Ng’esigadde ennaku mbale Miss ne Mr. Bukedde balondebwe, leero tukuleetedde mwana muwala Elsa Tower ng’akubuulira bweyeeteeseteese okuwangula ekyapa ky’ettaka n’ensimbi obukadde 10. Agamba waakuzimbiramu abaana baabalabirira abatalina mwasirizi amaka ag’enkalakkalira. Tumusanze Masanafu gyabeera.