Abakinjaagi n’abasuubuzi mu lufula batubidde n’amaliba g’ente, mbuzi n’endiga olw’abagabagulako okubayimiriza. Abasuubuzi bagamba nti kino kyavudde ku musolo ogwagerekeddwa ku maliba agafuluma eggwanga. Abantu basatu bafudde mu bitundu eby’enjawulo. Babiri bafiiridde ku kabenje mu bitundu by’e Bukomansimbi ate omu alumbiddwa ab’ebijambiya e Mukono ng’adda awaka ne bamufumitafumita. Abatuuze basabye okuyambibwa. Ssaabasumba w'essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere ajjukizza abazadde okussa omulaka ku nkuza y'abaana ng'emu ku ngeri y'okulwanyisa ebikolwa eby'ekko ebisusse mu Ggwanga. Bino bibadde mu bubaka Ssabasumba Paul Ssemogerere bw'atisse MsgrJohn Baptist Ssebayiga ku mukolo abakristu b'ekisomesa kya St. John Baptist Kisugu kwebajagulizza olunaku lw'ekifo. Mu kaweefuube owokusitula embeera z’abantu ababeera mu nzigottA, Gavementi ng’ekolaganira wamu n’ekitongole ki UNDP basse omukago okubazimbira amayumba ag’omutindo bagapangise ku miwendo emitono. Bino byanjuddwa minisita omubeezi ow’amayumba Persis Namuganza mu nsisinkano gye babaddemu Entebe. Omuwabuzi wa president ku nsonga z’obutale Audrek Rwabogo akubirizza abalimi okwegatta mu bibiina n’okukolera awamu basobole okuweza obunji bwebyamaguzi ebyetaagibwa ku katale k’ensi yonna. Abadde Tororo gyasisinkadde abakulembeze ku mitendera egyenjawulo. Ab’ebyobulamu bategeezezza nti gavumenti eri mu nteekateeka eyookuddamu okubaga etteeka erirwanyisa okukozesa ebiragalalagala. Bino bikakasiddw Dr. Hasfa Lukwata mu kukuza olunaku olw’okwefumiitiriza ku biragalalagala mu nsi yonna ogubadde e Kamwokya.