Ssenga nnina omusajja gwe njagala naye bwe mmusaba ssente nga nina ekyetaago agaana wabula bwaba ayagala okwegatta nange ankubira essimu olwo n’agamba agenda kumpa ssente. Ssenga omusajja ono anjagala oba nedda kubanga okuggyako nga twegasse awalala ssente tazimpa. Mpa amagezi ku nsonga eno
Mwana wange kirabika eno embeera gye mutambuliramu ate naawe wakkiriza okugitambuliramu. Mulimu abasajja nga batugula buguzi. Era bw’okkiriza okutambulira mu mbeera eyo naye
bw’akutambuza.
Omusajja okukuwa ssente ng’amaze okwegatta naawe aba akugula. Kiba kitegeeza nti omubiri gwo ogutunda. Abawala n’abakyala bangi yadde bali mu bufumbo naye batambulira mu mbeera
eno. Ekizibu embeera eriwo y’ereeta bino. Kyandibadde kirungi abakyala okwekolera kubanga n’abasajja ennaku zino baagala alina.
Ekituufu kiri nti omusajja ono takwagala wabula akukukozesa ng’akuwa ssente. Kati talaba lwaki akuwa ssente nga talina ky’afunye. Olina okumanya nti si ggwe wekka gw’akozesa era olina okwegendereza obulwadde.