Abakulembeze ku mwalo ogw’e Bugoto e Mayuge basattira olw’abatuuze okuguddukako nga kati business zonna zizingamye. Bano tebamanyi kituufu kyatuukaawo naye ng’obuzibu okusinga balowooza nti bwava ku kugoba abantu mu kibira kya Busoga south forest reserve. Mu kiseera kino buli kimu kyafuuka kifulukwa