Vidiyo

Agataliikonfuufu MUDDEMU ESSUUBI ,SIRI BUBI. PULEZIDENTI AGUMIZZA.

Pulezidenti Yoweri Museveni awadde abantu essuubi oluvannyuma lw’okukwatibwa ekirwadde kya COVID 19. Pulezidenti mu bubaka bweyasizza ku Twitter agamba nti wadde akyali mu kweyawula tali bubi kuba ekirwadde tekyamusudde ku ndiri. Agamba nti ekisanyusa ebyavudde mu kukukebera biraga nti mukyalawe era minisita w’eby’enjigiriza n’emizannyo Janet Museveni nti talina bulwadde buno. Museveni agamba nti yafunye obudde okwetegereza n’okussa omukono ku biwandiiko ebyenjawulo. Asabye abantu okwongera okufaayo ku bulamu. Pulezidenti agamba nti asazizzaamu n’olugendo lwe ku ffamu e Kisozi olw’obulwadde

Agataliikonfuufu MUDDEMU ESSUUBI ,SIRI BUBI. PULEZIDENTI AGUMIZZA.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Tags:
Agataliikonfuufu
Agabuutikidde
New Vision
Ssiri bubi