Nasasira.