Ssenkulu w’ekitongole ekirondoola omutindo gw’ebyamaguzi mu ggwanga David Livingstone Ebiru ali mu kattu olw’okusasaanya ensimbi obuwumbi 12 n’ekitundu nga tafunye lukusa kuva eri palamenti. Ono era yeerangidde ebisongovu ne ssentebe w’olukiiko olufuzi mu kakiiko ka palamenti akalondoola ebitongole bya gavumenti aka COSASE. Katikkiro ayingidde olunaku olw’okubiri ku bugenyi bwaliko e Bunyoro. Leero alambudde ekisaawe kya Kabaleega ne King fisher oil development area e Kikuube n’asiima omulimu ogukoleddwa. Polisi y 'ebidduka e Kajjansi ekutte neggalira abasajja babiri ku musango gy'okusangibwa nebiagalalagala mu motoka yabwe n'okuvuga nga batamidde . Bano okukwatibwa basoose kutomera emmotoka y’omumyuka wa kaliisoliiso wa gavumenti Ann Twinomugisha Muhairwe Omulabirizi w’e Mukono eyawummula James Williams Ssebaggala atandise emirimu gye mu butongole egy’okukuuma entebe y’obulabirizi obw’e Mukono. Mu kutandika emirimu yeegayiridde Katonda amubeere ne mukyalawe basobole okuweereza obulungi emyezi gino omunaana Omulamuzi wa kkooti y'e Nabweru Sarah Namusobya awadde olwa nga 01/08/2023 okuwerako ensala ya kkooti ku kusaba oludda oluwaabi kwatekebwayo mu misango egivunanibwa abantu 11 abali ku gw'okusangibwa n'ebintu ebijingirire ebikola boom n'ebyokulwanyisa ebirala. Bayinginiya abazimba Eddwaliro ly'Amagye erisangibwa e Mbuya bagumizza ababaka abatuula ku kakiiko ka Palamenti ak'eby'obulamu nti omulimo gw'okuzimba Eddwaliro lino gwakuggibwako engalo mu December w'omwaka guno kiyambeko okukendeeza ku muwendo gw'abakungu ba Gavumenti abaddusibwa ebweru w'e Ggwanga okujjanjabibwa.