AGABUUTIKIDDE FULL BULLETIN

Sep 15, 2023

Ababaka ba palamenti abamu beerayiridde nti ssi baakudda mu byalo nga bwebaalagiddwa sipiika wiiki ewedde. Bagamba tebalina ssente ate ng’abalonzi baabwe babasuubiramu omugaati buli lwe babalabako. Bano babitegeezezza omusasi waffe ku palamenti olwa leero nti emirimu egyabatumiddwa baakugikolera ku masimu. \\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\ Omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru OWOOKUNA akatirizza obukulu bw’abantu mu bukama okugoberera empagi ttaano basobole okukulaakulana. Omukama Oyo abyogeredde ku mikolo gye egy’empango egy’omulundi ogwa 28 egibadde mu lubiri lwe olw’e Karuziika e Fort Portal. Alagidde abakulembeze be boongere okubunyisa enjiri kuba obulwadde bwa mukenenya buli waggulu e Fort \\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\ Abakwasisa amateeka mu kitongole ekikuuma obutonde bwensi balagidde okukoonebwa kw’ekikomera kya kkampuni ekola amazzi lwakuzimba mu lutobazi lw’omugga Mayanja. Bano era baakusasula obukadde 50 ng’engassi nga n’abalala abakikola balabuddwa nti ebikwekweto ssi byakuttira muntu n’omu ku liiso. \\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\ Poliisi ekakaziza okukuba tiya gas mubavuzi ba boda abeekalakaasizza ku luguudo lwa Jinja Road. Kiddiridde okulumba abasirikale ne beekalakaasa nga bawakanya engeri munnaabwe gyagudde mu mmotoka n’emuttirawo bwabadde adduka abasirikale abakedde okusuula ekiddo ku piki piki ezitalina bisaanyizo. \\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\ Eby'okupunta ettaka erikaayanirwa bannamagye ababiri ku kyalo Bukula-Kiti mu ggombolola y'e Bukulula e Kalungu bizzeemu omukoosi, ebyuma ebireeteddwa okupunta ettaka lino bwe bibuzizza netiwaaka entekateeka ne zongezebwayo. \\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\ Ebya bannakibiina kya NUP abasibe 11 abali ku gw'okusangibwa n'ebiteberezebwa okukola boomu bibi n'olwaleero tebaleteddwa mu kkooti era omusango gwongeddwayo okutuusa nga 26 omwezi guno. \\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\ Gavumenti egumizza abalunzi b’ente z’amata nti bali mu nteekateeka ezisembayo okuleeta eddagala erigema enkwa mu bisolo okumalawo okusoomoozebwa kwebabadde bayitamu okuzifuuyira oluusi nekikosa n’omutindo gw’amata. Babyogeredde mu lukungaana lw’ensi z’Africa olw’amata ku Africana mu Kampala. \\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\ Abakyala abali mu mulimu gwokulima n’okutunda amayirungi basabye presidenti obutassa mukono ku tteeka eryayisibwa palamenti nga lissa ekimera kino mu biragalalagala. Bagamba kibabeezezzaawo n’okulabirira abaana baabwe ng’okugawera kyakubakosa. Babibuulira ababaka baabwe ababasisinkanye.

NewVision Reporter
@NewVision

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});