Vidiyo

AGABUUTIKIDDE FULL BULLETIN

Minisita w’eby’entambula n’enguudo Gen Katumba Wamala alabudde abavuga ebinaala bakomye okubivuga ekiro ku nnyanja nga kyakukendeeza ku bubenje. Abyogeredde asisinkanye akakiiko aka lake Victoria basin commission abazze kuno okuyamba abavubi ku mwalo gwe Kasenyi n’abenganda z’bantu abaafiira mu kabenje k’eryato. Bana kibiina ki FDC e Jinja banaabidde mu maaso akulira akakiiko akebuzibwako ensonga mu kibiina ka elders council Dr Frank Nabwiiso nga bamulumiriza enkwe n'obunanfuusi. Bano era bambalidde akulira FDC Patrick Amuriat olwokugoba abamu Ku bakulembeze b'ekibiina n'okubasindika mu kakiiko akakwasisa empisa. Alipoota ku baana abagambibwa okuweebwa obutwa ku ssomero lya Nakanyonyi SSS e Mukono efulumye. Mu kwogera ku biri mu alipoota Omulabirizi we Mukono Bp Enos Kitto Kagodo agambye nti emmere teyateekebwamu butwa wabula nga bwava ku butwa mbeera y’ekifo n’engeri emmere gyeterekebwamu

AGABUUTIKIDDE FULL BULLETIN
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Tags:
Agataliikonfuufu
Agabuutikidde
New Vision