AGABUUTIKIDDE FULL BULLETIN

Ttiygaasi anyoose ku wofiisi za Dr. Kiiza Besigye ezisangibwa ku Katonga Road mu Kampala Bannakibiina kya FDC bwebadde batuuza ttabamiruka waabwe okugoba Pulezidenti Patrick Oboi Amuriat ne Ssabawandiisi w'ekibiina Nathan Nandala n'abalala bebalumiriza okudibaga ekibiina. Kiddiridde Poliisi okugumbulula Bannakibiina kya FDC abakedde e Busaabala mu Ttabamiruka eyayitiddwa Ssentebe Biriggwa. \\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\ Ng’abatudde ku Katonga balonda abagenda okukulembera ekibiina okumala ekiseera, ebyokwerinda binywezeddwa e Busaabala mu kifo ssentebe Birigwa weyabadde ayise ttabamiruka. Abantu abaliraanyewo bawaliriziddwa okuggala amaduuka gaabwe oluvannyuma lw’abavubuka abaakazibwako erya kifeesi okusalako ekitundu. Basikaasikanye ebitogi be bannakibiina abakedde okugenda e Busaabala. \\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\ Omubaka wa Kwempe North Muhammad Segirinya akomyewo okuva mu ggwanga lya Budaaki gyabadde ajjanjabirwa okumala ebbanga lya myezi ebiri. Asiimye palamenti n’ekibiina kya NUP olw’obuyambi kyokka n’akukkulumira banakibiina abamwogerera nti yeerwaza. \\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\ Ebya Kasolo Coporiyamu ne banne abataano bibi abawabuzi ba kkooti bwebalazze nti emisango egibavunanibwa baagizza era ne basaba n'okuwa kkooti amagezi okutwala obujjulizi obwabawebwako oludda oluwaabi nti bwebutuufu. Bali ku gw’okutta omuwala Maria Nagirinya ne Dereevawe Ronald Kitayimbwa n’okubba ebintu byabwe. Omulamuzi awadde olwa nga 19 omwezi ogujja okuwerako ensala ya kkooti. \\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\ Wabaddewo ddukadduka mu kibuga Kampala ab’ekitongole ekivunanyizibwa ku nzirukanya mu kibuka ki KCCA bwebakoze ekikwekweto mwebayooledde abaana abasabiriza ku nguudo. 161 baggyiddwa mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo. \\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\ Obwakabaka bulonze essaza lya Bulemeezi ng’erisinze ganaago 17 mu ntambuza y'emirimu. Katikiro yaalangiridde Bulemeezi n’asaba abaami b’amasazza okukola obuteebalira okutuukiriza obuvunanyizibwa bwabwe. Babadde ku Bulange e Mmengo. //////////////////////////////////////////////////////////////////////////// Omulamuzi wa kkooti ewozesa abalyake n’abakenuzi e Kololo atandise okuwulira omusango gw'okubba amabaati g'e Kalamoja oguvunanibwa minisiita Mary Gorrety Kitutu. Olwaleero abajjulizi bataano bebaletedwa okuwa ku Kitutu obujjulizi. \\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\ Okwongera enkolagana n'amawanga ag'ebweru mu by'obusubuuzi, minisitule y'ebyensimbi ng’eri ne URA batandise kaweefube w'okulaba nga banunula omusolo oguli mu buwumbi ogufiirwa mu busubuuzi obutali mu mateeeka.Bino bibadde ku sheraton hotel wano mu kampala. \\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\ Abooluganda basoowaganye lwa ttaka lyebalumiriza munnaabwe okwekobaana n’abasiraamu okulibasuuza. Lisangibwa mu town council ye Kyegegwa. \\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\ Minisita w’abaliko obulemu Hellen Grace Asamo mwennyamivu olw’ebitongole bya gavumenti ebikyaganye okuteewo ab’obubonero okutuusa obuweereza ku bantu abatawulira. Abadde ayanjula enteekateeka z’okukuza wiiki y’abaliko obulemu bw’obutawulira ku media center mu Kampala.

AGABUUTIKIDDE FULL BULLETIN
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Agataliikonfuufu #Agabuutikidde #New Vision