-Poliisi ekakasizza okuttibwa kw’omukyala mu bikwekweto bye babadde bakola ku bagambibwa okuba abamenyi b’amateeka nga balina n’ebyambalo by’amagye. Kidiridde okuttibwa kwa Jacky Nalwanga e Nakabugo ng’eno bakwatiddeyo ne bbulooka w’ettaka aludde ng’anoonyezebwa Joseph Kiboneka -Bazadde b'omwana emmese gweyaluma baagala gavumenti enoonyereze ku mmese zino zebagamba nti zandituka n'okuluma abasawo.Bawezze okuvunaana omusawo eyalagajjalira omwana waabwe.Bino bibadde Mulago. -Dr John Chrysostom Muyingo nga ye Minisita omubeezi ow’eby’enjigiriza ebyawaggulu akedde ku ssomero lya Nakanyonyi S.S e Mukono okunoonyereza ku by’aliwo wiiki ewedde abayizi abali mu 200 bwe baalya ebigambibwa okubeera ne baddusibwa mu malwaliro ag’enjawulo nga bataawa. Ono alabudde omukulu w’essomero obutekiika mu kunoonyereza.