Vidiyo

AGABUUTIKIDDE FULL BULLETIN

Waliwo munamajje asobedwa ewaka ne mukibira oluvanyuma lw'okumala emyaka 15 nga yagenda kulwanirira eggwanga kyokka n’akomawo ng’abantu beesenzezza ku ttaka lye nga mukiseera kino bamutiisatiisa. Patrick Oboi Amriat azzeemu okulondebwa ku bwapulezidenti bw’ekibiina kya Forum for Democratic Change ng’ayiseewo n’obululu 800.Amezze Moses Byamugisha bwebabadde battunka. Mufti Sheikh Shaban Rwamathan Mubajje avumiridde abasiraamu abalumbye omuzikiri gwa Answal ogusangibwa e Nkumba wafulu mu munisipaali y’e Ntebe ne balwanira ensimbi za paakingi okukakaknga ng’omu attiddwa. Minisita Diana Mutasingwa era omubaka omukyala ow’e Buikwe asabye abazadde bulijjo okwekwatiramu okuzimba amasomero bave mu kulindanga gavumenti.Abadde mu kusonda ssente z’okuzimba ebisulo ku ssomero lya gavumenti erya St Cornelius SS Kalagala. Omusumba Joshua Ssentongo omuwandiisi w’obulabiriza bwa West Buganda feild mu Kkanisa y’abadventi akalaatidde abayizi ba P7, S.4 ne S6 abagenda okukola ebigezo okwekwasa Katonda okutuuka ku buwanguzi. Abatuze ku kyalo Migadde mu district ye Wakiso bali mu kutya oluvanyuma lwa bantu abatanatrgerekeka okulumba ekyalo mu kiro ne babasaayira emmere yaabwe.Kyokka poliisi etuuse mu kitundu wabula abatuuze ne bajambalira olw’okutuuka ekikeerezi. Amyuka sipiika wa Paalamenti Thomas Tayebwa asomoozezza abavubuka abatatereka nsimbi ezinaabayamba mu bukadde.Abadde ku mukolo gw’okuggulawo omwoleso gw’abavubuka n’obuyiiya oguyindira ku yunivaasite e Makerere kwebooleserezza ebiyiiye. Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku kuteekerateekera eggwanga Amos Lugoloobi asoomoozezza ab’ebyenjigiriza e Kayunga okuzuula lwaki abaana batandika P.1 nga bangi wabula gyebakoma okweyongera mu bibiina ebyawaggulu ng’omuwendo gukendeera. Okuvaako mu ddwaniro mu butanwa.Russia ekubye ennyonyi yaayo ennwanyi eyookubiri ekika kya SU-35 mu bbanga lya nnaku munaana. Ennyonyi eno egula obukadde bwa pawundi ya Bungereza 82. Yo Ukraine eyongedde okwenyweza mu bitundu byeyakanunula ku ba Russia.

AGABUUTIKIDDE FULL BULLETIN
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Tags:
Agataliikonfuufu
New Vision
Ttuntu